Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 31

Enkizo ey’Okusaba Gitwale nga Nkulu Nnyo

Enkizo ey’Okusaba Gitwale nga Nkulu Nnyo

“Okusaba kwange ka kube ng’obubaani obuteekeddwateekeddwa mu maaso go.”​—ZAB. 141:2.

OLUYIMBA 47 Saba Yakuwa Buli Lunaku

OMULAMWA *

1. Enkizo ey’okusaba Yakuwa tusaanidde kugitwala tutya?

 TULINA enkizo ey’ekitalo ennyo ey’okwogera n’Omutonzi w’eggulu n’ensi mu kusaba. Kirowoozeeko: Tusobola okubuulira Yakuwa ebituli ku mutima ekiseera kyonna, mu lulimi lwonna, nga tetusoose kumusaba atuwe ekiseera kye tuyinza okwogereramu naye. Tusobola okumusaba nga tuli mu ddwaliro ku kitanda oba nga tuli mu kkomera, era tusaba nga tuli bakakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu atuwulira. Mazima ddala enkizo eyo tugitwala nga nkulu nnyo.

2. Kabaka Dawudi yakiraga atya nti enkizo ey’okusaba yali agitwala nga ya muwendo?

2 Kabaka Dawudi yali atwala enkizo ey’okusaba nga ya muwendo nnyo. Yagamba Yakuwa nti: “Okusaba kwange ka kube ng’obubaani obuteekeddwateekeddwa mu maaso go.” (Zab. 141:1, 2) Mu kiseera kya Dawudi, obubaani bakabona bwe baakozesanga mu kusinza okw’amazima, bwateekebwateekebwanga n’obwegendereza. (Kuv. 30:34, 35) Okuba nti Dawudi yayogera ku bubaani, kiraga nti yalinga ayagala okusooka okufumiitiriza ennyo ku ebyo bye yabanga agenda okwogera ne Kitaawe ow’omu ggulu. Ekyo naffe kye twagala. Twagala essaala zaffe zibe nga zisiimibwa mu maaso ga Yakuwa.

3. Ndowooza ki gye tusaanidde okuba nayo nga tutuukirira Yakuwa mu kusaba, era lwaki?

3 Tusaanidde okusaba Yakuwa mu ngeri eraga nti tumussaamu nnyo ekitiibwa. Lowooza ku kwolesebwa Isaaya, Ezeekyeri, Danyeri, ne Yokaana kwe baafuna. Buli kumu ku kwolesebwa okwo kwali kwa njawulo, naye waliwo kye kufaananya. Okwolesebwa okwo kwonna kwalaga nti Yakuwa Kabaka wa kitiibwa nnyo. Isaaya yalaba “Yakuwa ng’atudde ku ntebe empanvu era engulumivu.” (Is. 6:1-3) Ezeekyeri yalaba Yakuwa ng’atudde ku ggaali eryali lyetooloddwa “ekitangaala eky’amaanyi . . . ekyali kifaanana nga musoke.” (Ezk. 1:26-28) Danyeri yalaba “Oyo Abaddewo Okuva Edda n’Edda” ng’ayambadde ebyambalo ebyeru era ng’ennimi z’omuliro ziva ku ntebe ye. (Dan. 7:9, 10) Ate Yokaana yalaba Yakuwa ng’atudde ku ntebe eyali yeetooloddwa ekintu ekyali nga musoke owa kiragala alabika obulungi ennyo. (Kub. 4:2-4) Bwe tufumiitiriza ku kitiibwa kya Yakuwa ekitenkanika, kituyamba okukijjukira nti enkizo gye tulina ey’okumutuukirira mu kusaba ya muwendo nnyo, era tusaanidde okumusaba mu ngeri eraga nti tumussaamu nnyo ekitiibwa. Naye tusaanidde kusaba tutya?

“MUSABENGA BWE MUTI”

4. Kiki kye tuyigira ku bigambo Yesu bye yasooka okwogerako mu ssaala ey’okulabirako esangibwa mu Matayo 6:9, 10?

4 Soma Matayo 6:9, 10. Bwe yali ku lusozi, Yesu yayigiriza abayigirizwa be engeri y’okusabamu Yakuwa mu ngeri emusanyusa. Oluvannyuma lw’okugamba nti “musabenga bwe muti,” Yesu yasooka n’ayogera ku bintu bino ebikulu ebikwata ku kigendererwa kya Yakuwa: Okutukuzibwa kw’erinnya lya Yakuwa, okujja kw’Obwakabaka bwe obujja okusaanyaawo abo bonna abajeemera Katonda, ne ku bintu ebirungi Katonda by’ajja okuwa abantu mu biseera eby’omu maaso. Bwe twogera ku bintu ebyo nga tusaba, tuba tukiraga nti ekigendererwa kya Katonda tukitwala nga kikulu nnyo.

5. Kiba kituufu okusaba ebintu ebitukwatako kinnoomu?

5 Mu kitundu eky’okubiri eky’essaala eyo, Yesu yalaga nti si kikyamu okusaba ebintu ebitukwatako kinnoomu. Tusobola okusaba Yakuwa okutuwa emmere, okutusonyiwa ebibi byaffe, okutuyamba nga tukemeddwa, n’okutulokola okuva eri omubi. (Mat. 6:11-13) Bwe tusaba Yakuwa ebintu ebyo, tuba tukiraga nti tukimanyi nti twetaaga obuyambi bwe era nti twagala okumusanyusa.

Biki omwami by’ayinza okussa mu ssaala ng’ali ne mukyala we? (Laba akatundu 6) *

6. Tulina kusaba ebyo byokka ebyogerwako mu ssaala ey’okulabirako? Nnyonnyola.

6 Yesu yali tasuubira bagoberezi be kuba nga baddiŋŋana ebigambo byʼessaala eyo. Mu ssaala endala Yesu ze yasaba, yayogera ku bintu ebirala ebyali ebikulu gy’ali mu kiseera ekyo. (Mat. 26:39, 42; Yok. 17:1-26) Naffe tusobola okusaba ku kintu kyonna ekiba kituli ku mutima. Bwe tubaako ekintu kye tulina okusalawo, tusobola okusaba Yakuwa atuwe amagezi n’okutegeera. (Zab. 119:33, 34) Bwe tuba nga tunaatera okutandika okukola omulimu omuzibu, tusobola okusaba Yakuwa atuyambe okumanya engeri gye tusaanidde okugukolamu. (Nge. 2:6) Abazadde basobola okusabira abaana baabwe, n’abaana basobola okusabira bazadde baabwe, era ffenna tusaanidde okusabira abayizi baffe aba Bayibuli n’abantu abalala be tubuulira. Kya lwatu nti essaala zaffe tezisaanidde kukoma ku kusaba busabi Yakuwa kutuyamba oba okubaako by’atuwa.

Bintu ki bye tusaanidde okwebaza Yakuwa n’okumutendereza nga tusaba? (Laba akatundu 7-9) *

7. Bwe tuba tusaba lwaki tusaanidde okutendereza Yakuwa?

7 Bwe tuba tusaba tusaanidde okujjukira okutendereza Yakuwa. Katonda waffe y’agwaanidde okutenderezebwa ennyo. “Mulungi era . . . mwetegefu okusonyiwa.” Ate era ‘musaasizi era wa kisa, alwawo okusunguwala, alina okwagala kungi okutajjulukuka, era mwesigwa nnyo.’ (Zab. 86:5, 15) Mazima ddala tusaanidde okutendereza Yakuwa olw’ekyo ky’ali, n’olw’ebyo by’akola.

8. Ebimu ku bintu bye tusaanidde okwebaza Yakuwa bye biruwa? (Zabbuli 104:12-15, 24)

8 Ng’oggyeeko okutendereza Yakuwa mu kusaba kwaffe, tusaanidde okumwebaza, olw’ebintu ebirungi by’atuwa. Ng’ekyokulabirako, tusaanidde okumwebaza olw’ebimuli ebya langi ennungi ennyo, olw’emmere ey’ebika eby’enjawulo era ewooma, n’olw’emikwano emirungi. Kitaffe atwagala atuwa ebintu ebyo n’ebirala bingi, olw’okuba ayagala tube basanyufu. (Soma Zabbuli 104:12-15, 24.) N’ekisinga obukulu, twebaza Yakuwa olw’emmere ennyingi ennyo ey’eby’omwoyo gy’atuwa, n’olw’ebintu ebirungi by’atusuubiza okutukolera mu biseera eby’omu maaso.

9. Kiki ekiyinza okutuyamba okujjukira okwebaza Yakuwa? (1 Abassessalonika 5:17, 18)

9 Kyangu nnyo okwerabira okwebaza Yakuwa olw’ebyo byonna by’atukolera. Kiki ekiyinza okutuyamba obutabyerabira? Osobola okukola olukalala lw’ebintu by’ozze osaba Yakuwa, era buli luvannyuma lwa kiseera n’olutunulako okulaba engeri gy’azzeemu essaala zo. Oluvannyuma mwebaze olw’okuddamu essaala zo. (Soma 1 Abassessalonika 5:17, 18.) Lowooza ku kino: Tuwulira bulungi era kitusanyusa abalala bwe basiima bye tuba tubakoledde. Mu ngeri y’emu, bwe twebaza Yakuwa olw’okuddamu essaala zaffe, kimusanyusa nnyo. (Bak. 3:15) Naye nsonga ki endala eyandibadde etuleetera okwebaza Katonda waffe?

WEEBAZE YAKUWA OLW’OMWANA WE OMWAGALWA

10. Okusinziira ku 1 Peetero 2:21, lwaki tusaanidde okwebaza Yakuwa olw’okusindika Yesu ku nsi?

10 Soma 1 Peetero 2:21. Tusaanidde okwebaza Yakuwa olw’okusindika Omwana we okutuyigiriza. Bwe tusoma ebikwata ku bulamu bwa Yesu tulina bingi bye tuyiga ebikwata ku Yakuwa ne ku ngeri y’okumusanyusaamu. Bwe tukkiririza mu ssaddaaka ya Kristo, tusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa Katonda, era n’okuba mu mirembe naye.​—Bar. 5:1.

11. Lwaki tusaba mu linnya lya Yesu?

11 Twebaza nnyo Yakuwa okuba nti tusobola okumusaba nga tuyitira mu Mwana we. Yakuwa ayitira mu Yesu okuddamu okusaba kwaffe. Yakuwa awuliriza era addamu essaala ze tusaba okuyitira mu linnya lya Yesu. Yesu yagamba nti: “Buli kyonna kye musaba mu linnya lyange ndikikola, Kitange asobole okugulumizibwa okuyitira mu Mwana.”​—Yok. 14:13, 14.

12. Nsonga ki endala etuleetera okwebaza Yakuwa olw’okutuwa Omwana we?

12 Yakuwa atusonyiwa ebibi byaffe ng’asinziira ku ssaddaaka ya Yesu. Era Ebyawandiikibwa biraga nti Yesu ye ‘kabona waffe asinga obukulu atudde ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ey’Ow’Ekitiibwa mu ggulu.’ (Beb. 8:1) Yesu ‘muyambi waffe ali ne Kitaffe.’ (1 Yok. 2:1) Twebaza nnyo Yakuwa olw’okutuwa Kabona Asinga Obukulu omusaasizi, ategeera obunafu bwaffe, era ‘eyeegayirira’ Katonda ku lwaffe! (Bar. 8:34; Beb. 4:15) Olw’okuba tetutuukiridde, twandibadde tetusobola kutuukirira Yakuwa mu kusaba singa teyawaayo ssaddaaka y’Omwana we ku lwaffe. Mazima ddala tewali bigambo bimala bye tuyinza kukozesa kwebaza Yakuwa olw’ekirabo ekyo eky’omuwendo ennyo kye yatuwa!

SABIRA BAKKIRIZA BANNO

13. Mu kiro ekyasembayo Yesu amale attibwe, yakiraga atya nti yali ayagala nnyo abayigirizwa be?

13 Mu kiro ekyasembayo amale attibwe, Yesu yamala ekiseera kiwanvu ng’asabira abayigirizwa be. Yasaba Kitaawe ‘abakuume olw’omubi.’ (Yok. 17:15) Nga Yesu yabalaga okwagala kungi nnyo! Wadde nga yali akimanyi nti anaatera okubonyaabonyezebwa ennyo, yafaayo nnyo ku batume be.

Biki bye tusaanidde okusabira bakkiriza bannaffe? (Laba akatundu 14-16) *

14. Tuyinza tutya okukiraga nti twagala nnyo bakkiriza bannaffe?

14 Olw’okuba tukoppa Yesu, tetusaba ebyo byokka bitukwatako. Mu kifo ky’ekyo, tusabira ne bakkiriza bannaffe obutayosa. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tugondera ekiragiro kya Yesu ekikwata ku kulagaŋŋana okwagala, era tuba tulaga Yakuwa nti twagala nnyo bakkiriza bannaffe. (Yok. 13:34) Bwe tusabira bakkiriza bannaffe tuba tetumala biseera. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Okusaba kw’omutuukirivu kulina amaanyi mangi.”​—Yak. 5:16.

15. Lwaki tusaanidde okusabira bakkiriza bannaffe?

15 Twetaaga okusabira bakkiriza bannaffe kubanga boolekagana n’ebigezo bingi. Tusobola okusaba Yakuwa abayambe okugumira obulwadde, obutyabaga, entalo, okuyigganyizibwa, n’ebizibu ebirala. Ate era tusobola okusabira baganda baffe abeewaayo okudduukirira abo ababa mu bwetaavu. Oyinza okuba ng’olinayo bakkiriza banno b’omanyi aboolekagana n’ebizibu ng’ebyo. Osobola okubassa mu kusaba kwo ng’oyogera amannya gaabwe. Tukiraga nti twagala baganda baffe nga tusaba Yakuwa abayambe okugumira ebizibu.

16. Lwaki tusaanidde okusabira abo abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa?

16 Abo abatwala obukulembeze basiima nnyo abalala bwe babasabira, era essaala ezo zibayamba. Ekyo bwe kityo bwe kyali eri omutume Pawulo. Yagamba nti: “Munsabire, mpeebwe ebigambo bwe njasamya akamwa, nsobole okwogera n’obuvumu nga mmanyisa ekyama ekitukuvu eky’amawulire amalungi.” (Bef. 6:19) Ne leero tulina ab’oluganda bangi abakola ennyo okutuukiriza obuvunaanyizibwa obutali bumu mu kibiina. Tukiraga nti tubaagala nga tusaba Yakuwa awe omukisa ebyo bye bakola.

NGA TUSABIDDWA OKUKIIKIRIRA ABALALA MU KUSABA

17-18. Ddi lwe tuyinza okusabibwa okukiikirira abalala mu kusaba, era kiki kye tusaanidde okujjukira?

17 Oluusi tusabibwa okukiikirira abalala mu kusaba. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe aba agenda okuyigiriza omuyizi we Bayibuli ayinza okusaba mwannyinaffe omulala aba amuwerekeddeko okusaba. Mwannyinaffe aba amuwerekeddeko ayinza okuba nga tamanyi bulungi muyizi oyo. N’olwekyo ayinza okusalawo okusaba oluvannyuma lw’okuyigiriza omuyizi. Ekyo kimuyamba okumanya ebyetaago by’omuyizi era n’abyogerako ng’asaba.

18 Ow’oluganda ayinza okusabibwa okukiikirira abalala mu kusaba, mu lukuŋŋaana olw’okugenda okubuulira, oba olukuŋŋaana olulala lwonna. Ow’oluganda aba aweereddwa enkizo eyo aba asaanidde okukuumira mu birowoozo bye ekigendererwa ky’olukuŋŋaana olwo. Tasaanidde kukozesa ssaala ng’akakisa k’okuwabula abalala, oba okubaako ekintu ky’ategeeza abalala. Mu nkuŋŋaana ezisinga obungi ezibaawo mu kibiina, oluyimba awamu n’okusaba bitwala eddakiika ttaano. N’olwekyo, ow’oluganda aba akulembeddemu okusaba, tasaanidde kukozesa ‘bigambo bingi,’ naddala ng’olukuŋŋaana lugenda okutandika.​—Mat. 6:7.

OKUSABA KUTWALE NGA KUKULU NNYO

19. Kiki ekinaatuyamba okweteekerateekera olunaku lwa Yakuwa olw’okutuukiririzaako omusango gwe yasala?

19 Nga tugenda tusemberera olunaku lwa Yakuwa olw’okutuukiririzaako omusango gwe yasala, tusaanidde okutwala okusaba nga kukulu nnyo. Ku nsonga eyo, Yesu yagamba nti: “Mutunulenga, nga musabanga ekiseera kyonna musobole okuyita mu bintu ebyo byonna ebijja okubaawo.” (Luk. 21:36) Okusaba obutayosa kijja kutuyamba okusigala nga tutunula mu by’omwoyo, olunaku lwa Yakuwa luleme okutugwako obugwi, nga tetwetegese.

20. Essaala zaffe ziyinza zitya okuba ng’obubaani obuwunya akawoowo?

20 Biki bye tulabye? Enkizo ey’okusaba tugitwala nga ya muwendo nnyo. Ebintu ebisinga obukulu bye tusaanidde okussa mu ssaala zaffe birina okuba nga bikwata ku kigendererwa kya Yakuwa. Ate era tusaanidde okwebaza Yakuwa olw’okutuwa Omwana we, n’olw’Obwakabaka bwe, era tusaanidde n’okusabira bakkiriza bannaffe. Tusaanidde n’okusaba ebikwata ku byetaago byaffe eby’omubiri, n’eby’omwoyo. Bwe tufumiitiriza ku ebyo bye tuba tugenda okwogerako mu ssaala zaffe, tuba tukiraga nti enkizo eyo tugitwala nga ya muwendo nnyo. Ebigambo byaffe biba ng’obubaani obuwunyira Yakuwa akawoowo era ‘obumusanyusa.’​—Nge. 15:8.

OLUYIMBA 45 Okufumiitiriza kw’Omutima Gwange

^ Tusiima nnyo enkizo ey’okutuukirira Yakuwa mu kusaba. Twagala essaala zaffe zibe ng’obubaani obuwunya akawoowo obumusanyusa. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebyo bye tusobola okuteeka mu ssaala zaffe. Ate era tugenda kulabayo ebintu bye tusaanidde okulowoozaako nga tusabiddwa okukiikirira abalala mu kusaba.

^ EBIFAANANYI: Ow’oluganda ne mukyala we nga basabira omwana waabwe ali ku ssomero, muzadde waabwe akaddiye era omulwadde, n’omuyizi waabwe owa Bayibuli.

^ EBIFAANANYI: Ow’oluganda omuvubuka yeebaza Yakuwa olw’ekinunulo kya Yesu, olw’ensi gye yatuwa erabika obulungi, n’olw’emmere ennungi gye yatuwa.

^ EBIFAANANYI: Mwannyinaffe asaba Yakuwa awe ab’oluganda abali ku kakiiko akafuzi omwoyo omutukuvu, era ayambe bakkiriza bannaffe abakoseddwa obutyabaga, n’abayigganyizibwa.