Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ka Ffenna Tube Bumu nga Yakuwa ne Yesu Bwe Bali Obumu

Ka Ffenna Tube Bumu nga Yakuwa ne Yesu Bwe Bali Obumu

“Nsabira . . . bonna basobole okubeera omu, nga ggwe Kitange bw’oli obumu nange.”​—YOK. 17:20, 21.

ENNYIMBA: 24, 99

1, 2. (a) Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, kiki kye yasaba Katonda? (b) Kiki ekiyinza okuba nga kyaleetera Yesu okukkaatiriza ensonga ey’okuba obumu?

YESU bwe yali anaatera okuttibwa, yalowooza nnyo ku ky’abagoberezi be okuba obumu. Bwe yali asaba n’abatume be, yalaga nti yali ayagala abayigirizwa be bonna babe bumu nga ye ne Kitaawe bwe bali obumu. (Soma Yokaana 17:20, 21.) Abayigirizwa be bwe bandibadde obumu, kyandiraze bulungi nti Yakuwa yali atumye Yesu ku nsi okukola by’ayagala. Okwagala ke kabonero akandyawuddewo Abakristaayo ab’amazima era okwagala kwandibayambye okuba obumu.​—Yok. 13:34, 35.

2 Emu ku nsonga eyinza okuba nga yaleetera Yesu okukkaatiriza ensonga ey’okuba obumu kwe kuba nti yali alabye obubonero obulaga nti abatume be baali beetaaga okwongera okukola ku nsonga eyo. Ng’ekyokulabirako, ku kijjulo kye yasembayo okulya nabo, baakaayana bokka na bokka ku “ani ku bo eyali atwalibwa okuba nga y’asinga obukulu,” era ng’ogwo si gwe mulundi gwe baali basoose okukaayana ku nsonga eyo. (Luk. 22:24-27; Mak. 9:33, 34) Ku mulundi omulala Yakobo ne Yokaana baasaba Yesu abawe ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka bwe.​—Mak. 10:35-40.

3. Bintu ki ebyali biyinza okulemesa abayigirizwa ba Yesu okuba obumu, era bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu?

3 Okwagala obukulu si kye kyokka ekyali kiyinza okulemesa abayigirizwa ba Yesu okuba obumu. Abantu mu kiseera kya Yesu baalina enjawukana olw’obukyayi n’olw’obusosoze bye baalina. Abayigirizwa ba Yesu baalina okwewala ebintu ebyo ebibi. Mu kitundu kino tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Yesu yakwata atya ensonga y’obusosoze? Yayamba atya abagoberezi be okweggyamu obusosoze basobole okuba obumu? Era ebyo Yesu bye yayigiriza bituyamba bitya okuba obumu?

OBUSOSOZE YESU N’ABAGOBEREZI BE BWE BAAYOLEKAGANA NABWO

4. Waayo ebyokulabirako ebiraga nti Yesu yasosolwanga.

4 Yesu naye yasosolwa. Ng’ekyokulabirako, Firipo bwe yagamba Nassanayiri nti yali azudde Masiya, Nassanayiri yagamba nti: “Waliwo ekirungi ekiyinza okuva e Nazaaleesi?” (Yok. 1:46) Kirabika Nassanayiri yali amanyi obunnabbi obuli mu Mikka 5:2 era ng’akabuga k’e Nazaaleesi akatwala okuba aka wansi ennyo okuvaamu Masiya. Ate era abakulembeze b’Abayudaaya baali banyooma Yesu olw’okuba yali Mugaliraaya. (Yok. 7:52) Abayudaaya bangi baali banyooma abantu b’omu Ggaliraaya. N’Abayudaaya abamu baagezaako okunyiiza Yesu nga bamuyita Omusamaliya. (Yok. 8:48) Abasamaliya baali baawukana ku Bayudaaya mu buwangwa ne mu ddiini. Abayudaaya n’Abagaliraaya baali banyooma Abasamaliya era baali tebakolagana nabo.​—Yok. 4:9.

5. Busosoze ki abagoberezi ba Yesu bwe baayolekagana nabwo?

5 Abakulembeze b’Abayudaaya baanyoomanga n’abagoberezi ba Yesu. Abafalisaayo baatwalanga abagoberezi ba Yesu okuba abantu ‘abaakolimirwa.’ (Yok. 7:47-49) Abafalisaayo baatwalanga omuntu yenna eyabanga tatendekeddwa mu masomero ga bya ddiini oba ataagobereranga bulombolombo bwabwe ng’omuntu owa wansi era atalina mugaso. (Bik. 4:13, obugambo obuli wansi.) Obusosoze Yesu n’abayigirizwa be bwe baayolekagana nabwo, bwava ku kuba nti abantu mu kiseera ekyo baali beenyumiririza nnyo mu ddiini yaabwe, ebitiibwa bye baalina, ne mu ggwanga lyabwe. N’abayigirizwa ba Yesu baali batwaliriziddwa endowooza eyo. Okusobola okuba obumu, abayigirizwa baali balina okukyusa endowooza yaabwe.

6. Waayo ebyokulabirako ebiraga ebimu ku bintu ebiyinza okutuviirako okuba abasosoze.

6 Leero twetooloddwa abantu abasosoze. Tuyinza okusosolwa oba ffe kennyini tuyinza okusosola abalala. Mwannyinaffe omu ow’omu Australia aweereza nga payoniya agamba nti: “Bwe nnalowooza ku ngeri embi ennyo abantu b’eggwanga eriyitibwa Aboriginal gye baayisibwamu edda ne ku ngeri gye bayisibwamu kati, nnawulira nga nkyaye abazungu. Ate era bwe nnalowooza ku ngeri nange gye bampisaamu, nneeyongera okubakyawa.” Ate ow’oluganda omu mu Canada yagamba nti: “Nnali ndowooza nti abantu aboogera Olufalansa ba waggulu ku balala. Era nnatandika okukyawa abantu aboogera Olungereza.”

7. Yesu yakwata atya embeera ey’obusosoze eyaliwo mu kiseera kye?

7 Nga bwe kyali mu kiseera kya Yesu, ne leero obusosoze busimbye amakanda mu mitima gy’abantu bangi. Embeera eyo Yesu yagyaŋŋanga atya? Okusookera ddala, yeewala okusosola abantu mu ngeri yonna. Yabuulira abagagga n’abaavu, Abafalisaayo n’Abasamaliya, abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi. Ate era, okuyitira mu kyokulabirako kye yassaawo ne mu ebyo bye yayigiriza, Yesu yayamba abayigirizwa be okukiraba nti tebalina kusosola balala.

OKWAGALA N’OBWETOOWAZE BITUYAMBA OKWEGGYAMU OBUSOSOZE

8. Ekimu ku bintu ebituleetera okuba obumu kye kiruwa? Nnyonnyola.

8 Yesu yalaga ekimu ku bintu ebituleetera okuba obumu. Yagamba nti: “Mmwenna muli ba luganda.” (Soma Matayo 23:8, 9.) Kya lwatu nti ekimu ku bintu ebitufuula okuba ab’oluganda kiri nti ffenna twava mu Adamu. (Bik. 17:26) Naye waliwo n’ensonga endala. Yesu yalaga nti abayigirizwa be ba luganda kubanga batwala Yakuwa okuba Kitaabwe ow’omu ggulu. (Mat. 12:50) Ate era bwe baayiga amazima, baafuuka ba mu maka ga Katonda era okwagala n’okukkiriza bibayambye okuba obumu. Eyo ye nsonga lwaki mu mabaluwa abatume ge baawandiika, baayita bakkiriza bannaabwe ab’oluganda.​—Bar. 1:13; 1 Peet. 2:17; 1 Yok. 3:13. *

9, 10. (a) Lwaki Abayudaaya baali tebasaanidde kwenyumiririza mu ggwanga lyabwe? (b) Yesu yakiraga atya nti tekiba kituufu kunyooma bantu ab’eggwanga eddala? (Laba ekifaananyi ku lupapula 8.)

9 Oluvannyuma lw’okulaga nti tusaanidde okwetwala ng’ab’oluganda, Yesu yalaga obukulu bw’okwoleka obwetoowaze. (Soma Matayo 23:11, 12.) Nga bwe tulabye, amalala gaakifuula kizibu eri abatume okuba obumu. Ate era okwenyumiririza mu ggwanga lyabwe nakyo kiyinza okuba nga kyavaako obuzibu obwo. Ddala Abayudaaya baali basaanidde okwenyumiriza mu kuba nti baali bazzukulu ba Ibulayimu? Ekyo Abayudaaya bangi baali bakyenyumiririzaamu. Naye Yokaana Omubatiza yagamba nti: “Katonda asobola okufunira Ibulayimu abaana okuva mu mayinja gano.”​—Luk. 3:8.

10 Yesu yavumirira eky’omuntu okwenyumiririza ennyo mu ggwanga lye. Omuwandiisi omu yamubuuza nti: “Muliraanwa wange y’ani?” Mu kuddamu ekibuuzo ekyo, Yesu yagera olugero lw’Omusamaliya eyafaayo ku Muyudaaya eyali akubiddwa ababbi. Bayudaaya banne baamuyitako buyisi, naye ye Omusamaliya n’amukwatirwa ekisa. Oluvannyuma Yesu yagamba omuwandiisi oyo okuba ng’Omusamaliya oyo. (Luk. 10:25-37) Yesu yakiraga nti Omusamaliya yali asobola okuyigiriza Abayudaaya okwagala okwa nnamaddala kye kutegeeza.

11. Lwaki abayigirizwa ba Yesu baalina okwewala okusosola abantu ab’amawanga amalala, era Yesu yabayamba atya okutegeera ensonga eyo?

11 Okusobola okutuukiriza omulimu gwe yali abakwasizza, abayigirizwa ba Yesu baalina okusooka okweggyamu amalala n’obusosoze. Yesu bwe yali tannaddayo mu ggulu yabakwasa omulimu ogw’okuwa obujulirwa “mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.” (Bik. 1:8) Okusobola okuteekateeka abayigirizwa be okubuulira abantu ab’omu mawanga gonna, Yesu yabayamba okulowooza ku ngeri ennungi abantu ab’amawanga amalala ze baalina. Yatendereza omukulu w’ekibinja ky’abasirikale ataali Muyudaaya olw’okukkiriza kwe yayoleka. (Mat. 8:5-10) Bwe yali mu kabuga k’ewaabwe ak’e Nazaaleesi, Yesu yayogera ku ngeri Yakuwa gye yali yayambamu abantu abataali Bayudaaya, gamba nga nnamwandu Omufoyiniikiya ow’e Zalefaasi ne Naamani Omusuuli eyalina ebigenge. (Luk. 4:25-27) Ate era ng’oggyeeko okubuulira omukazi Omusamaliya, Yesu yamala ennaku ssatu mu kibuga ky’Abasamaliya olw’okuba baali basiimye obubaka bwe.​—Yok. 4:21-24, 40.

ABAKRISTAAYO ABAASOOKA BAALINA OKUFUBA OKWEGGYAMU OBUSOSOZE

12, 13. (a) Abatume beeyisa batya bwe baalaba nga Yesu abuulira omukazi Omusamaliya? (Laba ekifaananyi ku lupapula 8.) (b) Kiki ekiraga nti Yakobo ne Yokaana tebaategeera ekyo Yesu kye yali agezaako okubayigiriza?

12 Kyokka abatume tekyabanguyira kweggyamu busosoze. Beewuunya nnyo okulaba nga Yesu ayigiriza omukazi Omusamaliya. (Yok. 4:9, 27) Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baali tebasobola kwogera na mukazi mu lujjudde, naddala omukazi Omusamaliya eyali ateeyisa bulungi. Abatume baagamba Yesu alye emmere, naye olw’okuba Yesu yali anyumiddwa okubuulira omukazi oyo, yawulira ng’asobola n’okulindako okulya. Katonda yali ayagala Yesu abuulire abantu era okukola Katonda by’ayagala, nga mw’otwalidde okubuulira omukazi Omusamaliya, yali akitwala ng’emmere.​—Yok. 4:31-34.

13 Naye Yakobo ne Yokaana tebaategeera ekyo Yesu kye yali agezaako okubayigiriza. Abatume bwe baali batambula ne Yesu nga bayita mu Samaliya nga banoonya aw’okusula, Abasamaliya baagaana okubawa aw’okusula. Yakobo ne Yokaana baanyiiga nnyo ne baagala okugamba omuliro gukke okuva mu ggulu gusaanyeewo ekyalo kyonna. Kyokka Yesu yabanenya. (Luk. 9:51-56) Naye ddala singa abantu abaali bagaanye okubasembeza baali ba mu kitundu kyabwe eky’e Ggaliraaya, olowooza Yakobo ne Yokaana bandyeyisizza bwe batyo? Kirabika obusosoze bwe bwali bubaleetedde okusunguwala. Oluvannyuma Yokaana ayinza okuba nga yejjusa ebyo bye yayogera bwe yali abuulira mu Samaliya abantu ne bamuwuliriza.​—Bik. 8:14, 25.

14. Obuzibu obuyinza okuba nga bwajjawo olw’obusosoze mu nnimi bwagonjoolwa butya?

14 Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lwa Pentekooti ey’omwaka gwa 33 E.E., wajjawo embeera eyali eyoleka obusosoze mu kibiina. Bwe baalinga bagabira bannamwandu abaali mu bwetaavu emmere, bannamwandu abaali boogera Oluyonaani baalinga tebabawa mmere. (Bik. 6:1) Embeera eyo eyinza okuba nga yali evudde ku busosoze mu nnimi. Abatume baakola mangu ku nsonga eyo ne balonda abasajja abaalina ebisaanyizo okukola omulimu ogw’okugaba emmere. Abasajja abo bonna abaalondebwa baalina amannya g’Ekiyonaani. Ekyo kiyinza okuba nga kyakkakkanya emitima gya bannamwandu abaali boogera Oluyonaani abaali bayisiddwa obubi.

15. Kiki ekyayamba Peetero okuggwamu obusosoze? (Laba ekifaananyi ku lupapula 8.)

15 Mu mwaka gwa 36 E.E., abayigirizwa ba Yesu baatandika okubuulira n’abantu ab’amawanga amalala. Omutume Peetero yalinga akolagana na Bayudaaya bokka. Naye oluvannyuma lwa Katonda okumuyamba okukitegeera nti Abakristaayo tebalina kusosola balala, Peetero yabuulira omusirikale Omuruumi eyali ayitibwa Koluneeriyo. (Soma Ebikolwa 10:28, 34, 35.) Oluvannyuma lw’ekyo, Peetero yamala ekiseera ng’alya n’Ab’amawanga era ng’akolagana nabo. Kyokka nga wayise emyaka, Peetero bwe yali mu kibuga ky’e Antiyokiya, yalekera awo okulya n’Abakristaayo abataali Bayudaaya. (Bag. 2:11-14) Ekyo kyaviirako Pawulo okuwabula Peetero, era Peetero n’akkiriza okuwabulwa okwo. Mu bbaluwa ye eyasooka gye yawandiikira Abakristaayo Abayudaaya n’abataali Bayudaaya abaali mu Asiya Omutono, Peetero yakiraga nti kikulu nnyo okwagala baganda baffe bonna.​1 Peet. 1:1; 2:17.

16. Kiki ekyali kimanyiddwa ku Bakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka?

16 Abatume ba Yesu baayiga okwagala “abantu aba buli ngeri.” (Yok. 12:32; 1 Tim. 4:10) Wadde nga kyabatwalira ekiseera, baamala ne bakyusa endowooza yaabwe. Abakristaayo abasooka baamanyibwa ng’abantu abaagalana. Omuwandiisi ayitibwa Tertullian, eyaliwo mu kyasa eky’okubiri, yajuliza ebigambo bino ebyayogerwa abantu abataali Bakristaayo: “[Abakristaayo] baagalana . . . Beetegefu n’okufiirira bannaabwe.” Okwambala “omuntu omuggya,” kyayamba Abakristaayo abaasooka okutwala abantu bonna okuba nga benkanankana, nga Katonda bw’abatwala.​—Bak. 3:10, 11.

17. Tuyinza tutya okweggyamu obusosoze? Waayo ekyokulabirako.

17 Naffe kiyinza okututwalira ekiseera okuggwaamu obusosoze. Mwannyinaffe omu mu Bufalansa agamba nti: “Yakuwa yanjigiriza kye kitegeeza okwagala, okuba omugabi, n’okwagala abantu aba buli kika. Naye era nkyalwana okweggyamu obusosoze. Eyo ye nsonga lwaki nyiikira okusaba Yakuwa okunnyamba.” Ate mwannyinaffe omu ow’omu Sipeyini agamba nti: “Oluusi n’oluusi mpulira nga nfunye obukyayi eri abantu ab’eggwanga erimu naye emirundi mingi mbweggyamu mangu. Kyokka nkimanyi nti nnina okweyongera okulwana. Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okundeeta mu kibiina kye ekiri obumu.” Buli omu ku ffe asaanidde okwekebera. Kyandiba nti tulinamu obusosoze bwe tulina okulwanyisa nga bannyinaffe abo ababiri bwe bakola?

OKWAGALA KUTUYAMBA OKWEGGYAMU OBUSOSOZE

18, 19. (a) Nsonga ki ezandituleetedde obutasosola balala? (b) Tuyinza tutya okukyoleka nti tetusosola balala?

18 Tusaanidde okukijjukira nti edda ffenna twali bagwira nga tetulina nkolagana ne Katonda. (Bef. 2:12) Naye Yakuwa yatulaga okwagala kwe n’atuleeta gy’ali. (Kos. 11:4; Yok. 6:44) Ne Yesu yatusembeza, n’atuggulirawo ekkubo okufuuka ab’omu maka ga Katonda. (Soma Abaruumi 15:7.) Okuva bwe kiri nti Yesu yatusembeza ng’ate tetutuukiridde, tekiba kya magezi kusosola balala.

Abaweereza ba Yakuwa bakolera ku magezi agava waggulu, era okwagala kubasobozesa okuba obumu (Laba akatundu 19)

19 Ng’enkomerero egenda esembera, enjawukana, obusosoze, n’obukyayi bijja kweyongera. (Bag. 5:19-21; 2 Tim. 3:13) Naye ffe abaweereza ba Yakuwa tukolera ku magezi agava waggulu, agataliimu busosoze era ag’emirembe. (Yak. 3:17, 18) Kitusanyusa nnyo okukola emikwano n’abantu ab’amawanga amalala, era tetuvumirira ngeri gye bakolamu bintu mu buwangwa bwabwe. Mu butuufu, oluusi tuyiga n’ennimi z’abantu abalala. Bwe tukola bwe tutyo, emirembe gyaffe gikulukuta ng’omugga, n’obwenkanya buba ng’amayengo g’ennyanja.​—Is. 48:17, 18.

20. Okwagala bwe kukyusa endowooza yaffe n’engeri gye tutwalamu abalala kiki ekibaawo?

20 Mwannyinaffe ow’omu Australia bwe yatandika okuyiga Bayibuli, obusosoze bwonna bwe yalina bwamuggwaamu. Okwagala kwakyusa engeri gye yali alowoozaamu n’engeri gye yali atwalamu abalala. Ow’oluganda abeera mu Canada ayogera Olufalansa agamba nti, emirundi mingi abantu bakyawa bannaabwe olw’okuba baba tebabategeera bulungi. Yakitegeera nti “engeri abantu ze booleka tezisinziira ku bifo gye baakulira.” Muganda waffe oyo yawasa mwannyinaffe ayogera Olungereza. Ebyokulabirako ebyo biraga nti okwagala kusobozesa abantu okweggyamu obusosoze. Okwagala kunywereza ddala obumu.​—Bak. 3:14.

^ lup. 8 Ekigambo “ab’oluganda” kisobola n’okuzingiramu abakazi mu kibiina. Pawulo yawandiikira “ab’oluganda” mu Rooma ebbaluwa. Mu b’oluganda abo mwali muzingiramu ne bannyinaffe era bangi ku bo yabamenya amannya. (Bar. 16:3, 6, 12) Okumala emyaka mingi magazini eno ezze ekozesa ebigambo ab’oluganda ne bannyinaffe, ng’eyogera ku Bakristaayo.