Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 48

Osobola Okuba Omukakafu nti Yakuwa Ajja Kukuyamba mu Biseera Ebizibu

Osobola Okuba Omukakafu nti Yakuwa Ajja Kukuyamba mu Biseera Ebizibu

“‘Mube bavumu, . . . kubanga ndi wamu nammwe,’ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.”​—KAG. 2:4.

OLUYIMBA 118 “Twongere Okukkiriza”

OMULAMWA a

1-2. (a) Embeera yaffe efaananako etya n’ey’Abayudaaya abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse? (b) Kusoomooza ki Abayudaaya kwe baayolekagana nakwo? (Laba akasanduuko “ Ennaku za Kaggayi, Zekkaliya, ne Ezera.”)

 OLUUSI weeraliikirira ebyo ebiyinza okubaawo mu biseera eby’omu maaso? Oboolyawo wafiirwa omulimu gwo era nga weeraliikirira engeri gy’onoolabiriramu ab’omu maka go. Oyinza okuba nga weeraliikirira ekiyinza okukutuukako ggwe n’ab’omu maka go olw’obutabanguko obujjawo olw’eby’obufuzi, olw’okuyigganyizibwa, oba olw’okuba omulimu gwaffe ogw’okubuulira guziyizibwa. Oyolekagana n’ekimu ku bizibu ebyo? Bwe kiba kityo, ojja kuganyulwa nnyo mu kwekenneenya engeri Yakuwa gye yayambamu Abayisirayiri mu biseera eby’edda bwe baali nga boolekagana n’ebizibu ng’ebyo.

2 Abayudaaya abaali bamaze obulamu bwabwe bwonna nga babeera mu Babulooni, kyali kibeetaagisa okuba n’okukkiriza okuva mu nsi eyo eyali engagga bagende mu nsi abasinga obungi gye baali batalina kye bamanyiiko. Ate era waaliwo obutabanguko mu bitundu ebyali mu matwale ga Buperusi awamu n’okuziyizibwa okuva eri amawanga agaali gabeetoolodde. Olw’ebizibu ebyo, abamu baakisanga nga kizibu okukulembeza omulimu gw’okuzimba yeekaalu ya Yakuwa. N’olwekyo, awo nga mu 520 E.E.T., Yakuwa yatuma nnabbi Kaggayi ne nnabbi Zekkaliya, okuyamba abantu okuddamu okukulembeza omulimu gw’okuzimba. (Kag. 1:1; Zek. 1:1) Nga bwe tugenda okulaba, ekyo bannabbi abo kye baakola kyavaamu ebirungi. Kyokka nga wayise emyakaa nga 50, Abayudaaya abaali bakomyewo mu buwaŋŋanguse baddamu okuggwaamu amaanyi. Mu kiseera ekyo Ezera, eyali omukugu mu kukoppolola amateeka ga Yakuwa, yava e Babulooni n’ajja e Yerusaalemi okuyamba abantu okuddamu okukulembeza okusinza okw’amazima.​—Ezer. 7:​1, 6.

3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino? (Engero 22:19)

3 Nga Kaggayi ne Zekkaliya bwe baayamba abantu ba Katonda mu biseera eby’edda okweyongera okwesiga Yakuwa mu biseera ebizibu, naffe ebyo bye baayogera bisobola okutuyamba okweyongera okumwesiga nti ajja kutuyamba nga twolekagana n’ebizibu. (Soma Engero 22:19.) Nga twekenneenya obubaka Yakuwa bwe yawa abantu be okuyitira mu Kaggayi ne Zekkaliya awamu n’ekyokulabirako Ezera kye yassaawo, tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Abayudaaya abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse, baakwatibwako batya olw’ebizibu bye baayolekagana nabyo? Bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu, lwaki tusaanidde okukulembeza okukola ebyo Katonda by’ayagala? Tuyinza tutya okweyongera okwesiga Yakuwa mu biseera ebizibu?

EBIZIBU BY’AVIIRAKO ABAYUDAAYA OKUGGWAAMU AMAANYI

4-5. Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaviirako Abayudaaya okuddirira mu mulimu gw’okuzimba?

4 Abayudaaya abaava e Babulooni bwe baatuuka e Yerusaalemi, baalina eby’okukola bingi. Mangu ddala baddamu okuzimba ekyoto kya Yakuwa era ne bazimba n’omusingi gwa yeekaalu. (Ezer. 3:​1-3, 10) Naye waayita ekiseera kitono ne baggwaamu amaanyi. Lwaki? Ng’oggyeeko okuba nti baalina omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu, baalina n’okuzimba amayumba ag’okubeeramu, okusimba emmere, n’okufunira ab’omu maka gaabwe eby’okulya. (Ezer. 2:​68, 70) Ate era baayolekagana n’okuziyizibwa okuva eri abalabe baabwe abaakola olukwe lw’okuwera omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu.​—Ezer. 4:​1-5.

5 Abayudaaya abo era baayolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna awamu n’obutabanguko obwajjawo olw’eby’obufuzi. Ensi yaabwe nayo yali mu matwale ga Buperusi. Oluvannyuma lwa Kabaka Kuulo owa Buperusi okufa mu 530 E.E.T., Kabaka Kambisesi eyamuddira mu bigere yatandika olutalo olw’okuwamba Misiri. Abasirikale be bwe baali bagenda e Misiri okulwana, kirabika baalagira Abayisirayiri okubawa emmere, amazzi, n’okubafunira aw’okusula, era ekyo kyayongera okukalubya obulamu bw’Abayisirayiri. Kabaka Daliyo I eyaddira Kambisesi mu bigere bwe yatandika okufuga, waali wakyaliwo ebizibu bingi gamba ng’obwegugungo obwali mu bwakabaka bwa Buperusi. Kya lwatu nti embeera eyo yaleetera Abayudaaya bangi abaali bakomyewo okuva mu buwaŋŋanguse okweraliikirira engeri gye bandibadde balabiriramu ab’omu maka gaabwe. Olw’ebizibu ebyo byonna Abayudaaya bye baayolekagana nabyo, abamu baali bawulira nti si kye kiseera ekituufu eky’okuddamu okuzimba yeekaalu ya Yakuwa.​—Kag. 1:2.

6. Okusinziira ku Zekkaliya 4:​6, 7, bizibu ki ebirala Abayudaaya bye baayolekagana nabyo, era Zekkaliya yabakakasa ki?

6 Soma Zekkaliya 4:​6, 7. Ng’oggyeeko okuba nti Abayudaaya baali boolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna awamu n’obutabanguko obwali buva ku by’obufuzi, era baali bayigganyizibwa. Mu 522 E.E.T., abalabe baabwe baasobola okuleetera kabaka okuwera omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu ya Yakuwa. Naye Zekkaliya yakakasa Abayudaaya nti Yakuwa yandikozesezza omwoyo gwe omutukuvu ogw’amaanyi okuggyawo ebintu byonna ebyandibadde biremesa omulimu gw’okuzimba. Mu 520 E.E.T., Kabaka Daliyo yalagira Abayudaaya okuddamu okuzimba yeekaalu era n’abawa ne ssente. Ate era yalagira ne bagavana ab’omu kitundu ekyo okubayamba.​—Ezer. 6:​1, 6-10.

7. Abayudaaya bwe baakulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala, mikisa ki gye baafuna?

 7 Ng’ayitira mu Kaggayi ne Zekkaliya, Yakuwa yasuubiza abantu be nti bwe bandikulembezza omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu, yandibadde abayamba. (Kag. 1:​8, 13, 14; Zek. 1:​3, 16) Ebyo bannabbi bye baagamba Abayudaaya byabazzaamu amaanyi ne baddamu okukola omulimu gw’okuzimba yeekaalu mu 520 E.E.T., era ne bagimaliriza mu myaka egitawera etaano. Olw’okuba Abayudaaya baakulembeza omulimu gwa Yakuwa wadde nga baali boolekagana n’ebizibu, Yakuwa yabayamba mu by’omwoyo ne mu by’omubiri. N’ekyavaamu, baasinza Yakuwa nga basanyufu.​—Ezer. 6:​14-16, 22.

KULEMBEZA OKUKOLA EBYO KATONDA BY’AYAGALA

8. Ebigambo ebiri mu Kaggayi 2:4 biyinza bitya okutuyamba okweyongera okukulembeza ebyo Katonda by’ayagala? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

8 Ng’ekibonyoobonyo ekinene kigenda kisembera, tukiraba nti kikulu nnyo okugondera ekiragiro ky’okubuulira. (Mak. 13:10) Kyokka oluusi kiyinza okutuzibuwalira okukulembeza omulimu ogwo bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna oba ng’omulimu gwaffe guziyizibwa. Kiki ekiyinza okutuyamba okukulembeza Obwakabaka? Kwe kusigala nga tuli bakakafu nti “Yakuwa ow’eggye” b ali ku ludda lwaffe. Ajja kutuyamba singa tukulembeza omulimu gw’Obwakabaka mu bulamu bwaffe mu kifo ky’okukulembeza ebintu ebyaffe ku bwaffe. N’olwekyo, tetusaanidde kutya.​—Soma Kaggayi 2:4.

9-10. Ow’oluganda omu ne mukyala we baalaba batya obutuufu bw’ebigambo ebiri mu Matayo 6:33?

9 Lowooza ku w’oluganda Oleg ne mukyala we Irina, c abaweereza nga bapayoniya. Oluvannyuma lw’okugenda mu kitundu ekirala okuyamba ekibiina kyayo, baafiirwa emirimu gyabwe olw’eby’enfuna mu nsi yaabwe okugootaana. Wadde nga baamala omwaka nga mulamba nga tebalina mulimu gwa nkalakkalira, baalabanga engeri Yakuwa gye yabayambangamu era n’ab’oluganda baabayambanga nnyo. Baasobola batya okugumira ebizibu bye baali bayitamu? Oleg, mu kusooka eyali yennyamidde, agamba nti, “Okuba n’eby’okukola ebingi mu mulimu gw’okubuulira kyatuyamba okussa ebirowoozo byaffe ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu.” Ye ne mukyala we beeyongera okubuulira ng’eno bwe banoonya omulimu.

10 Lumu bwe baakomawo awaka nga bava okubuulira, baasanga mukwano gwabwe atindizze olugendo lwa mayiro nga 100 ng’abaleetedde ebitereke bibiri eby’emmere. Oleg agamba nti: “Ku olwo tweyongera okukiraba nti Yakuwa atufaako nnyo era nti n’ekibiina kitufaako nnyo. Tuli bakakafu nti Yakuwa teyeerabira baweereza be ne bwe baba nga bawulira nti embeera tesobola kutereera.”​—Mat. 6:33.

11. Bwe tukulembeza Yakuwa by’ayagala, kiki kye tujja okufuna?

11 Yakuwa ayagala tukulembeze omulimu oguwonyaawo obulamu ogw’okufuula abantu abayigirizwa. Nga bwe kyogeddwako mu  katundu 7, Kaggayi yakubiriza Abayudaaya okuddamu okukola omulimu gwa Yakuwa. Bwe bandigukoze, Yakuwa yasuubiza nti ‘yandibawadde omukisa.’ (Kag. 2:​18, 19) Naffe tusobola okuba abakakafu nti bwe tukulembeza omulimu Yakuwa gwe yatuwa okukola, ajja kutuwa emikisa.

ENGERI GYE TUYINZA OKUYIGA OKWEYONGERA OKWESIGA YAKUWA

12. Lwaki Ezera n’Abayudaaya abaakomawo naye okuva mu buwaŋŋanguse baali beetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi?

12 Mu 468 E.E.T., Ezera yava e Babulooni n’ekibinja eky’okubiri eky’Abayudaaya n’agenda e Yerusaalemi. Okusobola okutambula olugendo olwo, Ezera n’Abayudaaya abo baalina okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. Baali bagenda kuyita mu nguudo ez’obulabe, nga balina zzaabu ne ffeeza mungi eyali awereddwayo okukozesebwa mu mirimu gy’oku yeekaalu. Baali mu kabi ak’okulumbibwa abanyazi. (Ezer. 7:​12-16; 8:31) Ate era mu kiseera kitono, baakitegeera nti n’ekibuga Yerusaalemi tekyalina bukuumi bumala. Kyalimu abantu batono era buggwe waakyo n’emiryango gyakyo byali byetaaga okuddaabirizibwa. Kiki kye tuyigira ku Ezera ku bikwata ku kuyiga okwesiga Yakuwa?

13. Kiki ekyayamba Ezera okweyongera okwesiga Yakuwa? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

13 Ezera yali alabye engeri Yakuwa gye yayambamu abantu be mu biseera ebizibu. Emyaka mingi emabega, mu 484 E.E.T., kirabika Ezera yali abeera mu Babulooni, Kabaka Akaswero we yayisiza ekiragiro ky’okusaanyaawo Abayudaaya bonna abaali mu bwakabaka bwa Buperusi. (Es. 3:​7, 13-15) Obulamu bwa Ezera bwali mu kabi! Olw’ekiragiro ekyo, Abayudaaya “mu buli ssaza” baasiiba era ne bakungubaga, nga basaba Yakuwa abawe obulagirizi. (Es. 4:3) Lowooza ku ngeri Ezera n’Abayudaaya abalala gye baawuliramu embeera bwe yakyuka, abo abaali babakoledde olukwe lw’okubazikiriza ne baba nga be balina okuzikirizibwa! (Es. 9:​1, 2) Ebyo Ezera bye yayitamu mu kiseera ekyo biyinza okuba nga byamuyamba okuba omwetegefu okwaŋŋanga ebizibu bye yandyolekaganye nabyo mu biseera eby’omu maaso n’okweyongera okwesiga Yakuwa nti asobola okukuuma abantu be. d

14. Kiki mwannyinaffe omu kye yayiga bwe yalaba engeri Yakuwa gye yamulabiriramu mu biseera ebizibu?

14 Bwe tulaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu mu biseera ebizibu, tweyongera okumwesiga. Lowooza ku mwannyinaffe Anastasia, abeera mu nsi emu ey’omu Buvanjuba bwa Bulaaya. Yalekayo omulimu gwe olw’okuba bakozi banne baali bamupikiriza okubaako oludda lw’awagira mu by’obufuzi. Agamba nti: “Nnali sibeerangako mu mbeera nga sirina wadde ennusu.” Agattako nti: “Ensonga nnazikwasa Yakuwa era nnalaba engeri gye yandabiriramu. Bwe nnaddamu okwesanga mu mbeera nga sirina mulimu, sijja kweraliikirira. Kitange ow’omu ggulu andabirira leero era ajja kundabirira n’enkya.”

15. Kiki ekyayamba Ezera okweyongera okwesiga Yakuwa? (Ezera 7:​27, 28)

15 Ezera yalaba omukono gwa Yakuwa mu bulamu bwe. Ezera bwe yafumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yamuyambamu, kyamuyamba okweyongera okumwesiga. Weetegereze ebigambo bino bye yayogera. Yagamba nti: “Omukono gwa Yakuwa Katonda wange gwandiko.” (Soma Ezera 7:​27, 28.) Ezera yayogera ebigambo ebifaananako bwe bityo emirundi emirala etaano mu kitabo ekiyitibwa erinnya lye​—Ezer. 7:​6, 9; 8:​18, 22, 31.

Mu mbeera ki mwe tuyinza okulabira omukono gwa Yakuwa mu bulamu bwaffe? (Laba akatundu 16) e

16. Mu mbeera ki mwe tuyinza okweyongera okulaba omukono gwa Yakuwa mu bulamu bwaffe? (Laba n’ekifaananyi.)

16 Yakuwa asobola okutuyamba nga twolekagana n’ebizibu. Ng’ekyokulabirako, bwe tusaba mukama waffe okutukkiriza okugenda ku lukuŋŋaana olunene oba okukyusa mu biseera bye tukokoleramu tusobole okubangawo mu nkuŋŋaana zonna, kituwa akakisa okulaba omukono gwa Yakuwa mu bulamu bwaffe. Ebivaamu biyinza okuba ebirungi ennyo n’okusinga bwe tubadde tusuubira. N’ekivaamu, tweyongera okwesiga Yakuwa.

Ezera akaaba era asaba ng’ali ku yeekaalu, ng’anakuwadde olw’ebibi by’abantu. Abantu nabo bakaaba. Sekaniya abudaabuda Ezera ng’amugamba nti: “Wakyaliwo essuubi eri Isirayiri. . . . Tuli wamu naawe.”​—Ezer. 10:​2, 4 (Laba akatundu 17)

17. Ezera yayoleka atya obwetowaaze ng’ayolekagana n’ebizibu? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

17 Ezera yayoleka obwetowaaze ng’asaba Yakuwa okumuyamba. Buli lwe yawuliranga ng’obuvunaanyizibwa bumusukkiriddeko, yasabanga Yakuwa okumuyamba. (Ezer. 8:​21-23; 9:​3-5) Olw’okuba Ezera yeesiga Yakuwa, abalala baali beetegefu okumuyamba era baakoppa okukkiriza kwe. (Ezer. 10:​1-4) Bwe tuwulira nga tweraliikiridde nnyo engeri gye tuyinza okwetuusaako ebyetaago byaffe eby’omubiri oba nga tutya ekyo ekiyinza okutuuka ku b’omu maka gaffe, tusaanidde okusaba Yakuwa okutuyamba.

18. Kiki ekiyinza okutuyamba okweyongera okwesiga Yakuwa?

18 Bwe tusaba Yakuwa okutuyamba era ne tukkiriza obuyambi obutuweebwa bakkiriza bannaffe, tweyongera okwesiga Yakuwa. Mwannyinaffe Erika, alina abaana basatu, yeeyongera okwesiga Yakuwa ng’ayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Mu kaseera katono, yafiirwa omwana we eyali akyali mu lubuto era n’afiirwa n’omwami we. Ng’ayogera ku ebyo ebyamutuukako agamba nti: “Tosobola kumanyirawo ngeri Yakuwa gy’agenda kukuyambamu. Oluusi obuyambi oyinza okubufuna mu ngeri gy’obadde tosuubira. Nkirabye nti Yakuwa yaddamu essaala zange okuyitira mu ebyo mikwano gyange bye baayogera ne bye baakola. Bwe mbuulira mikwano gyange bye mpitamu kibanguyira okunnyamba.”

SIGALA NGA WEESIGA YAKUWA OKUTUUKIRA DDALA KU NKOMERERO

19-20. Kiki kye tuyigira ku Bayudaaya abaali batasobola kuddayo Yerusaalemi?

19 Waliwo ekintu ekikulu kye tuyigira ku Bayudaaya abataasobola kuddayo mu Yerusaalemi. Abamu ku bo bayinza okuba nga baalemererwa okuddayo olw’obukadde, olw’obulwadde, oba olw’obuvunaanyizibwa bw’amaka. Wadde kyali kityo, baawagira abo abaali baddayo nga babawa ebintu bingi ebyandibadde byetaagisa mu mirimu gy’oku yeekaalu. (Ezer. 1:​5, 6) Kirabika nga wayiseewo emyaka nga 19, ng’ekibinja ky’Abayudaaya ekyasooka okuva e Babulooni kimaze okutuuka e Yerusaalemi, abo abaali basigadde mu Babulooni baali bakyaweereza ebintu e Yerusaalemi.​—Zek. 6:10.

20 Ne bwe tuba nga tuwulira nti tetulina kinene kye tukola mu buweereza bwaffe, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa asiima byonna bye tukola nga tumuweereza. Ekyo tukimanya tutya? Mu kiseera kya Zekkaliya, Yakuwa yagamba nnabbi we okukola engule mu zzaabu ne ffeeza Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse e Babulooni gwe baawereza. (Zek. 6:11) ‘Engule eno ey’ekitiibwa’ yandibadde “ng’ekijjukizo” olw’ebyo bye baawaayo. (Zek. 6:​14, obugambo obuli wansi) Tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa tasobola kwerabira ebyo bye tukola nga tufuba okumuweereza mu biseera ebizibu.​—Beb. 6:10.

21. Kiki ekinaatuyamba obuteeraliikirira biyinza kututuukako mu biseera eby’omu maaso?

21 Kya lwatu nti tujja kweyongera okwolekagana n’ebizibu mu nnaku zino ez’enkomerero, era embeera ziyinza okweyongera okuba enzibu mu biseera eby’omu maaso. (2 Tim. 3:​1, 13) Naye tetusaanidde kweraliikirira kisukkiridde. Tusaanidde okujjukira ebigambo bino Yakuwa bye yagamba abantu be mu kiseera kya Kaggayi: “Ndi wamu nammwe . . . Temutya.” (Kag. 2:​4, 5) Naffe tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kuba naffe singa tukola kyonna ekisoboka okukola by’ayagala. Bwe tukolera ku ebyo bye tuyize mu bunnabbi bwa Kaggayi ne Zekkaliya n’eky’okulabirako Ezera kye yassaawo, tusobola okweyongera okwesiga Yakuwa ka bibe bizibu ki bye tuyinza okwolekagana nabyo mu biseera eby’omu maaso.

OLUYIMBA 122 Ba Munywevu, Tosagaasagana!

a Ekitundu kino kigenda kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okweyongera okwesiga Yakuwa nga twolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna, nga waliwo obutabanguko obujjawo olw’eby’obufuzi, oba ng’omulimu gwaffe ogw’okubuulira guziyizibwa.

b Ebigambo “Yakuwa ow’eggye” ebirabika mu kitabo kya Kaggayi emirundi 14, byajjukiza Abayisirayiri era naffe bitujjukiza nti Yakuwa alina amaanyi agatenkanika era aduumira eggye eddene nnyo ery’ebitonde eby’omwoyo.​—Zab. 103:​20, 21.

c Amannya agamu gakyusiddwa.

d Olw’okuba Ezera yali mukoppolozi mukugu ow’Amateeka ga Katonda, yali yayiga okwesiga ebigambo bya Yakuwa eby’obunnabbi ne bwe yali nga tannagenda Yerusaalemi.​—2 Byom. 36:​22, 23; Ezer. 7:​6, 9, 10; Yer. 29:14.

e EKIFAANANYI: Ow’oluganda asaba mukama we amukkirize okugenda ku lukuŋŋaana olunene naye mukama we agaana. Asaba Yakuwa okumuyamba n’okumuwa obulagirizi nga yeeteekateeka okuddamu okutuukirira mukama we. Alaga mukama we akapapula akayita abantu ku lukuŋŋaana era amunnyonnyola nti Bayibuli etuyamba okuba abantu abalungi. Mukama we akwatibwako nnyo n’amukkiriza okugenda.