Sigala ng’Olina Emirembe ku Mutima Wadde nga Wazzeewo Enkyukakyuka
“Omutima gwange ngukkakkanyizza era guli mu nteeko.”—ZAB. 131:2.
1, 2. (a) Tuyinza kukwatibwako tutya nga wazzeewo enkyukakyuka ze tubadde tutasuubira? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Okusinziira ku Zabbuli 131, ndowooza ki esobola okutuyamba okusigala nga tulina emirembe ku mutima?
OW’OLUGANDA Lloyd ne mukyala we Alexandra bwe baategeezebwa nti baali bagenda kulekera awo okuweereza ku Beseri, mu kusooka baawulira ennaku ey’amaanyi. Baali bamaze emyaka egisukka mu 25 nga baweereza ku Beseri. Lloyd agamba nti: “Beseri yandi mu musaayi. Wadde nga nnategeera ensonga lwaki enkyukakyuka eyo yali ekoleddwa, mu myezi egyaddirira nnateranga okuwulira ng’eyali ayabuliddwa era atalina mugaso. Ebiseera ebimu nnakirizanga embeera ate ebiseera ebirala ne nnennyamira.”
2 Embeera yaffe bw’ekyuka nga tubadde tetukisuubira, enkyukakyuka eziba zizzeewo ziyinza okutuleetera ennaku oba okwennyamira. (Nge. 12:25) Kiyinza n’okutuzibuwalira okukkiriza enkyukakyuka ezo. Mu mbeera ng’eyo tuyinza tutya okusigala nga tuli ‘bakkakkamu era ng’omutima gwaffe guli mu nteeko’? (Soma Zabbuli 131:1-3.) Ka tulabe engeri abamu ku baweereza ba Katonda aboogerwako mu Bayibuli n’abo ababaddewo mu kiseera kyaffe gye baasobola okusigala nga bakkakkamu wadde nga waali wazzeewo enkyukakyuka mu bulamu bwabwe.
OKUFUNA “EMIREMBE GYA KATONDA”
3. Yusufu yeesanga mu mbeera ki?
3 Yusufu yalina emyaka nga 17 baganda be we baamukwatirwa obuggya ne bamutunda mu buddu. Yusufu ye mwana kitaawe gwe yali asinga okwagala. (Lub. 37:2-4, 23-28) Emyaka gyonna awamu Yusufu gye yamala mu buddu ne mu kkomera e Misiri ng’ali wala nnyo okuva awali kitaawe Yakobo eyali amwagala nnyo gyali nga 13. Kiki ekyayamba Yusufu obutaggwaamu ssuubi n’obutanakuwala kisukkiridde?
4. (a) Kiki Yusufu kye yassaako ebirowoozo ng’ali mu kkomera? (b) Yakuwa yaddamu atya essaala za Yusufu?
4 Yusufu bwe yali mu kkomera ng’abonaabona, ateekwa okuba nga yafumiitiriza ku bukakafu obwali bulaga nti Yakuwa yali amuwa emikisa. (Lub. 39:21; Zab. 105:17-19) N’ebirooto ebyalimu obunnabbi Yusufu bye yaloota ng’akyali muto nabyo biteekwa okuba nga byamuyamba okuba omukakafu nti yali asiimibwa Yakuwa. (Lub. 37:5-11) Ate era ateekwa okuba nga yeeyabizanga Yakuwa n’amubuulira ennaku eyamuli ku mutima. (Zab. 145:18) Yakuwa yaddamu essaala za Yusufu era n’amuyamba okukitegeera nti yandibadde wamu “naye” mu bizibu byonna bye yandiyiseemu.—Bik. 7:9, 10. *
5. “Emirembe gya Katonda” giyinza gitya okutuyamba okutuuka ku biruubirirwa byaffe eby’omwoyo?
5 Bwe tufuna ebizibu mu bulamu, naffe tusobola okufuna “emirembe gya Katonda” egikuuma ebirowoozo byaffe. (Soma Abafiripi 4:6, 7.) Bwe tusaba Yakuwa nga tulina ebintu ebitweraliikiriza ennyo, emirembe gya Katonda gisobola okutukuuma ne tuba bamalirivu okutuuka ku biruubirirwa byaffe eby’omwoyo era gitukuuma ne tutaggwaamu maanyi. Ka tulabeyo ebyokulabirako mu kiseera kyaffe ebikakasa ekyo.
SABA YAKUWA AKUYAMBE OKUDDAMU OKUFUNA EMIREMBE
6, 7. Okusaba Yakuwa ne tumutegeereza ddala ekituli ku mutima kituyamba kitya okuddamu okufuna emirembe ku mutima? Waayo ekyokulabirako.
6 Ryan ne Juliette bwe baategeezebwa nti baali bagenda kulekera awo okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo, baawulira nga baweddemu amaanyi. Ryan agamba nti: “Amangu ddala ensonga eyo twagitegeezaako Yakuwa. Twakiraba nti twali tufunye akakisa okukyoleka nti tumwesiga. Bangi ku abo abaali mu kibiina kyaffe baali bapya mu mazima, n’olwekyo twasaba Yakuwa atuyambe tubateerewo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka okukkiriza.”
7 Yakuwa yaddamu atya essaala yaabwe? Ryan agamba nti: “Amangu ddala nga twakamala okusaba, endowooza enkyamu n’okweraliikirira bye twalina byaggwaawo. Emirembe gya Katonda gyakuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe. Twakiraba nti singa tweyongera okuba n’endowooza ennuŋŋamu, Yakuwa yandyeyongedde okutukozesa.”
8-10. (a) Omwoyo gwa Katonda gusobola gutya okutuyamba okwaŋŋanga ebitweraliikiriza? (b) Kiki Yakuwa ky’ayinza okukola singa tweyongera okumuweereza n’obunyiikivu?
8 Ng’oggyeeko okukkakkanya emitima gyaffe, omwoyo gwa Katonda era gusobola okutuyamba okujjukira ebyawandiikibwa ebisobola okutuyamba okusigala nga tukulembeza ebintu eby’omwoyo. (Soma Yokaana 14:26, 27.) Lowooza ku Philip ne mukyala we Mary, abaali bamaze emyaka nga 25 nga baweereza ku Beseri. Mu bbanga lya myezi ena gyokka, bombi baafiirwa bamaama baabwe n’omu ku b’eŋŋanda zaabwe era ne baba nga balina n’okulabirira taata wa Mary eyalina obulwadde obw’okuwuttaala.
Abakkolosaayi 1:11. Kyo kituufu nti nnali ŋŋumiikiriza naye si mu ngeri entuufu. Nnakiraba nti nnalina ‘okugumiikiriza n’essanyu.’ Olunyiriri olwo lwannyamba okukiraba nti essanyu lyange terisinziira ku mbeera gye mbaamu. Omwoyo gwa Katonda gwe gunnyamba okuba omusanyufu.”
9 Philip agamba nti: “Nnali ndowooza nti embeera nnali ngigumira bulungi, naye waaliwo ekyali kimbulako. Nnasoma ekitundu ekimu eky’Omunaala gw’Omukuumi ekyalimu akatundu akoogera ku10 Olw’okuba Philip ne Mary beeyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu, Yakuwa yabawa emikisa mingi. Amangu ddala nga baakava ku Beseri, bombi baafuna abayizi ba Bayibuli abakulaakulana abaali baagala okuyigirizibwa emirundi egisukka mu gumu buli wiiki. Bw’alowooza ku kiseera ekyo, Mary agamba nti, “Abayizi abo baatuleetera essanyu lingi era Yakuwa yali ng’atugamba nti buli kimu kyali kijja kuba bulungi.”
BAAKO KY’OKOLAWO YAKUWA AKUWE EMIKISA
11, 12. (a) Kiki Yusufu kye yakolawo ekyaleetera Yakuwa okumuwa emikisa? (b) Yakuwa yawa atya Yusufu emikisa olw’okwoleka obugumiikiriza?
11 Bwe wajjawo enkyukakyuka ze tubadde tutasuubira, kiyinza okutuleetera okweraliikirira ekisukkiridde ne tuwulira ng’abatakyalina kyonna kye tuyinza kukolawo. Yusufu naye yali asobola okuwulira bw’atyo. Naye mu kifo ky’ekyo, yakola kyonna ky’asobola mu mbeera ye, era Yakuwa yamuwa emikisa. Wadde nga Yusufu yali mu kkomera, emirimu gyonna omukulu w’ekkomera gye yamuwanga yagikolanga n’obunyiikivu nga bwe yakolanga ng’akyali ewa Potifaali.—Lub. 39:21-23.
12 Lumu Yusufu yakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abasajja babiri nabo abaali mu kkomera naye ng’emabega baali baweereza mu lubiri lwa Falaawo nga balina ebifo ebya waggulu. Olw’okuba Yusufu yali wa kisa, abasajja abo bombi baamubuulira ebirooto bye baali baloose ekiro ebyali bibeeraliikiriza. (Lub. 40:5-8) Yusufu teyakimanya nti ebyo bye yayogera n’abasajja abo byandimuviiriddemu ebirungi. Wadde nga yalina okumala emyaka emirala ebiri mu kkomera, oluvannyuma yateebwa era ku olwo lwennyini lwe baamuta yakuzibwa n’aba nga yaddirira Falaawo mu buyinza.—Lub. 41:1, 14-16, 39-41.
13. Kiki kye tusaanidde okukola Yakuwa bw’aba ow’okutuwa emikisa mu mbeera yonna gye tubaamu?
13 Okufaananako Yusufu, naffe tuyinza okwesanga nga tuli mu mbeera nga tetulina kya maanyi kye tuyinza kukola kugikyusa. Naye bwe tusigala nga tuli bagumiikiriza era ne tukola kyonna ekisoboka mu mbeera yaffe, Yakuwa ajja kutuwa emikisa. (Zab. 37:5) Kyo kituufu nti oluusi tuyinza okuwulira nga ‘tusobeddwa,’ naye ng’omutume Pawulo bwe yagamba, tetuyinza kubulwa ‘buddukiro.’ (2 Kol. 4:8) Tusobola okulaba ebigambo bya Pawulo ebyo nga bituukirira mu bulamu bwaffe singa tusigala nga twemalidde ku mulimu gw’okubuulira.
SIGALA NGA WEEMALIDDE KU MULIMU GW’OKUBUULIRA
14-16. Firipo omubuulizi w’enjiri yasigala atya nga yeemalidde ku mulimu gw’okubuulira wadde ng’embeera ye yagenda ekyukakyuka?
14 Firipo omubuulizi w’enjiri yasigala yeemalidde ku mulimu gw’okubuulira wadde nga waali wazzeewo enkyukakyuka ey’amaanyi. Oluvannyuma lwa Siteefano okuttibwa, waabalukawo okuyigganyizibwa okw’amaanyi mu Yerusaalemi. * Mu kiseera ekyo Firipo yalina obuvunaanyizibwa obupya obwali bumuweereddwa. (Bik. 6:1-6) Naye abagoberezi ba Kristo bwe baasaasaana, Firipo teyatunula butunuzi n’abeera awo nga talina ky’akolawo. Yagenda okubuulira mu Samaliya, ekibuga ekyalina ekitundu ekinene ekyali kitabuulirwangamu.—Mat. 10:5; Bik. 8:1, 5.
15 Firipo yali mwetegefu okugenda yonna omwoyo gwa Katonda gye gwandimusindise. N’olwekyo Yakuwa yamukozesa okutuusa amawulire amalungi mu bifo ebyali bitabuulirwangamu. Olw’okuba teyasosolanga mu bantu, kiteekwa okuba nga kyakwata nnyo ku Basamaliya abaali bayisibwamu ennyo amaaso Abayudaaya. Tekyewuunyisa nti Abasamaliya “bassangayo nnyo omwoyo ku bintu bye yali ayogera”!—Bik. 8:6-8.
16 Oluvannyuma omwoyo omutukuvu gwatwala Firipo mu Asudodi ne mu Kayisaaliya, ebibuga ebyalimu Bannaggwanga abangi. (Bik. 8:39, 40) Nga wayise emyaka nga 20 bukya abuulira mu Samaliya, embeera ya Firipo era yali ekyuse. Kati yalina abaana era ng’akkalidde mu kitundu mwe yali abeera. Wadde ng’embeera ya Firipo yagenda ekyukakyuka, yasigala yeemalidde ku mulimu gw’okubuulira era Yakuwa yamuwa emikisa awamu n’ab’omu maka ge.—Bik. 21:8, 9.
17, 18. Okwemalira ku mulimu gw’okubuulira kituyamba kitya nga wazzeewo enkyukakyuka?
17 Bangi ku abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna bagamba nti okusigala nga beemalidde ku mulimu gw’okubuulira kyabayamba nnyo okusigala nga banywevu nga wazzeewo enkyukakyuka. Osborne ne mukyala we Polite, ababeera mu South Africa bwe baava ku Beseri baalowooza nti baali bajja kufuna mangu emirimu n’ennyumba. Osborne agamba nti: “Eky’ennaku, tetwafuna mangu mirimu nga bwe twali tusuubira.” Mukyala we, Polite, agamba nti: “Twamala emyezi esatu nga tetunnafuna mirimu era tetwalinawo ssente ze tuterese. Kwali kusoomooza kwa maanyi gye tuli.”
18 Kiki ekyabayamba okwaŋŋanga embeera eyo etaali nnyangu? Osborne agamba nti: “Okubuulira awamu n’ekibiina kyatuyamba obutawugulibwa n’okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu. Twasalawo okwemalira ku mulimu gw’okubuulira mu kifo ky’okutuula awo obutuuzi ne tudda mu kweraliikirira. Twanoonya emirimu buli wamu era oluvannyuma twagifuna.”
LINDIRIRA YAKUWA N’OBUGUMIIKIRIZA
19-21. (a) Kiki ekisobola okutuyamba okusigala nga tulina emirembe ku mutima? (b) Miganyulo ki gye tuyinza okufuna mu nkyukakyuka eziba zizzeewo mu bulamu bwaffe?
19 Ng’ebyokulabirako ebyo bwe biraga, bwe tukola kyonna ekisoboka mu mbeera gye tubaamu era ne tulindirira Yakuwa, tufuna emirembe mu mutima. (Soma Mikka 7:7.) Tuyinza n’okukiraba nti enkyukakyuka eyo etuyambye okwongera okunywera mu by’omwoyo. Ng’ayogera ku mbeera ye, Polite, ayogeddwako waggulu agamba nti: “Okuva ku Beseri kyannyamba okulaba kye kitegeeza okwesiga Yakuwa ne mu mbeera enzibu ennyo. Enkolagana yange ne Yakuwa yeeyongera okunywera.”
20 Mary, eyayogeddwako waggulu, akyalabirira kitaawe akaddiye ng’eno bw’aweereza nga payoniya. Agamba nti: “Nkiyize nti bwe ntandika okweraliikirira, nnina okuleka buli kimu kye mba nkola ne nsaba Yakuwa era ebintu ne mbimulekera. Ekintu kye nsinze okuyiga kwe kuleka ebintu mu mikono gya Yakuwa era kijja kunneetaagisa okweyongera okukola bwe ntyo ne mu biseera eby’omu maaso.”
21 Lloyd ne Alexandra, abaayogeddwako ku ntandikwa, bagamba nti enkyukyuka ezajjawo mu bulamu bwabwe zaagezesa okukkiriza kwabwe mu ngeri gye baali batalowoozangako. Naye bagamba nti: “Ebigezo bituyamba okumanya obanga okukkiriza kwaffe kwa nnamaddala era obanga kunywevu ekimala okusobola okutuyisa mu biseera ebizibu. Enkyukakyuka gye twafuna yatuyamba okwongera okunywera mu by’omwoyo.”
22. Bwe tufuba okubaako kye tukolawo mu mbeera gye tubaamu, birungi ki ebivaamu?
22 Singa wajjawo enkyukakyuka z’obadde tosuubira, ka zibe nga zizzeewo mu buweereza bwo, oba nga zizzeewo olw’obulwadde oba olw’obuvunaanyizibwa obupya bw’oba ofunye mu maka, ba mukakafu nti Yakuwa akufaako era nti ajja kukuyamba mu kiseera ekituufu. (Beb. 4:16; 1 Peet. 5:6, 7) Nga bw’olindirira Yakuwa, fuba okukola kyonna ky’osobola mu mbeera yo. Weeyongera okumusemberera ng’oyitira mu kusaba era leka ebintu mu mikono gye. Bw’onookola bw’otyo, naawe ojja kuba n’emirembe ku mutima wadde nga wazzeewo enkyukakyuka mu bulamu bwo.
^ lup. 4 Nga wayise ekiseera nga Yusufu avudde mu kkomera, yagamba nti Yakuwa yali amwerabizza ennaku gye yayitamu bwe yamuwa omwana ow’obulenzi. Omwana we omubereberye yamutuuma Manase, kubanga yagamba nti: “Katonda anneerabizza ebizibu byange byonna.”—Lub. 41:51, obugambo obuli wansi.
^ lup. 14 Laba ekitundu “Obadde Okimanyi?” mu magazini eno.