Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 23

Abazadde—Muyambe Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa

Abazadde—Muyambe Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa

“Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.”​—MAT. 22:37.

OLUYIMBA 134 Abaana Kirabo kya Muwendo Okuva eri Katonda

OMULAMWA *

1-2. Lwaki ebyawandiikibwa ebimu byeyongera okuba eby’amakulu gye tuli ng’embeera zaffe zikyuse?

 KU LUNAKU lw’embaga, omugole omusajja n’omukazi ababa banekaanekanye bawuliriza emboozi eyeesigamiziddwa ku Bayibuli ekwata ku bufumbo. Ebyawandiikibwa ebyogerwako mu mboozi eyo tebiba bipya gye bali. Naye okuva ku lunaku olwo byeyongera okuba eby’amakulu gye bali. Lwaki? Kubanga baba bagenda kubikolerako ng’abafumbo.

2 Bwe kityo bwe kiba n’eri abafumbo Abakristaayo ababa bafunye omwana. Okumala emyaka, bayinza okuba nga bawulidde emboozi ezitali zimu ezikwata ku kukuza abaana. Naye kati okubuulirira okuba mu mboozi ezo kuba kugenda kweyongera okuba okw’amakulu gye bali. Kati baba bagenda kukuza omwana. Eyo nga nkizo ya kitalo nnyo! Mu butuufu embeera zaffe bwe zikyuka, ebyawandiikibwa ebimu byeyongera okuba eby’amakulu gye tuli. Eyo ye nsonga lwaki abaweereza ba Yakuwa basoma Ebyawandiikibwa era ne babifumiitirizaako “ennaku zonna” ez’obulamu bwabwe nga bakabaka ba Isirayiri bwe baagambibwa okukola.​—Ma. 17:19.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Abazadde, mulina enkizo ey’ekitalo ennyo ey’okuyigiriza abaana bammwe ebikwata ku Yakuwa. Naye temulina kukoma bukomi kubayigiriza ebikwata ku Katonda. Musaanidde okubayigiriza okumwagala ennyo. Kiki kye muyinza okukola okuyamba abaana bammwe okwagala Yakuwa? Mu kitundu kino tugenda kulaba emisingi ena egisobola okubayamba. (2 Tim. 3:16) Ate era tugenda kulaba engeri abazadde abamu gye baganyuddwa mu kukolera ku misingi egyo.

EMISINGI ENA EGISOBOLA OKUYAMBA ABAZADDE

Bulijjo bw’onoonya obulagirizi bwa Yakuwa era n’ossaawo ekyokulabirako ekirungi, kiyinza kukwata kitya ku baana bo? (Laba akatundu 4, 8)

4. Ogumu ku misingi abazadde gwe basobola okukolerako okuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa gwe guluwa? (Yakobo 1:5)

4 Omusingi 1: Munoonye obulagirizi bwa Yakuwa. Musabe Yakuwa okubawa amagezi aganaabasobozesa okuyamba abaana bammwe okumwagala. (Soma Yakobo 1:5.) Y’asobola okubawa amagezi agasingayo obulungi. Waliwo ensonga nnyingi lwaki tugamba tutyo. Ka tulabeyo bbiri. Esooka, Yakuwa ye muzadde asingayo okuba n’obumanyirivu. (Zab. 36:9) Ey’okubiri, bulijjo amagezi g’atuwa gaba ga muganyulo gye tuli.​—Is. 48:17.

5. (a) Biki ekibiina kya Yakuwa bye kifulumizza ebisobola okuyamba abazadde? (b) Mu vidiyo, kiki kye wayigidde ku ngeri ow’oluganda ne mwannyinaffe Amorim gye baakuzaamu abaana baabwe?

5 Okuyitira mu Kigambo kye ne mu kibiina kye, Yakuwa atuwadde ebintu bingi nnyo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli bye musobola okukozesa okuyamba abaana bammwe okumwagala. (Mat. 24:45) Ng’ekyokulabirako, okumala emyaka, magazini ya Zuukuka! yafulumirangamu ekitundu ekirina omutwe, “Amagezi Agayamba Amaka,” era nga kati ekitundu ekyo kisangibwa ku mukutu gwaffe. Ekitundu ekyo kirimu amagezi mangi agasobola okuyamba abazadde. Ate era waliwo vidiyo nnyingi ku jw.org eziraga okubuuza ebibuuzo, n’ebyokulabirako ebitali bimu ebisobola okuyamba abazadde okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa nga bakuza abaana baabwe. *​—Nge. 2:4-6.

6. Taata omu atwala atya obulagirizi Yakuwa bw’abawa ye ne mukyala we okuyitira mu kibiina kye?

6 Abazadde bangi bagamba nti basiima nnyo obuyambi Yakuwa bw’abawa okuyitira mu kibiina kye. Taata omu ayitibwa Joe agamba nti: “Si kyangu kukuliza baana basatu mu mazima. Nze ne mukyala wange bulijjo tusaba Yakuwa okutuyamba. Era tukirabye nti ebitundu ebitali bimu ne vidiyo bifulumira mu kiseera kyennyini we tuba tubyetaagira. Bulijjo twesiga Yakuwa okutuwa obulagirizi.” Joe ne mukyala we bakirabye nti ebintu ng’ebyo biyambye abaana baabwe okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.

7. Lwaki kikulu abazadde okuteerawo abaana ekyokulabirako ekirungi? (Abaruumi 2:21)

7 Omusingi 2: Bateerewo ekyokulabirako. Abaana beetegereza nnyo bazadde baabwe era emirundi mingi babakoppa. Kyo kituufu nti teri muzadde atuukiridde. (Bar. 3:23) Wadde kiri kityo, abazadde basaanidde okufuba ennyo okuteerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi. (Soma Abaruumi 2:21.) Taata omu ayogera bw’ati ku baana: “Abaana balinga ppamba anuuna buli kimu mwe baba bamutadde.” Era agattako nti: “Bwe tuba nga bye tukola tebikwatagana n’ebyo bye tuyigirizibwa, bakyoleka.” N’olwekyo bwe tuba nga twagala abaana baffe baagale Yakuwa, ffe ffennyini tulina okuba nga tumwagala nnyo, era ng’okwagala kwe tulina gy’ali kweyoleka mu bikolwa.

8-9. Kiki ky’oyigidde ku ebyo ebyayogerwa Andrew ne Emma?

8 Abazadde basobola okuyigiriza abaana baabwe okwagala Yakuwa okuyitira mu ngeri nnyingi. Weetegereze ekyo ow’oluganda ayitibwa Andrew ow’emyaka 17 ky’agamba: “Bazadde bange bandaga nti kikulu nnyo okusaba. Buli kiro taata yasabiranga wamu nange, ne bwe nnabanga mmaze okusaba essaala eyange. Nze ne mwannyinaze bazadde baffe baatugamba nti: ‘Musobola okwogera ne Yakuwa emirundi gyonna gye mwagala.’ Ekyo kyandeetera okutwala okusaba nga kukulu nnyo, era kati nnyanguyirwa nnyo okusaba, era Yakuwa mmutwala nga taata wange anjagala ennyo.” Abazadde, mukijjukirenga nti bwe muba nga mwagala nnyo Yakuwa kiyinza okuleetera abaana bammwe nabo okumwagala.

9 Ate lowooza ku Emma. Taata we yamulekawo ne muto we awamu ne maama waabwe, era yaleka alina amabanja mangi. Maama we ye yalina okusasula amabanja ago. Emma agamba nti: “Emirundi mingi maama teyabanga na ssente zimala, naye yakyolekanga mu bigambo nti Yakuwa afaayo nnyo ku baweereza be era abalabirira. Nnakirabanga nti engeri maama gye yali yeeyisaamu yali eraga nti ekyo akikkiriza. Maama yakoleranga ku ebyo bye yayigirizanga abalala.” Kiki kye tuyiga mu kyokulabirako ekyo? Abazadde basobola okuteerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi ne bwe baba nga bayita mu mbeera enzibu ennyo.​—Bag. 6:9.

10. Abazadde bangi Abayisirayiri, baabanga na kakisa ki okwogerako n’abaana baabwe? (Ekyamateeka 6:6, 7)

10 Omusingi 3: Bulijjo yogeranga n’abaana bo. Yakuwa yalagira Abayisirayiri ab’edda bulijjo okuyigirizanga abaana baabwe ebimukwatako. (Soma Ekyamateeka 6:6, 7.) Abazadde abo baalinanga ebiseera bingi mu lunaku okunyumya n’abaana baabwe n’okubayamba okwagala Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, omwana Omuyisirayiri omulenzi yalinga asobola okumala essaawa nnyingi ng’ali ne kitaawe nga basiga, oba nga basomba emmere eyabanga ekunguddwa. Ate mwannyina yalinga asobola okumala essaawa nnyingi ng’ayambako maama we okutunga engoye, okuluka, ne ku mirimu emirala egy’awaka. Abazadde n’abaana bwe baabanga bakolera wamu, baalinga basobola okwogera ku bintu bingi ebikulu. Ng’ekyokulabirako, baalinga basobola okwogera ku bulungi bwa Yakuwa, ne ku ngeri gye yali abayambamu ng’amaka.

11. Kakisa ki abazadde Abakristaayo ke bayinza okufuna okwogerako n’abaana baabwe?

11 Kati ebintu byakyuka. Mu nsi nnyingi, abazadde n’abaana tebakyasobola kufuna biseera kubeerako wamu mu lunaku. Abazadde bayinza okuba nga baba ku mulimu ate ng’abaana baba ku ssomero. N’olwekyo abazadde balina okufuba okunoonya ebiseera okwogerako n’abaana baabwe. (Bef. 5:15, 16; Baf. 1:10) Okusinza kw’amaka kusobozesa abazadde okwogerako n’abaana baabwe. Ow’oluganda akyali omuto ayitibwa Alexander agamba nti: “Taata wange bulijjo afuba okulaba nga tuba n’okusinza kw’amaka. Takkiriza kintu kyonna kuyingirira nteekateeka eyo. Oluvannyuma lw’okusinza kw’amaka, twogera ku bintu ebitali bimu.”

12. Kigendererwa ki omuzadde kye yandibadde nakyo ng’akubiriza okusinza kw’amaka?

12 Bw’oba ng’oli mutwe gw’amaka, kiki ky’oyinza okukola abaana bo okusobola okunyumirwa okusinza kw’amaka? Oyinza okusomerako wamu nabo ekitabo Nnyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Okusomera awamu n’abaana bo ekitabo ekyo kijja kukusobozesa okukubaganya nabo ebirowoozo. Olw’okuba oyagala abaana bo bakubuulire ebibali ku mutima, ekiseera ky’okusinza kw’amaka tokikozesa kubawa mateeka oba kubanenya. Ate era singa abaana bo bawa endowooza ekontana n’Ebyawandiikibwa, weewale okubakambuwalira. Mu kifo ky’ekyo, basiime olw’okuba abeesimbu ne booleka endowooza yaabwe, era bakubirize okukweyabizanga. Tosobola kuyamba baana bo okuggyako ng’omanyi ekyo ekibali ku mutima.

Abazadde bayinza batya okukozesa ebitonde okuyigiriza abaana baabwe engeri za Yakuwa? (Laba akatundu 13)

13. Kakisa ki akalala abazadde ke bayinza okukozesa okuyamba abaana baabwe okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?

13 Abazadde, mukozese buli kakisa konna ke mufuna mu lunaku okuyamba abaana bammwe okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Tekibeetaagisa kulinda kiseera kye muyigirako wamu nabo Bayibuli okusobola okubayigiriza ebikwata ku Katonda waffe atwagala. Maama omu ayitibwa Lisa agamba nti: “Twayigiriza abaana baffe ebikwata ku Yakuwa nga tukozesa ebintu bye yatonda. Ng’ekyokulabirako, embwa yaffe bwe yakolanga ebintu ebisesa, ekyo twakikozesanga okubalaga nti Yakuwa Katonda musanyufu, era nti ayagala naffe tubeere basanyufu era tunyumirwe obulamu.”

Abazadde, mumanyi mikwano gy’abaana bammwe? (Laba akatundu 14) *

14. Lwaki kikulu abazadde okuyamba abaana baabwe okufuna emikwano emirungi? (Engero 13:20)

14 Omusingi 4: Yamba abaana bo okufuna emikwano emirungi. Ekigambo kya Katonda kiraga bulungi nti abantu be tufuula mikwano gyaffe bayinza okutuviirako okuba abantu abalungi, oba okutwonoona. (Soma Engero 13:20.) Abazadde, mumanyi mikwano gy’abaana bammwe? Mwali muwaddeyo ekiseera okubeerako awamu nabo? Kiki kye muyinza okukola okuyamba abaana bammwe okufuna emikwano egyagala Yakuwa? (1 Kol. 15:33) Musobola okubayamba okufuna emikwano emirungi nga musembeza abamu ku abo abalina enkolagana ennungi ne Yakuwa, ne mubaako ebintu bye mukolera awamu nabo.​—Zab. 119:63.

15. Kiki abazadde kye bayinza okukola okuyamba abaana baabwe okuba n’emikwano emirungi?

15 Lowooza ku taata ayitibwa Tony. Alaga ekyo ye ne mukyala we kye bakoze okuyamba abaana baabwe okufuna emikwano emirungi. Agamba nti: “Emyaka bwe gizze giyitawo, nze ne mukyala wange tubaddenga tukyaza ab’oluganda ne bannyinaffe ab’emyaka egy’enjawulo era abaakulira mu mbeera ez’enjawulo. Baliirako wamu naffe era batwegattako mu kusinza kw’amaka. Eyo y’emu ku ngeri gy’oyinza okumanyaamu abo abaagala Yakuwa era abamuweereza n’essanyu. Tufunye enkizo okusembeza abalabirizi abakyalira ebibiina, abaminsani, n’abalala, ne babeerako mu maka gaffe. Ebintu bye bayiseemu, obunyiikivu bwabwe, n’omwoyo gw’okwefiiriza, birina kinene kye bikoze ku baana baabwe, era bibayambye okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.” Abazadde, mufube okuyamba abaana bammwe okuba n’emikwano emirungi.

TOGGWAAMU SSUUBI!

16. Ndowooza ki omuzadde gy’asaanidde okuba nayo singa omwana we aba tayagala kuweereza Yakuwa?

16 Watya singa okoze kyonna ky’osobola okuyamba abaana bo naye omu ku bo n’agamba nti tayagala kuweereza Yakuwa? Teweesalira musango ng’ogamba nti olemereddwa. Ffenna nga mw’otwalidde n’omwana wo Yakuwa yatuwa eddembe ly’okwesalirawo, era tusobola okulikozesa okusalawo okumuweereza oba obutamuweereza. Omwana wo bw’asalawo okuva ku Yakuwa, toggwaamu ssuubi ng’olowooza nti tasobola kukyuka. Jjukira olugero lw’omwana omujaajaamya. (Luk. 15:11-19, 22-24) Omwana oyo yakola ebintu ebibi bingi, naye oluvannyuma yeekuba mu kifuba n’alekayo ebintu ebyo. Abamu bayinza okugamba nti, “Olwo lugero bugero. Ekyo tekisobola kubaawo mu mbeera eza bulijjo.” Naye ekituufu kiri nti kisoboka. Mu butuufu ekyo kyennyini kye kyaliwo ku muvubuka omu ayitibwa Elie.

17. Kiki ky’oyigidde ku kyokulabirako kya Elie?

17 Elie ayogera bw’ati ku bazadde be: “Baakola kyonna kye basobola okunnyamba okwagala Yakuwa n’Ekigambo kye Bayibuli.” Kyokka bwe yali mu myaka egy’obutiini, Elie yatandika okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri. Bazadde be baagezaako okumuyamba naye n’agaana okuwuliriza. Bwe yamala okuva awaka, yeenyigira mu mize emibi ennyo. Wadde kyali kityo, oluusi yakubaganyanga ebirowoozo ku Bayibuli n’omu ku mikwano gye. Elie agamba nti: “Gye nnakoma okubuulira mukwano gwange ebikwata ku Yakuwa, gye nnakoma okwesanga nga ndowooza nnyo ku Yakuwa. Mpolampola, ensigo ez’amazima bazadde bange ze baali bafubye okusiga mu mutima gwange, zaatandika okumera.” Oluvannyuma lw’ekiseera, Elie yakomawo mu kibiina. * Bazadde be bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo okuba nti baali bafubye okumuyigiriza ebikwata ku Yakuwa okuviira ddala ng’akyali muto!​—2 Tim. 3:14, 15.

18. Owulira otya bw’olaba abazadde abafuba ennyo okuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa?

18 Abazadde, mulina enkizo ey’ekitalo ey’okukuza omulembe omupya ogw’abaweereza ba Yakuwa. (Zab. 78:4-6) Obuvunaanyizibwa obwo si bwangu. Era tubasiima nnyo olw’okufuba okuyamba abaana bammwe! Bwe muneeyongera okukola kyonna kye musobola okuyamba abaana bammwe okwagala Yakuwa, n’okubakuliza mu kukangavvula n’okubuulirira kwa Yakuwa, awatali kubuusabuusa Kitammwe ow’omu ggulu ajja kusanyuka nnyo.​—Bef. 6:4.

OLUYIMBA 135 Yakuwa Akugamba: ‘Ba wa Magezi, Mwana Wange’

^ Abazadde Abakristaayo baagala nnyo abaana baabwe. Bafaayo nnyo ku byetaago byabwe eby’omubiri ne ku nneewulira yaabwe. N’okusingira ddala abazadde abo bakola kyonna kye basobola okuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa. Mu kitundu kino tugenda kulabayo emisingi ena okuva mu Bayibuli abazadde gye basobola okukozesa okuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa.

^ Laba Ekitundu “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 1, 2012.

^ EBIFAANANYI: Olw’okuba taata ayagala okumanya mikwano gya mutabani we, azannyirako wamu ne mutabani we, ne mukwano gwa mutabani we omuzannyo gw’ensero.