Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Mukaabire Wamu n’Abo Abakaaba”

“Mukaabire Wamu n’Abo Abakaaba”

“Muzziŋŋanengamu amaanyi era muzimbaganenga.”1 BAS. 5:11.

ENNYIMBA: 121, 75

1, 2. Lwaki kikulu okumanya engeri gye tusobola okubudaabudamu abantu abafiiriddwa? (Laba ekifaananyi waggulu.)

MWANNYINAFFE ayitibwa Susi agamba nti: “Wadde nga waali wayise omwaka mulamba bukya tufiirwa mutabani waffe, twali tukyawulira obulumi obw’amaanyi.” Ow’oluganda eyafiirwa mukyala we embagirawo yagamba nti yawulira “obulumi obutagambika.” Waliwo abaweereza ba Katonda bangi aboolekaganye n’embeera ng’eyo. Bangi baali tebasuubira kufiirwa bantu baabwe nga Amagedoni tannatuuka. K’obe nga wafiirwa omuntu wo oba ng’olina gw’omanyi eyafiirwa omuntu we, oyinza okwebuuza, ‘Abo abafiiriddwa bayinza batya okubudaabudibwa?’

2 Abantu abamu bagamba nti ekiseera bwe kigenda kiyitawo, obulumi omuntu bw’aba nabwo buvaawo. Naye ekiseera okuyitawo ku bwakyo kye kisobozesa obulumi omuntu bw’aba alina okuvaawo? Nnamwandu omu agamba nti, “Nkirabye nti omuntu by’akola ng’ekiseera kigenda kiyitawo bye bimusobozesa okuwona obulumi bw’alina.” Okufaananako ekiwundu ekiba ku mubiri, obulumi bwe tuba nabwo ku mutima busobola okugenda nga bukendeera singa tubaako kye tukolawo okubukendeeza. Biki ebiyinza okuyamba abo abafiiriddwa okuwona obulumi bwe baba nabwo ku mutima?

YAKUWA—“KATONDA OW’OKUBUDAABUDA KWONNA”

3, 4. Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa ategeera bulungi obulumi omuntu bw’ayitamu ng’afiiriddwa?

3 Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu, ye nsibuko y’okubudaabuda. (Soma 2 Abakkolinso 1:3, 4.) Yakuwa yagamba abantu be nti: “Nze kennyini nze mbabudaabuda.”Is. 51:12; Zab. 119:50, 52, 76.

4 Kitaffe ow’okusaasira naye kennyini ayiseeko mu bulumi obw’okufiirwa abantu b’ayagala, nga muno mwe muli Ibulayimu, Isaaka, Yakobo, Musa, ne Kabaka Dawudi. (Kubal. 12:6-8; Mat. 22:31, 32; Bik. 13:22) Bayibuli eraga nti Katonda yeesunga olunaku lw’alizuukiza abantu abo. (Yob. 14:14, 15) Bajja kuba basanyufu era bajja kuba balamu bulungi. Yakuwa era yafiirwa Omwana we omubereberye. Bayibuli egamba nti Katonda yali ‘ayagala nnyo’ Omwana we oyo. (Nge. 8:22, 30) Tetusobola kuteebereza bulumi Yakuwa bwe yawulira ng’alaba omwana we afiira mu bulumi obutagambika.Yok. 5:20; 10:17.

5, 6. Yakuwa atubudaabuda atya?

5 Tusaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba. Bwe tuba n’obulumi ku mutima, tusaanidde okumweyabiza. Yakuwa ategeera bulungi obulumi bwe tuba nabwo ku mutima era atuwa okubudaabuda kwe twetaaga. Ekyo akikola atya?

6 Katonda atubudaabuda ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu. (Bik. 9:31) Yesu yagamba nti Kitaffe ow’omu ggulu ‘awa omwoyo omutukuvu abo abamusaba.’ (Luk. 11:13) Susi, ayogeddwako waggulu agamba nti: “Emirundi mingi twafukamiranga ne tusaba Yakuwa okutubudaabuda. Buli lwe twamusabanga, emirembe gya Katonda gyakuumanga emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe.”Soma Abafiripi 4:6, 7.

YESU—KABONA OMUSAASIZI

7, 8. Lwaki tuli bakakafu nti Yesu asobola okutubudaabuda?

7 Bwe yali ku nsi, Yesu yayoleka bulungi engeri za Kitaawe mu bye yayogeranga ne bye yakolanga. (Yok. 5:19) Yakuwa yatuma Yesu ku nsi okubudaabuda abo “abalina emitima egimenyese” n’abo “bonna abakungubaga.” (Is. 61:1, 2; Luk. 4:17-21) Abantu baali bakimanyi nti Yesu yali ategeera bulungi obulumi bwe baalina ku mutima era nti yali ayagala okubayamba.Beb. 2:17.

8 Yesu bwe yali akyali muvubuka yafiirwa abamu ku b’eŋŋanda ze ne mikwano gye. Kirabika Yusufu, kitaawe eyamukuza, yafa nga Yesu ali mu myaka gy’obuvubuka. * Yesu ateekwa okuba nga yanakuwala nnyo okufiirwa kitaawe oyo era n’okulaba maama we, baganda be, ne bannyina nga bayita mu bulumi obwo obw’amaanyi.

9. Yesu yakyoleka atya nti alumirirwa abalala nga Laazaalo afudde?

9 Bwe yali ku nsi, Yesu yakiraga nti yali ategeera bulungi abantu era nti yali abalumirirwa. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo ebyaliwo nga mukwano gwe Laazaalo afudde. Wadde nga Yesu yali akimanyi nti yali agenda kuzuukiza Laazaalo, naye kennyini yawulira obulumi Maliyamu ne Maliza bwe baali bawulira. Yesu yalumwa nnyo ne kiba nti yakaaba n’okukaaba.Yok. 11:33-36.

10. Lwaki tuli bakakafu nti Yesu ategeera bulungi obulumi bwe tuyitamu?

10 Okuba nti Yesu yayoleka obusaasizi kituyamba kitya leero? Bayibuli egamba nti “Yesu Kristo y’omu leero, ne jjo, n’emirembe n’emirembe.” (Beb. 13:8) Okuva bwe kiri nti “Omubaka Omukulu ow’obulamu” naye yayitako mu bulumi abantu bwe bayitamu, “asobola okuyamba abo abagezesebwa.” (Bik. 3:15; Beb. 2:10, 18) Tuli bakakafu nti ne leero Yesu ategeera bulungi obulumi bwaffe, era asobola okutubudaabuda “mu kiseera we twetaagira” okubudaabudibwa.Soma Abebbulaniya 4:15, 16.

‘OKUBUDAABUDA OKUVA MU BYAWANDIIKIBWA’

11. Byawandiikibwa ki ebisinga okukubudaabuda?

11 Ebyawandiikibwa ebyogera ku bulumi Yesu bwe yawulira nga Laazaalo afudde bye bimu ku byawandiikibwa ebiri mu Kigambo kya Katonda ebitubudaabuda. Bayibuli egamba nti: “Ebintu byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa okutuyigiriza, tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu bugumiikiriza ne mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.” (Bar. 15:4) Bw’ofiirwa omuntu wo, ebyawandiikibwa nga bino wammanga bisobola okukubudaabuda:

  • “Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese; alokola abo bonna abaweddemu amaanyi.”Zab. 34:18, 19, obugambo obuli wansi.

  • “Bwe nnali nneeraliikirira nnyo, wambudaabuda era n’oŋŋumya.”Zab. 94:19.

  • “Mukama waffe Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyatwagala n’atuwa okubudaabuda okw’olubeerera n’essuubi eddungi okuyitira mu kisa kye eky’ensusso, ka babudaabudde emitima gyammwe era babanyweze.”2 Bas. 2:16, 17. *

EKIBIINA KITUBUDAABUDA

12. Engeri emu gye tuyinza okubudaabudamu abalala y’eruwa?

12 Yakuwa era atubudaabuda okuyitira mu kibiina Ekikristaayo. (Soma 1 Abassessalonika 5:11.) Osobola otya okugumya n’okubudaabuda abo abalina “omwoyo omwennyamivu”? (Nge. 17:22) Kijjukirenga nti waliwo “ekiseera eky’okusirika n’ekiseera eky’okwogera.” (Mub. 3:7) Nnamwandu omu ayitibwa Dalene agamba nti: “Abantu abafiiriddwako abantu baabwe baba baagala okutegeeza abalala ebibali ku mutima. N’olwekyo, ekintu ekisingayo obulungi ky’oyinza okukolera omuntu afiiriddwa kwe kumuwuliriza obulungi nga tomusala kirimi.” Junia, alina muganda we eyetta, agamba nti: “Wadde ng’oyinza okuba nga totegeerera ddala bulumi bwe balimu, kibazzaamu amaanyi bwe bakiraba nti oyagala okumanya engeri gye bawuliramu.”

13. Kiki kye tusaanidde okumanya ku ngeri abantu gye boolekamu ennaku yaabwe?

13 Tusaanidde okukijjukira nti abantu booleka ennaku mu ngeri ya njawulo. Oluusi omuntu aba tasobola kunnyonnyola balala bulumi bw’aba awulira ku mutima. Bayibuli egamba nti: “Omutima gumanyi ennaku yaagwo, era tewali muntu mulala asobola kugabana ku ssanyu lyagwo.” (Nge. 14:10) Omuntu ne bw’abuulira abalala engeri gy’awuliramu, bayinza obutategeerera ddala ngeri gy’awuliramu.

14. Tuyinza tutya okufuna ebigambo eby’okukozesa okubudaabuda abalala?

14 Oluusi kiyinza obutaba kyangu kumanya bigambo bya kukozesa okusobola okubudaabuda oyo aba afiiriddwa. Wadde kiri kityo, Bayibuli egamba nti “ebigambo by’ab’amagezi biwonya.” (Nge. 12:18) Ab’oluganda bangi basobodde okubudaabuda abalala nga bakozesa amagezi agali mu katabo Omwagalwa Wo bw’Afa. * Ate era ekintu ekirala kye tuyinza okola kwe ‘kukaabira awamu n’abo abakaaba.’ (Bar. 12:15) Gaby, eyafiirwa omwami we, agamba nti: “Oluusi engeri yokka gye nsobola okwolekamu enneewulira yange kwe kukaaba. Era kimbudaabuda nnyo mikwano gyange bwe bakaabira awamu nange. Ekyo kindeetera okuwulira nti siri nzekka mu nnaku yange.”

15. Tuyinza tutya okubudaabuda omuntu singa kituzibuwalira okwogera naye obutereevu? (Laba n’akasanduuko “ Ebigambo Ebibudaabuda.”)

15 Bwe kiba nga kikuzibuwalira okubudaabuda omuntu ng’oyogera naye butereevu, oyinza okumuweerezaayo kakaadi, okumuwandiikirayo kammesegi, oba akabaluwa. Oyinza okuteekamu ekyawandiikibwa ekimubudaabuda, oba okwogera ku ngeri emu ennungi oyo eyafa gye yalina, oba okwogera ku kintu ekyakusanyusa ekikwata ku muntu oyo. Junia agamba nti: “Mukkiriza munnange bw’ampeerezaayo kammesegi oba bw’ampita okumukyalirako kimbudaabuda nnyo. Kindeetera okuwulira nti njagalibwa era nti nfiibwako.”

16. Engeri endala gye tuyinza okubudaabudamu abalala y’eruwa?

16 Kikulu nnyo okusabira oyo eyafiirwa n’okusabira awamu naye. Wadde ng’oluusi tekiba kyangu kuggyayo bulungi bigambo by’oyagala okwogera ng’osaba olw’okuba embeera eyo teba nnyangu, essaala gy’osaba okuviira ddala ku mutima, k’obe ng’ogisabye okaaba oba ng’eddoboozi likankana, ekola kinene nnyo mu kugumya oyo aba afiiriddwa. Dalene agamba nti: “Oluusi baganda bange bwe bajja okundabako mbasaba okusabirako awamu nange. Emirundi egimu kisooka ne kibazibuwaliza okufulumya ebigambo naye oluvannyuma ebigambo byabwe bivaayo bulungi era bimbudaabuda nnyo. Okukkiriza kwabwe, okwagala kwe balina, n’okufaayo kwe booleka binyweza nnyo okukkiriza kwange.”

WEEYONGERE OKUBUDAABUDA ABALALA

17-19. Lwaki tusaanidde okweyongera okubudaabuda abalala?

17 Ebbanga abantu lye bamala nga bakungubagira abantu baabwe lyawukana. N’olwekyo, lambula omuntu aba afiiriddwa, si mu nnaku ezo zokka ezisooka nga yaakafiirwa era ng’ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye bakyaliwo, wabula mulambule ne mu myezi egiddako nga bangi bazzeeyo ku byabwe. Bayibuli egamba nti: “Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ebbanga lyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.” (Nge. 17:17) Tusaanidde okubudaabuda bakkiriza bannaffe ebbanga lyonna lye bamala nga bakungubagira abantu baabwe.Soma 1 Abassessalonika 3:7.

18 Kijjukire nti waliwo ebintu ebimu ebisobola okuleetera abo abaafiirwako abantu baabwe okuddamu okuwulira ennaku ey’amaanyi. Muno mwe muli ebintu gamba ng’olunaku lwe baafumbiriganwako, ennyimba ezimu, ebifaananyi, obuwoowo, amaloboozi, oba embeera y’obudde. Omuntu eyafiirwa munne mu bufumbo ayinza okufuna ennaku ey’amaanyi, naddala ku mulundi gw’aba asoose okukola yekka ebintu bye yakoleranga awamu ne munne, gamba ng’okugenda ku lukuŋŋaana olunene oba ku mukolo gw’Ekijjukizo. Ow’oluganda omu eyafiirwa mukyala we yagamba nti: “Nnakimanya nti olunaku lwe twafumbiriganwako bwe lwandituuse, tekyandibeeredde kyangu kuluyitamu. Naye ku olwo bakkiriza bannange baategekawo akabaga bwe kityo ne sibeera nzekka ku lunaku olwo.”

19 Tusaanidde okukijjukira nti abo abaafiirwa abantu baabwe beetaaga okubudaabudibwa ne mu nnaku endala ezitali za njawulo. Junia agamba nti: “Omuntu bw’ambudaabuda ne ku nnaku endala ezitali za njawulo kiŋŋumya nnyo.” Kyo kituufu nti tetusobola kumalirawo ddala bulumi muntu bw’afuna ng’afiiriddwa omuntu we oba ekiwuubaalo ky’abaamu, naye bwe tubaako kye tukolawo okumuyamba kimubudaabuda nnyo. (1 Yok. 3:18) Gaby agamba nti: “Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okukozesa abakadde mu kibiina okumbudaabuda mu kiseera ekyali ekizibu ennyo. Bandeetera okulaba nti ddala Yakuwa ali wamu nange.”

20. Lwaki ebisuubizo bya Yakuwa bitubudaabuda nnyo?

20 Nga kitusanyusa nnyo okukimanya nti Yakuwa bw’anaazuukiza abafu, ajja kumalawo ennaku yonna abantu gye bafuna nga bafiiriddwa. (Yok. 5:28, 29) Bayibuli egamba nti: “[Katonda] aliggyawo okufa emirembe gyonna, era Yakuwa Mukama Afuga Byonna alisangula amaziga mu maaso gonna.” (Is. 25:8, obugambo obuli wansi.) Mu kiseera ekyo, abantu mu nsi yonna bajja kuba nga ‘tebakyakaabira wamu n’abo abakaaba,’ wabula bajja kuba nga ‘basanyukira wamu n’abo abasanyuka.’Bar. 12:15.

^ lup. 8 Yusufu asemba okwogerwako nga Yesu wa myaka 12. Yesu bwe yakola ekyamagero ekyasooka, eky’okufuula amazzi omwenge, Yusufu tayogerwako nti yaliwo era taddamu kwogerwako n’oluvannyuma lw’ekyo. Bwe yali awanikiddwa ku muti, Yesu yakwasa Yokaana obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Maliyamu. Ekyo teyandikikoze singa Yusufu yali akyali mulamu.Yok. 19:26, 27.

^ lup. 14 Laba ekitundu “Budaabuda Abafiiriddwa, nga Yesu bwe Yakola,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 1, 2010.