Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Omusajja alina akacupa ka bwino ow’omuwandiisi n’abasajja omukaaga abakutte eby’okulwanyisa eby’okwasaayasa aboogerwako mu kwolesebwa kwa Ezeekyeri bakiikirira ki?
Bakiikirira eggye ery’omu ggulu eryenyigira mu kuzikiriza Yerusaalemi era erijja okwenyigira mu kuzikiriza ensi ya Sitaani ku Amagedoni. Lwaki kibadde kyetaagisa okukyusa mu ngeri gye tutegeeramu okwolesebwa okwo?
Oluvannyuma lwa Ezeekyeri okulaba ebintu ebibi ebyali bikolebwa mu kibuga Yerusaalemi ekyali ekijeemu nga tekinnazikirizibwa mu 607 E.E.T., yafuna okwolesebwa n’alaba ebintu ebyandibaddewo nga kigenda okuzikirizibwa. Yalaba abasajja mukaaga nga bakutte eby’okulwanyisa eby’okwasaayasa. Era yalaba n’omusajja omulala mu bo eyali “ayambadde ekyambalo kya kitaani” ng’alina “akacupa ka bwino ow’omuwandiisi.” (Ezk. 8:6-12; 9:2, 3) Omusajja oyo baamugamba okuyitaayita mu kibuga ateeke “akabonero ku byenyi by’abantu abasinda era abakaaba olw’ebintu byonna eby’omuzizo ebikolebwa mu kibuga.” Oluvannyuma abasajja abaali bakutte eby’okulwanyisa eby’okwasaayasa baabagamba batte abantu bonna abaali mu kibuga abataalina kabonero. (Ezk. 9:4-7) Kiki kye tuyiga mu kwolesebwa okwo, era omusajja alina akacupa ka bwino ow’omuwandiisi y’ani?
Ezeekyeri yafuna okwolebwa okwo mu mwaka gwa 612 E.E.T., era okutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo okwasooka kwaliwo mu mwaka gwa 607 E.E.T., amagye g’Abababbulooni bwe gaazikiriza ekibuga Yerusaalemi. Wadde ng’Abababulooni, abantu abaali batasinza Yakuwa, baazikiriza Yerusaalemi, Yakuwa ye yali abakozesezza okutuukiriza omusango gwe yali asaze. (Yer. 25:9, 15-18) Yakuwa yabakozesa okubonereza abantu be abaali bafuuse bakyewaggula. Naye si buli muntu nti yali agenda kuzikirizibwa. Abantu abatuukirivu baali tebagenda kuzikirizibwa wamu n’ababi. Yakuwa yakola enteekateeka okuwonyaawo Abayudaaya abaali basinda era abaali bakaaba olw’ebintu byonna eby’omuzizo ebyali bikolebwa mu kibuga.
Ezeekyeri teyeenyigira mu mulimu gw’okuteeka akabonero ku bantu oba ogw’okuzikiriza. Bamalayika be baali emabega w’omulimu ogw’okuzikiriza. N’olwekyo, okuyitira mu kwolesebwa okwo, Yakuwa atuyamba okumanya obuvunaanyizibwa bamalayika bwe baalina mu kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi. Yakuwa yawa bamalayika omulimu ogw’okuteekateeka okuzikirizibwa kw’abantu ababi n’okwawulawo abatuukirivu basobole okuwonyezebwawo. *
Emabega ebitabo byaffe bibadde bigamba nti mu kutuukirizibwa kw’okwolesebwa okwo okw’omu kiseera kino, omusajja alina akacupa ka bwino ow’omuwandiisi akiikirira ensigalira y’abaafukibwako amafuta. Era kibadde kigambibwa nti abantu abakkiriza obubaka bwaffe bateekebwako akabonero mu kiseera kino basobole okuwonawo. Naye kati tukiraba nti twetaaga okukola enkyukakyuka mu ngeri gye tubadde tunnyonnyolamu okwolesebwa okwo. Okusinziira ku ebyo ebiri mu Matayo 25:31-33, Yesu y’alamula abantu. Yesu ajja kulamula abantu mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, ayawulewo abo abalinga endiga abajja okuwonyezebwawo ku abo abalinga embuzi abajja okuzikirizibwa.
Nga tulowooza ku ntegeera eno empya, biki bye tuyiga mu kwolesebwa okwo Ezeekyeri kwe yafuna? Waliwo ebintu bitaano bye tuyiga:
-
Leero, Yakuwa akozesa abaafukibwako amafuta abatonotono okuliisa abantu be n’okulabula abantu bonna ku kibonyoobonyo ekinene ekijja. Ate era n’ab’omu nju bonna beenyigira mu mulimu ogw’okulabula abantu.—Mat. 24:45-47.
- Obuvunaanyizibwa bwabwe bwa kubuulira bantu obubaka obuva eri Yakuwa, nga bayambibwako bamalayika.—
-
Kiki abantu kye basaanidde okukola okusobola okuteekebwako akabonero ako? Balina okukkiriza obubaka bwe tubabuulira, okwambala omuntu omuggya, okwewaayo eri Yakuwa, n’okuwagira mu bujjuvu baganda ba Kristo. (Mat. 25:35-40) Abo abakola ebintu ebyo, bajja kuteekebwako akabonero mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene.
-
Ab’ekibiina ekinene bajja kuteekebwako akabonero oluvannyuma lw’okulamulwa mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. Ekyo kijja kubasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi.—Mat. 25:34, 46. *
-
Mu kiseera ekitali kya wala, eggye eryo lijja kuzikiriza amawanga era limalewo ebintu byonna ebibi.—Ezk. 9:2, 6, 7; Kub. 19:11-21.
Ensonga ezo ettaano zituyamba okuba abakakafu nti Yakuwa tasobola kuzikiriza bantu batuukirivu wamu n’ababi. (2 Peet. 2:9; 3:9) Era kituleetera okulaba ensonga lwaki omulimu gwaffe ogw’okubuulira mukulu nnyo leero. Abantu bonna beetaaga okulabulwa ng’enkomerero tennatuuka!—Mat. 24:14.
^ lup. 6 Wadde ng’akabonero ke baateekebwako ku byenyi kaali tekalabika, abantu gamba nga Baluki (omuwandiisi wa Yeremiya), Ebedumereki Omwesiyopiya, n’Abalekabu baawonyezebwawo.—Yer. 35:1-19; 39:15-18; 45:1-5.