Yoleka Okukkiriza—Era Salawo mu Ngeri ey’Amagezi!
‘Sabanga mu kukkiriza nga tobuusabuusa n’akamu.’
ENNYIMBA: 81, 70
1. Kiki ekyaviirako Kayini okusalawo mu ngeri etali ya magezi, era biki ebyavaamu?
KAYINI yalina okusalawo okufuga obusungu bwe oba okuleka obusungu bwe okumufuga. Ebyo ebyandivudde mu ekyo kye yandisazzeewo byandikutte ku bulamu bwe bwonna. Naye Kayini teyasalawo mu ngeri ey’amagezi. Ekyo kye yasalawo kyamuviirako okutta muganda we. Ate era ekyo Kayini kye yasalawo kyamuviirako okufiirwa enkolagana ye ne Yakuwa.
2. Lwaki kikulu okusalawo mu ngeri ey’amagezi?
2 Naffe tulina ebintu ebitali bimu bye tulina okusalawo. Ebimu bikulu nnyo ate ebirala si bikulu nnyo. Wadde kiri kityo, bingi ku bintu bye tusalawo bisobola okukwata ku bulamu bwaffe bwonna. N’olwekyo, bwe tusalawo obulungi kituyamba okwewala ebizibu. Naye bwe tusalawo obubi tufuna ebizibu bingi.
3. (a) Kiki ekinaatuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu?
3 Kiki ekinaatuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi? Tulina okwesiga Yakuwa nga tuli bakakafu nti ayagala okutuyamba Yakobo 1:5-8.) Gye tukoma okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa era n’okwagala Ekigambo kye, gye tukoma okweyongera okumwesiga. N’ekivaamu, tunoonya obulagirizi obuli mu Kigambo kye nga tetunnasalawo ku kintu kyonna. Naye tuyinza tutya okuyiga okusalawo mu ngeri ey’amagezi? Era bwe tumala okusalawo kitegeeza nti tetusobola kukyusaamu mu ekyo kye tuba tusazeewo?
era nti ajja kutuwa amagezi ge twetaaga okusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Era tulina okwesiga amagezi agali mu Kigambo kya Katonda. (SomaFFENNA TULINA OKUSALAWO
4. Kiki Adamu kye yalina okusalawo, era biki ebyava mu ekyo kye yasalawo?
4 Okuviira ddala abantu lwe baatondebwa babaddenga balina okusalawo ku bintu ebikulu ebitali bimu. Adamu yalina okusalawo okuwuliriza Omutonzi we oba okuwuliriza Kaawa. Adamu yasalawo okuwuliriza mukyala we era ekyo kye yasalawo tekyali kya magezi. N’ekyavaamu, Yakuwa yamugoba mu Lusuku Edeni era oluvannyuma n’afa. N’okutuusa leero ffenna tubonaabona olw’okuba Adamu yasalawo mu ngeri etali ya magezi.
5. Ndowooza ki gye tusaanidde okuba nayo ku kusalawo?
5 Abantu abamu balowooza nti obulamu bwandibadde bulungi okusingawo singa twatondebwa nga tetulina kusalawo. Naawe bw’otyo bw’olowooza? Kijjukire nti Yakuwa teyatonda bantu nga balinga Loboti, ezitasobola kwerowooleza wadde okwesalirawo. Bayibuli etuyamba okumanya engeri y’okusalawo obulungi. Yakuwa ayagala tusalewo ku bintu ebitali bimu era ekyo kituganyula. Lowooza ku byokulabirako bino wammanga.
6, 7. Kiki Abayisirayiri kye baalina okusalawo, era lwaki tekyabanguyira kusalawo mu ngeri ey’amagezi? (Laba ekifaananyi ku lupapula 13.)
6 Abayisirayiri bwe baamala okutuuka mu Nsi Ensuubize baalina okusalawo okusinza Yakuwa oba okusinza bakatonda abalala. (Soma Yoswa 24:15.) Ekyo kirabika ng’ekintu ekyali ekyangu okusalawo. Naye ekyo kye bandisazeewo kyandibaviiriddemu okuwonyaawo obulamu bwabwe oba okubufiirwa. Mu kiseera ky’Abalamuzi, enfunda n’enfunda Abayisirayiri baasalangawo bubi. Baavanga ku Yakuwa ne basinza bakatonda ab’obulimba. (Balam. 2:3, 11-23) Lowooza ku ekyo ekyaliwo mu kiseera kya Eriya. Nnabbi Eriya yagamba Abayisirayiri nti baalina okusalawo okuweereza Yakuwa oba okuweereza Bbaali, katonda ow’obulimba. (1 Bassek. 18:21) Eriya yanenya abantu olw’obutasalawo. Oyinza okulowooza nti ekyo tekyali kizibu kusalawo kubanga kyeyoleka lwatu nti kya magezi okuweereza Yakuwa. Mu butuufu, tewali muntu yenna ategeera yandisazeewo kusinza Bbaali. Wadde kyali kityo, Abayisirayiri abo baali ‘batta aga n’aga.’ Eriya yakubiriza Abayisirayiri okusalawo okusinza Yakuwa, Katonda ow’amazima.
7 Lwaki Abayisirayiri abo tekyabanguyira kusalawo mu ngeri ey’amagezi? Okusookera ddala, baali tebakyalina kukkiriza kunywevu mu Yakuwa era baagaana okumuwuliriza. Baali tebafuddeeyo kwongera kumanya bikwata ku Yakuwa, era baali tebamwesiga. Singa ekyo baali bakikoze, kyandibayambye okusalawo mu ngeri ey’amagezi. (Zab. 25:12) Ate era baali batwaliriziddwa empisa z’abantu abatasinza Yakuwa era nga babalese okubasalirawo engeri y’okutambuzaamu obulamu bwabwe. N’ekyavaamu, Abayisirayiri baatandika okusinza bakatonda ab’obulimba. Emyaka mingi emabega, Yakuwa yali alabudde Abayisirayiri ku buzibu obwo.
TWANDIRESE ABALALA OKUTUSALIRAWO?
8. Ebyo bye tusoma ku Bayisirayiri bituyigiriza ki bwe kituuka ku kusalawo?
8 Ekyokulabirako kye tulabye waggulu kiraga nti ffe tulina okwesalirawo. Naye bwe tuba ab’okusalawo mu ngeri ey’amagezi, tulina okunoonya obulagirizi obuli mu Byawandiikibwa. Abaggalatiya 6:5 wagamba nti: “Buli omu ajja kwetikka omugugu gwe ogw’obuvunaanyizibwa.” (Obugambo obuli wansi.) Ekyo kiraga nti tetulina kuleka balala kutusalirawo, kubanga obwo buvunaanyizibwa bwaffe. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okumanya ekyo ekisanyusa Katonda era ne tukikola.
9. Lwaki si kya magezi kuleka balala kutusalirawo?
9 Omuntu ayinza atya okugwa mu katego ak’okuleka abalala okumusalirawo? Okupikirizibwa kuyinza okuleetera omuntu okusalawo mu ngeri etali ya magezi. (Nge. 1:10, 15) Kyokka, abalala ne bwe batupikiriza batya, kiri eri ffe okusalawo okukolera ku muntu waffe ow’omunda atendekeddwa Bayibuli. Bwe tuleka abalala okutusalirawo, era tuba tulina kye tusazeewo. Tuba tusazeewo okubagoberera. Ekyo kiyinza okutuviiramu emitawaana.
10. Kulabula ki Pawulo kwe yawa Abaggalatiya?
10 Omutume Pawulo yalabula Abaggalatiya ku kabi akali mu kuleka abalala okubasalirawo. (Soma Abaggalatiya 4:17.) Abamu mu kibiina ekyo baali baagala okusalirawo abalala nga balina ekigendererwa eky’okubaleetera okulekera awo okukolera ku bulagirizi bw’abatume. Abasajja abo ababi baali baagala Abakristaayo mu kibiina ekyo bagoberere bo. Baali tebassa kitiibwa mu ddembe ly’abalala ery’okwesalirawo.
11. Tuyinza tutya okuyamba abalala nga baliko kye basalawo?
11 Pawulo yassanga ekitiibwa mu ddembe ly’abalala ery’okwesalirawo. (Soma 2 Abakkolinso 1:24.) Leero abakadde basaanidde okukoppa Pawulo nga baliko amagezi ge bawa bakkiriza bannaabwe, bwe kituuka ku nsonga buli omu z’alina okwesalirawo. Basaanidde okubalaga ekyo Bayibuli ky’egamba, naye balina okwewala okubasalirawo. Ekyo kya magezi kubanga buli omu aba alina okwolekagana n’ebyo ebiva mu ekyo ekiba kisaliddwaawo. N’olwekyo, ffe kye tusaanidde okukola kwe kuyamba abalala nga tubalaga ekyo Bayibuli ky’eyogera ku mbeera yaabwe. Kyokka, tulina okukijjukira nti baganda baffe ne bannyinaffe be balina okwesalirawo. Bwe basalawo mu ngeri ey’amagezi baganyulwa. Tusaanidde okwewala okusalirawo abalala.
TOGOBERERA MUTIMA GWO NG’OSALAWO
12, 13. Lwaki si kya magezi kusalawo nga tuliko obusungu oba nga tuweddemu amaanyi?
12 Leero abantu abasinga obungi bwe baba basalawo, bagoberera ekyo omutima gwabwe kye gwagala. Naye ekyo kya kabi. Bayibuli etukubiriza okwewala okugoberera omutima gwaffe nga tuliko bye tusalawo. (Nge. 28:26) Kabi ki akali mu kugoberera omutima gwaffe nga tulina bye tusalawo? Bayibuli egamba nti: “Omutima mukuusa okusinga ekintu ekirala kyonna era gwa kabi nnyo.” (Yer. 3:17; 13:10; 17:9; 1 Bassek. 11:9) Biki ebiyinza okuvaamu singa tugoberera omutima gwaffe nga tulina bye tusalawo?
13 Bayibuli eraga nti omutima gwaffe kintu kikulu nnyo. Yakuwa atukubiriza okumwagala n’omutima gwaffe gwonna era n’okwagala bantu bannaffe nga bwe tweyagala. (Mat. 22:37-39) Wadde kiri kityo, tusaanidde okuba abeegendereza. Ebyawandiikibwa bye tulabye waggulu biraga akabi akali mu kusalawo nga tusinziira ku nneewulira zaffe. Ng’ekyokulabirako, kizibu omuntu aliko obusungu okusalawo mu ngeri ey’amagezi. (Nge. 14:17; 29:22) Era kizibu omuntu aweddemu amaanyi okusalawo mu ngeri ey’amagezi. (Kubal. 32:6-12; Nge. 24:10) Tusaanidde okugoberera obulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda nga tuliko bye tusalawo. (Bar. 7:25) Bwe tuba tusalawo ku bintu ebikulu, tetusaanidde kusalawo nga tusinziira ku nneewulira zaffe.
OKUKYUSA MU EKYO KYE TUBA TWASALAWO
14. Kiki ekiraga nti oluusi kiba kya magezi okukyusa mu ekyo kye tuba twasalawo?
14 Tusaanidde okufuba okusalangawo mu ngeri ey’amagezi. Kyokka ekyo tekitegeeza nti bwe tumala okusalawo tetusobola kukyusaamu mu ekyo kye tuba twasalawo. Oluusi kiba kya magezi okukyusaamu mu ekyo kye tuba twasalawo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo Yakuwa kye yakola bwe yali asazeewo okuzikiriza abantu b’e Nineeve mu kiseera kya Yona. Bayibuli egamba nti: “Katonda ow’amazima bwe yalaba bye baakola, nga bwe baali baleseeyo amakubo gaabwe amabi, n’akyusa ekirowoozo ky’okuleeta akabi ke yali agambye okubatuusaako, n’atakaleeta.” (Yon. 3:10) Oluvannyuma lw’okulaba ng’abantu b’omu Nineeve beenenyezza, Yakuwa yakyusa mu ekyo kye yali asazeewo. Bwe kityo, Yakuwa yakiraga nti si mukakanyavu, mwetoowaze, era nti musaasizi. Ate era obutafaananako bantu abasinga obungi, Yakuwa ne bw’aba asunguwadde, tasalawo nga tasoose kulowooza.
15. Biki ebiyinza okutuleetera okukyusa mu ekyo kye tuba twasalawo?
15 Oluusi kiba kya magezi okukyusaamu mu ekyo kye tuba twasalawo, gamba singa embeera eba ekyuse. Oluusi Yakuwa yakyusangamu mu ebyo bye yabanga asazeewo, embeera bwe zaabanga zikyuse. (1 Bassek. 21:20, 21, 27-29; 2 Bassek. 20:1-5) Ate era bwe tweyongera okumanya ebisingawo, kiyinza okutwetaagisa okukyusaamu mu ekyo kye tuba twasalawo. Kabaka Dawudi baamubuulira eby’obulimba ku Mefibosesi, muzzukulu wa Sawulo. Naye Dawudi bwe yamanya ebisingawo, yakyusaamu mu ekyo kye yali asazeewo. (2 Sam. 16:3, 4; 19:24-29) Naffe oluusi ekyo kye tusaanidde okukola.
16. (a) Magezi ki agayinza okutuyamba nga tusalawo? (b) Lwaki tusaanidde okufumiitiriza ku ebyo bye tuba twasalawo, era lwaki ekyo kikulu?
16 Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okwewala okwanguyiriza okusalawo, naddala ku nsonga enkulu. (Nge. 21:5) Bwe tusooka okulowooza ku ebyo byonna ebizingirwamu nga tetunnasalawo, kisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. (1 Bas. 5:21) Emitwe gy’amaka bwe baba tebannasalawo, basaanidde okunoonyereza mu Byawandiikibwa ne mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa, era balina n’okwebuuza ku b’omu maka gaabwe. Lumu Yakuwa yagamba Ibulayimu awulirize mukyala we kye yali amugamba. (Lub. 21:9-12) Abakadde nabo balina okufuba okunoonyereza. Bwe babaako ebirala bye beeyongedde okumanya ne bakiraba nti kibeetaagisa okukyusaamu mu ekyo kye baba baasalawo, balina okuba abeetegefu okukyusaamu nga tebatya nti bajja kuswala. Ekyo kiba kiraga nti si bakakanyavu era nti beetoowaze. Era bajja kuba batuteereddewo ekyokulabirako ekirungi. Ekyo kiyamba ekibiina okuba mu mirembe n’okuba obumu.
KOLERA KU EBYO BY’OBA OSAZEEWO
17. Kiki ekisobola okutuyamba okusalawo obulungi?
17 Ebintu ebimu bye tusalawo bikulu okusinga ebirala. Bwe tuba tusalawo ku bintu ebikulu ennyo, tusaanidde okufumiitiriza ennyo n’okusaba Yakuwa atuyambe, era ekyo kiyinza okututwalira ekiseera. Abakristaayo abamu baba balina okusalawo obanga banaayingira obufumbo, era baba balina okusalawo muntu ki gwe banaawasa oba gwe banaafumbirwa. Ekintu ekirala ekikulu abamu kye balina okusalawo ye ngeri gye bayinza okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna na ddi lwe banaabuyingira. Bwe tuba tusalawo ku bintu ng’ebyo, tulina okwesiga Yakuwa nti ajja kutuyamba era nti ajja kutuwa obulagirizi bwe twetaaga. (Nge. 1:5) N’olwekyo, tuba tulina okunoonya obulagirizi obuli mu Bayibuli n’okusaba ennyo Yakuwa. Era tusaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba okukulaakulanya engeri ze twetaaga okusobola okusalawo mu ngeri gy’asiima. N’olwekyo, bw’oba osalawo ku bintu ebikulu ennyo sooka weebuuze: ‘Kye njagala okusalawo kinaalaga nti njagala Yakuwa n’omutima gwange gwonna? Kinaaleeta emirembe n’essanyu awaka? Era kinaalaga nti ndi mugumiikiriza era nti nfaayo ku balala?’
18. Lwaki Yakuwa atusuubira okwesalirawo?
18 Yakuwa tatukaka kumwagala na kumuweereza. Ekyo ffe tulina okukyesalirawo. Yakuwa assa ekitiibwa mu ddembe lye yatuwa ery’okwesalirawo. (Yos. 24:15; Mub. 5:4) Naye atusuubira okukolera ku ebyo bye tuba tusazeewo nga tusinziira ku bulagirizi obuli mu Kigambo kye. Bwe twesiga obulagirizi Yakuwa bw’atuwa era ne tukolera ku misingi egiri mu Kigambo kye, tusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi, era ekyo kijja kulaga nti tunywerera mu makubo gaffe gonna.