EKITUNDU EKY’OKUSOMA 44
Kola Emikwano Eminywevu ng’Enkomerero Tennajja
“Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ebbanga lyonna.”—NGE. 17:17.
OLUYIMBA 101 Okukolera Awamu nga Tuli Bumu
OMULAMWA *
1-2. Okusinziira ku 1 Peetero 4:7, 8, kiki ekijja okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu?
NG’ENKOMERERO egenda esembera, tujja kweyongera okufuna ebizibu eby’amaanyi. (2 Tim. 3:1) Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okulonda okwaliwo mu nsi emu ey’omu bugwanjuba bwa Afirika, waabalukako olutalo. Okumala emyezi egisukka mu mukaaga, baganda baffe mu kitundu ekyo baali tebasobola kutambula kyere olw’olutalo olwali lugenda mu maaso. Kiki ekyabayamba okwaŋŋanga embeera eyo eyali enzibu? Abamu baagenda ne babeera mu maka g’ab’oluganda abaali babeera mu kitundu omutaali lutalo. Ow’oluganda omu yagamba nti: “Mu kiseera ekyo nnasiima nnyo eky’okuba nti nnalina emikwano. Twazziŋŋanamu amaanyi.”
2 ‘Ekibonyoobonyo ekinene’ bwe kinaatandika, tujja kukiraba nti kirungi nnyo okuba n’emikwano egitwagala. (Kub. 7:14) N’olwekyo, kikulu nnyo okukola emikwano egy’oku lusegere kati. (Soma 1 Peetero 4:7, 8.) Tulina bingi bye tuyinza okuyigira ku Yeremiya. Mikwano gye gyamuyamba nnyo mu kiseera nga Yerusaalemi kinaatera okuzikirizibwa. * Tuyinza tutya okukoppa Yeremiya?
YIGIRA KU YEREMIYA
3. (a) Kiki ekyali kiyinza okuleetera Yeremiya okweyawula ku balala? (b) Kiki Yeremiya kye yabuulira omuwandiisi we Baluki, era kiki ekyavaamu?
3 Okumala emyaka nga 40, Yeremiya yabeeranga mu bantu abataali beesigwa, nga mw’otwalidde ne baliraanwa be, oboolyawo Yer. 11:21; 12:6) Kyokka Yeremiya teyeeyawula ku balala. Yabuulirako omuwandiisi we omwesigwa Baluki engeri gye yali awuliramu era naffe tumanyi engeri gye yali awuliramu kubanga ebintu ebyo byawandiikibwa mu Bayibuli. (Yer. 8:21; 9:1; 20:14-18; 45:1) Baluki bwe yali awandiika ebintu ebikwata ku Yeremiya, enkolagana gye yalina ne Yeremiya eteekwa okuba nga yeeyongera okunywera era bateekwa okuba nga beeyongera okuwaŋŋana ekitiibwa.—Yer. 20:1, 2; 26:7-11.
n’abamu ku b’eŋŋanda ze abaali babeera mu kabuga k’ewaabwe ak’e Anasosi. (4. Kiki Yakuwa kye yagamba Yeremiya okukola, era omulimu ogwo gwanyweza gutya omukwano ogwali wakati wa Yeremiya ne Baluki?
4 Okumala emyaka mingi, Yeremiya yalabula Abayisirayiri ku ekyo ekyali kigenda okutuuka ku Yerusaalemi. (Yer. 25:3) Ng’afuba okuyamba abantu beenenye, Yakuwa era yagamba Yeremiya awandiike okulabula okwo ku muzingo. (Yer. 36:1-4) Yeremiya ne Baluki bwe baali bakola omulimu ogwo Katonda gwe yabawa, oboolyawo ogwatwala emyezi egiwerako, bateekwa okuba nga baanyumyanga ku bintu ebyanyweza okukkiriza kwabwe.
5. Baluki yakyoleka atya nti yali wa mukwano mulungi eri Yeremiya?
5 Bwe baamala okuwandiika omuzingo ogwo, Yeremiya yasaba mukwano gwe Baluki okugenda okusomera abantu ebyagulimu. (Yer. 36:5, 6) Baluki yayoleka obuvumu n’akola omulimu ogwo ogwali gussa obulamu bwe mu kabi. Yeremiya ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo Baluki bwe yagenda mu luggya lwa yeekaalu n’akola ekyo kye yali amugambye. (Yer. 36:8-10) Abaami ba Yuda bwe baawulira ekyo Baluki kye yali akoze, baamusaba abasomere ebyali mu muzingo mu ddoboozi ery’omwanguka! (Yer. 36:14, 15) Abaami abo baasalawo okugamba Kabaka Yekoyakimu ebyo Yeremiya bye yali agambye. Olw’okuba baali bafaayo ku Baluki, baamugamba nti: “Ggwe ne Yeremiya mugende mwekweke, era temubuulira muntu yenna gye muli.” (Yer. 36:16-19) Amagezi ago gaali malungi!
6. Kiki Yeremiya ne Baluki kye baakola bwe baali bayigganyizibwa?
6 Kabaka Yekoyakimu bwe yawulira ebigambo Yeremiya bye yali awandiise, yanyiiga nnyo n’ayokya omuzingo ogwo era n’alagira nti Yeremiya ne Baluki bakwatibwe. Naye ekyo tekyatiisa Yeremiya. Yaddira omuzingo omulala n’aguwa Baluki, era n’ayogera obubaka obwava eri Yakuwa ng’eno Baluki bw’awandiika “byonna ebyali mu muzingo ogwasooka Kabaka Yekoyakimu owa Yuda gwe yayokya mu muliro.”—Yer. 36:26-28, 32.
7. Kiki oboolyawo ekyaliwo nga Yeremiya ne Baluki bakolera wamu?
7 Abantu bwe bayita mu kugezesebwa nga bali wamu, emirundi mingi bafuna omukwano ogw’oku lusegere. N’olwekyo, Yeremiya ne Baluki bwe baali bakolera wamu okuzzaawo omuzingo kabaka omubi Yekoyakimu gwe yasaanyaawo, buli omu ku bo ayinza okuba nga yeeyongera okusiima engeri za munne. Kiki kye tuyigira ku basajja abo ababiri abeesigwa?
WEEYABIZE MIKWANO GYO
8. Kiki ekiyinza okutulemesa okukola emikwano egy’oku lusegere, naye lwaki ekyo tekisaanidde kutumalamu maanyi?
8 Oluusi kiyinza okutubeerera ekizibu okubuulira abalala engeri gye tuwuliramu bwe kiba nti mu biseera eby’emabega waliwo mukwano gwaffe eyatuyisa obubi. (Nge. 18:19, 24) Oba tuyinza okuwulira nti tetulina biseera na maanyi kukola mikwano gya ku lusegere. Naye ekyo tekisaanidde kutumalamu maanyi. Bwe tuba twagala baganda baffe okutuyamba mu biseera ebizibu, tulina okuyiga okubeesiga ne tubabuulira ebituli ku mutima. Ekyo kikulu nnyo bwe tuba ab’okufuna emikwano egya nnamaddala.—1 Peet. 1:22.
9. (a) Yesu yakiraga atya nti yali yeesiga mikwano gye? (b) Okweyabiza mikwano gyo nabo ne bakweyabiza, kiyinza kitya okunyweza omukwano gwammwe? Waayo ekyokulabirako.
9 Yesu yakiraga nti yali yeesiga mikwano gye ng’abeeyabiza. (Yok. 15:15) Tusobola okumukoppa nga tubuulira abalala ebitusanyusizza, ebitweraliikiriza, n’ebitumazeeko essanyu. Bw’owuliriza omuntu ng’aliko by’akubuulira, oyinza okukiraba nti mulina bingi bye mufaanaganya mu ndowooza, mu nneewulira, ne mu biruubirirwa. Lowooza ku mwannyinaffe Cindy, ali mu myaka 20. Yafuula Marie-Louise, payoniya ali mu myaka 60, mukwano gwe. Cindy ne Marie-Louise babuulirira wamu buli Lwakuna ku makya era banyumya ku bintu ebitali bimu. Cindy agamba nti: “Nnyumirwa nnyo okunyumya ne mikwano gyange ku bintu ebikulu kubanga ekyo kinnyamba okweyongera okubamanya n’okubategeera.” Bwe weeyabiza mikwano gyo era nabo ne bakweyabiza, omukwano gwammwe gweyongera okunywera.—Nge. 27:9.
MUKOLERE WAMU
10. Okusinziira ku Engero 27:17, bwe tukolera awamu ne bakkiriza bannaffe kiki ekivaamu?
10 Okufaananako Yeremiya ne Baluki, bwe tukolera awamu ne baganda baffe ne tulaba engeri zaabwe ennungi, tubaako bye tubayigirako era omukwano gwaffe nabo gweyongera okunywera. (Soma Engero 27:17.) Ng’ekyokulabirako, owulira otya bwe muba mubuulira n’olaba mukwano gwo ng’ayoleka obuvumu ng’annyonnyola ebyo by’akkiriza oba ng’ayogera ku Yakuwa n’ebyo bye yasuubiza? Kya lwatu nti mukwano gwo oyo weeyongera okumwagala.
11-12. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri okukolera awamu mu kubuulira gye kituyamba okwongera okunyweza enkolagana yaffe n’abalala.
11 Lowooza ku byokulabirako bino ebibiri ebiraga engeri okukolera awamu mu kubuulira gye kireetera abantu okwongera okuba ab’omukwano. Mwannyinaffe Adeline, ow’emyaka 23 yagamba mukwano gwe Candice bagende babuulire mu kitundu ekitatera kubuulirwamu. Agamba nti: “Twali twagala okwongera okubuulira n’obunyiikivu n’okunyumirwa obuweereza. Twali twagala okukola ekintu ekyandyongedde okutuzzaamu amaanyi mu by’omwoyo.” Okukolera awamu kyabaganyula kitya? Adeline agamba nti: “Ku nkomerero ya buli lunaku twayogeranga ku ngeri gye twabanga tuwuliramu, ebintu ebyabanga bitukutteko nga tubuulira, n’engeri Yakuwa gye yali atuwaddemu obulagirizi. Ffembi twanyumirwanga nnyo okunyumya ku bintu ebyo era tweyongera okumanyagana.”
12 Laïla ne Marianne, bannyinaffe babiri abali obwannamunigina ababeera mu Bufalansa baagenda okubuulira okumala wiiki ttaano mu Bangui, ekibuga ekikulu ekya Central African Republic. Laïla agamba nti: “Nze ne Marianne twayolekagana n’ebizibu ebitali bimu naye okuba n’empuliziganya ennungi n’okuba nti twali
twagalana, kyatuyamba nnyo era omukwano gwaffe gweyongera okunywera. Bwe nnalaba engeri Marianne gye yatuukaganamu n’embeera n’okuba nti yali ayagala nnyo abantu b’omu kitundu ekyo era nga munyiikivu nnyo mu kubuulira, nneeyongera okumwagala.” Tekikwetaagisa kugenda mu nsi ndala okusobola okufuna emiganyulo egyo. Buli lw’obuulira n’ow’oluganda oba mwannyinaffe mu kitundu kyammwe, ofuna akakisa okweyongera okumumanya n’okunyweza enkolagana yammwe.NOONYA EBIRUNGI MU BALALA ERA SONYIWANGA
13. Oluusi kiki ekibaawo nga tukolera wamu ne mikwano gyaffe?
13 Emirundi egimu bwe tukolera awamu ne mikwano gyaffe, tetukoma ku kumanya birungi bye balina naye era tumanya n’obunafu bwabwe. Kiki ekisobola okutuyamba mu mbeera ng’eyo? Ddamu olowooze ku Yeremiya. Kiki ekyamuyamba okulaba ebirungi mu balala n’okubuusa amaaso ensobi zaabwe?
14. Kiki Yeremiya kye yategeera ku Yakuwa, era ekyo kyamuyamba kitya?
14 Yeremiya ye yawandiika ekitabo ekiyitibwa erinnya lye era kirabika ye yawandiika n’ekitabo kya Bassekabaka ekisooka n’eky’okubiri. Omulimu ogwo guteekwa okuba nga gwamuyamba okukitegeera nti Yakuwa asaasira abantu abatatuukiridde. Ng’ekyokulabirako, yakimanya nti Kabaka Akabu bwe yeenenya olw’ebintu ebibi bye yali akoze, Yakuwa yamusonyiwa n’atalaba ba nnyumba ye bonna nga basaanyizibwawo mu kiseera kye. (1 Bassek. 21:27-29) Ate era Yeremiya yakimanya nti Manase yakola ebintu ebibi ennyo ebyanyiiza Yakuwa n’okusinga ebyo Akabu bye yakola. Wadde kyali kityo, Manase bwe yeenenya, Yakuwa yamusonyiwa. (2 Bassek. 21:16, 17; 2 Byom. 33:10-13) Okulowooza ku ebyo ebyogerwa ku bantu abo kiteekwa okuba nga kyayamba Yeremiya okukoppa obugumiikiriza bwa Yakuwa n’obusaasizi bwe ng’akolagana ne mikwano gye.—Zab. 103:8, 9.
15. Yeremiya yakoppa atya Yakuwa nga Baluki awuguliddwa?
15 Lowooza ku ngeri Yeremiya gye yakwatamu Baluki, Baluki bwe yali awuguliddwa okumala akaseera. Yeremiya teyayanguwa kulowooza nti Baluki yali tasobola kukyuka. Mu kifo ky’ekyo yamuyamba n’amutegeeza obubaka obwali buva eri Yakuwa obwandimuyambye. (Yer. 45:1-5) Ekyo kituyigiriza ki?
16. Okusinziira ku Engero 17:9, kiki kye tusaanidde okukola okusobola okukuuma omukwano gwaffe n’abalala?
16 Tetusaanidde kusuubira bakkiriza bannaffe kukola bintu mu ngeri etuukiridde. N’olwekyo, bwe tumala okukola emikwano egy’oku lusegere, tusaanidde okufuba okugikuuma. Mikwano gyaffe bwe bakola ensobi, kiyinza okutwetaagisa okubawabula mu ngeri y’ekisa nga tukozesa Ekigambo kya Katonda. (Zab. 141:5) Ate era bwe batunyiiza, tusaanidde okubasonyiwa. Bwe tumala okubasonyiwa, tusaanidde okwewala okuddamu okwogera nabo oba n’abantu abalala ku kintu kye baakola ekyatunyiiza. (Soma Engero 17:9.) Kikulu nnyo mu nnaku zino ez’enkomerero okumalira ebirowoozo byaffe ku birungi ebiri mu bakkiriza bannaffe mu kifo ky’okubimalira ku bunafu bwabwe! Bwe tukola tutyo, tujja kweyongera okunyweza enkolagana yaffe nabo, era ekyo kikulu nnyo kubanga tujja kwetaaga emikwano egy’oku lusegere mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene.
LAGA OKWAGALA OKUTAJJULUKUKA
17. Yeremiya yakiraga atya nti wa mukwano owa nnamaddala mu biseera ebizibu?
17 Yeremiya yakiraga nti wa mukwano owa nnamaddala mu biseera ebizibu. Ng’ekyokulabirako, Ebedumereki omukungu w’omu lubiri bwe yanunula Yeremiya mu luzzi mwe yali agenda okufiira, Ebedumereki yatya nti abaami bandimutuusizzaako akabi. Ekyo Yeremiya bwe Yer. 38:7-13; 39:15-18.
yakimanyaako, tayasirika busirisi n’agamba nti mukwano gwe oyo yandisobodde okugumira embeera eyo. Wadde nga Yeremiya yali musibe, yakola kyonna ekisoboka okuzzaamu Ebedumereki amaanyi ng’amubuulira ku kisuubizo kya Yakuwa.—18. Okusinziira ku Engero 17:17, kiki kye tusaanidde okukola nga mukwano gwaffe ayolekagana n’ebizibu?
18 Leero baganda baffe ne bannyinaffe boolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, bangi bakosebwa obutyabaga. Ekyo bwe kibaawo, abamu ku ffe tusobola okubudamya mikwano gyaffe abo mu maka gaffe. Abalala bayinza okubayamba nga bawaayo ssente. Naye ffenna tusobola okusaba Yakuwa okuyamba baganda baffe ne bannyinaffe. Bwe tukimanyaako nti muganda waffe oba mwannyinaffe aweddemu amaanyi, tuyinza obutamanya kya kwogera oba kya kukola. Naye ffenna tulina bingi bye tusobola okukola. Ng’ekyokulabirako, tusobola okuwaayo ebiseera ne tubeerako wamu ne mukwano gwaffe. Tusobola okumuwuliriza ng’alina by’atugamba. Era tusobola okumusomerayo ekyawandiikibwa ekisinga okutubudaabuda. (Is. 50:4) Ekisinga obukulu kwe kuba nti obaawo okuyamba mikwano gyo we bakwetaagira.—Soma Engero 17:17.
19. Okukola emikwano egy’oku lusegere kinaatuyamba kitya mu biseera eby’omu maaso?
19 Tulina okuba abamalirivu okukola emikwano eminywevu ne bakkiriza bannaffe n’okugikuuma. Lwaki? Kubanga abalabe baffe bajja kugezaako okutwawulayawulamu nga bakozesa obulimba. Bajja kugezaako okutuleetera okulekera awo okwesigaŋŋana n’okuyambagana. Naye tebajja kutuuka ku buwanguzi. Tebajja kusobola kutulemesa kulagaŋŋana kwagala. Tewali kye bajja kukola kinaasobola kwonoona nkolagana yaffe. Mu butuufu, omukwano gwe tulina ne bakkiriza bannaffe tegujja kukoma mu nteekateeka y’ebintu eno yokka naye era gujja kubeerawo emirembe gyonna!
OLUYIMBA 24 Mujje ku Lusozi lwa Yakuwa
^ lup. 5 Ng’enkomerero egenda esembera, ffenna twetaaga okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne bakkiriza bannaffe. Mu kitundu kino tugenda kulaba bye tuyinza okuyigira ku Yeremiya. Ate era tugenda kulaba engeri emikwano egy’oku lusegere gye tukola kati gye gijja okutuyambamu mu biseera ebizibu.
^ lup. 2 Ebintu ebyogerwako mu kitabo kya Yeremiya tebyasengekebwa nga bwe byajja bibaawo.
^ lup. 57 EBIFAANANYI: Ekifaananyi kino kiraga ekiyinza okubaawo mu kiseera ‘ky’ekibonyoobonyo ekinene.’ Ab’oluganda ne bannyinaffe abatonotono bakuŋŋaanidde mu kifo eky’ekusifu mu nnyumba y’ow’oluganda omu. Olw’okuba ba mukwano, basobola okubudaabudagana mu kiseera ekyo ekizibu. Ebifaananyi ebiddirira ebisatu biraga nti ab’oluganda ne bannyinaffe abo be bamu baalina omukwano ogw’oku lusegere ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika.