Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1

‘Mugende Mufuule Abantu Abayigirizwa’

‘Mugende Mufuule Abantu Abayigirizwa’

EKYAWANDIIKIBWA KY’OMWAKA 2020: “Mugende mufuule abantu . . .  abayigirizwa, nga mubabatiza.”​—MAT. 28:19.

OLUYIMBA 79 Mubayigirize Basobole Okuba Abanywevu

OMULAMWA *

1-2. Kiki malayika ky’agamba abakazi abagenze ku ntaana mwe baateeka omulambo gwa Yesu, era kiki Yesu ky’agamba abakazi abo?

OLUNAKU lwa Nisaani 16, omwaka gwa 33 E.E. era obudde bwakakya. Waliwo abakazi abatya Katonda abalina ennaku ey’amaanyi abakedde okugenda ku ntaana mwe baagalamiza omulambo gwa Yesu Kristo essaawa nga 36 emabega. Bwe batuuka ku ntaana nga baagala okussa eby’akaloosa ku mulambo gwa Yesu, basanga njereere! Malayika agamba abakazi abo nti Yesu yazuukidde, era n’agattako nti: “Agenda Ggaliraaya. Eyo gye munaamulabira.”​—Mat. 28:1-7; Luk. 23:56; 24:10.

2 Abakazi bwe bava ku ntaana, Yesu abalabikira n’abagamba nti: “Mugende mugambe baganda bange bagende e Ggaliraaya, era eyo gye banandabira.” (Mat. 28:10) Ekintu Yesu ky’asooka okukola nga yaakazuukira kwe kutegeka olukuŋŋaana olwo mw’agenda okusisinkanira abayigirizwa be. Ku lukuŋŋaana olwo, Yesu abawa ebiragiro ebikulu ennyo!

BAANI YESU BE YAWA EKIRAGIRO?

Yesu bwe yasisinkana abatume be awamu n’abayigirizwa be abalala e Ggaliraaya oluvannyuma lw’okuzuukira, yabagamba okugenda ‘okufuula abantu abayigirizwa’ (Laba ekitundu eky’okusoma 1, akatundu 3-4)

3-4. Lwaki tugamba nti ekiragiro eky’okufuula abantu abayigirizwa ekiri mu Matayo 28:19, 20 tekyaweebwa batume bokka? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

3 Soma Matayo 28:16-20. Ku lukuŋŋaana olwo Yesu yalaga omulimu omukulu abayigirizwa be gwe bandikoze mu kyasa ekyasooka era naffe gwe tukola leero. Yesu yagamba nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, . . . nga mubayigiriza okukwata ebintu byonna bye nnabalagira.”

4 Ekiragiro ky’okubuulira Yesu yakiwa abagoberezi be bonna. Teyakiwa batume be abeesigwa 11 bokka. Ekyo tukimanya tutya? Yesu bwe yali awa ekiragiro ekyo, abatume bokka si be baali ku lusozi e Ggaliraaya gye yakiweera. Lwaki tugamba tutyo? Kijjukire nti malayika yagamba abakazi nti: “Eyo [e Ggaliraaya] gye munaamulabira.” N’olwekyo abakazi abeesigwa nabo baaliwo mu lukuŋŋaana olwo. Ate era n’omutume Pawulo yagamba nti Yesu “yalabikira ab’oluganda abasukka mu 500 omulundi gumu.” (1 Kol. 15:6) Ab’oluganda abo yabalabikira wa?

5. Lwaki tugamba nti olukuŋŋaana olwogerwako mu 1 Abakkolinso 15:6 lwe lumu n’olwo olwogerwako mu Matayo 28?

5 Waliwo ensonga kwe tusinziira okugamba nti Pawulo yali ayogera ku lukuŋŋaana olwali mu Ggaliraaya olwogerwako mu Matayo essuula 28. Nsonga ki ezo? Esooka, abayigirizwa ba Yesu abasinga obungi baali Bagaliraaya. N’olwekyo kyali kyangu abantu bangi okukuŋŋaanira ku lusozi mu Ggaliraaya so si mu nnyumba e Yerusaalemi. Ey’okubiri, Yesu yali amaze okusisinkana abatume be 11 mu maka agamu mu Yerusaalemi oluvannyuma lw’okuzuukira. Singa Yesu yali ayagala kulagira batume be bokka okubuulira n’okuyigiriza, ekyo yandibadde akikolera mu Yerusaalemi mu kifo ky’okubagamba bagende e Ggaliraaya awamu n’abakazi era n’abagoberezi be abalala abasisinkane.​—Luk. 24:33, 36.

6. Matayo 28:20 walaga watya nti ekiragiro ky’okufuula abantu abayigirizwa kikwata ne ku kiseera kyaffe, era abantu bagondedde batya ekiragiro ekyo?

6 Weetegereze n’ensonga eno ey’okusatu. Ekiragiro ky’okufuula abantu abayigirizwa Yesu teyakiwa bagoberezi be abaaliwo mu kyasa ekyasooka bokka. Ekyo tukimanya tutya? Yesu bwe yali afundikira ebiragiro bye yawa abagoberezi be yagamba nti: “Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” (Mat. 28:20) Nga Yesu bwe yagamba, leero omulimu gw’okubuulira gukolebwa ku kigero ekya waggulu ennyo. Kirowoozeeko! Buli mwaka abantu nga 300,000 babatizibwa ne bafuuka Abajulirwa ba Yakuwa era abayigirizwa ba Yesu Kristo!

7. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino era lwaki?

7 Abantu bangi abayigirizibwa Bayibuli bakulaakulana ne babatizibwa. Naye abamu ku abo be tuyigiriza Bayibuli kirabika batya okufuuka abayigirizwa. Banyumirwa okuyiga naffe naye tebakulaakulana. Bw’oba ng’olina omuntu gw’oyigiriza Bayibuli, oteekwa okuba ng’oyagala okumuyamba okukolera ku by’ayiga n’okufuuka omugoberezi wa Kristo. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tusobola okutuuka ku mitima gy’abo be tuyigiriza Bayibuli n’engeri gye tusobola okubayamba okukula mu by’omwoyo. Lwaki twetaaga okwogera ku nsonga eno? Kubanga oluusi kiyinza okutwetaagisa okusalawo obanga tusaanidde okweyongera okusoma n’omuntu oba okulekera awo okumusomesa.

BAYAMBE OKWAGALA YAKUWA

8. Lwaki oluusi tekiba kyangu kuyamba bayizi baffe kwagala Yakuwa?

8 Yakuwa ayagala abantu bamuweereze olw’okuba bamwagala. N’olwekyo ekigendererwa kyaffe kwe kuyamba abayizi baffe aba Bayibuli okukitegeera nti Yakuwa abafaako nnyo kinnoomu era nti abaagala nnyo. Twagala tubayambe okutwala Yakuwa nga “Kitaawe w’abatalina bakitaabwe era omukuumi wa bannamwandu.” (Zab. 68:5) Abayizi ba Bayibuli bwe bakitegeera nti Katonda abaagala, bayinza okukwatibwako era okwagala kwe balina gy’ali ne kweyongera. Abayizi ba Bayibuli abamu kiyinza okubazibuwalira okutwala Yakuwa nga Kitaabwe abaagala olw’okuba bataata baabwe tebaabalaga kwagala wadde omukwano. (2 Tim. 3:1, 3) Bw’obo oyigiriza omuntu, fuba okuggumiza engeri za Yakuwa. Abayizi bo bajja kukitegeera nti Katonda waffe ayagala bafune obulamu ogutaggwaawo era nti mwetegefu okubayamba okubufuna. Kiki ekirala kye tusaanidde okukola?

9-10. Butabo ki bwe tusaanidde okukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli era lwaki?

9 Kozesa obutabo “Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?” ne “Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda.” Obutabo obwo bwawandiikibwa mu ngeri eyamba omuyizi okwagala Katonda. Ng’ekyokulabirako, essuula 1 ey’akatabo Bye Tuyiga eddamu ebibuuzo bino: Katonda atufaako oba talina kisa?, Katonda awulira atya ng’abantu babonaabona?, ne Osobola okubeera mukwano gwa yakuwa? Ate akatabo Okusigala mu Kwagala kwa Katonda? Kayamba omuyizi okumanya engeri gy’asobola okukolera ku misingi gya Bayibuli ne kimuyamba okutereeza obulamu bwe n’okwongera okusemberera Yakuwa. Ne bw’oba ng’obutabo obwo obusomesezza abantu abawera, osaanidde okutegeka buli lw’oba ogenda okuyigiriza omuyizi osobole okutuukana n’ebyetaago bye.

10 Naye singa omuyizi alina ky’ayagala okumanya ekyogerwako mu kitabo ekitali kimu ku Ebyo Bye Tukozesa Okuyigiriza. Oboolyawo oyinza okumukubiriza okwesomera ekitabo ekyo ku lulwe n’ogenda mu maaso okumuyigiriza Bayibuli ng’okozesa akamu ku butabo obwo bwe twogeddeko waggulu.

Bw’oba ogenda okusoma n’omuntu, ggulawo n’okusaba (Laba akatundu 11)

11. Ddi lwe tusaanidde okutandika era n’okuggalawo n’okusaba, era tuyinza tutya okuyamba omuyizi okukimanya nti kikulu?

11 Bw’oba ogenda kuyigiriza omuntu tandika n’okusaba. Okutwalira awamu kikulu okusooka okusaba ng’ogenda kutandika okuyigiriza omuntu era n’okuggalawo n’okusaba ng’omaze okumuyigiriza. Kirungi ekyo okukikola amangu ddala oboolyawo nga waakayita ekiseera kitono ng’otandise okuyiga n’omuntu obutayosa. Tulina okuyamba omuyizi okukimanya nti omwoyo gwa Katonda gwe gutuyamba okutegeera Ekigambo kye. Ababuulizi abamu bannyonnyola omuyizi obukulu bw’okusaba nga basoma Yakobo 1:5, awagamba nti: “Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi, asabenga Katonda.” Oluvannyuma omubuulizi abuuza omuyizi nti, “Tuyinza tutya okusaba Katonda amagezi?” Omuyizi ayinza okuddamu nti okuyitira mu ssaala ze tusaba.

12. Oyinza otya okukozesa Zabbuli 139:2-4 okuyamba omuyizi okulongoosa mu ssaala ze?

12 Yigiriza omuyizi wo okusaba. Mukakase nti Yakuwa ayagala okuwulira essaala z’asaba mu bwesimbu. Munnyonnyole nti bwe tuba tusaba Yakuwa tusobola okumweyabiza ne tumubuulira ebintu bye tutayinza na kubuulira muntu yenna. Kijjukire nti Yakuwa amanyi n’ebituli ku mutima. (Soma Zabbuli 139:2-4.) Ate era tuyinza okukubiriza omuyizi asabe Yakuwa amuyambe okutereeza endowooza enkyamu gy’aba alina oba omuze gw’aba alina. Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti omuntu gw’omaze ebbanga ng’oyigiriza Bayibuli anyumirwa okukuza olumu ku nnaku ezaasibuka mu bakaafiiri. Akimanyi nti kikyamu, naye anyumirwa ebimu ku bintu ebikolebwa ku lunaku olwo. Mukubirize ekyo okukitegeeza Yakuwa era mugambe amusabe amuyambe okwagala ebyo Yakuwa by’ayagala.​—Zab. 97:10.

Yita abayizi bo bajje mu nkuŋŋaana (Laba akatundu 13)

13. (a) Lwaki tusaanidde okuyita abayizi baffe aba Bayibuli okujja mu nkuŋŋaana amangu ddala nga bwe kisoboka? (b) Tuyinza tutya okuyamba omuyizi waffe obutaba ku bunkenke ng’azze mu nkuŋŋaana?

13 Yita omuyizi wo okujja mu nkuŋŋaana amangu ddala nga bwe kisoboka. Ebyo omuyizi wo by’awulira ne by’alaba mu nkuŋŋaana biyinza okukwata ku mutima gwe ne bimuyamba okukulaakulana. Mulage vidiyo Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall?, era omugambe nti bw’aba ayagala ajje naawe mu nkuŋŋaana. Bwe kiba kisoboka oyinza okumugamba okumufunira entambula. Kiba kirungi okugenda n’ababuulizi ab’enjawulo okuyigiriza omuntu. Mu ngeri eyo omuyizi wo ajja kumanya abantu ab’enjawulo mu kibiina era ekyo kiyinza okumuyamba obutaba ku bunkenke ng’azze mu nkuŋŋaana.

YAMBA OMUYIZI OKUKULA MU BY’OMWOYO

14. Kiki ekiyinza okuyamba omuyizi okukula mu by’omwoyo?

14 Ekigendererwa kyaffe kwe kuyamba omuyizi wa Bayibuli okukula mu by’omwoyo. (Bef. 4:13) Omuntu bw’akkiriza okuyigirizibwa Bayibuli, ayinza okuba ng’okusingira ddala ayagala kulaba engeri ekyo gye kimuganyulamu ng’omuntu. Naye okwagala kw’alina eri Yakuwa bwe kugenda kukula, ayinza okutandika okulowooza ku ngeri gy’ayinza okuyambamu abalala nga mwe muli n’abo abali mu kibiina. (Mat. 22:37-39) Ekiseera ekituufu bwe kituuka tolonzalonza kumubuulira ku nkizo ey’okuwagira omulimu gw’Obwakabaka mu by’ensimbi.

Yamba abayizi bo okumanya kye basaanidde okukola nga bafunye ebizibu (Laba akatundu 15)

15. Tuyinza tutya okuyamba omuyizi okumanya eky’okukola ng’afunye ebizibu?

15 Yamba omuyizi wo okumanya eky’okukola ng’afunye ekizibu. Ng’ekyokulabirako, watya singa omuyizi wo, omubuulizi atali mubatize, akugamba nti waliwo mu kibiina amuyisizza obubi? Mu kifo ky’okwekubira ku ludda lwe, muyambe okumanya ekyo Bayibuli ky’emugamba okukola mu mbeera eyo. Asobola okusonyiwa oyo amuyisizza obubi, oba bw’aba nga tasobola kukibuusa maaso, asobola okumutuukirira n’ayogerako naye kyokka mu ngeri ey’ekisa ng’alina ekigendererwa ‘eky’okukomyawo muganda we.’ (Geraageranya Matayo 18:15.) Yamba omuyizi wo okuteekateeka by’anaayogera. Muyigirize engeri y’okukozesaamu JW Library®, Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, n’omukutu gwaffe ogwa jw.org® asobole okumanya engeri y’okugonjoolamu ebizibu. Bw’atendekebwa obulungi nga tannabatizibwa, kijja kumuyamba okukolagana obulungi n’abalala mu kibiina n’oluvannyuma lw’okubatizibwa.

16. Birungi ki ebiri mu kugenda n’ababuulizi ab’enjawulo okuyigiriza omuyizi wo?

16 Genda n’abalala mu kibiina, oba n’omulabirizi w’ekitundu bw’aba ng’akyalidde, okuyigiriza omuyizi wo. Lwaki? Ng’oggyeeko ensonga ezoogeddwako waggulu, ababuulizi abalala bayinza okuyamba omuyizi wo mu ngeri gwe gy’otosobola kumuyambamu. Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti omuyizi wo agezezzaako enfunda n’enfunda okwekutula ku muze gw’okunywa ssigala naye ng’akyalemeddwa. Gamba omubuulizi eyavvuunuka omuze ogwo, oboolyawo oluvannyuma lw’okugezaako enfunda n’enfunda ng’alemererwa, agende naawe okuyigiriza omuyizi oyo. Omubuulizi oyo ayinza okuwa omuyizi oyo amagezi aganaamuyamba. Bw’oba ng’owulira otya okuyigiriza omuntu Bayibuli nga waliwo omubuulizi alina obumanyirivu, mugambe ye y’aba ayigiriza omuntu oyo nga ggwe owuliriza. Bw’ogenda n’abalala okuyigiriza omuntu Bayibuli, omuyizi wo aganyulwa nnyo. Kijjukire nti ekiruubirirwa kyaffe kwe kuyamba omuyizi okukula mu by’omwoyo.

NDEKERE AWO OKUMUYIGIRIZA?

17-18. Kiki ky’osaanidde okulowoozaako nga tonnasalawo kulekera awo kuyigiriza muntu?

17 Omuyizi wo bw’aba nga takulaakulana oyinza okutuuka ekiseera ne weebuuza nti, ‘Ndekere awo okumuyigiriza?’ Nga tonnasalawo, osaanidde okusooka okulowooza ku busobozi bwe. Abantu abamu kibatwalira ekiseera kiwanvu okukulaakulana okusinga abalala. Weebuuze: ‘Okusinziira ku mbeera y’omuyizi wange, akulaakulana ku kigero ekisaana?’ ‘Atandise “okukwata,” oba okukolera ku bintu by’ayiga?’ (Mat. 28:20) Omuyizi ayinza okukulaakulana empola, naye asaanidde okugenda ng’akola enkyukakyuka.

18 Naye watya singa osomye n’omuntu okumala ekiseera naye ng’okiraba nti by’ayiga tabitwala ng’ebikulu? Lowooza ku mbeera eno: Omuyizi wo amazeeko akatabo Bye Tuyiga era oboolyawo ng’otandise okumuyigiriza akatabo Okusigala mu Kwagala kwa Katonda, naye nga tajjangako mu lukuŋŋaana na lumu wadde olw’Ekijjukizo! Ate era atera okusazaamu okusoma olw’ensonga ezitaliimu. Mu mbeera ng’eyo, osaanidde okutuula n’oyogerako naye. *

19. Kiki ky’oyinza okugamba omuntu alabika ng’atasiima by’ayiga era kiki ky’osaanidde okulowoozaako?

19 Oyinza okubuuza omuyizi nti, ‘Kiki ky’olaba ekisinga okukifuula ekizibu gy’oli okufuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa?’ Omuyizi ayinza okuddamu nti, ‘Eky’okunjigiriza kyo nkyagala, naye sisobola kufuuka Mujulirwa wa Yakuwa!’ Bw’aba ng’eyo ye ndowooza gy’alina oluvannyuma lw’okuyigira ebbanga, tekigasa kweyongera kumuyigiriza. Ku luuyi olulala, ayinza okukubuulira ekimulemesa ky’obadde tomanyi. Ng’ekyokulabirako, ayinza okukugamba nti awulira tasobola kubuulira nnyumba ku nnyumba. Oluvannyuma lw’okumanya ekimulemesa, osobola okumuyamba.

Tosomesa bantu abatakulaakulana (Laba akatundu 20)

20. Ebikolwa 13:48 watuyamba watya okusalawo baani be tusaanidde okweyongera okuyigiriza Bayibuli?

20 Eky’ennaku, abantu abamu balinga Abayisirayiri abaaliwo mu kiseera kya Ezeekyeri. Bwe yali aboogerako, Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti: “Laba! Gye bali olinga oluyimba olw’omukwano oluyimbibwa mu ddoboozi eddungi, era nga lukubirwako ekivuga eky’enkoba mu ngeri ey’obukugu. Bajja kuwulira ebigambo byo, naye tewali n’omu ajja kubikolerako.” (Ezk. 33:32) Kiyinza okutubeerera ekizibu okugamba omuntu nti tugenda kulekera awo okumuyigiriza. Naye, “ekiseera ekisigaddeyo kitono.” (1 Kol. 7:29) Mu kifo ky’okumala ebiseera nga tuyigiriza omuntu atakulaakulana, tusaanidde okunoonya abantu abakyoleka nti ‘balina endowooza ennuŋŋamu enaabasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.’​—Soma Ebikolwa 13:48.

Wayinza okubaayo abalala mu kitundu mw’obuulira abasaba Katonda abayambe okumutegeera (Laba akatundu 20)

21. Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2020 kigamba kitya, era kinaatuyamba kukola ki?

21 Mu mwaka gwa 2020, ekyawandiikibwa ky’omwaka kijja kutuyamba okwongera okulongoosa mu ngeri gye tukolamu omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa. Kirimu ebimu ku bigambo Yesu bye yayogera mu lukuŋŋaana olwali ku lusozi mu Ggaliraaya. Kigamba nti: “Mugende mufuule abantu . . .  abayigirizwa, nga mubabatiza.”​Mat. 28:19.

Ka tufube okulongoosa mu ngeri gye tukolamu omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa n’okuyamba abayizi baffe okukulaakulana batuuke okubatizibwa (Laba akatundu 21)

OLUYIMBA 70 Noonya Abagwanira

^ lup. 5 Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2020 kitukubiriza ‘okufuula abantu abayigirizwa.’ Abaweereza ba Yakuwa bonna balina okugondera ekiragiro ekyo. Tuyinza tutya okutuuka ku mitima gy’abantu be tuyigiriza Bayibuli basobole okufuuka abayigirizwa ba Kristo? Ekitundu kino kigenda kulaga engeri gye tuyinza okuyamba abayizi baffe aba Bayibuli okweyongera okusemberera Yakuwa. Era kigenda kulaga engeri gye tuyinza okumanyamu obanga twandyeyongedde okuyigiriza omuntu oba okulekera awo okumuyigiriza.