Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekifaananyi ekitono ekiraga siteegi n’ekipande ekyali waggulu waayo

1922—Emyaka Kikumi Egiyise

1922—Emyaka Kikumi Egiyise

“KATONDA . . . atuwa obuwanguzi okuyitira mu . . . Yesu Kristo.” (1 Kol. 15:57) Ebigambo ebyo ebyalondebwa okuba ekyawandiikibwa ky’omwaka gwa 1922, byakakasa abayizi ba Bayibuli nti Yakuwa yandibawadde emikisa olw’okusigala nga beesigwa gy’ali. Mu mwaka ogwo, Yakuwa yawa ababuulizi abo abaali abanyiikivu emikisa mingi. Yabawa emikisa bwe baatandika okwekubira ebitabo byabwe n’okukozesa leediyo okubunyisa amazima agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Oluvannyuma mu 1922, kyaddamu okweyoleka lwatu nti Yakuwa yali awa abantu be emikisa. Abayizi ba Bayibuli baasobola okuba n’olukuŋŋaana olw’ebyafaayo mu Cedar Point, mu ssaza lya Ohio, mu Amerika. Ebyaliwo mu lukuŋŋaana olwo bikutte ku mulimu ogukolebwa ekibiina kya Yakuwa n’okutuusa leero.

‘EKIROWOOZO EKIRUNGI ENNYO’

Omulimu gw’okubuulira bwe gwagenda gweyongera, n’obwetaavu bw’ebitabo bweyongera. Ab’oluganda ku Beseri y’omu Brooklyn baali bafulumya magazini, naye nga bakyakozesa kampuni ezikuba ebitabo okukuba ebitabo eby’amaliba amagumu. Oluvannyuma lw’okwesanga nga tebalina bitabo bimala eby’okukozesa mu kubuulira okumala emyezi egiwera, era nga n’omulimu gw’okubuulira guddiridde, ow’Oluganda Rutherford yabuuza ow’Oluganda Robert Martin, eyali alabirira ekitongole ekikuba magazini, oba nga kyali kisoboka ab’oluganda okwekubira ebitabo.

Ekifo ab’oluganda we baakubiranga ebitabo mu Concord Street mu Brooklyn, New York

Ow’Oluganda Martin yagamba nti: “Ekirowoozo ekyo kyali kirungi nnyo. Naye kyali kitegeeza nti ab’oluganda baalina okuggulawo ekifo ekipya we bakubira ebitabo.” Ab’oluganda baapangisa ekifo ku 18 Concord Street mu Brooklyn era ne bafuna ebyuma ebyali byetaagisa.

Naye si buli omu nti yali musanyufu olw’ekyo ekyali kituukiddwako. Eyali akulira kampuni eyali etukubira ebitabo yajja okulambula ekifo ekyo ekipya. Yagamba nti: “Kati mulina ekyuma ekiri ku mulembe ekikuba ebitabo, naye tewali n’omu ku mmwe amanyi kukikozesa. Mu myezi mukaaga gyokka, kyonna kijja kuba kyonoonese.”

Ow’Oluganda Martin yagamba nti: “Ebigambo ebyo byalabika ng’ebituufu, naye twali tukimanyi nti Mukama waffe yandituyambye nga bwe yatuyambanga bulijjo.” Ow’Oluganda Martin yali mutuufu. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, ekyuma kyaffe ekipya kyakubanga ebitabo 2,000 buli lunaku.

Ab’oluganda abaali bakola mu kifo we baakubiranga ebitabo nga bayimiridde okumpi n’ekyuma ekikuba ebitabo

OKUTUUKA KU BANTU NKUMI NA NKUMI NGA TUKOZESA LEEDIYO

Ng’oggyeeko okwekubira ebitabo byabwe, abantu ba Yakuwa baatandika okubunyisa amawulire amalungi nga bakozesa leediyo. Ku Ssande nga Febwali 26, 1922, ow’Oluganda Rutherford yayogerera ku leediyo omulundi ogwasooka. Yayogera ku mutwe ogugamba nti, “Abantu Bukadde na Bukadde Abaliwo Kati Tebalifa” era ng’okwogera okwo kwaweerezebwa ku leediyo eyali eyitibwa KOG ey’omu kibuga Los Angeles, mu California, Amerika.

Abantu nga 25,000 be baawuliriza okwogera okwo. Abamu ku bo baawandiika amabaluwa nga basiima okwogera okwo. Omu ku baawandiika amabaluwa ago yali Willard Ashford, omutuuze w’omu Santa Ana, mu California. Yasiima nnyo ow’Oluganda Rutherford olw’okwogera okwali “okulungi ennyo era okusanyusa.” Era yagamba nti: “Nnalina abalwadde basatu mu nnyumba era tetwandisobodde kujja kuwuliriza kwogera kwo ne bwe wandibadde ku muliraano. Naye twasobola okukuwuliriza okuyitira ku leediyo.”

Programu endala zaaweerezebwa ku leediyo mu wiiki ezaddirira. Omwaka we gwaggweerako, magazini ya Watch Tower yalaga nti “abantu nga 300,000 be baali bafunye obubaka okuyitira ku leediyo.”

Amabaluwa ago n’ebigambo abantu bye baayogera byazzaamu nnyo abayizi ba Bayibuli amaanyi, era ne basalawo okuggulawo omukutu gwa leediyo mu kifo ekiyitibwa Staten Island, ekitaali wala nnyo okuva ku Beseri y’omu Brooklyn. Mu myaka egyaddirira, abayizi ba Bayibuli baakozesa omukutu gwa leediyo ogwo ogwali guyitibwa WBBR, okubunyisa amawulire g’Obwakabaka mu bitundu ebirala bingi.

“ADV”

Magazini ya Watch Tower eya Jjuuni 15, 1922, yalanga nti olukuŋŋaana olunene lwali lugenda kubeera mu Cedar Point, Ohio, okuva nga Ssebutemba 5 okutuuka nga 13, 1922. Abayizi ba Bayibuli baali basanyufu nnyo nga batuuse ku lukuŋŋaana olwo.

Mu kwogera okwaggulawo olukuŋŋaana olwo, ow’Oluganda Rutherford yagamba abaali bamuwuliriza nti: “Ndi mukakafu era sirinaamu kubuusabuusa kwonna nti Mukama waffe ajja . . . kuwa olukuŋŋaana luno omukisa era ajja kukakasa nti obujulirwa buweebwa mu ngeri etabangawo ku nsi.” Enfunda n’enfunda, aboogezi ku lukuŋŋaana olwo baakubiriza abaali bawuliriza okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira.

Abantu abaali mu lukuŋŋaana olwali mu Cedar Point, Ohio, mu 1922

Ku Lwokutaano, nga Ssebutemba 8, abantu nga 8,000 bajjuza ekifo awaali olukuŋŋaana nga beesunga okuwuliriza okwogera kw’ow’Oluganda Rutherford. Baali basuubira nti ajja kunnyonnyola amakulu g’ennukuta “ADV,” ezaali ku kapapula ke baabawa nga babayita ku lukuŋŋaana olwo. Bwe baali batuula, abamu ku bo baalaba ekipande ekinene ekizingemu ekyali waggulu w’ekifo aboogezi we baayimiriranga. Arthur Claus, eyali azze ku lukuŋŋaana olwo okuva e Tulsa, mu Oklahoma, Amerika, yafuna ekifo we yali asobola okuwulirira obulungi, okuva bwe kiri nti mu kiseera ekyo tewaaliwo mizindaalo egyali gisobola okwongeza amaloboozi.

“Twali tuwuliriza n’obwegendereza buli kigambo”

Okusobola okukakasa nti tewabaawo kutaataaganyizibwa, ssentebe yasoma ekirango ekyali kigamba nti tewali n’omu eyandikkiriziddwa okuyingira ng’ow’Oluganda Rutherford atandise okwogera. Ku ssaawa ssatu n’ekitundu ez’oku makya, ow’Oluganda Rutherford yatandika okwogera kwe n’ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 4:17, awagamba nti: “Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.” Bwe yali ayogera ku ngeri abantu gye bandiwuliddemu ebikwata ku Bwakabaka obwo, ow’Oluganda Rutherford yagamba nti: “Yesu kennyini yagamba nti mu kiseera ky’okubeerawo kwe, yandikulembeddemu omulimu gw’okukungula abantu era n’akuŋŋaanya abantu abawulize n’abaleeta gy’ali.”

Ow’Oluganda Claus, eyali atudde okumpi n’omwogezi we yali, yagamba nti: “Twali tuwuliriza n’obwegendereza buli kigambo.” Naye obulwadde bwamukwata n’aba nga yalina okufuluma ebweru. Ow’Oluganda Arthur yawulira nga tayagala kufuluma kubanga yali akimanyi nti teyandikkiriziddwa kuddamu kuyingira.

Mu ddakiika ntono, yawulira ng’agenda atereera. Agamba nti bwe yali atambula ng’addayo awaali olukuŋŋaana, yawulira ng’abantu bakuba engalo ez’amaanyi. Ekyo kyamuleetera okuwulira essanyu lingi. Yasalawo nti ne bwe kyandibadde kitegeeza kulinnya waggulu ku kasolya asobole okweyongera okuwuliriza okwogera okwo, yandikikoze. Ow’Oluganda Claus, eyali omuvubuka ow’emyaka 23 mu kiseera ekyo, yasobola okulinnya waggulu ku kasolya. Waggulu ku kizimbe waali wabikkule, era yagamba nti bwe yagenda asembera, yali asobola bulungi okuwuliriza okwogera kw’ow’Oluganda Rutherford.

Naye waggulu eyo Arthur teyaliiyo yekka. Waliwo abamu ku mikwano gye nabo abaaliyo. Omu ku bo yali ayitibwa Frank Johnson era bwe yamulaba yagenda gy’ali n’amubuuza nti, “Olinayo akaso akoogi?”

Arthur yamuddamu nti, “Yee, nkalina.”

Awo Frank yagamba nti: “Yakuwa azzeemu okusaba kwaffe, kubanga tubadde tukeetaaga.” Era yagattako nti, “Olaba ekipande kino ekizingiddwa? Kisibiddwa ku misumaali gino, era wuliriza Omulamuzi * n’obwegendereza. Bw’owulira ng’agamba nti, ‘era mulina okulangirira, mulina okulangirira,’ sala emiguwa egyo ena.”

Ow’oluganda Arthur yakwata akaso mu mukono gwe era n’alindirira okuwulira ebigambo ebyo. Nga wayiseewo akaseera katono, ow’Oluganda Rutherford yatuuka ku kitundu ekyo ekyali kisinga obukulu eky’okwogera kwe. Ow’Oluganda Rutherford ateekwa okuba nga yayogera n’ebbugumu era mu ddoboozi ery’omwanguka n’agamba nti: “Mubeere Abajulirwa ba Mukama waffe abeesigwa era ab’amazima. Mweyongere okulwana olutalo okutuusa Babulooni kyonna lwe kirizikirizibwa. Mulangirire obubaka buli wamu. Ensi eteekwa okumanya nti Yakuwa ye Katonda, era nti Yesu Kristo ye Kabaka wa bakabaka era Mukama w’abakama. Kino kye kiseera ekisingayo obukulu mu byafaayo. Mulabe, Kabaka kati afuga. Mmwe babaka be abatumiddwa okulangirira obubaka buno. N’olwekyo, mulangirire, mulangirire, mulangirire Kabaka n’Obwakabaka bwe!”

Arthur yagamba nti mu kaseera ako, ye n’ab’oluganda abalala baasala emiguwa, era ekipande ne kizingulukuka. Nga kikwatagana n’ennukuta “ADV,” ekipande kyaliko ebigambo ebisoma nti: “Advertise the King and Kingdom,” (“Mulangirire Kabaka n’Obwakabaka”).

OMULIMU OMUKULU ENNYO

Olukuŋŋaana olwali mu Cedar Point lwayamba ab’oluganda okussa essira ku mulimu omukulu ogw’okubuulira ebikwata ku Bwakabaka, era bangi baali beetegefu okwenyigira mu mulimu ogwo. Kolopoota omu (kati amanyiddwa nga payoniya) eyali abeera mu Oklahoma, mu Amerika yagamba nti, “Ekitundu kye twali tubuuliramu kyalimu abantu abaali bakola mu birombe by’amanda, era abasinga obungi baali baavu nnyo.” Yagamba nti abantu bwe baasomanga obubaka obwali mu magazini ya Golden Age, “baakaabanga amaziga.” Era yagamba nti, “Yali nkizo ya maanyi nnyo okubatwalira obubaka obuzzaamu amaanyi.”

Abayizi ba Bayibuli abo baalaba ng’ebigambo bya Yesu ebiri mu Lukka 10:2 bikulu nnyo. Yagamba nti: “Eby’okukungula bingi naye abakozi batono.” Omwaka we gwaggweerako baali bamalirivu okweyongera okulangirira amawulire g’Obwakabaka mu bitundu ebirala bingi.

^ Ebiseera ebimu ow’Oluganda Rutherford yayitibwanga Omulamuzi, kubanga oluusi yakolangako ng’omulamuzi mu ssaza lya Missouri, mu Amerika.