Tuyinza Tutya Okuba ab’Emikwano aba Nnamaddala
WALI ofunyeeko ekizibu eky’amaanyi naye nga tolina muntu akuyamba? Ebiseera bye tulimu bizibu nnyo era oluusi tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi olw’obutabaako muntu gwe tuyinza kwogerako naye. (2 Tim. 3:1) Kyokka waliwo abantu abasobola okutuyamba. Bayibuli eraga obukulu bw’okuba n’emikwano egya nnamaddala “mu biro eby’okulaba ennaku.”—Nge. 17:17.
ENGERI AB’EMIKWANO ABA NNAMADDALA GYE BASOBOLA OKUTUYAMBA
Omutume Pawulo yatambulanga n’abamu ku mikwano gye mu ŋŋendo ze ez’obuminsani era baamuyamba mu ngeri nnyingi. (Bak. 4:7-11) Bwe yali asibiddwa mu Rooma, mikwano gye baamukolera ebintu bye yali tasobola kwekolera. Ng’ekyokulabirako, Epafulodito yaleetera Pawulo ebintu ab’oluganda ne bannyinaffe mu Firipi bye baali bamuweerezza era bye yali yeetaaga ennyo. (Baf. 4:18) Tukiko yatwala amabaluwa ga Pawulo mu bibiina ebitali bimu. (Bak. 4:7) Olw’okuba mikwano gye baamuyamba, Pawulo yasobola okutuukiriza obuweereza bwe ne bwe yali ng’asibiddwa mu nnyumba oba ng’ali mu kkomera. Oyinza otya okuba ow’omukwano owa nnamaddala?
Leero waliwo bakkiriza bannaffe bangi abakyolese nti ba mikwano aba nnamaddala. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe ayitibwa Elisabet aweereza nga payoniya owa bulijjo mu Sipeyini ayogera ku ngeri muganda we omu gye yamuyambamu bwe yali ng’ayolekagana n’ekizibu eky’amaanyi. Maama we bwe yazuulwamu obulwadde bwa kookolo obwali bugenda okumutta, mukkiriza munne oyo yamusindikiranga mesegi ezaalingamu ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi. Elisabet agamba nti: “Bwe nnasomanga mesegi ezo, nnawuliranga essanyu olw’okukimanya nti waalingawo omuntu anfaako, era nnawuliranga nga nziziddwamu amaanyi okusobola okukola ebyo bye nnabanga nnina okukola.”—Nge. 18:24.
Tusobola okunyweza omukwano gwe tulina ne bakkiriza bannaffe nga tubayambako mu bintu ebitali bimu ebikolebwa mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, osobola okuyambako muganda waffe oba mwannyinaffe akaddiye okufuna entambula okusobola okugenda mu nkuŋŋaana oba okubuulira? Bw’okola bw’otyo ajja kukuzzaamu amaanyi, era naawe ojja kumuzzaamu amaanyi. (Bar. 1:12) Kyokka bakkiriza bannaffe abamu tebasobola kuva waka. Tuyinza tutya okubayamba?
YAMBA ABO ABATASOBOLA KUVA WAKA
Abamu ku bakkiriza bannaffe balina obulwadde oba ebizibu ebirala ebitabasobozesa kubeerawo mu nkuŋŋaana mu buntu. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda David yazuulwamu obulwadde bwa kookolo era yamala emyezi mukaaga ng’ajjanjabibwa obulwadde obwo. Ekiseera kyonna kye yamala ng’ajjanjabibwa, ye ne mukyala we Lidia enkuŋŋaana baazifuniranga ku zoom.
Mikwano gyabwe mu kibiina baabayamba batya? Oluvannyuma lwa buli lukuŋŋaana, abamu ku bakkiriza bannaabwe ku Kizimbe ky’Obwakabaka baafubanga okwogerako nabo okuyitira ku zoom. Ate era David ne Lidia bwe baabangako kye baddamu mu nkuŋŋaana, oluvannyuma bakkiriza bannaabwe baabasindikiranga mesegi ezaabangamu ebigambo ebizzaamu amaanyi. Biki ebyavaamu? David ne Lidia baawulira nti bakkiriza bannaabwe baali babaagala.
Oboolyawo tusobola okukola enteekateeka ne tubuulirako wamu n’abo abatasobola kuva waka. Bwe tubaako enkyukakyuka entono ze tukola mu nteekateeka yaffe, tusobola okukiraga nti tetwerabidde abo abatasobola kuva waka. (Nge. 3:27) Oboolyawo tuyinza okufissaayo ekiseera ne tubuulirako nabo nga tuwandiika amabaluwa oba nga tukozesa essimu. Ate era abo abatasobola kuva waka basobola okweyunga ku nkuŋŋaana ez’okugenda okubuulira nga bakozesa essimu. David ne Lidia baasiima nnyo enkola eyo. David agamba nti, “Okubeerawo mu lukuŋŋaana lw’okubuulira mu kibinja kyaffe ne tuwulira ebyo ebyayogerwanga era n’essaala eyasabibwanga, kyatuzzangamu nnyo amaanyi.” Ate era, embeera bwe ziba nga zikusobozesa era nga tekiriimu buzibu bwonna, olumu n’olumu osobola okuleeta omuyizi wa Bayibuli mu maka g’abo abatasobola kuva waka n’omuyigiriza ng’oli wamu nabo.
Bwe tukolera wamu ne bakkiriza bannaffe abatasobola kuva waka ne tulaba engeri zaabwe ennungi, tweyongera okubaagala. Ng’ekyokulabirako, bw’obuulirako wamu ne bakkiriza bannaffe abo n’olaba engeri gye bakozesaamu obulungi Ekigambo kya Katonda okusobola okutuuka ku mutima gw’omuntu, okwagala kw’olina gye bali kweyongera. Bw’oyamba bakkiriza banno okwenyigira mu bintu eby’omwoyo, ofuna emikwano emipya.—2 Kol. 6:13.
Tito yali mukwano gwa Pawulo era yamuyamba nnyo. (2 Kol. 7:5-7) Kirungi okugamba bakkiriza bannaffe ebigambo ebizzaamu amaanyi. Naye ekyokulabirako kya Tito kiraga nti era tusobola okubabudaabuda bwe tufuna ekiseera ne tubeerako wamu nabo era ne tubaako ebintu bye tubakolera okubayamba.—1 Yok. 3:18.
YAMBA BAKKIRIZA BANNO NGA WALIWO OKUYIGGANYIZIBWA
Bakkiriza bannaffe mu Russia batuteereddewo ekyokulabirako ekirungi ennyo mu kuyambagana. Lowooza ku w’oluganda Sergey ne mukyala we, Tatyana. Abasirikale bajja mu maka gaabwe ne batandika okugaaza, era oluvannyuma ne babatwala ku poliisi okubaako ebibuuzo bye bababuuza. Tatyana ye yasooka okuteebwa era n’addayo eka. Sergey agamba nti: “Tatyana olwali okutuuka awaka, mwannyinaffe omu omuvumu yajja okumulaba. Bakkiriza bannaffe abalala bajja ne batuyamba okutereeza ebintu mu nnyumba.”
Sergey agamba nti: “Bulijjo njagala nnyo ebigambo ebiri mu Engero 17:17, awagamba nti: ‘Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ekiseera kyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.’ Ebigambo ebyo byeyongedde okuba eby’amakulu ennyo gye ndi mu kiseera kino eky’okuyigganyizibwa mwe nneetaagira ennyo mikwano gyange okunnyamba. Yakuwa ampadde ab’emikwano abavumu abannyamba.”
Nga tweyongera okufuna ebizibu eby’amaanyi n’okusingawo, twetaaga ab’emikwano okutuyamba. Tujja kubeetaaga nnyo n’okusingawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. N’olwekyo ka tufube okubeera ab’emikwano aba nnamaddala mu kiseera kino!—1 Peet. 4:7, 8.