Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 24

“Gatta Wamu Omutima Gwange Nsobole Okutya Erinnya Lyo”

“Gatta Wamu Omutima Gwange Nsobole Okutya Erinnya Lyo”

“Gatta wamu omutima gwange nsobole okutya erinnya lyo. Ai Yakuwa Katonda wange, nkutendereza n’omutima gwange gwonna.”​—ZAB. 86:11, 12.

OLUYIMBA 7 Yakuwa, Ggwe Maanyi Gaffe

OMULAMWA *

1. Okutya Katonda kye ki, era lwaki abo abaagala Yakuwa beetaaga okumutya?

ABAKRISTAAYO baagala Katonda era bamutya. Ekyo abamu kiyinza okubazibuwalira okutegeera. Naye okutya kwe twogerako si kwekwo okuleetera omuntu okukubwa encukwe oba okuba mu bweraliikirivu. Tugenda kwogera ku kutya okw’engeri endala. Abantu abalina okutya okw’engeri eyo, bassa ekitiibwa mu Katonda. Tebaagala kunyiiza Kitaabwe ow’omu ggulu kubanga tebaagala kufiirwa nkolagana yaabwe naye.​—Zab. 111:10; Nge. 8:13.

2. Okusinziira ku bigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 86:11, bintu ki ebibiri bye tugenda okwekenneenya?

2 Soma Zabbuli 86:11. Okusinziira ku bigambo ebyo, tukiraba nti Kabaka Dawudi yali ategeera obukulu bw’okutya Katonda. Ka tulabe engeri gye tuyinza okukolera ku bigambo bya Dawudi ebyo ebyaluŋŋamizibwa. Tugenda kusooka tulabe ensonga lwaki tusaanidde okutya erinnya lya Katonda. Ate oluvannyuma tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukiragamu buli lunaku nti tutya erinnya lya Katonda.

LWAKI TUSAANIDDE OKUTYA ERINNYA LYA YAKUWA?

3. Kiki ekiyinza okuba nga kyayamba Musa okusigala ng’assa ekitiibwa mu linnya lya Katonda?

3 Lowooza ku ngeri Musa gye yawuliramu ng’ali mu mwagaanya gw’olwazi n’alaba mu kwolesebwa ekitiibwa kya Yakuwa nga kiyitawo. Ekyo kiyinza okuba nga kye kintu ekyasingayo okuwuniikiriza ekyali kirabiddwa omuntu nga Yesu Kristo tannajja ku nsi. Musa yawulira ebigambo bino, ebiteekwa okuba nga byayogerwa malayika: “Yakuwa, Yakuwa, Katonda omusaasizi era ow’ekisa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka n’amazima amangi, alaga okwagala okutajjulukuka eri enkumi n’enkumi, asonyiwa ensobi, okwonoona, n’ebibi.” (Kuv. 33:17-23; 34:5-7) Kirabika Musa bwe yakozesanga erinnya Yakuwa yajjukiranga okwolesebwa okwo. N’olwekyo tekyewuunyisa nti oluvannyuma Musa yagamba Abayisirayiri ‘okutya erinnya eryo ery’ekitiibwa era ery’entiisa.’​—Ma. 28:58.

4. Kiki ekiyinza okutuyamba okweyongera okussa ekitiibwa mu Yakuwa?

4 Bwe tulowooza ku linnya Yakuwa, tusaanidde okufumiitiriza ku nnannyini linnya eryo. Tusaanidde okujjukiranga engeri ze, gamba ng’amaanyi, amagezi, obwenkanya, n’okwagala. Okufumiitiriza ku ngeri ezo awamu n’endala kituleetera okumussaamu ekitiibwa.​—Zab. 77:11-15.

5-6. (a) Erinnya lya Katonda lirina makulu ki? (b) Okusinziira ku Okuva 3:13, 14 ne Isaaya 64:8, Yakuwa aleetera atya ebintu okubaawo?

5 Kiki kye tumanyi ku makulu g’erinnya lya Katonda? Abeekenneenya Bayibuli bangi bagamba nti kirabika erinnya Yakuwa litegeeza “Aleetera Ebintu Okubaawo.” Amakulu ago galaga nti tewali kisobola kulemesa Yakuwa kutuukiriza ky’ayagala, era asobola okuleetera ebintu okubaawo. Mu ngeri ki?

6 Yakuwa asobozesa ebintu okubaawo ng’abeera kyonna ekiba kyetaagisa okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. (Soma Okuva 3:13, 14.) Bulijjo tukubirizibwa mu bitabo byaffe okufumiitiriza ku kintu ekyo ekikwata ku Yakuwa. Ate era Yakuwa asobola okuleetera abaweereza be abatatuukiridde okubeera kyonna ekiba kyetaagisa okusobola okumuweereza n’okutuukiriza ekigendererwa kye. (Soma Isaaya 64:8.) Mu ngeri eyo, Yakuwa aleetera by’ayagala okutuukirira. Tewali kiyinza kumulemesa kutuukiriza kigendererwa kye.​—Is. 46:10, 11.

7. Tuyinza tutya okwongera okusiima n’okussa ekitiibwa mu Kitaffe ow’omu ggulu?

7 Tusobola okweyongera okusiima Kitaffe ow’omu ggulu bwe tufumiitiriza ku ebyo by’akoze n’ebyo by’atusobozesezza okukola. Ng’ekyokulabirako, bwe tufumiitiriza ku bintu eby’ekitalo bye yatonda, kituleetera okuwuniikirira olw’emirimu gye. (Zab. 8:3, 4) Era bwe tufumiitiriza ku ekyo Yakuwa ky’atusobozesezza okuba okusobola okukola by’ayagala, kituleetera okweyongera okumussaamu ekitiibwa. Mazima ddala erinnya Yakuwa lya kitiibwa nnyo! Lizingiramu ebyo byonna Kitaffe by’ali, byonna by’akoze, ne byonna by’ajja okukola.​—Zab. 89:7, 8.

“NJA KULANGIRIRA ERINNYA LYA YAKUWA”

Engeri Musa gye yayigirizaamu yazzaamu abalala amaanyi. Yayigiriza abantu erinnya lya Katonda n’ekyo Yakuwa ky’ali (Laba akatundu 8) *

8. Ekyamateeka 32:2, 3 walaga watya endowooza Yakuwa gy’alina ku linnya lye?

8 Abayisirayiri bwe baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, Yakuwa alina oluyimba lwe yayigiriza Musa. (Ma. 31:19) Musa yalina okuyigiriza abantu oluyimba olwo. (Soma Ekyamateeka 32:2, 3.) Bwe tufumiitiriza ku lunyiriri 2 ne 3, tukiraba nti Yakuwa tayagala linnya lye likwekebwe, kwe kugamba, litwalibwe ng’eritalina kwatulwa. Ayagala erinnya lye limanyibwe buli muntu! Ng’Abayisirayiri abo baafuna enkizo ey’ekitalo okuwulira nga Musa abayigiriza ebikwata ku Yakuwa ne ku linnya lye ery’ekitiibwa! Ebyo Musa bye yabayigiriza byanyweza okukkiriza kwabwe era byabazzaamu amaanyi, ng’enkuba ettonnya empolampola bw’eyamba ebimera okukula obulungi. Tuyinza tutya okukakasa nti naffe okuyigiriza kwaffe bwe kutyo bwe kuba?

9. Tuyinza tutya okuyambako mu kutukuza erinnya lya Yakuwa?

9 Bwe tuba tubuulira nnyumba ku nnyumba oba mu bifo ebya lukale, tusobola okukozesa Bayibuli okulaga abantu erinnya lya Katonda, Yakuwa. Tusobola okubawa ebitabo byaffe, okubalaga vidiyo, oba ebintu ebirala ebiri ku mukutu gwaffe ebiweesa Yakuwa ekitiibwa. Bwe tuba ku mulimu, ku ssomero, oba nga tuli ku lugendo, tusobola okukozesa akakisa konna ke tufuna okubuulira abantu ebikwata ku Kitaffe gwe twagala ennyo n’ekyo ky’ali. Bwe tubuulira abalala ebintu ebirungi Yakuwa by’ategekedde abantu n’ensi, tuba tubayamba okukiraba nti ayagala nnyo abantu. Buli lwe tubuulira abalala amazima agakwata ku Kitaffe atwagala ennyo, tuba tuyambako mu kutukuza erinnya lya Katonda. Tuba tubayamba okukitegeera nti waliwo eby’obulimba bingi bye bayigiriziddwa ku Katonda. Ebyo bye tuyigiriza abantu okuva mu Bayibuli bye bintu ebisingayo okubazzaamu amaanyi.​—Is. 65:13, 14.

10. Bwe tuba tuyigiriza abantu Bayibuli, lwaki tetulina kukoma ku kubayigiriza mitindo gya Yakuwa n’ebyo by’atwetaagisa?

10 Bwe tuba tuyigiriza abantu Bayibuli, twagala okubayamba okumanya erinnya lya Katonda n’okulikozesa. Ate era twagala okubayamba okumanya ebizingirwa mu linnya eryo. Naye ekyo tusobola okukituukako singa tubabuulira bubuulizi biragiro bya Yakuwa, emitindo gye, n’engeri gy’ayagala tweyiseemu? Omuyizi omulungi ayinza okuyiga amateeka ga Yakuwa era n’agaagala. Naye anaagondera Yakuwa olw’okumwagala? Kijjukire nti Kaawa ne Adamu baali bamanyi etteeka lya Katonda, naye baali tabamwagala. (Lub. 3:1-6) N’olwekyo, tetulina kukoma ku kuyigiriza bantu ebyo Katonda by’atwetaagisa n’emitindo gye egy’obutuukirivu.

11. Bwe tuba tuyigiriza abantu amateeka ga Katonda n’emitondo gye, tuyinza tutya okubayamba okwagala oyo eyagatuwa?

11 Amateeka ga Yakuwa n’emitindo gye birungi era bituganyula. (Zab. 119:97, 111, 112) Naye abayizi baffe aba Bayibuli bayinza obutabiraba bwe batyo okuggyako nga tubayambye okukiraba nti Yakuwa abituwa olw’okuba atwagala. N’olwekyo, tuyinza okubuuza omuyizi waffe nti: “Lwaki Katonda agamba abaweereza be okukola ekintu kino oba okwewala ekintu kino? Ekyo kituyigiriza ki ku Katonda?” Bwe tuyamba abayizi baffe okulowooza ku Yakuwa n’okwagala erinnya lye ery’ekitiibwa, tuyinza okubatuuka ku mutima. Bajja kwagala amateeka ago n’oyo eyagatuwa. (Zab. 119:68) Okukkiriza kwabwe kujja kunywera era bajja kugumira ebigezo ebiringa omuliro.​—1 Kol. 3:12-15.

“FFE TUNAATAMBULIRANGA MU LINNYA LYA YAKUWA”

Lumu Dawudi yaleka omutima gwe okugabanyizibwamu (Laba akatundu 12)

12. Lumu Dawudi yalemererwa atya okukuuma omutima gwe okusigala nga gugattiddwa wamu, era biki ebyavaamu?

12 Zabbuli 86:11 mulimu ebigambo bino ebikulu: “Gatta wamu omutima gwange.” Kabaka Dawudi yaluŋŋamizibwa okuwandiika ebigambo ebyo. Mu kiseera kye yamala nga mulamu, yalaba bwe kiri ekyangu okuleka omutima okugabanyizibwamu. Lumu yali waggulu ku nnyumba ye n’alaba muka musajja ng’anaaba. Mu kiseera ekyo, omutima gwa Dawudi gwali gugattiddwa wamu oba gwali gugabanyiziddwamu? Yali amanyi etteeka lya Yakuwa lino: “Teweegombanga mukazi wa munno.” (Kuv. 20:17) Naye yeeyongera okutunuulira omukazi. Omutima gwe gwali gugabanyiziddwamu, nga gwegomba Basuseba ate nga mu kiseera kye kimu gwagala okusanyusa Yakuwa. Wadde nga Dawudi yali amaze ekiseera kiwanvu ng’ayagala Yakuwa era ng’amutya, yatwalirizibwa okwegomba okubi. Ekyo kyamuviirako okukola ebibi eby’amaanyi. Dawudi yaleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa. Era yaleetera abantu abataalina musango emitawaana mingi, nga mw’otwalidde n’ab’omu nnyumba ye.​—2 Sam. 11:1-5, 14-17; 12:7-12.

13. Tumanya tutya nti omutima gwa Dawudi gwaddamu ne guba nga gugattiddwa wamu?

13 Yakuwa yakangavvula Dawudi era Dawudi yaddamu okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa. (2 Sam. 12:13; Zab. 51:2-4, 17) Dawudi yajjukira emitawaana n’obulumi ebyavaamu bwe yaleka omutima gwe okugabanyizibwamu. Ebigambo bye ebiri mu Zabbuli 86:11 era biyinza okuvvuunulwa bwe biti: “Mpa omutima ogutagabanyiziddwamu.” Yakuwa yayamba Dawudi okuba n’omutima ogutagabanyiziddwamu? Yee, kubanga oluvannyuma Ekigambo kya Yakuwa kyogera ku Dawudi ng’omusajja eyalina ‘omutima ogwali gwemalidde ku Yakuwa Katonda we.’​—1 Bassek. 11:4; 15:3.

14. Kiki kye tusaanidde okwebuuza, era lwaki?

14 Ekyokulabirako kya Dawudi kituzzaamu amaanyi era kirimu okulabula. Okuba nti Dawudi yakola ekibi eky’amaanyi kirimu okulabula eri abaweereza ba Katonda leero. Ka tube nga tumaze emyaka mingi nga tuweereza Yakuwa oba nga twakatandika okumuweereza, tusaanidde okwebuuza, ‘Nziyiza Sitaani aleme kugabanyaamu mutima gwange?’

Sitaani ajja kufuba nnyo okulaba ng’agabanyaamu omutima gwo. Tomukkiriza! (Laba akatundu 15-16) *

15. Okutya Katonda kuyinza kutya okutukuuma ne tutalaba bifaananyi bitasaana?

15 Ng’ekyokulabirako, singa olaba ekifaananyi ku ttivi oba ku Intaneeti ekiyinza okukuleetera okufuna okwegomba okubi, kiki ky’okolawo? Kiba kyangu okulowooza nti ekifaananyi kino oba vidiyo eno si ya buseegu. Naye kyandiba nti Sitaani akikozesa okugabanyaamu omutima gwo? (2 Kol. 2:11) Ekifaananyi ekyo kiyinza okugeraageranyizibwa ku kyuma ekikozesebwa okubejjulamu ekiti ekigumu. Mu kusooka, omuntu akuba ekyuma ekyo ne kiyingirako katono mu kiti. Oluvannyuma akikomerera ne kiyingirira ddala mu kiti ne kikibejjulamu. Ekifaananyi ekyo kyandiba nti kiringa ekyuma ekikubiddwa ne kikuyingiramu katono? Ekintu ekitandika ng’ekitono era ekirabika ng’ekitalina mutawaana, mu bwangu kiyinza okuviirako omuntu okukola ebibi eby’amaanyi. N’olwekyo, tokkiriza kintu kyonna kitasaana kuyingira mu mutima gwo! Gukuume nga gugattiddwa wamu nga gutya erinnya lya Yakuwa!

16. Bwe tuba tukemebwa bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

16 Ng’oggyeeko ebifaananyi ebituleetera okufuna okwegomba okubi, Sitaani akozesa ebintu ebirala bingi okutukema. Tweyisa tutya ng’atukemye? Kyangu okwekwasa obusongasonga. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okugamba nti: ‘Kino tekisobola kungobya mu kibiina n’olwekyo si kibi nnyo.’ Endowooza ng’eyo nkyamu nnyo. Kirungi okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Kyandiba nti Sitaani akozesa ekikemo kino okugabanyamu omutima gwange? Bwe ntwalirizibwa okwegomba okubi, kinaakwata kitya ku linnya lya Yakuwa? Ekintu kino kinannyamba okwongera okunyweza enkolagana yange ne Yakuwa oba kigenda kugyonoona bwonoonyi?’ Fumiitirizanga ku bibuuzo ng’ebyo. Saba Katonda akuwe amagezi obiddemu mu bwesimbu, awatali kwerimbalimba. (Yak. 1:5) Bw’okola bw’otyo kiba kya bukuumi gy’oli. Kisobola okukuyamba okuba omumalirivu okuziyiza ebikemo nga Yesu bwe yakola, bwe yagamba nti: “Vaawo genda Sitaani!”​—Mat. 4:10.

17. Lwaki si kirungi kuba na mutima gugabanyiziddwamu? Waayo ekyokulabirako.

17 Si kirungi kuba na mutima gugabanyiziddwamu. Lowooza ku ttiimu emu ey’omuzannyo ng’abagirimu tebakwatagana. Abamu beenoonyeza bitiibwa, abalala tebaagala kuzannya nga bagoberera amateeka, ate abalala banyooma omutendesi waabwe. Kiba kizibu ttiimu ng’eyo okuwangula. Ku luuyi olulala, ttiimu omuli abazannyi abali obumu etera okuwangula. Omutima gwo gusobola okuba nga ttiimu eyo ewangula singa ebirowoozo byo, ebyo by’oyagala, n’enneewulira yo byemalidde ku kuweereza Yakuwa. Kijjukire nti Sitaani ayagala okugabanyamu omutima gwo. Ayagala ebirowoozo byo, ebyo by’oyagala n’enneewulira yo bibe nga tebikwatagana na mitindo gya Yakuwa. Naye okusobola okuweereza Yakuwa, weetaaga okuba n’omutima oguli obumu. (Mat. 22:36-38) Tokkirizanga Sitaani kugabanyaamu mutima gwo!

18. Okusinziira ku bigambo ebiri mu Mikka 4:5, kiki ky’omaliridde okukola?

18 Okufaananako Dawudi, naawe saba Yakuwa nti: “Gatta wamu omutima gwange nsobole okutya erinnya lyo.” Fuba okukolera ku ssaala eyo. Buli lunaku kakasa nti by’osalawo, ka bibe bitono oba binene, biraga nti ossa ekitiibwa mu linnya lya Yakuwa. Olw’okuba oli Mujulirwa wa Yakuwa, bw’okola bw’otyo, ojja kuweesa erinnya lya Yakuwa ekitiibwa. (Nge. 27:11) Era okufaananako Mikka, ffenna tujja kusobola okugamba nti: “Ffe tunaatambuliranga mu linnya lya Yakuwa Katonda waffe emirembe n’emirembe.”​—Mi. 4:5.

OLUYIMBA 41 Wulira Okusaba Kwange

^ lup. 5 Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya ebigambo Kabaka Dawudi bye yayogera ng’asaba Yakuwa mu Zabbuli 86:11, 12. Kitegeeza ki okutya erinnya lya Yakuwa? Kiki kye tusinziirako okutya erinnya eryo ekkulu? Era okutya Katonda kuyinza kutya okutuyamba obutatwalirizibwa nga tukemeddwa?

^ lup. 53 EBIFAANANYI: Musa yayigiriza Abayisirayiri oluyimba oluweesa Yakuwa ekitiibwa.

^ lup. 57 EBIFAANANYI: Kaawa teyeesamba kwegomba kubi. Okumwawukanako, ffe tusaanidde okwewala ebifaananyi oba obubaka ebisobola okutuleetera okwegomba okubi ne tuleeta ekivume ku linnya lya Katonda.