EKITUNDU EKY’OKUSOMA 6
Weesiga Yakuwa nti Bulijjo by’Akola Biba Bituufu?
“Olwazi, by’akola bituukiridde, amakubo ge gonna ga bwenkanya. Katonda omwesigwa ataliimu butali bwenkanya; mutuukirivu era mwenkanya.”—MA. 32:4.
OLUYIMBA 3 Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe
OMULAMWA *
1-2. (a) Lwaki abantu bangi leero kibakaluubirira okwesiga abo abali mu bifo eby’obuvunaanyizibwa? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
LEERO abantu bangi tebeesiga muntu yenna alina obuyinza. Batera okulaba nga bannamateeka ne bannabyabufuzi beekubira ku ludda lw’abagagga n’abantu abali mu bifo ebya waggulu, kyokka ne banyigiriza abaavu. Kituukirawo okuba nti Bayibuli egamba nti: ‘Omuntu abadde n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi.’ (Mub. 8:9) Ate era n’abakulembeze b’amadiini bangi bakola ebintu ebibi. Ekyo kiviiriddeko abantu abamu okulekera awo okwesiga Katonda. N’olwekyo omuntu bw’akkiriza okuyiga naffe Bayibuli, tuba tulina okufuba okumuyamba okwesiga Yakuwa n’okwesiga abo b’awadde obuvunaanyizibwa mu kibiina kye ku nsi.
2 Kya lwatu, abayizi ba Bayibuli si be bokka abalina okuyiga okwesiga Yakuwa n’ekibiina kye. Naffe abamaze emyaka nga tuweereza Yakuwa tusaanidde okweyongera okumwesiga nti bulijjo engeri gy’akolamu ebintu eba ntuufu. Oluusi kiyinza okutubeerera ekizibu okwesiga Yakuwa mu nsonga eyo. Mu kitundu kino tugenda kulaba embeera za mirundi esatu mwe kiyinza okutubeerera ekizibu okwesiga Yakuwa: (1) nga waliwo ekintu ekimu kye tusomyeko mu Bayibuli, (2) nga tuweereddwa obulagirizi okuva eri ekibiina kye, era (3) nga twolekaganye n’ebigezo mu biseera eby’omu maaso.
WEESIGE YAKUWA NG’OLIKO BY’OSOMA MU BAYIBULI
3. Ebintu ebimu bye tusoma mu Bayibuli biyinza bitya okugezesa obwesige bwe tulina mu Yakuwa?
3 Bwe tuba tusoma Bayibuli, tuyinza okwebuuza ensonga lwaki Yakuwa abantu abamu yabayisa mu ngeri emu ate abalala n’abayisa mu ngeri endala. Era tuyinza n’okwebuuza ensonga lwaki yasalawo ebintu ebimu. Ng’ekyokulabirako, mu kitabo ky’Okubala tusoma ku Muyisirayiri Yakuwa gwe yasalira ekibonerezo eky’okufa olw’okulonderera obuku ku Ssabbiiti. Kyokka ekitabo kya Samwiri eky’Okubiri kiraga nti nga wayise emyaka mingi, Kabaka Dawudi bwe yayenda era n’atta omuntu, Yakuwa yamusonyiwa. (Kubal. 15:32, 35; 2 Sam. 12:9, 13) Tuyinza okwebuuza nti, ‘Lwaki Yakuwa yasonyiwa Dawudi eyayenda era n’atta omuntu, kyokka omusajja eyakola ekibi ekirabika nga tekyali kinene ng’ekya Dawudi ye n’amusalira ekibonerezo eky’okuttibwa?’ Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, waliwo ebintu bisatu bye tusaanidde okulowoozaako nga tusoma Bayibuli.
4. Ebyo bye tusoma mu Olubereberye 18:20, 21 ne Ekyamateeka 10:17, bituyamba bitya okwesiga Yakuwa nti bulijjo asalawo mu ngeri entuufu?
4 Bayibuli bw’eba eyogera ku mbeera ezimu ezaaliwo, oluusi tewa kalonda yenna. Ng’ekyokulabirako, tukimanyi nti Dawudi yeenenya mu bwesimbu ensobi ze yakola. (Zab. 51:2-4) Naye omusajja eyamenya etteeka lya Ssabbiiti yali muntu wa ngeri ki? Yeenenya olw’ekyo kye yakola? Yali yamenya amateeka ga Yakuwa mu biseera eby’emabega? Yagaana okukolera ku kulabula okwamuweebwa oba yakubuusa amaaso? Bayibuli tetubuulira. Naye tuli bakakafu nti Yakuwa ‘taliimu butali bwenkanya.’ (Ma. 32:4) Bw’aba asalawo ekintu, asinziira ku ebyo byonna ebizingirwamu so si ku bintu ebitera okuleetera abantu obutasala misango mu ngeri ya bwenkanya, gamba ng’okuwulira obuwulizi abalala bye boogera, obusosoze, oba ekintu ekirala. (Soma Olubereberye 18:20, 21; Ekyamateeka 10:17.) Gye tukoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa ne ku mitindo gye, gye tukoma okumwesiga nti asalawo mu ngeri ey’obwenkanya. Ne bwe kiba nti ebintu ebimu bye tusoma mu Bayibuli bituleetera okwebuuza ebibuuzo bye tutayinza kuddamu mu kiseera kino, tukimanyi nti Katonda waffe “mutuukirivu mu makubo ge gonna.”—Zab. 145:17.
5. Obutali butuukirivu bwaffe bukwata butya ku ndowooza gye tulina ku bwenkanya n’obutali bwenkanya? (Laba n’akasanduuko “ Obutali Butukirivu Butuleetera Obutaba na Ndowooza Ntuufu ku Bwenkanya n’Obutali Bwenkanya.”)
5 Olw’okuba tetutuukiridde, oluusi tusalawo mu ngeri etali ntuufu. Okuva bwe kiri nti twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, twagala nnyo okulaba ng’abantu bayisibwa mu ngeri ey’obwenkanya. (Lub. 1:26) Kyokka olw’okuba tetutuukiridde, oluusi ensonga tuzitegeera mu bukyamu ne bwe tuba nga tulowooza nti tumanyi byonna ebizingirwamu. Ng’ekyokulabirako, Yona yanyiiga nnyo Yakuwa bwe yasaasira abantu b’omu Nineeve. (Yon. 3:10–4:1) Naye lowooza ku ebyo ebyava mu ekyo Yakuwa kye yasalawo. Abantu b’omu Nineeve abeenenya abaali basukka mu 120,000 baawona okuzikirizibwa! Kyeyoleka bulungi nti Yona ye yalina okutereeza endowooza ye, so si Yakuwa.
6. Lwaki Yakuwa tateekeddwa okutunnyonnyola ebyo by’aba asazeewo oba by’aba agenda okusalawo?
6 Yakuwa tekimukakatako kunnyonnyola bantu nsonga lwaki aba asazeewo mu ngeri emu. Kyo kituufu nti Yakuwa yakkiriza abamu ku baweereza be mu biseera eby’edda okuwa endowooza yaabwe ku ebyo bye yali asazeewo oba bye yali anaatera okusalawo. (Lub. 18:25; Yon. 4:2, 3) Kyokka oluusi yannyonnyolanga ensonga lwaki yabanga asazeewo ekyo kye yabanga asazeewo. (Yon. 4:10, 11) Naye Yakuwa tekimukakatako kutunnyonnyola nsonga lwaki aba asazeewo ekintu ekimu. Olw’okuba ye Mutonzi waffe, tekimwetaagisa kusooka kufuna ndowooza yaffe ku ekyo ky’aba agenda okusalawo oba ku ekyo ky’aba asazeewo.—Is. 40:13, 14; 55:9.
WEESIGE YAKUWA NG’OWEEREDDWA OBULAGIRIZI
7. Kusoomooza ki kwe tuyinza okufuna, era lwaki?
7 Tetulina kubuusabuusa kwonna nti bulijjo Yakuwa by’akola biba bituufu. Kyokka kiyinza okutubeerera ekizibu okwesiga abo b’awadde obuvunaanyizibwa ku bantu be. Tuyinza okwebuuza obanga abo abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina kya Yakuwa bakolera ku bulagirizi bwa Yakuwa oba ku ndowooza yaabwe. Kiyinza okuba nga bwe kityo bwe kyali eri abantu abamu abaaliwo mu biseera eby’edda. Lowooza ku kyokulabirako ekyogeddwako mu katundu 3. Ab’eŋŋanda z’omusajja eyamenya etteeka lya Ssabbiiti bayinza okuba nga beebuuza obanga ddala Musa yeebuuza ku Yakuwa nga tannagamba bantu nti omusajja oyo yali asaliddwa ekibonerezo eky’okuttibwa. Ate mikwano gya Uliya Omukiiti, bba w’omukazi Dawudi gwe yayendako, bayinza okuba nga baalowooza nti Dawudi yakozesa obuyinza bwe nga kabaka obutafuna kibonerezo ekyali kimugwanidde. Ekituufu kiri nti tetuyinza kugamba nti twesiga Yakuwa, bwe tuba nga tetwesiga abo b’awadde obuvunaanyizibwa mu kibiina kye ku nsi era be yeesiga.
8. Kufaanagana ki okuliwo wakati w’ebyo ebyogerwako mu Ebikolwa 16:4, 5 n’engeri ekibiina Ekikristaayo gye kiddukanyizibwamu leero?
8 Leero Yakuwa akulembera ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kye, okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Mat. 24:45) Okufaananako akakiiko akafuzi akaaliwo mu kyasa ekyasooka, omuddu ono alabirira abantu ba Katonda okwetooloola ensi era awa abakadde mu bibiina byonna obulagirizi. (Soma Ebikolwa 16:4, 5.) Abakadde bafuba okugoberera obulagirizi obwo obubaweebwa. Tukiraga nti twesiga Yakuwa nga tukolera ku bulagirizi obutuweebwa ekibiina kye awamu n’abakadde.
9. Ddi lwe kiyinza okutubeerera ekizibu okukolera ku ekyo abakadde kye baba basazeewo, era lwaki?
9 Oluusi kiyinza okutubeerera ekizibu okukolera ku ebyo abakadde bye baba basazeewo. Ng’ekyokulabirako, gye buvuddeko awo, waliwo enkyukakyuka ezaakolebwa mu bibiina ebitali bimu. Mu bibiina ebimu, abakadde baasaba ababuulizi okugenda mu bibiina ebirala okusobola okulaba nti Ebizimbe by’Obwakabaka bikozesebwa mu bujjuvu. Bwe tusabibwa okugenda mu kibiina ekirala, kiyinza okutubeerera ekizibu okuleka mikwano gyaffe n’ab’eŋŋanda zaffe. Katonda y’awa abakadde obulagirizi ku wa buli mubuulizi gy’aba alina okugenda? Nedda. Olw’okuba bwe kityo si bwe kiri, oluusi kiyinza okutubeerera ekizibu okukolera ku bulagirizi bwe batuwa. Kyokka Yakuwa yeesiga abakadde nga basalawo ku nsonga ng’ezo, era naffe tusaanidde okubeesiga. *
10. Lwaki tusaanidde okukolagana obulungi n’abakadde? (Abebbulaniya 13:17)
10 Lwaki tusaanidde okuwagira ekyo abakadde kye baba basazeewo ne bwe kiba nti ffe si kye twandyagadde? Kubanga bwe tukola tutyo tuyambako mu kukuuma obumu obuli mu bantu ba Yakuwa. (Bef. 4:2, 3) Bonna abali mu kibiina bwe bawagira ebyo ebiba bisaliddwawo abakadde, ekibiina kibaamu emirembe n’essanyu. (Soma Abebbulaniya 13:17.) Ate era, bwe tukolagana obulungi n’abo Yakuwa b’awadde obuvunaanyizibwa okutulabirira, tuba tulaga nti tumwesiga.—Bik. 20:28.
11. Kiki ekiyinza okutuyamba okweyongera okwesiga obulagirizi obutuweebwa abakadde?
11 Tusobola okweyongera okwesiga obulagirizi abakadde bwe batuwa bwe tukijjukira nti bwe baba bagenda kwogera ku nsonga ezikwata ku kibiina, basooka kusaba Yakuwa abawe omwoyo gwe omutukuvu. Ate era bafuba okukolera ku misingi gya Bayibuli awamu n’obulagirizi obubaweebwa ekibiina kya Yakuwa. Baagala nnyo okusanyusa Yakuwa n’okufaayo ku bantu be. Abasajja abo abeesigwa bakimanyi nti Yakuwa afaayo nnyo ku ngeri gye batuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwe. (1 Peet. 5:2, 3) Lowooza ku kino: Mu nsi eno ejjudde enjawukana mu mawanga, amadiini, n’eby’obufuzi, abantu ba Yakuwa bali bumu mu kusinza Katonda omu ow’amazima. Ekyo tekyandisobose singa Yakuwa yali tawa kibiina kye mikisa!
12. Biki abakadde bye balowoozaako bwe baba nga beekenneenya okulaba obanga omuntu yeenenyezza mu bwesimbu?
12 Yakuwa yawa abakadde obuvunaanyizibwa bwa maanyi obw’okukuuma ekibiina kye nga kiyonjo. Omukristaayo bw’akola ekibi eky’amaanyi, Yakuwa asuubira abakadde okwekenneenya ensonga okulaba obanga asaanidde okusigala mu kibiina oba nedda. Beetaaga okumanya obanga ddala omuntu oyo yeenenyezza mu bwesimbu olw’ekyo kye yakola. Ayinza okugamba nti yeenenyezza. Naye ddala yakyawa ekyo kye yakola? Amaliridde obutakiddamu? Bwe kiba nti emikwano emibi gye gyamuviirako okukola ekibi, mwetegefu okwekutula ku mikwano egyo? Abakadde basaba Yakuwa, beekenneenya Ebyawandiikibwa, era bafumiitiriza ne ku ndowooza omuntu gy’alina ku kibi kye yakola. Oluvannyuma basalawo obanga asaanidde okusigala mu kibiina. Mu mbeera ezimu aba alina okugobebwa.—1 Kol. 5:11-13.
13. Tuyinza kukwatibwako tutya singa omu ku b’eŋŋanda zaffe oba mukwano gwaffe agobebwa mu kibiina?
13 Obwesige bwe tulina mu bakadde buyinza butya okugezesebwa? Omuntu agobeddwa mu kibiina bw’aba nga si mukwano gwaffe ow’oku lusegere oba si omu ku b’eŋŋanda zaffe, kiyinza okutubeerera ekyangu okukkiriza ekyo abakadde kya baba basazeewo. Naye kiyinza obutaba bwe kityo singa oyo aba agobeddwa aba mukwano gwaffe ow’oku lusegere oba omu ku b’eŋŋanda zaffe. Tuyinza okulowooza nti abakadde tebaatunuulidde byonna ebizingirwamu, oba tuyinza okwebuuza obanga ddala ekyo kye baasazeewo ne Yakuwa kye yandisazeewo. Kiki ekiyinza okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ekyo ekiba kisaliddwawo?
14. Kiki ekiyinza okutuyamba singa abakadde basalawo nti omu ku mikwano gyaffe oba ku b’eŋŋanda zaffe alina okugobebwa mu kibiina?
14 Tusaanidde okukijjukira nti okugoba omuntu mu kibiina nteekateeka ya Yakuwa era eganyula ekibiina kyonna. Ate era eyinza n’okuganyula oyo aba agobeddwa. (Bag. 5:9) Singa omwonoonyi ateenenya alekebwa mu kibiina, ayinza okuviirako abamu mu kibiina okwonooneka. Ate era ayinza obutakiraba nti ekintu kye yakoze kibi nnyo era ayinza n’obutalaba bwetaavu bwa kukyusa ndowooza ye asobole okuddamu okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. (Mub. 8:11) Tusobola okuba abakakafu nti abakadde bwe baba nga basalawo obanga omuntu anaagobebwa mu kibiina oba nedda, ensonga eyo bagirowoozaako n’obwegendereza. Bakimanyi nti okufaananako abalamuzi b’omu Isirayiri ey’edda, ‘tebalamulira muntu wabula balamulira Yakuwa.’—2 Byom. 19:6, 7.
TUSAANIDDE OKWESIGA YAKUWA KATI KITUSOBOZESE OKUMWESIGA NE MU BISEERA EBY’OMU MAASO
15. Lwaki tusaanidde okwesiga obulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa kati?
15 Ng’enkomerero egenda esembera, tusaanidde okweyongera okwesiga Yakuwa nti engeri gy’akolamu ebintu ye ntuufu. Lwaki? Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, tuyinza okuweebwa obulagirizi obulabika ng’obutakola oba obuyinza okulabika nti si kya magezi okubukolerako. Kya lwatu nti Yakuwa tajja kwogera naffe kinnoomu. Ayinza okutuwa obulagirizi okuyitira mu abo b’awadde obuvunaanyizibwa mu kibiina kye. Ekyo tekijja kuba kiseera kya kubuusabuusa bulagirizi obunaaba butuweereddwa oba okwebuuza nti, ‘Obulagirizi buno buvudde eri Yakuwa oba ndowooza y’ab’oluganda abatwala obukulembeze?’ Oneesiga Yakuwa n’ekibiina kye mu kiseera ekyo ekijja okuba ekikulu ennyo mu byafaayo by’abantu? Engeri gy’otwalamu obulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa kati, ejja kukuyamba okumanya eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo. Bwe kiba nga kikwanguyira okukolera ku bulagirizi obutuweebwa leero, bwe kityo bwe kiyinza okuba ne mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene.—Luk. 16:10.
16. Mu biseera eby’omu maaso, kiki ekinaatuyamba okwesiga Yakuwa nti engeri gy’asalamu emisango ya bwenkanya?
16 Ate era tusaanidde okulowooza ku ngeri gye tuneeyisaamu nga Yakuwa asaze omusango ku nkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno. Mu kiseera kino tulina essuubi nti bangi ku abo abataweereza Yakuwa nga mw’otwalidde n’ab’eŋŋanda zaffe, bajja kutandika okumuweereza ng’enkomerero tennajja. Naye ku Amagedoni, Yakuwa ng’ayitira mu Yesu, y’ajja okusalawo obanga banaawonawo oba nedda. (Mat. 25:31-33; 2 Bas. 1:7-9) Si ffe tujja okusalawo ku ani Yakuwa gw’anaasaasira ne gw’ataasaasire. (Mat. 25:34, 41, 46) Tuneesiga ekyo Yakuwa ky’anaaba asazeewo oba tuneesittala? Kyeyoleka lwatu nti tusaanidde okwesiga ennyo Yakuwa kati nti ebyo by’asalawo biba bituufu kitusobozese okumwesigira ddala mu biseera eby’omu maaso.
17. Tunaaganyulwa tutya mu musango Yakuwa gw’anaaba asaze ku nkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno?
17 Lowooza ku ngeri gye tunaawuliramu nga tuli mu nsi empya, nga tulaba ebyo ebinaaba bivudde mu musango Yakuwa gw’anaaba asaze. Amadiini ag’obulimba, eby’obusuubizi ebijjudde abantu ab’omululu, awamu n’eby’obufuzi ebinyigiriza abantu era ebiviiriddeko okubonaabona okutagambika, byonna bijja kuba biweddewo. Tujja kuba tetukyalwala, tetukyakaddiwa, era nga tetukyafiirwa bantu baffe. Sitaani ne badayimooni bajja kusibibwa emyaka lukumi. Ebintu byonna ebivudde mu bujeemu byabwe bijja kuba bivuddewo. (Kub. 20:2, 3) Nga tujja kusanyuka nnyo okuba nti twesiga Yakuwa nti engeri gy’akolamu ebintu ye ntuufu!
18. Nga bwe kiragibwa mu Okubala 11:4-6 ne 21:5, kiki kye tuyigira ku Bayisirayiri?
18 Kyandiba nti wajja kubaawo ebintu mu nsi empya ebinaagezesa okukkiriza kwaffe n’obwesige bwe tulina mu ngeri Yakuwa gy’akolamu ebintu? Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo ekyaliwo nga waakayita ekiseera kitono ng’Abayisirayiri bavudde e Misiri. Abamu baatandika okwemulugunya olw’okuba baali basubwa emmere gye baalyanga e Misiri, era baanyooma emmaanu Yakuwa gye yabawa. (Soma Okubala 11:4-6; 21:5.) Naffe tuyinza okufuna endowooza y’emu ng’ekibonyoobonyo ekinene kya kaggwa? Tetumanyi mirimu gyenkana wa eginaazingirwa mu kutereeza ebyo ebinaaba byonooneddwa oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo ekinene, era n’okulongoosa ensi mpolampola efuuke ekifo ekirabika obulungi ennyo. Kirabika wajja kubaawo eby’okukola bingi, era mu kusooka obulamu buyinza obutaba bwangu. Tuneemulugunya olw’ebyo Yakuwa by’anaatuwa mu kiseera ekyo? Ekituufu kiri nti: Bwe tuba nga tusiima ebintu Yakuwa by’atuwa kati, tujja kusiima nnyo n’ebyo by’anaatuwa mu kiseera ekyo.
19. Mu bufunze, biki bye tuyize mu kitundu kino?
19 Bulijjo engeri Yakuwa gy’akolamu ebintu eba ntuufu. Ekyo tetulina kukibuusabuusa. Era tusaanidde okwesiga abo Yakuwa b’ayitiramu okutuwa obulagirizi. Teweerabiranga bigambo bino Yakuwa bye yayogera okuyitira mu nnabbi Isaaya. Yagamba nti: “Amaanyi gammwe galiba mu kusigala nga muli bakkakkamu era nga munneesiga.”—Is. 30:15.
OLUYIMBA 98 Ebyawandiikibwa—Byaluŋŋamizibwa Katonda
^ lup. 5 Ekitundu kino kigenda kutuyamba okulaba ensonga lwaki kikulu okweyongera okwesiga Yakuwa, n’okwesiga abo b’awadde obuvunaanyizibwa okukulembera ekibiina kye ku nsi. Ate era tugenda kulaba engeri ekyo gye kituganyulamu kati era n’engeri gye kituyamba okweteekerateekera ebizibu ebijja mu maaso.
^ lup. 9 Oluusi olw’embeera eziteebeereka, kiyinza okwetaagisa ababuulizi kinnoomu oba amaka okusigala mu kibiina kye babadde bakuŋŋaaniramu. Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka, Noovemba 2002, “Akasanduuko k’Ebibuuzo.”