Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 22

Weeyongere Okulongoosa mu Ngeri Gye Weesomesaamu!

Weeyongere Okulongoosa mu Ngeri Gye Weesomesaamu!

‘Mumanye ebintu ebisinga obukulu.’​—BAF. 1:10.

OLUYIMBA 35 “Mumanyenga Ebintu Ebisinga Obukulu”

OMULAMWA *

1. Lwaki abamu tekibanguyira kwesomesa?

ENNAKU zino si kyangu kweyimirizaawo. Bangi ku baganda baffe bakola okumala essaawa nnyingi okusobola okufuna ebyetaago by’ab’omu maka gaabwe. Abamu bamala essaawa nnyingi mu kkubo nga bagenda oba nga bakomawo okuva ku mirimu. Bangi ku bo bakola emirimu egimenya okusobola okweyimirizaawo. Olunaku we luggweerako, baganda baffe abo ne bannyinaffe baba bakooye nnyo! Mu mbeera ng’eyo tekiba kyangu gye bali kwesomesa.

2. Ddi lw’ofuna ekiseera okwesomesa?

2 Ekituufu kiri nti tuteekwa okufuna ebiseera okwesomesa Ekigambo kya Katonda n’ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa. Bwe tuba ab’okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa era bwe tuba ab’okufuna obulamu obutaggwaawo tulina okwesomesa! (1 Tim. 4:15) Abamu bazuukuka ku makya nnyo nga tebannafuna bibateganya era nga tewali bireekaana ne beesomesa. Abalala bafunayo eddakiika ntonotono ekiro nga tebanneebaka ne beesomesa era ne bafumiitiriza ku ebyo bye baba basomye.

3-4. Nkyukakyuka ki ezaakolebwa mu bintu bye tusoma, era lwaki?

3 Tewali kubuusabuusa nti naawe okkiriza nti kikulu okufunangayo akadde okwesomesa. Naye biki by’osaanidde okwesomesa? Oyinza okugamba nti ‘Tulina ebintu bingi eby’okusoma, era byonna siyinza kubisoma ne mbimalayo.’ Abamu basobola okusoma ebintu byonna ebituweebwa, naye ekyo si kyangu eri baganda baffe abamu. Ekyo Akakiiko Akafuzi kakimanyi. Eyo ye nsonga lwaki gye buvuddeko awo kaasalawo okukendeeza ku bitabo ebikubibwa mu kyapa n’ebintu ebiteekebwa ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti.

4 Ng’ekyokulabirako, tetukyafulumya katabo Yearbook of Jehovah’s Witnesses, okuva bwe kiri nti kati ebintu bingi ebikwata ku baganda baffe bifulumira ku jw.org® ne ku ttivi yaffe. Kati magazini y’Omunaala gw’Omukuumi ogwa bonna awamu ne magazini ya Zuukuka! buli emu ku zo efuluma emirundi esatu gyokka mu mwaka. Enkyukakyuka ezo tezaakolebwa nti tusobole okufuna obudde okukola ebintu ebirala. Zaakolebwa okutuyamba okwongera okussaayo omwoyo ku ‘bintu ebisinga obukulu.’ (Baf. 1:10) Kati ka tulabe engeri gy’oyinza okusalawo ebyo by’osaanidde okukulembeza, n’engeri gy’oyinza okuganyulwa mu bujjuvu mu kwesomesa Bayibuli.

MANYA BY’OLINA OKUKULEMBEZA

5-6. Bitabo ki bye tusaanidde okukakasa nti tusoma?

5 Mu bintu bye twesomesa, kiruwa kye tusaanidde okukulembeza? Tusaanidde okufunayo akadde buli lunaku okwesomesa Ekigambo kya Katonda. Essuula ezituweebwa okusoma mu Bayibuli buli wiiki ng’ekibiina kati zaakendeezebwako tusobole okufuna akadde akawerako okufumiitiriza ku ebyo bye tuba tusomye n’okubinoonyerezaako. Ekigendererwa kyaffe si kusoma busomi ssuula ezo ne tuzimalako, wabula twagala Ekigambo kya Katonda kituuke ku mitima gyaffe kitusobozese okwongera okusemberera Yakuwa.​—Zab. 19:14.

6 Biki ebirala bye tusaanidde okusoma n’obwegendereza? Tusaanidde okutegeka obulungi ekitundu ky’Omunaala gw’Omukuumi kye tuba tugenda okusoma mu kibiina awamu n’ekitundu kye tuba tugenda okwekenneenya mu Kuyiga Bayibuli okw’Ekibiina n’ebitundu ebirala ebiba mu lukuŋŋaana olubaawo wakati mu wiiki. Ate era tusaanidde okusoma buli magazini y’Omunaala gw’Omukuumi ogwa bonna n’eya Zuukuka! eba efulumye.

7. Bwe tuba nga tetusobola kusoma oba kulaba buli kimu ekiteekebwa ku mukutu gwaffe oba ku ttivi yaffe, kyanditumazeemu amaanyi?

7 Oyinza okuba ng’okkiriza nti ebintu ebyo byonna tulina okubisoma. Naye era oyinza okwebuuza nti, ‘Ate olwo ebintu byonna ebifulumira ku jw.org ne ku ttivi yaffe? Ebintu ebyo nga bingi nnyo!’ Lowooza ku kyokulabirako kino: Watya singa ogenda ku mukolo ne bassaawo emmere ey’ebika eby’enjawulo? Abamu ku bantu ababa ku mukolo ogwo bayinza obutalya ku buli emu ku mmere eteereddwawo. Balondamu emu n’emu gye banaalya. Mu ngeri y‘emu, bw’oba nga tosobola kusoma oba kulaba buli kimu ekiteekebwa ku mukutu gwaffe oba ku ttivi yaffe, toggwaamu maanyi. Soma oba laba ebyo byokka by’osobola. Kati ka twekenneenye ebizingirwa mu kwesomesa n’engeri gye tuyinza okukuganyulwamu.

OKWESOMESA KYETAAGISA OKUFUBA!

8. Mitendera ki gye tuyinza okuyitamu nga tutegeka Omunaala gw’Omukuumi, era okukola ekyo kituganyula kitya?

8 Okwesomesa kwe kussaayo ennyo omwoyo ku ekyo ky’osoma osobole okuggyamu eky’okuyiga. Okwesomesa si kuyita buyisi mu kitundu ky’oba osoma n’okusaza ku by’okuddamu. Ng’ekyokulabirako, bw’oba otegeka ekitundu ky’Omunaala gw’Omukuumi, sooka osome omulamwa gw’ekitundu ekyo. Oluvannyuma weetegereze omutwe gw’ekitundu ekyo, emitwe emitono egiri mu kitundu ekyo, awamu n’ebibuuzo eby’okwejjukanya. Oluvannyuma lw’ekyo, soma ekitundu ekyo mpolampola era n’obwegendereza. Weetegereze sentensi eggyayo ensonga enkulu eyogerwako mu katundu, era emirundi mingi sentensi eyo y’eba esooka mu katundu. Ng’osoma ekitundu, lowooza ku ngeri buli katundu gye kakwataganamu n’omutwe omutono era n’engeri gye kakwataganamu n’omutwe gw’ekitundu. Baako w’owandiika ebigambo by’ototegedde awamu n’ebintu ebipya by’oyize bye wandyagadde okweyongera okunoonyerezaako.

9. (a) Lwaki tusaanidde okussaayo ennyo omwoyo ku byawandiikibwa nga tutegeka Omunaala gw’Omukuumi, era ekyo tuyinza kukikola tutya? (b) Nga bwe kiragibwa mu Yoswa 1:8, kiki kye tusaanidde okukola nga tusoma ebyawandiikibwa?

9 Ebitundu by’Omunaala gw’Omukuumi bye tusoma mu kibiina bituyamba okwongera okutegeera Bayibuli. N’olwekyo bw’oba otegeka Omunaala, ssaayo nnyo omwoyo ku byawandiikibwa, naddala ebyo ebinaasomebwa mu kibiina. Weetegereze ebigambo ebiri mu byawandiikibwa ebyo ebiwagira ensonga eyogerwako mu katundu. Ate era fumiitiriza ku byawandiikibwa by’osoma ne ku ngeri gy’oyinza okubikolerako.​—Soma Yoswa 1:8.

Abazadde, muyigirize abaana bammwe engeri y’okwesomesaamu (Laba akatundu 10) *

10. Okusinziira ku Abebbulaniya 5:14, lwaki oluusi mu kusinza kw’amaka abazadde basaanidde okuyigiriza abaana baabwe okwesomesa n’okunoonyereza?

10 Kya lwatu nti abazadde baagala abaana baabwe banyumirwe okusinza kw’amaka okubaawo buli wiiki. Wadde ng’abazadde balina okuba nga bamanyi kye banaakola oba kye banaayogerako mu kusinza kw’amaka buli wiiki, tebasaanidde kukitwala nti buli wiiki balina okutegekayo ekintu ekisikiriza abaana. Wadde nga mu kusinza kw’amaka, ab’omu maka basobola okulaba programu ya buli mwezi ebeera ku ttivi yaffe oba okukolayo ekintu eky’enjawulo gamba ng’okuzimba eryato lya Nuuwa, kikulu n’okuyamba abaana okuyiga okwesomesa. Ng’ekyokulabirako, abaana beetaaga okuyiga engeri y’okutegekamu enkuŋŋaana oba okunoonyereza ku nsonga emu eba ezzeewo ku ssomero. (Soma Abebbulaniya 5:14.) Bwe bafunayo akadde ne basoma era ne banoonyereza ku bintu ebitali bimu ebyogerwako mu Bayibuli nga bali waka, kijja kubanguyira okussaayo omwoyo ne mu bitundu ebiba mu nkuŋŋaana zaffe ennene n’entono ebitabaamu kulaga vidiyo. Kya lwatu nti ekiseera abazadde kye bamala nga basoma n’abaana baabwe kisinziira ku myaka gy’abaana abo ne ku mbeera zaabwe.

11. Lwaki kikulu okuyigiriza abayizi baffe aba Bayibuli okwesomesa?

11 N’abayizi baffe aba Bayibuli beetaaga okuyiga okwesomesa. Bwe tuba twakatandika okuyiga n’omuntu Bayibuli, kitusanyusa okulaba ng’asazizza ku by’okuddamu mu katabo ke tusoma naye oba mu kitundu ekiba kigenda okukubaganyizibwako ebirowoozo mu nkuŋŋaana. Naye tusaanidde okuyigiriza abayizi baffe okunoonyereza n’okwesomesa. Bwe tukola tutyo, bwe bafuna ebizibu, mu kifo ky’okwanguwa okugenda eri abalala mu kibiina bababuuze eky’okukola, bajja kuba bamanyi engeri y’okunoonyereza mu bitabo byaffe okusobola okufuna amagezi aganaabayamba.

BA N’EKIRUUBIRIRWA NGA WEESOMESA

12. Biruubirirwa ki bye tusaanidde okuba nabyo nga twesomesa?

12 Bw’oba nga tonyumirwa kusoma, oyinza okulowooza nti tolisobola kunyumirwa kwesomesa. Naye osobola okunyumirwa okwesomesa. Osobola okutandika ng’omala ebiseera bitono nga weesomesa oluvannyuma n’ogenda ng’oyongera ku biseera ebyo. Ba n’ekiruubirirwa nga weesomesa. Kya lwatu nti ekiruubirirwa kyaffe ekisingira ddala obukulu mu kwesomesa kwe kwagala okweyongera okusemberera Yakuwa. Ekimu ku biruubirirwa eby’amangu bye tuyinza okweteerawo kwe kumanya engeri gye tusobola okuddamu ekibuuzo omuntu ky’aba yatubuuzizza oba okunoonyereza ku kizibu ekimu kye tuba twolekagana nakyo.

13. (a) Biki omuvubuka by’ayinza okukola okusobola okunnyonnyola bayizi banne ebyo by’akkiriza? (b) Oyinza otya okukolera ku kubuulirira okuli mu Abakkolosaayi 4:6?

13 Ng’ekyokulabirako, oli muvubuka akyasoma? Bayizi banno bayinza okuba nga bakkiririza mu njigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa wabula byajja bifuukafuuka. Oyinza okuba ng’oyagala okubalaga nti ekyo Bayibuli ky’eyigiriza kye kituufu, naye nga muli owulira nti tosobola. Mu mbeera eyo kiba kikwetaagisa okwesomesa! Nga weesomesa, olina okuba n’ebiruubirirwa bino bibiri: (1) okwongera okuba omukakafu nti Katonda ye yatonda ebintu byonna, ne (2) okwongera okukuguka mu ngeri y’okunnyonnyolamu abalala amazima agali mu Bayibuli. (Bar. 1:20; 1 Peet. 3:15) Oyinza okusooka okwebuuza, ‘Lwaki bayizi bannange bagamba nti ebintu tebyatondebwa?’ Oluvannyuma, ng’okozesa ebitabo byaffe, noonyereza ku nsonga eyo n’obwegendereza. Oyinza okukiraba nti okunnyonnyola ekyo ky’okkiriza si kizibu nga bw’obadde olowooza. Abantu abasinga obungi bakkiriza nti ebintu tebyatondebwa olw’okuba waliwo omuntu gwe bassaamu ekitiibwa eyakibagamba. Bw’ofunayo ensonga emu oba bbiri z’osobola okukozesa okubannyonnyola, oyinza okuyamba abo abanoonya amazima mu bwesimbu okutegeera ekituufu.​—Soma Abakkolosaayi 4:6.

YAGALA OKUMANYA

14-16. (a) Oyinza otya okutegeera obulungi ebintu ebiri mu kitabo kya Bayibuli ky’otomanyi bulungi bikikwatako? (b) Nnyonnyola engeri ebyawandiikibwa ebiweereddwa gye biyinza okukuyamba okutegeera ebyo ebiri mu kitabo kya Amosi. (Laba n’akasanduuko “ Tegeera Bulungi by’Osoma mu Bayibuli.”)

14 Ka tugambe nti mu lukuŋŋaana lw’ekibiina oluddako tugenda kwekenneenya ekimu ku bitabo ebitono eby’obunnabbi, oboolyawo ng’ekitabo ekyo olina bitono nnyo by’okimanyiiko. Ky’olina okusooka okukola kwe kwagala okumanya ebyo ebiri mu kitabo ekyo. Ekyo oyinza kukikola otya?

15 Ekisooka, weebuuze: ‘Kiki kye mmanyi ku oyo eyawandiika ekitabo kino? Yali ani, yali abeera wa, era yali akola mulimu ki?’ Okumanya ebikwata ku muwandiisi kisobola okukuyamba okumanya ensonga lwaki yakozesa ebigambo oba ebyokulabirako ebimu. Ng’osoma ekitabo ekyo, weetegereze ebigambo ebiraga engeri z’omuwandiisi waakyo.

16 Eky’okubiri, kiba kirungi okumanya ddi ekitabo lwe kyawandiikibwa. Ekyo osobola okukikola ng’okebera emabega mu Bayibuli, Enkyusa ey’Ensi Empya, wansi w’omutwe “Olukalala lw’Ebitabo bya Bayibuli.” Okwongereza ku ekyo, osobola okwekenneenya ekipande ekiri mu Ebyongerezeddwako A6 ekiraga ddi bannabbi ne bakabaka we baabeererawo. Bwe kiba nti ekitabo ky’osoma kya bunnabbi, kiba kirungi n’omanya embeera eyaliwo nga kiwandiikibwa. Bintu ki ebibi abantu bye baali bakola Yakuwa bye yali ayagala nnabbi oyo abalabule bakomye? Bantu ki abalala abaaliwo mu kiseera kye? Okusobola okufuna ekifaananyi ekigazi kiyinza okukwetaagisa okunoonyerezaako ne mu bitabo bya Bayibuli ebirala. Ng’ekyokulabirako, okusobola okutegeera obulungi ebyaliwo mu kiseera kya nnabbi Amosi, oyinza okusoma ennyiriri eziri mu 2 Bassekabaka ne 2 Ebyomumirembe eziteereddwa mu muwaatwa ezikwataganyizibwa ne Amosi 1:1. Ate era oyinza n’okwekenneenya ebyo ebyawandiikibwa nnabbi Koseya eyaliwo mu kiseera kye kimu ne Amosi. Ebintu ebyo biyinza okukuyamba okumanya obulamu bwe bwali mu kiseera Amosi we yabeererawo.​—2 Bassek. 14:25-28; 2 Byom. 26:1-15; Kos. 1:1-11; Am. 1:1.

SSAAYO OMWOYO NE KU BINTU EBIRABIKA NG’EBITONO

17-18. Ng’okozesa ebyokulabirako ebiweereddwa mu butundu oba ekyokulabirako ekirala ky’olina, laga engeri okussaayo omwoyo ne ku bintu ebirabika ng’ebitono gye kiyinza okutuyamba okunyumirwa okusoma Bayibuli.

17 Bwe tuba tusoma Bayibuli, kirungi okussaayo omwoyo ne ku bintu ebirabika ng’ebitono. Ka tugambe nti osoma essuula eya 12 ey’ekitabo kya Zekkaliya eyogera ku kufa kwa Masiya. (Zek. 12:10) Bw’otuuka ku lunyiriri 12, osoma ebigambo ebiraga nti “amaka g’ennyumba ya Nasani” galikuba ebiwoobe olw’okufa kwa Masiya. Mu kifo ky’okuyita obuyisi ku bigambo ebyo, kirungi okusiriikiriramu ne weebuuza nti: ‘Kakwate ki akaliwo wakati w’ennyumba ya Nasani ne Masiya? Waliwo awalala awayinza okunnyamba okumanya ebisingawo?’ Awo oba olina okunoonyereza. Ekimu ku byawandiikibwa ebiri mu muwaatwa ebikwatagana n’olunyiriri olwo ye 2 Samwiri 5:13, 14, awalaga nti Nasani yali omu ku batabani ba Kabaka Dawudi. Ekyawandiikibwa ekirala ekiri mu muwaatwa ye Lukka 3:23, 31, awalaga nti Yesu yali muzzukulu wa Nasani okuyitira mu Maliyamu. (Laba “Yusufu, omwana wa Keri,” awannyonnyolerwa ebiri mu Lukka 3:23.) Ekyo kikukwatako nnyo! Bulijjo obadde okimanyi nti Bayibuli eraga nti Yesu yali wa kuva mu lunyiriri lwa Dawudi. (Mat. 22:42) Naye Dawudi yalina abaana ab’obulenzi abasukka mu 20. Tekikwewuunyisa okuba nti Zekkaliya yanokolayo ennyumba ya Nasani nti yandikubye ebiwoobe nga Yesu afudde?

18 Lowooza ku kyokulabirako ekirala. Tusoma mu Lukka essuula esooka nti malayika Gabulyeri yalabikira Maliyamu n’amubuulira ebigambo bino ebikwata ku mwana Maliyamu gwe yali agenda okuzaala: “Oyo aliba mukulu era aliyitibwa Mwana w’Oyo Asingayo Okuba Waggulu; era Yakuwa Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe; alifuga ennyumba ya Yakobo nga Kabaka emirembe gyonna.” (Luk. 1:32, 33) Kyangu okussa ebirowoozo ku bigambo ebisooka ebiraga nti Yesu yandibadde “Mwana w’Oyo Asingayo Okuba Waggulu.” Naye era Gabulyeri yalaga nti Yesu ‘yandifuze nga Kabaka.’ Tuyinza okwebuuza engeri Maliyamu gye yatwalamu ebigambo bya malayika ebyo. Kyandiba nti Maliyamu yalowooza nti Yesu yandiddidde Kabaka Kerode mu bigere oba omu ku bafuzi ba Isirayiri abandiddiridde Kerode? Yesu bwe yandifuuse Kabaka, Maliyamu ye yandibadde nnamasole, era Maliyamu n’ab’omu maka ge bandibadde babeera mu lubiri. Naye tetulina we tusoma mu Bayibuli nti Maliyamu yayogerako ne Gabulyeri ku nsonga eyo era tetulina we tusoma nti Maliyamu yasaba okuweebwa ekifo eky’oku mwanjo mu Bwakabaka, nga babiri ku bayigirizwa ba Yesu bwe baakola. (Mat. 20:20-23) Ebyo bituyamba okukiraba nti Maliyamu yali mwetoowaze nnyo!

19-20. Nga bwe kiragibwa mu Yakobo 1:22-25 ne 4:8, biruubirirwa ki bye tusaanidde okuba nabyo nga twesomesa?

19 Kijjukire nti ekiruubirirwa kyaffe ekisinga obukulu mu kwesomesa Ekigambo kya Katonda n’ebitabo ebikinnyonnyola kwe kwongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Ate era tuba twagala okumanya obulungi kye tuli n’enkyukakyuka ze twetaaga okukola okusobola okusanyusa Katonda. (Soma Yakobo 1:22-25; 4:8.) N’olwekyo, buli lwe tuba tugenda okutandika okwesomesa, tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu. Tusaanidde okumusaba atuyambe okuganyulwa mu ebyo bye tusoma n’okweraba nga ye bw’atulaba.

20 Ka ffenna tube ng’omuntu omuwandiisi wa zabbuli gwe yayogerako nti: “Amateeka ga Yakuwa ge gamusanyusa, era asoma amateeka ge n’agafumiitirizaako emisana n’ekiro. . . . Buli ky’akola ebivaamu biba birungi.”​—Zab. 1:2, 3.

OLUYIMBA 88 Njigiriza Amakubo Go

^ lup. 5 Yakuwa atuwa ebintu bingi eby’okulaba, eby’okuwuliriza, n’eby’okusoma. Ekitundu kino kijja kukuyamba okusalawo biki by’oyinza okusoma, era kijja kukuyamba okulaba engeri gy’oyinza okuganyulwa mu kwesomesa.

^ lup. 61 EBIFAANANYI: Abazadde nga balaga abaana baabwe engeri y’okutegekamu Omunaala gw’Omukuumi.

^ lup. 63 EBIFAANANYI: Ow’oluganda ng’anoonyereza ku muwandiisi wa Bayibuli ayitibwa Amosi. Ebifaananyi ebiri emabega biraga obufaananyi ow’oluganda oyo bw’akuba ng’asoma era ng’afumiitiriza.