Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okyajjukira?

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:

Bintu ki ebina ebisobola okutuyamba okulongoosa mu ngeri gye tuyimbamu?

Tusaanidde okuyimirira obusimba era akatabo kaffe ne tukakwatira waggulu. Tulina okusika omukka ogumala. Ate era tusaanidde okwasamya obulungi akamwa era ne tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka.​—w17.11, lup. 5.

Kiki kye twetegereza ku bifo ebibuga eby’okuddukiramu we byali ne ku makubo agaatuukangayo?

Waaliwo ebibuga mukaaga eby’okuddukiramu ebyali mu bitundu ebitali bimu mu Isirayiri, era enguudo ezaali zigendayo zaalinga mu mbeera nnungi. Ekyo kyakifuulanga kyangu eri omuntu okutuuka mu bibuga ebyo.​—w17.11, lup. 14.

Lwaki ekinunulo kye kirabo ekisingayo okuba eky’omuwendo Katonda kye yatuwa?

Kitusumulula okuva mu kibi n’okufa era kitusobozesa okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Olw’okuba Katonda yali ayagala nnyo abantu, bwe twali tukyali boonoonyi, yawaayo Omwana we okutufiirira.​—wp17.6, lup. 6-7.

Zabbuli 118:22 yasonga etya ku kuzuukira kwa Yesu?

Abayudaaya baagaana okukkiriza nti Yesu ye Masiya era oluvannyuma baamutta. Yesu okusobola okubeera “ejjinja ekkulu ery’oku nsonda,” yalina okuzuukira.​—w17.12, lup. 9-10.

Olunyiriri omwandivudde Masiya lwalina akakwate n’omugabo gw’omwana omubereberye?

Abantu abamu abaali mu lunyiriri lwa Masiya baali baana babereberye naye abalala tebaali. Dawudi si ye yali omwana wa Yese omubereberye naye yali mu lunyiriri omwava Masiya.​—w17.12, lup. 14-15.

Egimu ku misingi egiri mu Bayibuli egikwata ku by’obujjanjabi gye giruwa?

Mu Mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri, abantu abaalina endwadde ezimu baalina okwawulibwa ku balala. Abantu baalinanga okunaaba n’okwoza oluvannyuma lw’okukwata ku mulambo. Ate era okusinziira ku Mateeka, empitambi yalinanga okuziikibwa. Omwana baamukomolanga ku lunaku olw’omunana, era ekyo kyabanga kya magezi kubanga ekiwundu ky’omwana omuwere kiwona mangu ng’asussizza wiiki.​—wp18.1, lup. 7.

Lwaki okweyagala ku kigero ekisaana si kibi?

Tulina okwagala bantu bannaffe nga bwe tweyagala ffekka. (Mak. 12:31) Abaami balina “okwagalanga bakyala baabwe nga bwe baagala emibiri gyabwe.” (Bef. 5:28) Naye bwe tuteegendereza, tuyinza okwesanga nga tweyagala ekisukkiridde.​—w18.01, lup. 23.

Ebimu ku bintu ebiyinza okutuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo bye biruwa?

Tulina okusoma Ekigambo kya Katonda, ne tukifumiitirizaako, era ne tukikolerako. Ate era tulina okukkiriza okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu n’okussaayo omwoyo ku kuwabula okutuweebwa.​—w18.02, lup. 26.

Lwaki okulaguzisa emmunyeenye n’obulaguzi obw’engeri endala tebisobola kutuyamba kumanya binaabaawo mu biseera eby’omu maaso?

Waliwo ensonga ezitali zimu, naye ensonga esinga obukulu eri nti Bayibuli evumirira obulaguzi obw’engeri yonna.​—wp18.2, lup. 4-5.

Kiki kye tusaanidde okujjukira ng’omuntu atuyise okumukyalira?

Bwe tuba nga twakkiriza okugenda, tusaanidde okugenda. (Zab. 15:4) Tetusaanidde kusazaamu programu eyo nga twekwasa obusongasonga obutaliimu. Oyo aba atuyise ayinza okuba ng’afubye nnyo okuteekateeka ekijjulo.​—w18.03, lup. 18.

Biki abakadde n’abaweereza bye basobola okuyigira ku Timoseewo?

Timoseewo yafangayo ku balala era yakulembezanga ebintu eby’omwoyo. Yaweereza Yakuwa n’obunyiikivu era yakoleranga ku bye yali ayiga. Yeeyongera okwetendeka era yakoleranga ku bulagirizi bw’omwoyo gwa Yakuwa. Abakadde n’abalala basobola okukoppa Timoseewo.​—w18.04, lup. 13-14.