Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 5

“Okwagala kwa Kristo Kutusindiikiriza”

“Okwagala kwa Kristo Kutusindiikiriza”

“Okwagala kwa Kristo kutusindiikiriza . . . abo abalamu baleme okuba abalamu nate ku lwabwe.”​—2 KOL. 5:14, 15.

OLUYIMBA 13 Kristo, Ekyokulabirako Kyaffe

OMULAMWA a

1-2. (a) Tuwulira tutya bwe tufumiitiriza ku bulamu bwa Yesu ne ku buweereza bwe? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

 KITUNAKUWAZA nnyo bwe tufiirwa omuntu gwe twagala ennyo! Tuwulira obulumi bwa maanyi bwe tulowooza ku ebyo ebyaliwo mu nnaku ezaasembayo nga tannafa, naddala singa omuntu waffe oyo yali mu bulumi bwa maanyi nga tannafa. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera, tuyinza okutandika okuwulira essanyu bwe tulowooza ku bintu bye yatuyigiriza, n’ebyo bye yakola oba bye yayogera ebyatuzzaamu amaanyi oba ebyatusanyusa.

2 Mu ngeri y’emu, kitunakuwaza bwe tusoma ku ngeri Yesu gye yabonyaabonyezebwamu era n’attibwa. Okusingira ddala, mu kiseera ky’ekijjukizo tuwaayo obudde okufumiitiriza ku bukulu bwa ssaddaaka gye yawaayo. (1 Kol. 11:24, 25) Kyokka, kitusanyusa nnyo bwe tufumiitiriza ku ebyo Yesu bye yayogera ne bye yakola ng’ali ku nsi. Ate era kituzzaamu amaanyi bwe tulowooza ku ebyo by’akola kati, n’ebyo by’ajja okutukolera mu biseera eby’omu maaso. Nga bwe tugenda okulaba mu kitundu kino, okufumiitiriza ku bintu ebyo awamu ne ku kwagala Yesu kwe yatulaga kijja kutuleetera okubaako kye tukolawo okulaga nti tusiima.

OKUSIIMA KUTULEETERA OKWAGALA OKUGOBERERA YESU

3. Biki ebituleetera okusiima ennyo ekinunulo?

3 Tukwatibwako nnyo bwe tufumiitiriza ku bulamu bwa Yesu Kristo ne ku kufa kwe. Mu buweereza bwe ku nsi, yabuulira abantu ebintu ebirungi Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okukola. Tusiima nnyo ebintu ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okutukolera. Era tusiima nnyo ekinunulo kubanga kitusobozesa okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa awamu ne Yesu. Ate era abo abakkiririza mu Yesu balina essuubi ery’okuba abalamu emirembe gyonna, n’okuddamu okulaba abantu baabwe abaafa. (Yok. 5:28, 29; Bar. 6:23) Tewali kintu kyonna kye tukoze kitugwanyiza kufuna mikisa egyo, era tewali kye tusobola kusasula Katonda ne Kristo olw’ekyo kye baatukolera. (Bar. 5:8, 20, 21) Naye tusobola okulaga nti tusiima nnyo ekyo kye baatukolera. Ekyo tuyinza kukikola tutya?

Okufumiitiriza ku kyokulabirako kya Maliyamu Magudaleena kiyinza kitya okukuyamba okwoleka okusiima? (Laba akatundu 4-5)

4. Maliyamu Magudaleena yalaga atya nti yasiima ekyo Yesu kye yali amukoledde? (Laba ekifaananyi.)

4 Lowooza ku mukyala Omuyudaaya eyali ayitibwa Maliyamu Magudaleena. Yali mu mbeera mbi nnyo ng’atawaanyizibwa dayimooni musanvu. Ayinza okuba nga yali alowooza nti tewali muntu yenna yali asobola kumuyamba. Kati lowooza ku ssanyu lye yafuna Yesu bwe yamugobaako dayimooni ezo! Olw’okuba yasiima nnyo ekyo Yesu kye yamukolera, yafuuka omugoberezi we era n’akozesa ebiseera bye, amaanyi ge, n’ebintu bye okumuyamba mu buweereza bwe. (Luk. 8:1-3) Wadde nga Maliyamu yasiima nnyo ekyo Yesu kye yamukolera, ayinza okuba nga yali tamanyi nti Yesu yali ajja kumukolera ebisinga ne ku ekyo mu biseera eby’omu maaso. Yesu yali agenda kuwaayo obulamu bwe ku lw’abantu bonna, kisobozese “buli muntu yenna amukkiririzaamu” okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yok. 3:16) Ate era Maliyamu yalaga nti yasiima ekyo Yesu kye yamukolera ng’amunywererako. Yesu bwe yali ku muti ogw’okubonaabona era ng’ali mu bulimu obw’amaanyi, Maliyamu yayimirira awo kumpi okumubudaabuda n’okubudaabuda abalala abaaliwo. (Yok. 19:25) Yesu bwe yamala okufa, Maliyamu n’abakazi abalala babiri baaleeta eby’akaloosa okubiteeka ku mulambo gwe. (Mak. 16:1, 2) Maliyamu yafuna emikisa olw’okunywerera ku Yesu. Yafuna essanyu lingi Yesu bwe yamulabikira ng’azuukiziddwa era n’ayogera naye. Enkizo eyo abayigirizwa ba Yesu abasinga obungi tebaagifuna.​—Yok. 20:11-18.

5. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ebyo Yakuwa ne Yesu bye batukoledde?

5 Naffe tusobola okulaga nti tusiima ebyo Yakuwa ne Yesu bye batukoledde nga tukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, ne ssente zaffe okuwagira emirimu gy’Obwakabaka. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuyambako mu kuzimba awamu n’okuddaabiriza ebizimbe mwe tusinziza.

OKWAGALA KWE TULINA ERI YAKUWA NE YESU KUTULEETERA OKWAGALA ABALALA

6. Lwaki tuyinza okugamba nti ekinunulo kirabo Yakuwa kye yatuwa kinnoomu?

6 Bwe tufumiitiriza ku kwagala Yakuwa ne Yesu kwe batulaga, kituleetera naffe okubaagala. (1 Yok. 4:10, 19) Tweyongera okubaagala bwe tukimanya nti Yesu yatufiirira kinnoomu. Ekyo omutume Pawulo yali akimanyi era yalaga nti asiima, bwe yawandiikira Abaggalatiya nti: ‘Omwana wa Katonda yanjagala ne yeewaayo ku lwange.’ (Bag. 2:20) Ng’ayitira mu kinunulo, Yakuwa akusembezza gy’ali osobole okuba mukwano gwe. (Yok. 6:44) Tekikusanyusa nnyo okukimanya nti Yakuwa yakulabamu ebirungi era nti yawaayo ekinunulo osobole okuba mukwano gwe? Tekikuleetera kweyongera kwagala Yakuwa ne Yesu? Kirungi okwebuuza nti, ‘Okwagala okwo kunansindiikiriza kukola ki?’

Okwagala kwe tulina eri Yakuwa ne Yesu kutuleetera okubuulira abalala amawulire amalungi (Laba akatundu 7)

7. Nga bwe kiragibwa mu kifaananyi, ffenna tuyinza tutya okukyoleka nti twagala Yakuwa ne Yesu? (2 Abakkolinso 5:14, 15; 6:1, 2)

7 Okwagala kwe tulina eri Yakuwa ne Yesu kutuleetera okulaga abalala okwagala. (Soma 2 Abakkolinso 5:14, 15; 6:1, 2.) Engeri emu gye tuyinza okulagamu okwagala okwo kwe kuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Tusaanidde okubuulira buli muntu gwe tusanga. Tetusaanidde kusosola muntu yenna olw’eggwanga lye, embeera ye ey’eby’enfuna, oba olw’embeera gye yakuliramu. Bwe tubuulira buli muntu gwe tusanga, tuba tukola Yakuwa ky’ayagala, kubanga ayagala “abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.”​—1 Tim. 2:4.

8. Tuyinza tutya okulaga bakkiriza bannaffe okwagala?

8 Engeri endala gye tuyinza okukiragamu nti twagala Yakuwa ne Yesu kwe kulaga bakkiriza bannaffe okwagala. (1 Yok. 4:21) Tusaanidde okubafaako era n’okubayamba nga balina ebizibu. Ate era tusaanidde okubabudaabuda nga bafiiriddwa omuntu waabwe, okubakyalira nga balwadde, n’okukola kyonna kye tusobola okubazzaamu amaanyi. (2 Kol. 1:3-7; 1 Bas. 5:11, 14) Ate era tusaanidde okubasabira nga tukijjukira nti “okusaba kw’omutuukirivu kulina amaanyi mangi.”​—Yak. 5:16.

9. Ngeri ki endala gye tuyinza okulagamu baganda baffe ne bannyinaffe okwagala?

9 Ate era, tukiraga nti twagala baganda baffe ne bannyinaffe nga tufuba okuba mu mirembe nabo. Tusaanidde okukoppa Yakuwa nga tusonyiwa abalala. Bwe kiba nti Yakuwa yawaayo omwana we okutufiirira, tetwandibadde beetegefu kusonyiwa bakkiriza bannaffe bwe batusobya? Tetusaanidde kuba ng’omuddu omubi Yesu gwe yayogerako mu lugero. N’oluvannyuma lwa mukama we okumusonyiwa ebbanja eddene, omuddu oyo omubi yagaana okusonyiwa muddu munne gwe yali abanja obusente obutono. (Mat. 18:23-35) Bw’oba ng’olina obutakkaanya n’omu ku bakkiriza banno mu kibiina, baako ky’okolawo okuzzaawo emirembe ng’Ekijjukizo tekinnatuuka. (Mat. 5:23, 24) Bw’onookola bw’otyo, kijja kulaga nti oyagala nnyo Yakuwa ne Yesu. 

10-11. Abakadde bayinza batya okukiraga nti baagala nnyo Yakuwa ne Yesu? (1 Peetero 5:1, 2)

10 Abakadde bayinza batya okukiraga nti baagala nnyo Yakuwa ne Yesu? Engeri emu enkulu gye basobola okukikolamu kwe kufaayo ku ndiga za Yesu. (Soma 1 Peetero 5:1, 2.) Ekyo Yesu yayamba omutume Peetero okukitegeera. Oluvannyuma lw’okwegaana Yesu emirundi esatu, Peetero ayinza okuba nga yali ayagala okubaako ky’akolawo okukiraga nti ayagala nnyo Yesu. Yesu bwe yamala okuzuukira, yabuuza Peetero nti: “Simooni mutabani wa Yokaana, onjagala?” Kya lwatu Peetero yali mwetegefu okukola kyonna ky’asobola okulaga Mukama we nti yali amwagala. Yesu yagamba Peetero nti: “Liisanga endiga zange.” (Yok. 21:15-17) Okuva ku olwo, Peetero yafangayo nnyo ku ndiga za Mukama we, bw’atyo n’akiraga nti yali ayagala nnyo Yesu.

11 Abakadde, mu kiseera ky’Ekijjukizo muyinza mutya okukiraga nti ebigambo Yesu bye yagamba Peetero bikulu nnyo gye muli? Musobola okukiraga nti mwagala nnyo Yakuwa ne Yesu nga mufuba okukyalira Bakristaayo bannammwe ne mubazzaamu amaanyi, era nga mufuba okukola kyonna kye musobola okuyamba abo abaggwaamu amaanyi okukomawo eri Yakuwa. (Ezk. 34:11, 12) Ate era musaanidde okufaayo ku bayizi ba Bayibuli awamu n’abapya abanajja ku mukolo gw’Ekijjukizo nga mubaaniriza n’essanyu.

OKWAGALA KWE TULINA ERI KRISTO KUTULEETERA OKUBA ABAVUMU

12. Lwaki okufumiitiriza ku bigambo Yesu bye yayogera mu kiro ekyasembayo alyoke attibwe kituyamba okuba abavumu? (Yokaana 16:32, 33)

12 Mu kiro ekyasembayo amale attibwe, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mujja kuba n’ennaku mu nsi, naye mugume! Nze mpangudde ensi.” (Soma Yokaana 16:32, 33.) Kiki ekyayamba Yesu okuba omuvumu ng’abalabe be bamutiisatiisa, era n’okusigala nga mwesigwa okutuukira ddala okufa? Yeesiga Yakuwa. Olw’okuba Yesu yali akimanyi nti abayigirizwa be bandyolekaganye n’ebigezo bye bimu, yasaba kitaawe abakuume. (Yok. 17:11) Lwaki kino kituyamba okuba abavumu? Kubanga Yakuwa wa maanyi nnyo okusinga abalabe baffe bonna. (1 Yok. 4:4) Ate era alaba buli kimu. Tuli bakakafu nti bwe twesiga Yakuwa, tusobola okuggwaamu okutya ne tuba bavumu.

13. Yusufu ow’e Alimasaya yayoleka atya obuvumu?

13 Lowooza ku Yusufu ow’e Alimasaya. Abayudaaya baali bamussaamu nnyo ekitiibwa. Yali omu ku abo abaali ku Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya. Naye mu kiseera ky’obuweereza bwa Yesu ku nsi, Yusufu teyali muvumu. Yokaana yagamba nti Yusufu yali muyigirizwa wa Yesu, “naye nga wa mu kyama olw’okuba yali atya Abayudaaya.” (Yok. 19:38) Wadde nga Yusufu yali ayagala obubaka bw’Obwakabaka, yali tayagala balala bamanye nti yali akkiririza mu Yesu. Ayinza okuba nga yali atya nti abantu bandirekedde awo okumussaamu ekitiibwa. Ka kibe nti bwe kityo bwe kyali oba nedda, Bayibuli egamba nti oluvannyuma lwa Yesu okufa, Yusufu “yafuna obuvumu n’agenda ewa Piraato n’amusaba omulambo gwa Yesu.” (Mak. 15:42, 43) Bw’atyo Yusufu yakyoleka mu lwatu nti yali muyigirizwa wa Yesu.

14. Kiki ky’osaanidde okukola bw’oba ng’olina ekizibu ky’okutya abantu?

14 Okufaananako Yusufu, naawe oluusi otya abantu? Bw’oba ku ssomero oba ku mulimu, oluusi otya abalala okukimanya nti oli Mujulirwa wa Yakuwa? Otya okufuuka omubuulizi oba okubatizibwa olw’okuba otya ekyo abalala kye banaakulowooleza? Tokkiriza kutya okwo kukulemesa kukola ky’omanyi nti kye kituufu. Saba Yakuwa akuwe obuvumu osobole okukola by’ayagala. Bw’onoolaba engeri Yakuwa gy’addamu okusaba kwo, ojja kweyongera okuba omuvumu.​—Is. 41:10, 13.

ESSANYU LITUYAMBA OKUWEEREZA YAKUWA AWATALI KUDDIRIRA

15. Oluvannyuma lwa Yesu okulabikira abayigirizwa be, essanyu lye baafuna lyabaleetera kukola ki? (Lukka 24:52, 53)

15 Yesu bwe yafa, abayigirizwa be baanakuwala nnyo. Ng’oggyeeko okuba nti baali bafiiriddwa mukwano gwabwe, baawulira nga tebakyalina ssuubi. (Luk. 24:17-21) Kyokka Yesu bwe yabalabikira, yabayamba okutegeera engeri obunnabbi bwa Bayibuli gye bwatuukiriramu okuyitira mu ye. Yabawa n’omulimu omukulu ennyo ogw’okukola. (Luk. 24:26, 27, 45-48) Yesu we yaddirayo mu ggulu nga wayiseewo ennaku 40, ennaku yali abaweddeko era kyabasanyusa nnyo okukimanya nti Mukama waabwe yali mulamu, era ng’agenda okubayamba okutuukiriza omulimu gwe yali abawadde. Essanyu eryo lyabaleetera okutendereza Yakuwa awatali kuddirira.​—Soma Lukka 24:52, 53; Bik. 5:42.

16. Tuyinza tutya okukoppa abayigirizwa ba Yesu?

16 Tuyinza tutya okukoppa abayigirizwa ba Yesu? Tusobola okufuna essanyu mu kuweereza Yakuwa, si mu kiseera ky’Ekijjukizo kyokka, wabula mu mwaka gwonna. Ekyo kitwetaagisa okukulembeza Obwakabaka bwa Katonda mu bulamu bwaffe. Ng’ekyokulabirako, abamu bakendeezezza ku budde bwe bamala ku mirimu gyabwe basobole okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, okubaawo mu nkuŋŋaana, n’okuba n’okusinza kw’amaka obutayosa. Ate abamu beerekerezza ebintu ebimu abalala bye batwala ng’ebikulu basobole okwenyigira mu mirimu gy’ekibiina oba okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Wadde nga kitwetaagisa okugumiikiriza okusobola okweyongera okuweereza Yakuwa, atusuubiza okutuwa emikisa mingi bwe tunaakulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe.​—Nge. 10:22; Mat. 6:32, 33.

Mu kiseera ky’Ekijjukizo, fumiitiriza ku ebyo Yakuwa ne Yesu bye bakukoledde (Laba akatundu 17)

17. Kiki ky’omaliridde okukola mu kiseera ky’Ekijjukizo? (Laba ekifaananyi.)

17 Twesunga okukwata omukolo gw’Ekijjukizo ku Lwokubiri, nga Apuli 4. Naye tolinda kiseera ekyo kumala kutuuka olyoke otandike okufumiitiriza ku bulamu bwa Yesu ne ku kufa kwe, era ne ku kwagala Yakuwa ne Yesu kwe baatulaga. Fuba okufumiitiriza ku bintu ebyo mu kiseera ky’Ekijjukizo. Ng’ekyokulabirako, osobola okufissaayo akadde okufumiitiriza ku ebyo ebiri mu kipande ekirina omutwe, “Ebyaliwo nga Yesu Anaatera Okuttibwa” ekiri mu Ebyongerezeddwako B12 mu Enkyusa ey’Ensi Empya. Ng’osoma ku bintu ebyo, noonya ebyawandiikibwa ebinaakuyamba okweyongera okusiima ekyo Yakuwa ne Yesu kye baakukolera, okwoleka okwagala, okuba omuvumu, n’okufuna essanyu. Oluvannyuma lowooza ku ngeri gy’oyinza okwoleka okusiima okwo. Beera mukakafu nti Yesu ajja kusiima ebyo byonna by’onookola okumujjukira mu kiseera ky’Ekijjukizo.​—Kub. 2:19.

OLUYIMBA 17 “Njagala”

a Mu kiseera ky’ekijjukizo tukubirizibwa okufumiitiriza ennyo ku bulamu bwa Yesu ne ku kufa kwe, era ne ku kwagala ye ne Kitaawe kwe baatulaga. Bwe tukola bwe tutyo, kituleetera okubaako kye tukolawo. Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebintu bye tusobola okukola okulaga nti tusiima ekinunulo era nti twagala nnyo Yakuwa ne Yesu. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okweyongera okwagala bakkiriza bannaffe, okuba abavumu, n’okufuna essanyu mu buweereza.