Ekisa—Ngeri Gye Twoleka mu Bigambo ne mu Bikolwa
NGA kitusanyusa nnyo omuntu bw’atukolera ekintu eky’ekisa! Bwe tukiraba nti waliwo omuntu atufaako, kituzzaamu nnyo amaanyi. Okuva bwe kiri nti ffenna twagala okuyisibwa mu ngeri ey’ekisa, tuyinza tutya okukulaakulanya engeri eyo ennungi?
Omuntu ow’ekisa afaayo ku balala mu bwesimbu era ekyo akyoleka mu bigambo ne mu bikolwa. Ekisa kisingawo ku kuyisa abalala obulungi oba okubakolera ebirungi. Omuntu ayoleka ekisa ekya nnamaddala, akolera abalala ebirungi olw’okuba abaagala era olw’okuba abalumirirwa. N’ekisinga obukulu, ekisa kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu Abakristaayo kye balina okukulaakulanya. (Bag. 5:22, 23) Olw’okuba tulina okukulaakulanya ekisa, ka tulabe engeri Yakuwa n’Omwana we gye booleseemu engeri eno n’engeri gye tusobola okubakoppa.
YAKUWA ALAGA ABANTU BONNA EKISA
Yakuwa alaga abantu bonna ekisa era abafaako, nga mwe muli “abateebaza n’ababi.” (Luk. 6:35) Ng’ekyokulabirako, Yakuwa “omusana gwe agwakiza ababi n’abalungi, era enkuba agitonnyeseza abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Mat. 5:45) N’abo abataweereza Yakuwa baganyulwa mu kisa kye kubanga abawa ebintu ebibeesaawo obulamu era bafuna essanyu ery’ekigero.
Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yalaga Adamu ne Kaawa ekisa. Oluvannyuma lw’okwonoona, Adamu ne Kaawa ‘baatunga ebikoola by’omutiini ne babikka ku bwereere bwabwe.’ Naye Yakuwa yali akimanyi nti bandyetaaze engoye ezandibadde zituukana n’embeera eyali wabweru w’olusuku Edeni awaali ettaka eryali likolimiddwa era awaali “amaggwa n’amatovu.” Bwe kityo Yakuwa yafaayo ku kyetaago kyabwe ekyo, n’abakolera “ebyambalo ebiwanvu eby’amaliba.”—Lub. 3:7, 17, 18, 21.
Wadde nga Yakuwa alaga “ababi n’abalungi” ekisa, okusingira ddala ekisa kye akiraga abaweereza be abeesigwa. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera kya nnabbi Zekkaliya, malayika wa Katonda omu yawulira bubi bwe yalaba ng’omulimu gw’okuzimba yeekaalu mu Yerusaalemi guyimiridde. Yakuwa yafaayo ku nneewulira ya malayika oyo n’amuddamu “ng’akozesa ebigambo ebirungi era ebibudaabuda.” (Zek. 1:12, 13) Yakuwa era yalaga nnabbi Eriya ekisa. Lumu nnabbi Eriya yennyamira nnyo era n’asaba Yakuwa amutte. Yakuwa yafaayo ku nneewulira ya Eriya n’atuma malayika okumuzzaamu amaanyi. Ate era Katonda yakakasa Eriya nti teyali yekka. Oluvannyuma lwa Eriya okuwulira ebigambo ebyo eby’ekisa n’okufuna obuyambi bwe yali yeetaaga, yasobola okweyongera okukola omulimu ogwali gumukwasiddwa. (1 Bassek. 19:1-18) Mu baweereza ba Katonda bonna, ani akyasinzeeyo okukoppa Katonda mu kwoleka ekisa?
YESU YALI MUNTU WA KISA
Yesu bwe yali ku nsi, yali amanyiddwa ng’omuntu ow’ekisa era afaayo ku balala. Teyali mukambwe era teyakaluubirizanga balala. Yesu Mat. 11:28-30) Olw’okuba Yesu yali wa kisa, abantu baamugobereranga buli gye yalaganga. Ate era olw’okuba Yesu yali asaasira abantu, yabawa emmere, yawonya abalwadde baabwe, era yabayigiriza “ebintu bingi” ebikwata ku Kitaawe.—Mak. 6:34; Mat. 14:14; 15:32-38.
yagamba nti: “Mujje gye ndi mmwe mmwenna abategana era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. . . . Kubanga ekikoligo kyange kyangu.” (Ekintu ekirala ekyoleka nti Yesu yali wa kisa nnyo, kwe kuba nti yalinga afaayo okutegeera embeera y’abalala. Wadde ng’oluusi tekyabanga kyangu gy’ali, Yesu ‘yayanirizanga n’essanyu’ abo bonna abajjanga gy’ali nga balina ebigendererwa ebirungi. (Luk. 9:10, 11) Ng’ekyokulabirako, Yesu teyaboggolera mukazi eyakwata ku kyambalo kye asobole okuwona ekikulukuto ky’omusaayi wadde ng’okusinziira ku mateeka omukyala oyo teyali mulongoofu. (Leev. 15:25-28) Olw’okuba Yesu yasaasira omukyala oyo eyali amaze emyaka 12 ng’abonaabona olw’obulwadde, yamugamba nti: “Muwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza. Genda mirembe era wonera ddala obulwadde obubadde bukubonyaabonya.” (Mak. 5:25-34) Nga Yesu yali wa kisa nnyo!
EKISA KIZINGIRAMU OKUKOLERA ABALALA EBIRUNGI
Mu byokulabirako bye tulabye waggulu, tukiraba nti ekisa ekya nnamaddala kyeyolekera mu bikolwa. Ekyo Yesu yakiraga mu lugero olukwata ku Musamaliya omulungi. Wadde ng’Abasamaliya baali tebakolagana na Bayudaaya, omusajja Omusamaliya Yesu gwe yayogerako mu lugero yasaasira Omuyudaaya eyali anyagiddwako ebibye n’akubibwa era n’asuulibwa ku kkubo ng’abulako katono okufa. Ekisa kyaleetera omusajja Omusamaliya okubaako ky’akolawo. Yasiba ebiwundu by’omusajja Omuyudaaya era n’amutwala mu kifo ekisulibwamu. Omusamaliya oyo yasasula omusajja eyali alabirira ekifo ekyo asobole okujjanjaba omusajja eyali akubiddwa era n’agamba nti yali ajja kusasula ne ssente endala ezandibadde zeetaagisa.—Luk. 10:29-37.
Wadde ng’ekisa emirundi egisinga kiragibwa mu bikolwa, era kisobola n’okulagibwa mu bigambo ebirungi. N’olwekyo, wadde ‘ng’okweraliikirira okuba mu mutima gw’omuntu kugwennyamiza,’ Bayibuli egamba nti “ebigambo ebirungi biguleetera okusanyuka.” (Nge. 12:25) Bwe tuba ab’ekisa era abalungi eri abalala tujja kwogera ebigambo ebibazzaamu amaanyi era ekyo kijja kubaviirako okuba abasanyufu. * Ebigambo eby’ekisa bye twogera biraga nti tubafaako, era ekyo kijja kubayamba okwaŋŋanga ebizibu bye boolekagana nabyo.—Nge. 16:24.
OKUKULAAKULANYA EKISA
Olw’okuba abantu baatondebwa mu ‘kifaananyi kya Katonda,’ buli muntu asobola okukulaakulanya engeri ey’ekisa. (Lub. 1:27) Ng’ekyokulabirako, Yuliyo omukulu w’amaggye Omuruumi eyakwasibwa Pawulo nga Pawulo atwalibwa e Rooma, yalaga “Pawulo ekisa n’amukkiriza okugenda eri mikwano gye bamulabirire” mu kibuga Sidoni. (Bik. 27:3) Nga wayise akaseera, abantu b’oku kizinga Maluta baalaga Pawulo ne banne abaali bawonyewo mu lyato eryali limenyesemenyese “ekisa ekitalojjeka.” Abantu b’oku kizinga ekyo baabakumira n’omuliro basobole okubuguma. (Bik. 28:1, 2) Wadde ng’ekyo abantu abo kye baakola kirungi nnyo, ekisa kisingawo ku kukola ekikolwa ekimu ekirungi.
Okusobola okusanyusa Katonda mu bujjuvu, bulijjo tulina okwolekanga ekisa. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa atugamba ‘okwambala’ ekisa. (Bak. 3:12) Naye oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu okulaga abalala ekisa. Lwaki? Tuyinza okulemwa okulaga abalala ekisa olw’okuba n’ensonyi, olw’okutya, olw’okuyigganyizibwa, oba olw’okuba tukyalinamu omwoyo ogw’okwefaako ffekka. Kyokka tuyinza okuvvuunuka obuzibu obwo singa tusaba Katonda okutuwa omwoyo gwe omutukuvu era ne tufuba okumukoppa mu ngeri gy’alagamu ekisa.—1 Kol. 2:12.
Tuyinza okumanya wa we twetaaga okulongoosaamu mu ngeri gye tulagamu abalala ekisa? Tusaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Mpuliriza bulungi ng’abalala baliko kye baŋŋamba? Nfaayo okumanya ebyetaago by’abalala? Ddi lwe nnasembayo okulaga ekisa omuntu atali wa luganda lwange oba atali mukwano gwange ogw’okulusegere?’ Tusobola okweteerawo ekiruubirirwa eky’okwongera okumanya abantu, gamba ng’abo abatwetoolodde, naddala ab’oluganda mu kibiina Ekikristaayo. Bwe tukola bwe tutyo tujja kusobola okumanya embeera ze bayitamu n’ebyetaago byabwe. Bwe tubimanya, tusaanidde okubalaga ekisa mu ngeri naffe gye twandyagadde okulagibwamu ekisa singa ffe tubadde mu mbeera yaabwe. (Mat. 7:12) Yakuwa ajja kutuyamba okukulaakulanya ekisa singa tumusaba atuyambe.—Luk. 11:13.
EKISA KISIKIRIZA ABALALA
Omutume Pawulo bwe yamenya ebintu ebyali bimwawulawo ng’omuweereza wa Katonda, yazingiramu ‘n’ekisa.’ (2 Kol. 6:3-6) Abantu baali baagala Pawulo olw’okuba yali abafaako, era ng’ekyo yakiraga mu bikolwa eby’ekisa ne mu bigambo. (Bik. 28:30, 31) Mu ngeri y’emu naffe tuyinza okuleetera abalala okuyiga amazima singa tuba ba kisa. Bwe tulaga abantu bonna ekisa, nga mwe muli n’abo abatuziyiza, ekyo kisobola okubakwatako ne bakendeeza ku bukyayi bwe balina gye tuli era ne baba bakkakkamu. (Bar. 12:20) Ekiseera bwe kiyitawo, bayinza n’okuyiga amazima.
Mu nsi empya abantu bukadde na bukadde abanaazuukizibwa bajja kusanyuka nnyo okulagibwa ekisa ekya nnamaddala, oboolyawo omulundi ogunaaba gusookedde ddala mu bulamu bwabwe. Ekyo kijja kubakwatako nnyo nabo kibaviireko okulaga abalala ekisa. Mu kiseera ekyo omuntu yenna anaagaana okulaga abalala ekisa n’okubayamba tajja kubeera mu lusuku lwa Katonda mirembe gyonna. Ku luuyi olulala, abo Katonda b’ajja okuwa obulamu obutaggwaawo bajja kuyisa abalala mu ngeri ey’okwagala era ey’ekisa. (Zab. 37:9-11) Mu butuufu ensi ejja kubaamu emirembe. Naye ne mu kiseera kino, tuyinza tutya okuganyulwa mu kulaga abalala ekisa?
EMIGANYULO EGIRI MU KULAGA ABALALA EKISA
Bayibuli egamba nti: “Omuntu bw’abeera ow’ekisa kimuganyula.” (Nge. 11:17) Omuntu w’ekisa ayagalibwa abalala era nabo bamulaga ekisa. Yesu yagamba nti: “Ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, nabo kye balikozesa okubapimira.” (Luk. 6:38) Bwe kityo, omuntu ow’ekisa ayanguyirwa okukola emikwano emirungi era n’okugikuuma.
Omutume Pawulo yagamba Abakristaayo mu kibiina ky’e Efeso nti: “Mubeerenga ba kisa buli muntu eri munne, nga musaasiragana, nga musonyiwagana.” (Bef. 4:32) Ekibiina kiganyulwa nnyo bwe kiba ng’abakirimu balumirirwa abalala, babalaga ekisa, era nga bafaayo okuyamba abalala. Abakristaayo ng’abo tebakozesa bigambo birumya balala, tebakolokota balala, era teboogera bigambo bikiina balala. Mu kifo ky’okusaasaanya olugambo, bafuba okukozesa obulungi olulimi lwabwe okuyamba abalala. (Nge. 12:18) Ekyo kiviirako ekibiina kyonna okuba ekinywevu n’okuweereza Yakuwa n’essanyu.
Mazima ddala ekisa ngeri eyolekebwa mu bigambo ne mu bikolwa. Bwe tuba ab’ekisa tuba tukoppa Yakuwa, Katonda ow’ekisa. (Bef. 5:1) Ekyo kituleetera okunyweza ebibiina byaffe n’okusikiriza abalala eri okusinza okulongoofu. Ka bulijjo tufubenga okumanyibwa ng’abantu ab’ekisa.
^ lup. 13 Engeri ey’obulungi ejja kwogerwako mu kitundu ekirala ekijja okujja ekyogera ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu.