Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 2

Tendereza Yakuwa mu Kibiina

Tendereza Yakuwa mu Kibiina

“Nja kukutendereza wakati mu kibiina.”​—ZAB. 22:22.

OLUYIMBA 59 Ya Mutendereze Wamu Nange

OMULAMWA *

1. Dawudi yali atwala atya Yakuwa, era ekyo kyamukubiriza kukola ki?

KABAKA DAWUDI yawandiika nti: “Yakuwa mukulu era y’agwanidde okutenderezebwa ennyo.” (Zab. 145:3) Dawudi yali ayagala nnyo Yakuwa era okwagala okwo kwamukubiriza okumutendereza “wakati mu kibiina.” (Zab. 22:22; 40:5) Kya lwatu nti naawe oyagala Yakuwa era okkiriziganya n’ebigambo bya Dawudi bino: “Ai Yakuwa Katonda wa kitaffe Isirayiri, otenderezebwe emirembe n’emirembe.”​—1 Byom. 29:10-13.

2. (a) Tuyinza tutya okutendereza Yakuwa? (b) Kusoomooza ki abamu kwe bafuna, era kiki kye tugenda okusooka okulaba?

2 Engeri emu gye tutenderezaamu Yakuwa leero kwe kubaako bye tuddamu mu nkuŋŋaana zaffe. Kyokka baganda baffe ne bannyinaffe abamu kibazibuwalira okubaako kye baddamu mu nkuŋŋaana. Baagala okubaako kye baddamu naye batya. Kiki ekiyinza okubayamba okuvvuunuka ekizibu ekyo? Era biki ffenna bye tusobola okukola ebisobola okutuyamba okuddamu mu ngeri ezimba? Nga tetunnaddamu bibuuzo ebyo, ka tusooke tulabe ensonga enkulu nnya lwaki tubaako bye tuddamu mu nkuŋŋaana.

ENSONGA LWAKI TUBAAKO BYE TUDDAMU MU NKUŊŊAANA

3-5. (a) Nga bwe kiragibwa mu Abebbulaniya 13:15, lwaki tubaako bye tuddamu mu nkuŋŋaana? (b) Ffenna tulina okuddamu mu ngeri y’emu? Nnyonnyola.

3 Ffenna Yakuwa atuwadde enkizo ey’okumutendereza. (Zab. 119:108) Ebyo bye tuddamu mu nkuŋŋaana bye bimu ku ebyo ebizingirwa mu “ssaddaaka ey’okutendereza” gye tuwaayo eri Yakuwa, era tewali ayinza kutuweerayo ssaddaaka eyo. (Soma Abebbulaniya 13:15.) Yakuwa asuubira buli omu ku ffe okuwaayo ssaddaaka y’emu, oba okuddamu mu ngeri y’emu? Nedda!

4 Yakuwa akimanyi nti tulina obusobozi bwa njawulo era nti n’embeera zaffe zaawukana, era asiima nnyo ssaddaaka ze tuwaayo gy’ali okusinziira ku busobozi bwaffe. Lowooza ku ssaddaaka ez’enjawulo Abayisirayiri ze baawangayo, Yakuwa n’azikkiriza. Abayisirayiri abamu baali basobola okuwaayo endiga oba embuzi. Naye Omuyisirayiri omwavu yabanga asobola okuwaayo “amayiba abiri oba enjiibwa bbiri ento.” Ate watya singa Omuyisirayiri yabanga tasobola kuwaayo bunyonyi obubiri? Yabanga asobola okuwaayo “ekimu eky’ekkumi ekya efa y’obuwunga obutaliimu mpulunguse.” (Leev. 5:7, 11) Obuwunga tebwali bwa bbeeyi, naye Yakuwa yasiimanga ssaddaaka eyo kasita omuntu yawangayo obuwunga obusingayo obulungi.

5 Ne leero Katonda waffe bw’atyo bw’ali. Bwe tubaako bye tuddamu tatusuubira nti ffenna tulina okuba aboogezi abalungi nga Apolo oba nti tulina okwogera mu ngeri esikiriza nga Pawulo. (Bik. 18:24; 26:28) Yakuwa ky’ayagala kwe kuba nti tuddamu ekyo ekisingayo obulungi okusinziira ku busobozi bwaffe. Lowooza ku nnamwandu eyawaayo obusente obubiri. Yali wa muwendo nnyo eri Yakuwa kubanga yawaayo ekyo ekyali kisingayo obulungi okusinziira ku busobozi bwe.​—Luk. 21:1-4.

Bwe tubaako kye tuddamu kituganyula era kiganyula n’abo abatuwuliriza (Laba akatundu 6-7) *

6. (a) Okusinziira ku Abebbulaniya 10:24, 25, ebyo abalala bye baddamu biyinza kutukwatako bitya? (b) Oyinza otya okulaga nti osiima abalala olw’ebyo bye baddamu?

6 Bwe tubaako bye tuddamu tuba tuziŋŋanamu amaanyi. (Soma Abebbulaniya 10:24, 25.) Ffenna tunyumirwa okuwulira eby’okuddamu eby’enjawulo mu nkuŋŋaana zaffe. Tunyumirwa nnyo okuwulira eky’okuddamu ekyangu omwana omuto ky’ayogera mu bwesimbu. Tuzzibwamu amaanyi bwe tuwulira omuntu ng’addamu n’ebbugumu ekintu ekipya kye yayize. Ate era tukwatibwako nnyo bwe tuwulira abo abooleka obuvumu ne babaako bye baddamu wadde nga balina ensonyi oba nga bayiga buyizi olulimi lwaffe. (1 Bas. 2:2) Tuyinza tutya okusiima abantu ng’abo? Enkuŋŋaana nga ziwedde, tusobola okubeebaza olw’ekyo kye bazzeemu. Engeri endala gye tulagamu nti tubasiima naffe kwe kubaako kye tuddamu. Bwe tukola tutyo, tetukoma ku kuzzibwamu maanyi naye naffe tuzzaamu abalala amaanyi.​—Bar. 1:11, 12.

7. Okubaako bye tuddamu mu nkuŋŋaana kituganyula kitya?

7 Bwe tubaako bye tuddamu, ffe kennyini kituganyula. (Is. 48:17) Mu ngeri ki? Ekisooka, bwe tuba n’ekiruubirirwa eky’okubaako kye tuddamu, kituleetera okwetegekera obulungi enkuŋŋaana. Bwe twetegekera obulungi enkuŋŋaana, tweyongera okutegeera obulungi Ekigambo kya Katonda. Ate gye tukoma okutegeera Ekigambo kya Katonda gye kikoma okutwanguyira okukolera ku bye tuyiga. Eky’okubiri, enkuŋŋaana zitunyumira nnyo kubanga tuba twenyigira mu kukubaganya ebirowoozo. Eky’okusatu, olw’okuba kitwetaagisa okufuba okubaako kye tuddamu, emirundi mingi tusigala tukyajjukira ensonga gye tuba twayogerako nga tuddamu ne bwe waba nga wayise ekiseera.

8-9. (a) Nga bwe kiragibwa mu Malaki 3:16, olowooza Yakuwa atwala atya ebyo bye tuddamu? (b) Naye buzibu ki abamu bwe balina?

8 Bwe twatula okukkiriza kwaffe, tusanyusa Yakuwa. Bwe tubaako bye tuddamu mu nkuŋŋaana, Yakuwa awuliriza era asiima nnyo okufuba kwe tuba tutaddemu okusobola okubaako kye tuddamu. (Soma Malaki 3:16.) Era ekyo Yakuwa akyoleka ng’atuwa emikisa kubanga akiraba nti tufuba okumusanyusa.​—Mal. 3:10.

9 Kya lwatu nti tulina ensonga nnyingi ezanditukubirizza okubaako kye tuddamu mu nkuŋŋaana. Wadde kiri kityo, abamu batya okuwanika omukono. Bw’oba nga naawe bw’otyo bw’oli, toggwaamu maanyi. Ka tulabeyo emisingi okuva mu Bayibuli, ebyokulabirako, n’amagezi agasobola okuyamba buli omu ku ffe okwongera okubaako by’addamu mu nkuŋŋaana.

OKWAŊŊANGA EKIZIBU KY’OKUTYA

10. (a) Kutya kwa ngeri ki bangi ku ffe kwe tulina? (b) Bwe kiba nti otya okubaako ky’oddamu, ngeri ki ennungi gy’oyinza okuba ng’olina?

10 Omutima gukutyemuka buli lw’olowooza ku ky’okuwanika omukono obeeko ky’oddamu? Bwe kiba kityo, toli wekka. Ekituufu kiri nti abasinga obungi ku ffe tufunamu okutya bwe tuba nga tuliko kye tuddamu. Naye okusobola okwaŋŋanga ekizibu ky’okutya, oba olina okusooka okumanya ekikuviirako okutya. Kyandiba nti otya nti ojja kwerabira ekyo ky’obadde oyagala okwogera oba nti ojja kuddamu ekintu ekikyamu? Otya nti ekyo ky’onoddamu tekijja kuba kirungi ng’ebyo abalala bye baddamu? Okutya ng’okwo kuyinza okuba nga kwoleka ekintu ekirungi ky’olina. Kuyinza okuba nga kulaga nti oli mwetoowaze era nti otwala abalala nti bakusinga. Yakuwa ayagala engeri eyo. (Zab. 138:6; Baf. 2:3) Kyokka era Yakuwa ayagala omutendereze era ozzeemu bakkiriza banno amaanyi ng’oli mu nkuŋŋaana. (1 Bas. 5:11) Akwagala era ajja kukuyamba okuba omuvumu.

11. Misingi ki egy’omu Byawandiikibwa egisobola okutuyamba?

11 Lowooza ku misingi gya Bayibuli egisobola okutuyamba mu mbeera eyo. Bayibuli egamba nti ffenna tusobya mu bye twogera ne mu ngeri gye tubyogeramu. (Yak. 3:2) Yakuwa tatusuubira kuba nti tutuukiridde era ne bakkiriza bannaffe nabo tebatusuubira kuba nti tutuukiridde. (Zab. 103:12-14) Bakkiriza bannaffe abo baganda baffe era batwagala. (Mak. 10:29, 30; Yok. 13:35) Bakimanyi nti oluusi tulemererwa okuddamu nga bwe twandyagadde.

12-13. Biki bye tuyigira ku Nekkemiya ne Yona?

12 Waliwo ebyokulabirako ebiri mu Bayibuli ebisobola okukuyamba okwaŋŋanga okutya. Lowooza ku Nekkemiya. Yali aweereza mu lubiri lwa kabaka ow’amaanyi. Lumu Nekkemiya yali munyiikaavu olw’okuba yali awulidde nti bbugwe wa Yerusaalemi n’emiryango gyakyo byali mu mbeera mbi nnyo. (Nek. 1:1-4) Lowooza ku kutya kwe yafuna kabaka bwe yamubuuza ensonga lwaki yali munyiikaavu! Amangu ago Nekkemiya yasaba Yakuwa n’alyoka addamu kabaka kye yamubuuza. N’ekyavaamu, kabaka yakola kinene okuyamba abantu ba Katonda. (Nek. 2:1-8) Ate lowooza ku Yona. Yakuwa bwe yamugamba okugenda okwogera eri abantu b’omu Nineeve, Yona yatya nnyo n’akwata ekkubo eddala. (Yon. 1:1-3) Naye Yakuwa yayamba Yona n’asobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe yamuwa. Era ebyo Yona bye yayogera byayamba nnyo abantu b’omu Nineeve. (Yon. 3:5-10) Ebyo bye tusoma ku Nekkemiya bituyamba okukiraba nti kikulu okusaba nga tugenda okubaako kye tuddamu. Ate bye tusoma ku Yona bituyamba okukiraba nti Yakuwa asobola okutuyamba ne bwe tuba nga tutya nnyo. Ekituufu kiri nti okubaako kye tuddamu mu nkuŋŋaana tekitiisa nnyo nga kubuulira bantu ba mu Nineeve.

13 Biki bye tuyinza okukola ebisobola okutuyamba okuddamu mu ngeri ezimba? Ka tulabeyo ebimu ku byo.

14. Lwaki tusaanidde okwetegekera obulungi enkuŋŋaana zaffe, era ddi lwe tuyinza okukikola?

14 Weetegekere bulungi buli lukuŋŋaana. Bwe weeteekateeka nga bukyali era n’otegeka bulungi, kijja kukwanguyira okubaako ky’oddamu. (Nge. 21:5) Kya lwatu nti ffenna tulina enteekateeka za njawulo ez’okwetegekera enkuŋŋaana. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe Eloise ow’emyaka 80, atandika okutegeka Omunaala gw’Omukuumi nga wiiki yaakatandika. Agamba nti, “Nnyumirwa nnyo enkuŋŋaana bwe ntegeka nga bukyali.” Mwannyinaffe Joy, akola omulimu ogw’ekiseera kyonna, afissaawo ekiseera ku Lwomukaaga n’ategeka Omunaala. Agamba nti: “Njagala ntuuke mu lukuŋŋaana ng’ebintu nkyabijjukira bulungi.” Ow’oluganda Ike, aweereza ng’omukadde era nga payoniya agamba nti: “Nkirabye nti kinnyamba nnyo bwe nfunayo obudde obutonotono buli lunaku okubaako kye ntegekako okusinga okutegeka omulundi ogumu okumala ekiseera ekiwanvu.”

15. Oyinza otya okwetegekera obulungi olukuŋŋaana?

15 Biki ebizingirwa mu kwetegekera obulungi olukuŋŋaana? Buli lw’oba ogenda okutandika okutegeka, sooka osabe Yakuwa akuwe omwoyo omutukuvu. (Luk. 11:13; 1 Yok. 5:14) Waayo eddakiika ntonotono oyiteeyite mu kitundu ky’ogenda okutegeka. Weetegereze omutwe gw’ekitundu, emitwe emitono, ebifaananyi, n’obusanduuko. Ng’osoma buli katundu, fuba okusoma ebyawandiikibwa bingi nga bw’osobola ebiri mu katundu ako. Fumiitiriza ku ebyo ebyogerwako mu katundu, era osseeyo nnyo omwoyo ku nsonga z’oyagala okwogerako ng’oddamu. Gy’okoma okutegeka obulungi, gy’okoma okuganyulwa era gye kikoma okukubeerera ekyangu okubaako ky’oddamu.​—2 Kol. 9:6.

16. Bintu ki by’oyinza okukozesa okwetegekera enkuŋŋaana, era obikozesa otya?

16 Bwe kiba kisoboka, kozesa ebintu ebikozesebwa ku kompyuta ebiri mu lulimi lw’otegeera. Yakuwa, ng’ayitira mu kibiina kye atuwadde ebintu ebitali bimu ebikozesebwa ku kompyuta ebisobola okutuyamba okwetegekera enkuŋŋaana. JW Library® app etusobozesa okuwanula ebitabo ne tubissa ku masimu gaffe oba ku kompyuta zaffe. Olwo nno tuba tusobola okusoma oba okuwuliriza ebintu ebyo ekiseera kyonna mu kifo kyonna. Abamu bakozesa JW Library okwesomesa mu kiseera ky’eky’emisana nga bali ku mulimu oba ku ssomero, oba nga bali ku lugendo. Watchtower Library ne Watchtower ONLINE LIBRARYbikifuula kyangu nnyo okunoonyereza ku nsonga ezitali zimu ze tuba twagala okwongera okumanya obulungi.

Biseera ki bye wassaawo okweteekerateekera enkuŋŋaana? (Laba akatundu 14-16) *

17. (a) Lwaki kirungi okutegeka eby’okuddamu ebisukka mu kimu? (b) Kiki kye wayize mu vidiyo Beera Mukwano gwa Yakuwa—Tegeka ky’Onoddamu mu Nkuŋŋaana?

17 Bwe kiba kisoboka, tegeka eby’okuddamu ebisukka mu kimu. Lwaki? Kubanga si buli lw’owanika omukono nti bajja kukulonda. Abalala bayinza okuwanika omukono mu kiseera kye kimu naawe, era oyo akubiriza ayinza okulonda omu ku bo. Okusobola okumalira olukuŋŋaana mu budde, oyo akubiriza ayinza obutalonda buli awanika okubaako ky’ayogera ku nsonga emu. N’olwekyo tonyiiga oba toggwaamu maanyi bwe batakulonda nga bukyali. Bw’otegeka eby’okuddamu ebiwerako, kyangu okufuna akakisa akalala okubaako ky’oddamu. Ekimu ku ebyo by’oyinza okutegeka okuddamu kwe kusoma ekyawandiikibwa. Naye bw’oba osobola, tegeka n’okubaako ky’oddamu ng’okozesa ebigambo byo. *

18. Lwaki kirungi okuddamu mu bufunze?

18 Ddamu mu bufunze. Emirundi egisinga, eby’okuddamu ebisinga okuzzaamu abalala amaanyi biba mu bufunze ate nga byangu okutegeera. N’olwekyo fuba okuddamu mu bumpimpi. Fuba obutasussa butikitiki 30 ng’oddamu. (Nge. 10:19; 15:23) Bwe kiba nti omaze emyaka mingi ng’obaako by’oddamu mu nkuŋŋaana, kikulu nnyo okuddamu mu bumpimpi, kubanga oba oteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi. Bw’owa eby’okuddamu ebiwanvu ennyo era ebitwala eddakiika ennyingi, oyinza okutiisa abalala okuddamu nga balowooza nti tebasobola kuddamu nga ggwe. Ate era bw’oddamu mu bumpimpi, kisobozesa abantu bangi okubaako kye baddamu. Bw’oba nga ggwe osoose okulondebwa okubaako ky’oddamu, kikulu nnyo okuddamu mu ngeri ennyangu, era otuukire ku nsonga. Weewale okwogera ku buli nsonga eri mu katundu. Ensonga enkulu eri mu katundu bw’eba ng’emaze okwogerwako, oyinza okwogera ku nsonga endala eziri mu katundu.​—Laba akasanduuko “ Biki Bye Nnyinza Okwogerako nga Nziramu?

19. Oyo akubiriza ekitundu ayinza atya okukuyamba, naye kiki ky’oba osaanidde okukola?

19 Bw’oba olina ky’oyagala okuddamu mu katundu akamu, tegeeza oyo agenda okukubiriza ekitundu. Ekyo bw’osalawo okukikola, osaanidde omutegeeza nga bukyali, ng’olukuŋŋaana terunnatandika. Akatundu ako bwe bakatuukako, omukono gwo guwanike mu bwangu era guwanike bulungi oyo akubiriza asobole okugulaba.

20. Olukuŋŋaana lw’ekibiina lufaananako lutya n’ekijjulo ky’oliira awamu ne mikwano gyo?

20 Enkuŋŋaana z’ekibiina zitwale ng’ekijjulo ky’oliira awamu ne mikwano gyo. Watya singa abamu ku b’oluganda mu kibiina bategese akabaga naye ne bakusaba naawe obeeko eky’okulya ky’oleeta? Obuvunaanyizibwa obwo wandibututte otya? Mu kusooka ekyo kiyinza okukweraliikirizaamu, naye ofuba okuteekateeka obulungi eky’okulya ekyo, bonna abanaaba ku kabaga ako basobole okukiwoomerwa. Yakuwa, Oyo atuyita mu nkuŋŋaana zaffe, atutegekera emmeeza ejjudde ebintu ebirungi. (Zab. 23:5; Mat. 24:45) Naye era asanyuka nnyo naffe bwe tuleetayo ekirabo ekisingayo obulungi, okusinziira ku busobozi bwaffe. N’olwekyo teekateeka bulungi era weenyigire mu bujjuvu mu nkuŋŋaana. Bw’onookola bw’otyo, tojja kukoma ku kuliira ku mmeeza ya Yakuwa naye era ojja kubaako n’ekirabo ky’ogabana n’ekibiina.

OLUYIMBA 2 Erinnya Lyo Ggwe Yakuwa

^ lup. 5 Okufaananako Dawudi omuwandiisi wa Zabbuli, ffenna twagala Yakuwa era tunyumirwa okumutendereza. Tufuna akakisa okukyoleka nti twagala Katonda bwe tukuŋŋaana mu bibiina byaffe okumusinza. Kyokka abamu ku ffe kituzibuwalira okubaako kye tuddamu mu nkuŋŋaana. Bw’oba olina ekizibu ekyo, ekitundu kino kijja kukuyamba okumanya ensonga lwaki otya okubaako ky’oddamu n’engeri gy’oyinza okuvvuunuka obuzibu obwo.

^ lup. 17 Genda ku jw.org/lg, olabe vidiyo Beera Mukwano gwa Yakuwa​—Tegeka ky’Onoddamu mu Nkuŋŋaana. Genda wansi wa ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI > ABAANA.

^ lup. 63 EKIFAANANYI: Ab’oluganda mu kibiina ekimu nga bawanise emikono basobole okubaako bye baddamu mu lukuŋŋaana lw’okusoma Omunaala gw’Omukuumi.

^ lup. 65 EKIFAANANYI: Abamu ku b’oluganda mu kibiina ekiragiddwa waggulu abaabadde bawanise emikono okubaako bye baddamu mu lukuŋŋaana. Wadde nga buli omu ku bo ali mu mbeera za njawulo, bonna bafunayo akadde okweteekerateekera enkuŋŋaana.