EBYAFAAYO
Okutendekebwa Kwe Nnafuna mu Buto Kwannyweza mu by’Omwoyo
EKIRO mu ttumbi, twali ku lubalama lw’Omugga Niger ogukulukuta ku sipiidi era oguweza kumpi nga mayiro emu obugazi. Mu Nigeria olutalo lwali lugenda mu maaso era kyali kya bulabe okusomoka omugga ogwo. Wadde kyali kityo, twalina okugusomoka emirundi egiwerako. Nnatuuka ntya okuba mu kifo ekyo? Ka nsooke mbabuulire ebyaliwo nga sinnazaalibwa.
Mu 1913, taata wange John Mills yabatizibwa mu kibuga New York ng’alina emyaka 25. Ow’oluganda Russell ye yawa emboozi ey’okubatizibwa. Waayita ekiseera kitono, taata n’agenda mu Trinidad, era eyo gye yawasiza Constance Farmer, eyali Omuyizi wa Bayibuli omunyiikivu. Taata yayambangako mukwano gwe William R. Brown okulaga abantu firimu eyitibwa “Photo-Drama of Creation.” Baalaga abantu firimu eyo okutuusa Ow’oluganda Brown ne mukyala we lwe baasindikibwa okuweereza mu bugwanjuba bwa Afirika mu 1923. Taata ne maama bo beeyongera okuweerereza mu Trinidad era bombi baalina essuubi ery’okugenda mu ggulu.
BAZADDE BAFFE BAALI BATWAGALA NNYO
Bazadde baffe baatuzaala abaana mwenda, era omwana waabwe eyasooka baamutuuma Rutherford kubanga mu kiseera ekyo pulezidenti wa Watch Tower Bible and Tract Society yali ayitibwa Rutherford. Nze bwe nnazaalibwa nga Ddesemba 30, 1922, bantuuma Woodworth, kubanga mu kiseera ekyo Ow’oluganda Clayton J. Woodworth ye yali omusunsuzi wa magazini ya Golden Age (kati eyitibwa Zuukuka!). Bazadde baffe baatuyamba okufuna obuyigirize obusookerwako, naye okusingira ddala baatuyamba okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo. Maama yali amanyi okukubaganya ebirowoozo n’abantu ku Bayibuli mu ngeri esikiriza. Taata yayagalanga nnyo okutunyumiza ebiri mu Bayibuli era yakozesanga ebitundu bye eby’omubiri okutuyamba okutegeera obulungi ebyo bye yabanga atunyumiza.
Okufuba kwabwe kwavaamu ebirungi. Ku baana abalenzi abataano be baazaala, basatu ku ffe twagenda mu Ssomero lya Gireyaadi. Basatu ku bannyinaffe baaweereza nga bapayoniya okumala emyaka mingi mu Trinidad and Tobago. Okuyitira mu ebyo bye baatuyigiriza ne mu kyokulabirako ekirungi kye baatuteerawo, bazadde baffe baatusimba “mu nnyumba ya Yakuwa.” Baatuzzangamu amaanyi era ekyo kyatuyamba okusigala mu nnyumba ya Yakuwa ne tunyiriririra “mu mpya za Katonda waffe.”—Zab. 92:13.
Ab’oluganda baakuŋŋaniranga waffe okugenda okubuulira. Bapayoniya baateranga okujja ewaffe era baayogeranga nnyo ku w’Oluganda George Young, omuminsani enzaalwa ya Canada eyali yakyalako mu
Trinidad. Bazadde bange baayogeranga bulungi nnyo ku w’Oluganda Brown ne mukyala we be baali baweererezzaako awamu nabo naye nga kati baali baweerereza mu bugwanjuba bwa Afirika. Ebyo byonna byandeetera okutandika okubuulira nga ndi wa myaka kkumi gyokka.OMULIMU GW’OKUBUULIRA MU KISEERA EKYO
Mu kiseera ekyo magazini zaffe zaali zaanika nnyo amadiini ag’obulimba, bannabyabusuubuzi ab’omululu, n’ebikolwa ebibi bannabyabufuzi bye bakola. Bwe kityo mu 1936, abakulu b’amadiini mu Trinidad baasaba gavana okuwera ebitabo bya Watch Tower byonna mu ggwanga eryo. Twakweka ebitabo byaffe naye tweyongera okubigaba mu nkukutu okutuusa lwe byaggwaawo. Twatambulanga ku nguudo oba twasimbanga eggaali mu nnyiriri, nga tukutte ebipande oba nga tugaba obupapula obuliko obubaka. Twabuuliranga wamu n’ab’oluganda ab’omu kabuga Tunapuna abaali bakozesa emmotoka ey’ekizindaalo, era twasobola okubuulira ne mu bitundu by’omu Trinidad ebyesudde ennyo. Twanyumirwanga nnyo okubuulira! Okubeera awamu n’abantu ab’eby’omwoyo, kyansobozesa okubatizibwa nga nnina emyaka 16.
Okukuzibwa abazadde abaagala Yakuwa n’ebintu ebyo bye twakolanga byandeetera okwagala okuweereza ng’omuminsani. Ekirowoozo ekyo nnali nkyakirina ne we nnagendera mu Aruba mu 1944 okuweerereza awamu n’Ow’oluganda Edmund W. Cummings. Mu 1945, twasanyuka nnyo bwe twayita abantu okujja ku Kijjukizo era kkumi ne bajja. Omwaka ogwaddako, ekibiina ekyasooka ku kizinga ekyo kyatandikibwawo.
Nga wayise ekiseera kitono, nnabuulira mbagirawo omu ku bakozi bannange ku mulimu eyali ayitibwa Oris Williams. Oris yawakanya nnyo bye nnamubuulira okuva mu Bayibuli ng’awolereza enjigiriza ze yali yayigirizibwa mu ddiini ye. Naye bwe yatandika okuyiga Bayibuli, yategeera ekyo ddala Bayibuli ky’eyigiriza era n’abatizibwa nga Jjanwali 5, 1947. Ekiseera bwe kyayitawo, nnawasa Oris. Yatandika okuweereza nga payoniya mu Noovemba 1950. Bwe nnawasa Oris nneeyongera okufuna essanyu mu bulamu.
TWANYUMIRWA NNYO OKUWEEREZA MU NIGERIA
Mu 1955 twayitibwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 27. Okusobola okweteekerateekera okugenda mu ssomero eryo, nze ne Oris twaleka emirimu gye twali tukola ne tutunda ennyumba yaffe n’ebintu byaffe ebirala era ne tusiibula abantu b’omu Aruba. Bwe twamaliriza emisomo gya Gireyaadi nga Jjulaayi 29, 1956, twasindikibwa Nigeria.
Oris yayogera bw’ati ku kiseera ekyo: “Omwoyo gwa Yakuwa gusobola okuyamba omuntu okutuukana n’embeera ezitali zimu mu mulimu gw’obuminsani. Obutafaananako mwami wange, nze nnali saagala kuweereza nga muminsani. Nnali njagala kuba waka tuzaale abaana. Endowooza yange yakyuka bwe nnakitegeera nti omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi gusaanidde okukolebwa mu bwangu. We twamalira emisomo gya Gireyaadi, nnali mwetegefu okuweereza ng’omuminsani. Bwe twali tulinnya emmeeri eyali eyitibwa Queen Mary, Ow’oluganda Worth Thornton, eyali akola mu ofiisi y’Ow’oluganda Knorr ye yatusiibula. Yatugamba nti twali tugenda kuweereza ku Beseri. Ekyo tekyansanyusa. Naye nnakyusa mangu endowooza yange, ne ntandika okwagala obuweereza bw’oku Beseri, era nnakola emirimu egitali gimu. Omulimu gwe nnasinga okunyumirwa gwali gwa kukola awatuukira abagenyi. Njagala nnyo abantu, era omulimu ogwo gwansobozesa okumanya ab’oluganda bangi mu Nigeria. Bangi ku bo baatuukanga ku Beseri nga bajjudde enfuufu, nga bakoowu, ng’ennyonta ebaluma, era nga n’enjala ebaluma. Kyansanyusanga nnyo okukola ku bwetaavu bwabwe. Obwo bwonna bwali buweereza butukuvu eri Yakuwa, era ekyo kye kyandeeteranga essanyu n’obumativu.” Mu butuufu, buli mulimu gwe twakola gwatuyamba okweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa.
Bwe twali ku kabaga akamu mu Trinidad mu 1961, Ow’oluganda Brown yatubuulira egimu ku mikisa gye yafuna ng’aweereza mu Afirika. Nange nnababuulira ku nkulaakulana eyali mu Nigeria. Ow’oluganda Brown yankwatako n’agamba taata nti: “Johnny, ggwe tewasobola kutuuka mu Afirika naye ye Woodworth yasobola okutuukayo!” Taata yaŋŋamba nti: “Weeyongere mu maaso Worth! Todda mabega!” Ebigambo ng’ebyo ebyaŋŋambibwa abantu abaali bamaze emyaka mingi nga baweereza Yakuwa byannyamba okuba omumalirivu okutuukiriza obuweereza bwange.
Mu 1962, nnaddamu ne mpitibwa mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 37 era twamala emyezi kkumi nga tusoma. Ow’oluganda Wilfred * Ezisinga obungi ku loole ezo zaabanga ziwandiikiddwako ebigambo ebirina amakulu amakusike. Ng’ekyokulabirako, loole emu yaliko ebigambo ebigamba nti: “Amatondo amatono gavaamu oguyanja.”
Gooch, mu kiseera ekyo eyali omulabirizi wa ofiisi y’ettabi ly’e Nigeria ye yayitibwa mu ssomero ery’omulundi ogwa 38 era oluvannyuma n’asindikibwa okuweereza mu Bungereza. Bwe yagenda, nnakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ettabi ly’e Nigeria. Okufaananako Ow’oluganda Brown, nnatambula mu bitundu bingi mu Nigeria era ekyo kyansobozesa okumanya ab’oluganda bangi ab’omu Nigeria era nnabaagala nnyo. Wadde nga tebaalina bintu bingi ng’ebyo abantu abali mu nsi ezaakula bye balina, ab’oluganda abo baali basanyufu nnyo era nga bamativu. Ekyo kyandaga nti obulamu obw’amakulu tebusinziira ku ssente oba ebintu omuntu by’aba nabyo. Okusinziira ku mbeera gye baalimu, kyali kyewuunyisa nti baabanga bayonjo era nga balabika bulungi nga bazze mu nkuŋŋaana. Ku nkuŋŋaana ennene ab’oluganda bajjiranga mu loole omwali n’ezo eziyitibwa bolekajas.Ebigambo ebyo bituufu ddala! Okufuba buli muntu kinnoomu kw’ateeka mu mulimu gw’okubuulira kukulu; naffe twenyigira mu mulimu ogwo. Omwaka gwa 1974 we gwatuukira, Nigeria yalimu ababuulizi 100,000, era nga ye nsi eyasooka okuweza omuwendo ogwo, ng’oggyeeko Amerika. Omulimu gwali gukuze nnyo!
Ng’omulimu gw’okubuulira gutinta bwe gutyo, waabalukawo olutalo mu Nigeria okuva mu 1967 okutuuka mu 1970. Okumala emyezi, baganda baffe ku luuyi olumu olw’Omugga Niger baali tebasobola kutuuka ku ofiisi y’ettabi. Twalina okubatwalira emmere ey’eby’omwoyo. Nga bwe nnagambye ku ntandikwa, twasaba nnyo Yakuwa era ne tumwesiga, ne tusobola okusomoka omugga ogwo enfunda n’enfunda okubatwalira emmere eyo.
Nzijukira obuzibu bwe twayitangamu okusobola okusomoka Omugga Niger. Twabanga mu kabi ak’okukwatibwa endwadde, ak’okuttibwa abasirikale abaabanga abeetegefu okunasula emanduso y’emmundu, era twayolekagana n’ebizibu ebirala bingi. Kyali kya ntiisa nnyo okuyita mu basirikale abaali ku njuyi zombi ez’omugga. Lumu ekiro nnasaabala Omugga Niger ng’akozesa akaato akatono okuva e Asaba okutuuka e Onitsha ne ŋŋenda okuzzaamu amaanyi abakadde b’omu Enugu. Olulala twagenda mu kabuga Aba, akaali kasaliddwako amasannyalaze, era ekyo kyazzaamu abakadde baayo amaanyi. Ate mu Port Harcourt, twalina okukomya amangu olukuŋŋaana lwaffe ne tufundikira n’essaala oluvannyuma lw’abasirikale ba gavumenti okulumba abayeekera mu kitundu ekyo.
Mu nkuŋŋaana ezo twayamba baganda baffe okukiraba nti Yakuwa yali abaagala era nti yali abafaako. Ate era twabakubiriza obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi n’okusigala nga bali bumu. Baganda baffe mu Nigeria baasobola okuyita obulungi mu lutalo olwo. Okwagala okwa nnamaddala kwabayamba okusigala nga bali bumu. Yali nkizo ya maanyi okubeera awamu nabo mu kiseera ekyo ekyali ekizibu!
Mu 1969, Ow’oluganda Milton G. Henschel ye yali ssentebe w’olukuŋŋaana olunene olwetabwamu ab’oluganda okuva mu mawanga ag’enjawulo olwali mu kisaawe ky’e Yankee mu New York olwalina omutwe “Emirembe ku Nsi.” Nze nnali omuyambi we era nnamuyigirako ebintu bingi. Olukuŋŋaana olwo lwajjira mu kiseera kituufu kubanga mu 1970 naffe twalina olukuŋŋaana olunene olwetabwamu ab’oluganda okuva mu mawanga ag’enjawulo olwalina omutwe “Abantu Katonda b’Asiima” olwali mu kibuga Lagos ekya Nigeria. Olw’okuba olukuŋŋaana olwo lwaliwo nga twakava mu lutalo, Yakuwa ye yatusobozesa okulutegeka obulungi. Olukuŋŋaana olwo lwali lwa byafaayo kubanga programu yali mu nnimi 17 era lwaliko abantu 121,128. Ow’oluganda Knorr ne Henschel n’abagenyi abalala okuva mu Amerika ne Bungereza baalaba ogumu ku miwendo egisinga obunene egy’abantu ababatizibwa ku lukuŋŋaana olumu okuva ku kubatizibwa okwaliwo ku Pentekooti. Abantu 3,775 be baabatizibwa! Ekiseera ekyo we twateekerateekera olukuŋŋaana olwo kye kimu ku biseera bye nnaakasingayo okuba n’eby’okukola ebingi mu bulamu. Okweyongerayongera kw’omuwendo gw’ababuulizi kwali kwa maanyi nnyo!
Mu myaka egisukka mu 30 gye nnamala mu Nigeria, oluusi n’oluusi nnaweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina ate oluusi ne mpeereza ng’omulabirizi wa zooni mu nsi ez’omu bugwanjuba bwa Afirika. Abaminsani baasiimanga nnyo olw’okubafaako kinnoomu n’olw’okubazzangamu amaanyi! Bwe twabayambanga okukiraba nti tebaabuliddwa, naffe kyatuleeteranga essanyu lingi! Okukola omulimu ogwo
kyannyamba okukiraba nti okufaayo ku balala kibayamba okunywera mu by’omwoyo era kinyweza obumu mu kibiina kya Yakuwa.Yakuwa ye yatuyamba okwaŋŋanga ebizibu ebyajjawo olw’olutalo n’olw’obulwadde. Bulijjo twalabanga omukono gwa Yakuwa. Oris yagamba nti:
“Ffembi twalwala omusujja gw’ensiri emirundi egiwera. Lumu Worth baamutwala mu ddwaliro e Lagos nga takyategeera. Baŋŋamba nti yali ayinza obutadda ngulu, naye eky’essanyu, yadda engulu! Bwe yadda engulu, yabuulira omusawo eyali amujjanjaba ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Oluvannyuma nnagenda ne Worth eri omusawo oyo eyali ayitibwa Nwambiwe okumuyamba okumanya ebisingawo ku Bayibuli. Omusawo oyo yayiga amazima era oluvannyuma n’afuuka omukadde mu kibiina ky’e Aba. Nange nnina abantu bangi be nnayamba okuyiga amazima nga muno mwe mwali n’Abasiraamu abakuukuutivu. Ate era twasanyuka nnyo okumanya abantu b’omu Nigeria, obuwangwa bwabwe, n’olulimi lwabwe.”
Kino kye kintu ekirala kye twayiga: Okusobola okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe mu nsi endala, twalina okuyiga okwagala bakkiriza bannaffe wadde ng’obuwangwa bwabwe bwali bwawukana nnyo ku bwaffe.
TUSINDIKIBWA MU NSI ENDALA
Oluvannyuma lw’okuweereza ku Beseri y’e Nigeria okumala emyaka, mu 1987 twasindikibwa okuweereza ng’abaminsani ku kizinga St. Lucia mu Caribbean. Twanyumirwa nnyo okuweereza ku kizinga ekyo, naye twayolekagana n’okusoomooza okulala. Obutafaananako mu Afirika abasajja gye baawasanga abakazi abasukka mu omu, yo mu St. Lucia, abasajja n’abakazi babeeranga wamu nga si bafumbo. Ekigambo kya Katonda kyayamba abayizi ba Bayibuli bangi okukola enkyukakyuka ezeetaagisa.
Amaanyi gaffe bwe gaagenda gakendeera olw’okukaddiwa, Akakiiko Akafuzi katulaga ekisa ne katutwala okubeera ku kitebe ekikulu mu Brooklyn, New York, Amerika, mu 2005. Nneebaza Yakuwa olwa Oris. Omulabe kufa yamumegga mu 2015, era obulumi bwe nnina olw’okufa kwe tebulojjeka. Yali mukyala mulungi nnyo. Okwagala kwe nnalina gy’ali tekwakendeera mu myaka 68 gye nnamala naye mu bufumbo. Twakizuula nti ekintu ekireeta essanyu mu bufumbo ne mu kibiina, kwe kussa ekitiibwa mu nteekateeka y’obukulembeze, okusonyiwagana, obwetoowaze, n’okwoleka ekibala ky’omwoyo.
Bwe twafunanga ebintu ebitumalamu amaanyi, twasabanga Yakuwa atuyambe okusigala nga tuwaayo ssaddaaka ezisiimibwa mu maaso ge. Yakuwa bwe yagenda yeeyongera okutubumba, ebintu byeyongera okututambulira obulungi, era bijja kuba birungi nnyo n’okusingawo mu biseera eby’omu maaso!—Is. 60:17; 2 Kol. 13:11.
Yakuwa yawa omukisa omulimu bazadde bange awamu n’abalala gwe baakola mu Trinidad and Tobago era okusinziira ku lipoota ekyasembyeyo okufuluma, abantu 9,892 mu nsi eyo beegasse ku kusinza okw’amazima. Mu Aruba, ab’oluganda bangi baakola nnyo okunyweza ekibiina ekyasooka mwe nnali. Kati ku kizinga ekyo kuliko ebibiina 14. Mu Nigeria, omuwendo gw’ababuulizi gweyongedde nnyo era kati bali 381,398. Ate ku kizinga St. Lucia, abantu 783 bawagira Obwakabaka bwa Yakuwa.
Kati ndi mu myaka 90. Zabbuli 92:14 woogera bwe wati ku abo abasimbibwa mu nnyumba ya Yakuwa: “Ne mu myaka egy’obukadde baliba bakyabala ebibala; balisigala nga balina amaanyi era nga banyirira.” Nneebaza nnyo Yakuwa olw’ekiseera kye mmaze nga mmuweereza. Okubeera mu bantu abaagala ennyo Yakuwa kinnyambye okumuweereza mu bujjuvu. Yakuwa andaze okwagala okutajjulukuka n’ansobozesa ‘okunyiririra mu mpya za Katonda wange.’—Zab. 92:13.
^ lup. 18 Laba Awake! eya Maaki 8, 1972, lup. 24-26.