Balina Essanyu Abo Abaweereza “Katonda Omusanyufu”
“Abantu abalina Yakuwa nga ye Katonda waabwe, balina essanyu!”—ZAB. 144:15.
1. Lwaki abaweereza ba Yakuwa basanyufu? (Laba ekifaananyi waggulu.)
ABAJULIRWA BA YAKUWA bantu basanyufu. Bwe baba awamu ku nkuŋŋaana ennene n’entono oba awantu awalala wonna, baba banyumya era nga baseka. Lwaki basanyufu nnyo? Ensonga esinga okubaleetera okuba abasanyufu eri nti bamanyi Yakuwa “Katonda omusanyufu,” bamuweereza, era bafuba okumukoppa. (1 Tim. 1:11; Zab. 16:11) Olw’okuba Katonda ye nsibuko y’essanyu, ayagala tubeere basanyufu era atuwa ebintu bingi ebituleetera essanyu.—Ma. 12:7; Mub. 3:12, 13.
2, 3. (a) Essanyu kye ki? (b) Lwaki oluusi si kyangu okuba omusanyufu?
2 Ate ggwe? Oli musanyufu? Osobola okwongera ku ssanyu ly’olina? Essanyu “nneewulira ereetera omuntu okuwulira obulungi, okuwulira nti mumativu, n’okuwulira nti anyumirwa obulamu. Omuntu alina essanyu, aba awulira ng’ayagala asigale mu mbeera eyo.” Bayibuli eraga nti abo bokka balina enkolagana ennungi ne Yakuwa be balina essanyu erya nnamaddala. Naye mu nsi ya leero si kyangu okuba omusanyufu. Lwaki?
3 Ebintu ebireeta obulumi, gamba ng’okufiirwa omuntu wo, oba omuntu wo okugobebwa mu kibiina, oba okugattululwa ne 1 Tim. 6:15; Mat. 11:28-30) Bwe yali abuulira ku Lusozi, Yesu yalaga ebintu ebitali bimu ebitusobozesa okuba abasanyufu wadde nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi mu nsi ya Sitaani eno.
munno mu bufumbo, oba okufiirwa omulimu, bisobola okukumalako essanyu. Ate era obutabanguko mu maka oba obutaba na mpuliziganya nnungi mu maka, bakozi banno oba bayizi banno bwe bakusekerera olw’enzikiriza yo, bw’oyigganyizibwa oba bw’osibibwa mu kkomera olw’enzikiriza yo, nakyo kisobola okukumalako essanyu. Ate era amaanyi go bwe gaba gagenda gakendeera, oba ng’olina obulwadde obutawona, oba ng’oli mwennyamivu, nakyo kisobola okukumalako essanyu. Yesu Kristo, “oyo omusanyufu era ow’Obuyinza obw’enkomeredde,” yayagalanga nnyo okubudaabuda abantu n’okubayamba okuba abasanyufu. (OKUBA OMUNYWEVU MU BY’OMWOYO KIREETA ESSANYU
4, 5. Tuyinza tutya okufuna essanyu era ne tweyongera okuba abasanyufu?
4 Ekintu Yesu kye yasooka okumenya kikulu nnyo. Yagamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo, kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe.” (Mat. 5:3) Tukiraga tutya nti tumanyi obwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo? Ekyo tukiraga nga tufuba okulya emmere ey’eby’omwoyo, nga tukwata ebiragiro bya Katonda, era ng’okusinza Katonda omusanyufu kye tukulembeza mu bulamu bwaffe. Bwe tukola ebintu ebyo tweyongera okufuna essanyu. Okukkiriza kwe tulina mu bisuubizo bya Katonda kweyongera okunywera. Ate era “essuubi ery’ekitalo” eriri mu Kigambo kya Katonda lituyamba okugumira ebizibu bye tufuna.—Tit. 2:13.
5 Bwe tuba ab’okweyongera okuba abasanyufu, tulina okweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Musanyukirenga mu Mukama waffe [Yakuwa]. Nziramu nate okubagamba nti, Musanyuke!” (Baf. 4:4) Okusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa tulina okufuna amagezi agava eri Katonda. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Alina essanyu oyo afuna amagezi, n’oyo afuna okutegeera. Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagafuna, era abo abaganywererako bajja kuyitibwa basanyufu.”—Nge. 3:13, 18.
6. Kiki kye tulina okukola bwe tuba ab’okweyongera okuba abasanyufu?
6 Bwe tuba ab’okweyongera okuba abasanyufu, tulina okweyongera okukolera ku ebyo bye tuyiga mu Kigambo kya Katonda. Yesu yalaga obukulu bw’okukolera ku ebyo bye tuyiga bwe yagamba nti: “Bwe mumanya ebintu bino, muba basanyufu bwe mubikola.” (Yok. 13:17; soma Yakobo 1:25.) Ekyo kikulu nnyo bwe tuba ab’okukola ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo era bwe tuba ab’okweyongera okuba abasanyufu. Naye tuyinza tutya okweyongera okuba abasanyufu nga waliwo ebintu bingi ebisobola okutumalako essanyu? Ka tulabe ekyo Yesu kye yaddako okwogera bwe yali ng’abuulira ku Lusozi.
EBINTU EBITUYAMBA OKUBA ABASANYUFU
7. Abo abakungubaga basobola batya okuba abasanyufu?
7 “Balina essanyu abakungubaga, kubanga balibudaabudibwa.” (Mat. 5:4) Abamu bayinza okwebuuza nti, ‘Abo abakungubaga basobola batya okuba abasanyufu?’ Wano Yesu yali tayogera ku buli muntu anakuwala. N’abantu ababi banakuwala kubanga nabo boolekagana n’ebizibu mu nnaku zino ez’enkomerero. (2 Tim. 3:1) Naye olw’okuba beerowoozaako bokka era nga tebalowooza ku Yakuwa, tebasobola kufuna nkolagana naye era tebasobola kuba basanyufu. Yesu okwogera ebigambo ebyo ateekwa okuba nga yali ayogera ku bantu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo era abanakuwala olw’okulaba ng’abantu bangi bavudde ku Katonda era nga bakola ebintu ebibi. Abantu abo bakimanyi nti boonoonyi era bakiraba nti ebintu ebibi ebiri mu nsi byava ku kuba nti abantu baajeemera Katonda. Yakuwa alaba abantu abo abanakuwala mu bwesimbu, ababudaabuda ng’akozesa Ekigambo kye, era abawa essanyu.—Soma Ezeekyeri 5:11; 9:4.
8. Lwaki abantu abateefu basanyufu?
8 “Balina essanyu abateefu, kubanga balisikira ensi.” (Mat. 5:5) Omuntu okuba omuteefu kimusobozesa kitya okuba omusanyufu? Abantu bwe bamala okuyiga amazima bakyusa obulamu bwabwe. Emabega bayinza okuba nga baali bakambwe, bayombi, era nga balwanyi. Naye kati baayambala “omuntu omuggya” era booleka “obusaasizi, ekisa, obuwombeefu, obukkakkamu n’obugumiikiriza.” (Bak. 3:9-12) N’ekivuddemu kati balina emirembe, balina enkolagana ennungi n’abalala, era basanyufu. Ate era Ekigambo kya Katonda kigamba nti abantu ng’abo “balisikira ensi.”—Zab. 37:8-10, 29.
9. (a) Abantu abateefu balisikira batya ensi? (b) Lwaki abo “abalumwa enjala n’ennyonta ey’eby’obutuukirivu” basobola okuba abasanyufu?
9 Mu ngeri ki abantu abateefu gye “balisikira ensi”? Abayigirizwa ba Yesu abaafukibwako amafuta bajja kusikira ensi bwe banaagifuga nga bakabaka era nga bakabona. (Kub. 20:6) Ate bo abayigirizwa ba Yesu bukadde na bukadde abatalina ssuubi lya kugenda mu ggulu bajja kusikira ensi mu ngeri nti bajja kukkirizibwa okugibeerako emirembe gyonna. Bajja kuba batuukiridde, nga bali mu mirembe, era nga basanyufu. Abantu abo era Yesu be yayogerako nti basanyufu kubanga ‘balumwa enjala n’ennyonta ey’eby’obutuukirivu.’ (Mat. 5:6) Enjala n’ennyonta eby’obutuukirivu bye balina bijja kukolebwako mu bujjuvu mu nsi empya. (2 Peet. 3:13) Katonda bw’anaamala okuggyawo ebintu ebibi byonna, abantu abatuukirivu tebajja kuddamu kuggwebwako ssanyu olw’ebikolwa ebibi abantu ababi bye bakola.—Zab. 37:17.
10. Kitegeeza ki okuba omusaasizi?
10 “Balina essanyu abo abasaasira abalala, kubanga nabo balisaasirwa.” (Mat. 5:7) Omuntu omusaasizi alumirirwa abo ababa babonaabona. Naye okusaasira abalala tekikoma mu nneewulira. Bayibuli eraga nti okuba omusaasizi kizingiramu okubaako ky’okolawo okuyamba abalala.
11. Olugero lwa Yesu olukwata ku Musamaliya omulungi lutuyigiriza ki ku busaasizi?
11 Soma Lukka 10:30-37. Olugero lwa Yesu olukwata ku Musamaliya omulungi lulaga kye kitegeeza okuba omusaasizi. Omusamaliya yalumirirwa omuntu eyali mu buzibu era n’abaako ky’akolawo okumuyamba. Oluvannyuma lw’okugera olugero olwo, Yesu yagamba nti: “Naawe genda okolenga bw’otyo.” N’olwekyo, tusaanidde okwebuuza: ‘Nange nkola bwe ntyo? Nfuba okukoppa Omusamaliya oyo eyayoleka obusaasizi? Nsobola okwongera okulaga abalala obusaasizi nga mbaako kye nkolawo okubayamba? Ng’ekyokulabirako, nsobola okubaako kye nkolawo okuyamba bakkiriza bannange abakaddiye, bannamwandu, oba abaana abalina abazadde abatasinza Yakuwa? Nsobola okubaako kye nkolawo “okubudaabuda abennyamivu”?’—1 Bas. 5:14; Yak. 1:27.
12. Okuba abasaasizi kitusobozesa kitya okuba abasanyufu?
12 Okuba abasaasizi kitusobozesa kitya okuba abasanyufu? Bwe twoleka Bik. 20:35; soma Abebbulaniya 13:16.) Ng’ayogera ku muntu asaasira abalala, Kabaka Dawudi yagamba nti: “Yakuwa anaamukuumanga era n’amubeesaawo nga mulamu. Anaayitibwanga musanyufu mu nsi.” (Zab. 41:1, 2) Ate era bwe tusaasira abalala naffe Yakuwa ajja kutusaasira era ekyo kijja kutuviiramu essanyu ery’olubeerera.—Yak. 2:13.
obusaasizi, tufuna essanyu eriva mu kugaba. Ate era kitusanyusa okukimanya nti kye tukola kisanyusa Yakuwa. (ENSONGA LWAKI “ABALONGOOFU MU MUTIMA” BASANYUFU
13, 14. Lwaki “abalongoofu mu mutima” baba basanyufu?
13 Yesu yagamba nti: “Balina essanyu abalongoofu mu mutima, kubanga baliraba Katonda.” (Mat. 5:8) Okusobola okukuuma emitima gyaffe nga mirongoofu tulina okukuuma ebirowoozo byaffe nga biyonjo era tulina okwewala okwegomba ebintu ebibi. Ekyo kikulu nnyo Yakuwa bw’aba ow’okukkiriza okusinza kwaffe.—Soma 2 Abakkolinso 4:2; 1 Tim. 1:5.
14 Abantu abalongoofu mu mutima baba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Yakuwa yagamba nti: “Balina essanyu abo abooza ebyambalo byabwe.” (Kub. 22:14) Mu ngeri ki gye ‘boozaamu ebyambalo byabwe’? Abakristaayo abaafukibwako amafuta “booza ebyambalo byabwe” mu ngeri nti baba bayonjo mu maaso ga Yakuwa era bajja kuweebwa obulamu obutasobola kuzikirizibwa, babeere basanyufu emirembe gyonna mu ggulu. Ate bo ab’ekibiina ekinene abalina essuubi ery’okubeera ku nsi booza ebyambalo byabwe mu ngeri nti Katonda abatwala okuba abatuukirivu era abatwala okuba mikwano gye. Bayibuli egamba nti ‘booza ebyambalo byabwe mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga ne babitukuza.’—Kub. 7:9, 13, 14.
15, 16. Abalongoofu mu mutima ‘balaba batya Katonda’?
15 Naye abalongoofu mu mutima balaba batya Katonda, ate nga “tewali muntu asobola [kulaba Katonda] n’asigala nga mulamu”? (Kuv. 33:20) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okulaba” era kisobola okutegeeza “okukuba akafaananyi, okutegeera, oba okumanya.” N’olwekyo, okulaba Katonda ‘n’amaaso ag’omutima’ kitegeeza okumumanya, kwe kugamba, okutegeera engeri ze. (Bef. 1:18) Yesu yayoleka bulungi engeri za Katonda ne kiba nti yali asobola okugamba nti: “Buli aba andabye aba alabye ne Kitange.”—Yok. 14:7-9.
16 Ng’oggyeeko okumanya engeri za Katonda, abaweereza ba Katonda ab’amazima basobola okulaba Katonda nga beetegereza engeri gy’abayambamu. (Yob. 42:5) Ate era balaba ‘n’amaaso g’emitima gyabwe’ ebintu ebirungi Katonda by’asuubizza abo abafuba okusigala nga balongoofu era abamuweereza n’obwesigwa. Ate bo abaafukibwako amafuta bwe banaagenda mu ggulu bajja kulabira ddala Katonda.—1 Yok. 3:2.
TUSOBOLA OKUBA ABASANYUFU WADDE NGA TULINA EBIZIBU
17. Lwaki abo abaleetawo emirembe basanyufu?
17 Yesu era yagamba nti: “Balina essanyu abaleetawo emirembe.” (Mat. 5:9) Abo abafuba okuleetawo emirembe baba basanyufu. Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Ekibala eky’obutuukirivu, ensigo yaakyo esigibwa mu mbeera ez’emirembe okuganyula abo abaleeta emirembe.” (Yak. 3:18) N’olwekyo bw’oba olina obutategeeragana n’omuntu mu kibiina oba mu maka, saba Yakuwa akuyambe osobole okuleetawo emirembe. Bw’onookola bw’otyo Yakuwa ajja kukuwa omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe okwoleka engeri ennungi, era ojja kufuna essanyu. Yesu yalaga obukulu bw’okubaako ky’okolawo okuleetawo emirembe bwe yagamba nti: “Bw’oba otutte ekirabo kyo ku kyoto n’ojjukira nti muganda wo alina ky’akwemulugunyaako, ekirabo kyo kireke mu maaso g’ekyoto osooke ogende otabagane ne muganda wo, n’oluvannyuma oddeyo oweeyo ekirabo kyo.”—Mat. 5:23, 24.
18, 19. Lwaki Abakristaayo basobola okuba abasanyufu wadde nga bayigganyizibwa?
18 “Mulina essanyu abantu bwe babavumanga, bwe babayigganyanga, era ne babawaayiriza ebintu ebibi ebya buli kika ku lwange.” Kiki Yesu kye yali ategeeza? Yagamba nti: “Musanyuke era mujaguze, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu; kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaabasookawo.” (Mat. 5:11, 12) Abatume bwe baakubibwa era ne balagirwa obutaddamu kubuulira, ‘baava mu maaso g’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya nga basanyufu.’ Kya lwatu nti tebaasanyukira mbooko ze baabakuba. Naye baasanyuka “olw’okuba Katonda yali abawadde enkizo okuweebuulwa olw’erinnya lya Yesu.”—Bik. 5:41.
19 Ne mu kiseera kyaffe, abantu ba Yakuwa bagumiikiriza n’essanyu bwe babonaabona oba bwe bayigganyizibwa olw’erinnya lya Yesu. (Soma Yakobo 1:2-4.) Okufaananako abatume naffe tekitusanyusa kubonaabona. Naye bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa nga twolekagana n’ebizibu, Yakuwa atuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okugumiikiriza. Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Henryk Dornik ne muganda we. Mu Agusito 1944, baasindikibwa mu nkambi y’abasibe. Abo abaali babayigganya baagamba nti: “Abantu bano tosobola kubasendasenda kukola kintu kyonna. Okubabonyaabonya kibaleetera buleetezi ssanyu.” Ow’oluganda Dornik yagamba nti: “Wadde nga nnali saagala kumbonyaabonya, okubonaabona olw’okukola Yakuwa by’ayagala kyandeetera essanyu. . . . Okusaba kwannyamba okusemberera Yakuwa era Yakuwa yannyamba.”
20. Lwaki okuweereza “Katonda omusanyufu” kireeta essanyu?
20 Bwe tukimanya nti “Katonda omusanyufu” atusiima, tusobola okuba abasanyufu wadde nga tuyigganyizibwa, nga tuli balwadde, oba nga tukaddiye. (1 Tim. 1:11) Ate era okufumiitiriza ku bisuubizo bya Katonda waffe “atayinza kulimba” nakyo kituleetera essanyu. (Tit. 1:2) Ebisuubizo bya Katonda bwe binaatuukirira bijja kutwerabiza ebizibu byonna bye twolekagana nabyo kati. Mu nsi empya egenda okujja, Yakuwa ajja kutuwa emikisa n’okusinga bwe tulowooza. Era mu kiseera ekyo tujja kufuna essanyu lingi nnyo. Bayibuli egamba nti tujja kuba “basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.”—Zab. 37:11.