EKITUNDU EKY’OKUSOMA 48
‘Maliriza Ekyo Kye Watandika Okukola’
“Mumalirize ekyo kye mwatandika okukola.”—2 KOL. 8:11.
OLUYIMBA 35 “Mumanyenga Ebintu Ebisinga Obukulu”
OMULAMWA *
1. Kiki Yakuwa ky’atuleka okukola?
YAKUWA atuwa eddembe okwesalirawo engeri gye twagala okutambuzaamu obulamu bwaffe. Atuyigiriza okusalawo mu ngeri ey’amagezi, era bwe tusalawo obulungi atuyamba okutuukiriza ekyo kye tuba tusazeewo. (Zab. 119:173) Gye tukoma okukolera ku magezi agali mu Kigambo kya Katonda gye tukoma okusalawo obulungi.—Beb. 5:14.
2. Buzibu ki bwe tuyinza okwolekagana nabwo oluvannyuma lw’okubaako kye tusazeewo okukola?
2 Naye ne bwe tusalawo obulungi tuyinza okuzibuwalirwa okutuukiriza ekyo kye tuba tusazeewo okukola. Lowooza ku byokulabirako bino: Ow’oluganda omuvubuka asalawo okusoma Bayibuli yonna. Atandika okusoma Bayibuli naye oluvannyuma lwa wiiki ntono, alekera awo okugisoma. Mwannyinaffe asalawo okuweereza nga payoniya owa bulijjo naye buli kiseera ayongezaayo ekiseera w’anaatandikira okuweereza. Akakiiko k’abakadde kasalawo nti kajja kwongera amaanyi mu kukyalira abooluganda okubazzaamu amaanyi, naye wayitawo emyezi mingi nga tebannakolera ku kusalawo okwo. Embeera ezo za njawulo, naye zonna zirina kye zifaanaganya. Bonna balina bye basalawo naye tebabikolerako. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka ab’omu kibiina ky’Ekkolinso baayolekagana n’embeera ng’eyo. Ka tulabe bye tuyinza okubayigirako.
3. Kiki Abakkolinso kye baasalawo okukola, naye kiki ekyabaawo?
3 Awo nga mu mwaka gwa 55 E.E., Abakristaayo mu Kkolinso balina ekintu ekikulu kye baasalawo. Baakitegeerako nti baganda baabwe mu Yerusalemi ne mu Buyudaaya baali boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi awamu n’obwavu era nti ebibiina ebirala byali bisonda ssente okubayamba. Olw’okuba Abakristaayo b’omu Kkolinso baali ba kisa era nga bagabi, baasalawo okubaako kye bawaayo eri baganda baabwe abo era ne babuuza Pawulo 1 Kol. 16:1; 2 Kol. 8:6) Naye oluvannyuma lw’emyezi egiwerako, Pawulo yakitegeerako nti Abakkolinso baali tebannakolera ku ekyo kye baali basazeewo. N’olwekyo, kirabika ebirabo okuva mu bibiina ebirala bwe byandibadde bitwalibwa e Yerusaalemi ekirabo ekyabwe tekyanditwaliddwa wamu nabyo.—2 Kol. 9:4, 5.
engeri ekyo gye baali bayinza okukikolamu. Pawulo yabaweereza obulagirizi era n’alonda Tito okuyambako mu kukuŋŋaanya ssente ze bandibadde bawaayo. (4. Nga bwe kiragibwa mu 2 Abakkolinso 8:7, 10, 11, kiki Pawulo kye yakubiriza Abakkolinso okukola?
4 Ekyo Abakkolinso kye baali basazeewo kyali kirungi, era Pawulo yabasiima olw’okukkiriza okunywevu kwe baalina n’olw’okwagala okugaba. Naye era yabakubiriza okumaliriza okyo kye baali batandiseeko. (Soma 2 Abakkolinso 8:7, 10, 11.) Ekyo kituyigiriza nti n’Abakristaayo abeesigwa oluusi bazibuwalirwa okumaliriza ekintu ekirungi kye baba basazeewo okukola.
5. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu?
5 Okufaananako Abakkolinso, naffe oluusi kiyinza okutuzibuwalira okutuukiriza ekyo kye tuba tusazeewo okukola. Lwaki? Olw’okuba tetutuukiridde, tuyinza okugenda nga twongezaayo ekiseera we tunaatandikira okukola ekintu kye tuba tusazeewo. Oba ebintu ebigwawo obugwi biyinza okukifuula ekizibu gye tuli okutuukiriza ekyo kye tuba tusazeewo okukola. (Mub. 9:11; Bar. 7:18) Tuyinza tutya okuddamu okwekenneenya ekyo kye tuba twasalawo ne tulaba obanga twetaaga okukikyusaamu? Tuyinza tutya okukakasa nti tumaliriza ekyo kye tuba tutandiseeko okukola?
NGA TONNASALAWO
6. Ddi lwe kiyinza okutwetaagisa okukyusa mu ekyo kye tuba tusazeewo?
6 Ebintu ebimu ebikulu bye tusalawo tebisobola kukyuka. Ng’ekyokulabirako, twasalawo okuweereza Yakuwa era ekyo tetusobola kukikyusa, ate era tuli bamalirivu okunywerera ku bannaabwe mu bufumbo. (Mat. 16:24; 19:6) Naye ebintu ebirala bye tusalawo kiyinza okutwetaagisa okubikyusaamu. Lwaki? Kubanga embeera zikyuka. Biki ebiyinza okutuyamba okusalawo obulungi?
7. Kiki kye tulina okusaba era lwaki?
7 Saba Katonda akuwe amagezi. Yakuwa yaluŋŋamya Yakobo okuwandiika nti: “Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi, asabenga Katonda, kubanga agabira bonna.” (Yak. 1:5) Ffenna twetaaga amagezi mu bintu ebitali bimu. N’olwekyo bw’oba ng’olina ky’osalawo oba ng’oyagala kukyusa mu ekyo kye wasalawo, saba Yakuwa akuwe amagezi. Yakuwa ajja kukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi.
8. Osaanidde kunoonyereza otya nga tonnabaako ky’osalawo?
8 Noonyereza. Funa obulagirizi okuva mu Ekigambo kya Katonda, soma ebitabo ebikubibwa ekibiina kya Yakuwa, era yogerako n’abantu abanaakuwa amagezi amalungi. (Nge. 20:18) Okunoonyereza ng’okwo kukulu nnyo nga tonnasalawo kukyusa mulimu, kusenguka, oba kufuna buyigirize obunaakuyamba okweyimirizaawo nga bw’oweereza Yakuwa.
9. Okubeera abeesimbu kinaatuganyula kitya?
9 Weekenneenye ebigendererwa byo. Yakuwa afaayo ku bigendererwa bye tuba nabyo ku bintu bye tuba tusazeewo okukola. (Nge. 16:2) Ayagala tube beesimbu mu bintu byonna. N’olwekyo bwe tubaako kye tusalawo tulina okuba n’ekigendererwa ekirungi. Bwe tutaba beesimbu, kiyinza okutuzibuwalira okutuukiriza kye tuba tusazeewo. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omuto ayinza okusalawo okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Naye oluvannyuma lw’ekiseera, azibuwalirwa okuweza essaawa ezeetaagisa era tafuna ssanyu mu buweereza bwe. Ayinza okuba nga yali alowooza nti ekigendererwa kye yalina mu kutandika okuweereza nga payoniya kyali kya kusanyusa Yakuwa. Naye kyandiba nti ensonga yennyini eyamuleetera okuweereza nga payoniya kwali kusanyusa bazadde be oba abantu abalala?
10. Kiki ekyetaagisa okusobola okukola enkyukakyuka?
10 Lowooza ku muntu ayiga Bayibuli asalawo okulekayo okunywa ssigala. Asooka n’ava ku muze ogwo okumala wiiki emu oba bbiri ate oluvannyuma n’aguddamu. Naye oluvannyuma lw’ekiseera aguviirako ddala! Okwagala kw’alina eri Yakuwa n’okuba nti ayagala okumusanyusa bimuyambye okuvvuunuka omuze ogwo.—Bak. 1:10; 3:23.
11. Lwaki tulina okuba abalambulukufu nga tweteerawo ebiruubirirwa?
11 Beera mulambulukufu. Bw’obeera omulambulukufu ng’olina by’oteekateeka okukola, kiyinza okukusobozesa okubituukiriza. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba ng’osazeewo okwongera ku mirundi gy’osoma Bayibuli. Naye bw’otoba na nteekateeka ku ngeri ya kukikolamu, tojja kusobola kukituukiriza. * Oba abakadde mu kibiina bayinza okusalawo okwongera amaanyi mu kukyalira ab’oluganda okubazzaamu amaanyi, naye ekiseera kiyinza okuyitawo nga tebakoledde ku ekyo kye baasalawo. Okusobola okukikolerako, baba balina okwebuuza ebibuuzo nga bino: “Tulowoozezza ku b’oluganda abanaaganyulwa mu nteekateeka eno? Tutaddewo ekiseera kyennyini kye tunaagenderamu okubakyalira?”
12. Kiki kye tuyinza okwetaaga okukola era lwaki?
12 Kola ebyo by’osobola. Tewali n’omu ku ffe alina biseera, bintu, oba maanyi okukola buli kimu kye yandyagadde okukola. N’olwekyo kola ebyo by’osobola okukola. Bwe kiba kyetaagisa, oyinza okukyusa mu ekyo kye wasalawo singa okiraba nti kisusse ku busobozi bwo. (Mub. 3:6) Watya singa ozzeemu okwekenneenya ekyo kye wasalawo, ng’okikozeemu enkyukakyuka ezeetaagisa, era ng’owulira nti osobola okukituukiriza? Lowooza ku bintu bitaano ebisobola okukuyamba okumaliriza ekintu ky’oba otandise okukola.
EBISOBOLA OKUKUYAMBA OKUTUUKIRIZA BY’OBA OSAZEEWO
13. Oyinza otya okufuna amaanyi ge weetaaga okukola ekyo ky’oba osazeewo?
13 Saba Katonda akuwe amaanyi. Katonda asobola okukuwa “amaanyi okukola” ekyo ky’oba osazeewo okukola. (Baf. 2:13) N’olwekyo saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu gukuwe amaanyi ge weetaaga. Weeyongere okusaba ne bwe kiba nti essaala yo erabika ng’eruddewo okuddibwamu. Yesu yagamba nti: “Musabenga [omwoyo omutukuvu], muliweebwa.”—Luk. 11:9, 13.
14. Omusingi oguli mu Engero 21:5 guyinza gutya okukuyamba okutuukiriza ekyo ky’oba osazeewo okukola?
14 Kola enteekateeka. (Soma Engero 21:5.) Okusobola okumaliriza omulimu gwonna gw’oba otandiseeko, olina okuba n’enteekateeka. Omulimu ogwo oba olina okugukola ng’ogoberera enteekateeka eyo. Mu ngeri y’emu, bw’oba olina ekintu ky’oba osazeewo okukola ssaawo emitendera gy’ojja okuyitamu okusobola okukikola. Ekyo ky’oba ogenda okukola bwe kiba nga kinene, kigabanyeemu ebintu ebitonotono. Buli lw’omaliriza okukola ekimu ku bintu ebyo ebitono by’oba ogabanyizzaamu, kikuyamba okulaba wa w’otuuse mu kukola ekintu ekyo. Pawulo yakubiriza Abakkolinso okubaako kye baterekawo “buli lunaku olusooka mu wiiki” mu kifo ky’okulinda okubikuŋŋaanya omulundi gumu ng’azze. (1 Kol. 16:2) Omulimu omunene bw’ogugabanyamu emirimu emitonotono kikuyamba obutawulira nti gukusukkiriddeko.
15. Oluvannyuma lw’okukola enteekateeka kiki ky’olina okukola?
15 Bw’okola enteekateeka era n’ogissa mu buwandiike, kikuyamba okutuukiriza ebyo by’oba osazeewo okukola. (1 Kol. 14:40) Ng’ekyokulabirako, obukiiko bw’abakadde bulagirwa okulonda omukadde omu okuwandiika buli kimu ekiba kisaliddwawo obukiiko obwo, ani anaakikola, na ddi lwe kinaakolebwa. Abakadde bwe bagoberera obulagirizi obwo, kibanguyira okutuukiriza ebyo bye baba basazeewo. (1 Kol. 9:26) Oyinza okugezaako okukola ekintu kye kimu mu ebyo by’okola buli lunaku. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuwandiika olukalala lw’ebintu by’olina okukola buli lunaku, era obisengeke ng’osinziira ku ngeri gy’oyagala okubikolamu. Kino kijja kukuyamba okumaliriza ebyo by’oba oyagala okukola, era okole n’ebirala.
16. Kiki ekyetaagisa okusobola okutuukiriza ekyo ky’oba osazeewo, era Abaruumi 12:11 luwagira lutya ensonga eyo?
16 Fuba. Kyetaagisa okufuba okusobola okukolera ku nteekateeka gy’oba okoze n’okumaliriza ekyo ky’oba otandise okukola. (Soma Abaruumi 12:11.) Pawulo yagamba Timoseewo ‘okunyiikiranga’ era ‘n’okunywerera’ ku bye yali akola okusobola okuba omusomesa omulungi. Kikulu okukolera ku kubuulirira okwo ne mu bintu ebirala eby’omwoyo bye tusalawo okukola.—1 Tim. 4:13, 16.
17. Tuyinza tutya okukolera ku Abeefeso 5:15, 16 nga tutuukiriza ebyo bye tuba tusazeewo?
17 Kozesa bulungi ebiseera. (Soma Abeefeso 5:15, 16.) Ssaawo ekiseera ky’ojja okukoleramu ekyo ky’oba osazeewo era okinywerereko. Weewale okudda awo okulinda ekiseera ekituufu kubanga ekiseera ekituufu oyinza obutakifuna. (Mub. 11:4) Tokkiriza bintu bitali bikulu kutwala biseera byo na maanyi go bye weetaaga okukola ebintu ebisinga obukulu. (Baf. 1:10) Ssaawo ekiseera w’onoobeerera nga tolina bingi bikusumbuwa. Tegeeza abalala nti weetaaga ebiseera okwemalira ku ekyo ky’oba okola. Osobola okuggyako essimu oba okulindako okusoma obubaka obukuweerezebwa okutuusa lw’onoomaliriza ky’okola. *
18-19. Kiki ekiyinza okukuyamba okunywerera ku ekyo ky’oba osazeewo ne bw’oba ng’oyolekagana n’okusomooza okutali kumu?
18 Ebirowoozo bisse ku ebyo ebinaavaamu. Ebyo ebiva mu ebyo by’oba osazeewo biyinza okugeraageranyizibwa ku nkomerero y’olugendo. Bw’oba nga ddala oyogala okutuuka gy’olaga, ojja kweyongera okutambula era oluguudo lw’oyitamu ne bwe luba nga luzibiddwa ojja kuyita awalala osobole okutuuka. Mu ngeri y’emu, bwe tussa ebirowoozo ku ebyo ebiva mu bye tusalawo okukola tetujja kuggwaamu maanyi ne bwe tunaayolekagana n’ebizibu ebitali bimu nga tubikola.—Bag. 6:9.
19 Si kyangu kusalawo bulungi n’okukolera ku ebyo by’oba osazeewo. Naye Yakuwa asobola okukuwa amagezi n’amaanyi okusobola okutuukiriza ebyo by’oba osazeewo.
OLUYIMBA 65 Weeyongere mu Maaso!
^ lup. 5 Owulira nga wejjusa olw’ebintu ebimu bye wasalawo? Oba oluusi ozibuwalirwa okusalawo obulungi oba okukolera ku ebyo by’oba asazeewo? Ekitundu kino kigenda kukuyamba okumanya engeri gy’oyinza okuvvuunukamu obuzibu obwo n’okumaliriza ekyo ky’oba otandiseeko okukola.
^ lup. 11 Okusobola okweteerawo enteekateeka y’okwesomesa Bayibuli, osobola okukozesa “Enteekateeka y’Okusoma Bayibuli” eri ku jw.org®.
^ lup. 17 Okumanya ebisingawo ku ngeri y’okukozesaamu obulungi ebiseera, laba Awake! eya Apuli 2010, lup. 7.