EKITUNDU EKY’OKUSOMA 38
“Mujje Gye Ndi, . . . Nange Nnaabawummuza”
“Mujje gye ndi mmwe mmwenna abategana era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.”—MAT. 11:28.
OLUYIMBA 17 “Njagala”
OMULAMWA *
1. Nga bwe kiragibwa mu Matayo 11:28-30, kiki Yesu kye yasuubiza?
YESU yasuubiza abantu abaali bamuwuliriza ekintu ekirungi ennyo. Yabagamba nti: “Mujje gye ndi . . . nange nnaabawummuza.” (Soma Matayo 11:28-30.) Kino si kisuubizo ekitaalina makulu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo Yesu kye yakolera omukazi eyali amaze ebbanga ng’abonaabona olw’obulwadde obubi ennyo.
2. Kiki Yesu kye yakolera omukazi eyali omulwadde?
2 Omukazi oyo yali yeetaaga nnyo obuyambi. Yali alabye abasawo bangi ng’asuubira okuwonyezebwa. Yali amaze emyaka 12 ng’abonyaabonyezebwa obulwadde naye nga tewali asobola kubumuwonya. Okusinziira ku Mateeka, omukazi oyo teyali mulongoofu. (Leev. 15:25) Naye bwe yawulira nti Yesu yali asobola okuwonya abo abaali mu bulumi, yagenda n’amunoonya. Bwe yamuzuula, yakwata ku lukugiro lw’ekyambalo kye era amangu ago n’awona! Ng’oggyeeko Yesu okuwonya omukazi oyo, era yamukwata mu ngeri eraga nti yali ayagalibwa era ng’assibwamu ekitiibwa. Ng’ekyokulabirako, bwe yali ayogera naye yamuyita “muwala,” ekintu ekyali kiraga nti yali amwagala era ng’amuwa ekitiibwa. Omukazi oyo ateekwa okuba nga yawulira ng’awummuziddwa, kwe kugamba, ng’aziddwamu amaanyi!—Luk. 8:43-48.
3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
3 Weetegereze nti omukazi oyo alina kye yakolawo. Ye yagenda eri Yesu. Bwe kityo bwe kiri ne leero. Naffe tulina okubaako kye tukolawo ‘okujja’ eri Yesu. Mu kiseera kino Yesu tawonya mu ngeri ya kyamagero ndwadde z’abo ‘abajja’ gy’ali. Naye
ne leero atugamba nti: “Mujje gye ndi, . . . nange nnaabawummuza.” Mu kitundu kino, tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino bitaano: Tuyinza tutya ‘okujja’ eri Yesu? Era Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Mwetikke ekikoligo kyange”? Kiki kye tuyigira ku Yesu? Lwaki omulimu gwe yatuwa okukola gutuwummuza? Era tuyinza tutya okweyongera okufuna ekiwummulo wansi w’ekikoligo kya Yesu?“MUJJE GYE NDI”
4-5. Tuyinza tutya ‘okujja’ eri Yesu?
4 Engeri emu gye ‘tujjamu’ eri Yesu kwe kufuba okumanya ebintu Yesu bye yayogera ne bye yakola. (Luk. 1:1-4) Kino tewali asobola kukitukolera. Ffe ffennyini ffe tulina okusoma ebyo Bayibuli by’eyogera ebikwata ku Yesu. Ate era tujja eri Yesu nga tusalawo okubatizibwa ne tufuuka abagoberezi be.
5 Engeri endala gye ‘tujjamu’ eri Yesu kwe kutuukirira abakadde bwe tuba nga twetaaga obuyambi. Abakadde bano ‘birabo’ era Yesu abakozesa okulabirira endiga ze. (Bef. 4:7, 8, 11; Yok. 21:16; 1 Peet. 5:1-3) Ffe ffennyini ffe tulina okugenda gye bali okubasaba obuyambi. Abakadde tebasobola kusoma biri ku mutima gwaffe ne bamanya bye twetaaga. Ow’oluganda omu ayitibwa Julian agamba nti: “Bwe nnalekera awo okuweereza ku Beseri olw’obulwadde, omu ku mikwano gyange yaŋŋamba nti mpite abakadde bajje bankyalireko banzizeemu amaanyi. Mu kusooka nnali ndowooza nti ekyo sikyetaaga. Naye oluvannyuma nnabasaba bankyalire, era okukyala okwo kye kimu birabo ebikyasinze obulungi bye nnali nfunye.” Abakadde abeesigwa gamba ng’abo ababiri abaakyalira Julian basobola okutuyamba okumanya “endowooza ya Kristo,” kwe kugamba, okuba n’endowooza ng’eyo Yesu gye yalina ku bintu ebitali bimu. (1 Kol. 2:16; 1 Peet. 2:21) Ekyo kye kimu ku birabo ebisingayo obulungi bye basobola okutuwa.
“MWETIKKE EKIKOLIGO KYANGE”
6. Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Mwetikke ekikoligo kyange”?
6 Yesu bwe yagamba nti: “Mwetikke ekikoligo kyange,” ayinza okuba nga yali ategeeza nti “Mukkirize obuyinza bwange.” Oba ayinza okuba nga yali ateegeza nti “Mubeere wamu nange wansi w’ekikoligo, tuweerereze wamu Yakuwa.” Ka kibe ki kye yali ategeeza, ekikoligo kitegeeza nti tulina okukola.
7. Okusinziira ku Matayo 28:18-20, mulimu ki gwe twaweebwa okukola, era tuli bakakafu ku ki?
7 Tukkiriza okujja eri Yesu bwe twewaayo eri Yakuwa era ne tubatizibwa. Yesu ayita abantu bonna bajje gy’ali, era talina muntu n’omu ayagala kuweereza Katonda gw’agoba. (Yok. 6:37, 38) Abagoberezi ba Kristo bonna baaweebwa enkizo ey’okukola omulimu Yakuwa gwe yalagira Yesu okukola. Tuli bakakafu nti bulijjo Yesu ajja kutuyambanga nga tukola omulimu ogwo.—Soma Matayo 28:18-20.
“MUYIGIRE KU NZE”
8-9. Lwaki abantu abeetoowaze baagendanga eri Yesu, era bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
8 Abantu abeetoowaze baagendanga eri Yesu. (Mat. 19:13, 14; Luk. 7:37, 38) Lwaki? Lowooza ku njawulo eyaliwo wakati wa Yesu n’Abafalisaayo. Abafalisaayo tebaalina kwagala era baalina amalala. (Mat. 12:9-14) Yesu yali ayagala nnyo abantu era nga mwetoowaze. Abafalisaayo baali baagala nnyo okumanyibwa abalala n’okutwalibwa nti ba waggulu. Yesu yagamba nti tekyali kirungi kweyisa mu ngeri ng’eyo, era yayigiriza abagoberezi be okuba abeetoowaze n’okuweereza abalala. (Mat. 23:2, 6-11) Abafalisaayo baatiisatiisanga abantu olw’okwagala okubakajjalako. (Yok. 9:13, 22) Yesu yazzangamu abalala amaanyi ng’abakolera ebirungi era ng’ayogera nabo mu ngeri ey’ekisa.
9 Ofubye okukoppa Yesu? Weebuuze: ‘Mmanyiddwa ng’omuntu omukkakkamu era omwetoowaze? Nkola emirimu egya wansi okusobola okuweereza awalala? Ndaga abalala ekisa?’
10. Mbeera ki Yesu gye yateerawo abo be yakolanga nabo?
10 Yesu yafuba okulaba nti bakozi banne baba mu mirembe era nga bakolera mu mbeera ennungi, era yayagalanga nnyo okubatendeka. (Luk. 10:1, 19-21) Yakubirizanga abagoberezi be akumubuuza ebibuuzo, era yayagalanga okumanya endowooza yaabwe. (Mat. 16:13-16) Okufaananako ebimera ebikuumibwa obulungi bireme kukosebwa mbeera ya budde mbi, abayigirizwa ba Yesu nabo Yesu yabateerawo embeera ennungi. Ekyo kyabasobozesa okussaayo omwoyo ku ebyo bye yabayigiriza ne babala ebibala.
11. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
11 Waliwo abantu b’olinako obuyinza? Bwe kiba kityo, weebuuze: ‘Mpisa ntya abalala ku mulimu oba awaka? Nfuba okulaba nti baba mu mirembe era nga basanyufu? Nkubiriza abalala okubuuza ebibuuzo? Mpuliriza endowooza yaabwe?’ Tetwagala kuba ng’Abafalisaayo abaasunguwaliranga abo abaababuuzanga ebibuuzo era abaayigganyanga abo abaabanga n’endowooza eyali eyawukana ku yaabwe.—Mak. 3:1-6; Yok. 9:29-34.
“MULIFUNA EKIWUMMULO”
12-14. Lwaki omulimu Yesu gwe yatuwa gutuwummuza?
12 Lwaki okukola omulimu Yesu gwe yatulagira kituleetera okufuna ekiwummulo? Waliwo ensonga nnyingi naye ka tulabeyo ntonotono.
13 Tulina abalabirizi abasingayo obulungi. Yakuwa Omulabirizi waffe Asingiridde asiima nnyo era wa kisa. Bye tukola abitwala nga bya muwendo. (Beb. 6:10) Atuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe. (2 Kol. 4:7; Bag. 6:5) Yesu, Kabaka waffe, atuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo mu ngeri y’okuyisaamu abalala. (Yok. 13:15) Ate abakadde abatulabirira bafuba okukoppa Yesu, “omusumba w’endiga omukulu.” (Beb. 13:20; 1 Peet. 5:2) Batulaga ekisa, batuzzaamu amaanyi, era booleka obuvumu nga batuyigiriza era nga batukuuma.
14 Tulina emikwano egisingayo obulungi. Teriiyo bantu balala balina mikwano girina kwagala ng’egyaffe, era abalina omulimu ogumatiza ng’ogwaffe. Lowooza ku kino: Tulina enkizo ey’okukolera awamu n’abantu abalina empisa ezisingayo obulungi naye ate nga tebeetwala nti batuukirivu. Balina obusobozi obutali bumu naye tebeewaana, era bakitwala nti abalala babasinga. Abalala tebabatwala butwazi nga bakozi bannaabwe wabula babatwala nga mikwano gyabwe. Okwagala kwe balina gye tuli kwa maanyi nnyo ne kiba nti beetegefu okuwaayo obulamu bwabwe ku lwaffe!
15. Omulimu gwe tukola tusaanidde kugutwala tutya?
15 Tulina omulimu ogusingayo obulungi. Tuyigiriza abantu amazima agakwata ku Yakuwa, era twanika obulimba bw’Omulyolyomi. (Yok. 8:44) Sitaani atikka abantu emigugu gye batasobola kwetikka. Ng’ekyokulabirako, ayagala tukkirize nti Yakuwa tasobola kutusonyiwa bibi byaffe era nti tatwagala. Buno bulimba bwennyini obumalamu abantu amaanyi! Bwe ‘tujja’ eri Kristo, tusonyiyibwa ebibi byaffe. Ekituufu kiri nti ffenna Yakuwa atwagala nnyo. (Bar. 8:32, 38, 39) Mazima ddala kireeta essanyu lingi okuyamba abantu okuyiga okwesiga Yakuwa n’okulongoosa obulamu bwabwe!
WEEYONGERE OKUFUNA EKIWUMMULO WANSI W’EKIKOLIGO KYA YESU
16. Mu ngeri ki omugugu Yesu gw’atugamba okwetikka gye guli ogw’enjawulo ku migugu emirala gye tulina okwetikka?
16 Omugugu Yesu gw’atugamba okwetikka gwa njawulo ku migugu emirala gye tulina okwetikka. Ng’eky’okulabirako, oluvannyuma lw’okumala olunaku nga tukola emirimu egituyimirizaawo, bangi ku ffe tuba bakoowu nnyo era tetuba bamativu. Okwawukana ku ekyo, oluvannyuma lw’okumala ekiseera nga tuweereza Yakuwa ne Kristo, tuwulira nga tuli bamativu. Oluusi tuba bakoowu nnyo oluvannyuma lw’okumala olunaku nga tukola, era nga tulina kwewaliriza bwewaliriza okugenda mu nkuŋŋaana. Naye emirundi mingi we tukomerawo awaka nga tuva mu nkuŋŋaana tuba tuzziddwamu amaanyi. Era bwe kityo bwe kiba bwe tufuba okubuulira n’okwesomesa. Bwe tufuba okukola ebintu ebyo tuzzibwa nnyo amaanyi!
17. Kiki kye tusaanidde okumanya, era kiki kye tusaanidde okwegendereza?
17 Tusaanidde okukimanya nti buli omu ku ffe amaanyi ge galiko we gakoma. N’olwekyo tulina okwegendereza ebintu bye tukola. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okwonoona amaanyi gaffe nga tukuŋŋaanya eby’obugagga. Weetegereze ekyo Yesu kye yagamba omusajja omu eyali omugagga eyamubuuza nti: “Kiki kye nteekwa okukola okusobola okusikira obulamu obutaggwaawo?” Omusajja oyo yali agondera Amateeka. Ate era ateekwa okuba nga yali muntu mulungi kubanga Enjiri ya Makko egamba nti Yesu ‘yawulira ng’amwagadde.’ Yesu yagamba omusajja oyo nti: “Genda otunde ebintu by’olina . . . ojje ongoberere.” Omusajja oyo yasoberwa, naye kirabira yali tayinza kuleka ‘bintu bye ebingi.’ (Mak. 10:17-22) Bwe kityo yagaana okwetikka ekikoligo Yesu gye yamugamba okwetikka ne yeeyongera okuba omuddu ‘w’eby’obugagga.’ (Mat. 6:24) Ggwe wandironzeewo ki?
18. Kiki kye tusaanidde okukola buli luvannyuma lwa kiseera, era lwaki?
18 Buli luvannyuma lwa kiseera tusaanidde okwekebera tulabe ebintu bye tukulembeza mu bulamu. Lwaki? Tusobole okukakasa nti amaanyi gaffe tugakozesa mu ngeri ey’amagezi. Lowooza ku muvubuka omu ayitibwa Mark. Agamba nti: “Okumala emyaka mingi nnali ndowooza nti nkulembeza ebintu eby’omwoyo. Nnali mpeereza nga payoniya, naye buli kiseera nnalinga ndowooza ku kukola ssente na ku ngeri gye nnali nnyinza okunyumirwamu obulamu. Nnatandika okwebuuza ensonga lwaki nnali mpulira nga nzitoowereddwa obulamu. Oluvannyuma nnakizuula nti ebyange bye nnali nkulembeza nga Yakuwa mmuwa biseera na maanyi bye nnabanga nfissizzawo.” Mark yakyusa endowooza ye n’obulamu bwe ne yeeyongera okukola ekisingawo mu kuweereza Yakuwa. Agamba nti: “Oluusi n’oluusi nfuna ebinneeraliikiriza, naye Yakuwa ne Yesu bannyamba ne mmalira ebirowoozo byange ku buweereza bwange.”
19. Lwaki kikulu nnyo okuba n’endowooza entuufu?
19 Tujja kweyongera okufuna ekiwummulo wansi w’ekikoligo kya Yesu singa tukola ebintu bisatu. Ekisooka, tulina okuba n’endowooza entuufu. Omulimu gwe tukola gwa Yakuwa, n’olwekyo tulina okugukola nga bw’ayagala. Ffe tuli bakozi, ate Yakuwa ye Mukama waffe. (Luk. 17:10) Bwe tugezaako okugukola nga ffe bwe twagala tujja kukaluubirizibwa. N’ente ey’amaanyi eyinza okufuna ebisago oba okukoowa ennyo singa buli kiseera eba egeezaako kukwata ludda lulala olutali olwo mukama waayo asika ekikoligo lw’aba agitwalamu. Ku luuyi olulala, bwe tukola ebintu nga Yakuwa bw’ayagala, tujjja kusobola okukola ebintu bye twali tutasuubira nti tusobola okubikola, era tujja kusobola okuvvuunuka ebizibu eby’amaanyi bye twali tutasuubira nti tusobola okubivvuunuka. Tusaanidde okukijjukira nti tewali asobola kulemesa ekyo Yakuwa ky’ayagala kutuukirira!—Bar. 8:31; 1 Yok. 4:4.
20. Kigendererwa ki kye tusaanidde okuba nakyo mu kwetikka ekikoligo kya Yesu?
20 Eky’okubiri, tulina okuba n’ekigendererwa ekituufu nga tuweereza. Ekigendererwa kyaffe kwe kuleetera Yakuwa, Kitaffe ow’okwagala, ettendo. Abantu abaaliwo mu kiseera kya Yesu abaali beenoonyeza ebyabwe, mu kaseera katono baggwebwako essanyu era ne balekera awo okugoberera Yesu. (Yok. 6:25-27, 51, 60, 66; Baf. 3:18, 19) Naye abo abaali bateerowoozaako bokka, nga baagala Katonda ne bantu bannaabwe, beetikka ekikoligo kya Yesu obulamu bwabwe bwonna ku nsi, nga balina essuubi ery’okuweerereza awamu ne Kristo mu ggulu. Okufaananako abantu abo, singa naffe twetikka ekikoligo kya Yesu nga tulina ekigendererwa ekituufu, tujja kusigala nga tuli basanyufu.
21. Okusinziira ku Matayo 6:31-33, kiki kye tusaanidde okusuubira Yakuwa okutukolera?
21 Eky’okusatu, sigala ng’olina okukkiriza. Twasalawo okuba mu bulamu obw’okwefiiriza era obw’okukola ennyo. Yesu yatulabula nti tujja kuyigganyizibwa. Naye tusaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa amaanyi ge twetaaga okugumira ekizibu kyonna. Gye tukoma okugumiikiriza, gye tukoma okuba abanywevu. (Yak. 1:2-4) Era tusaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa bye twetaaga, nti Yesu ajja kutulabirira, era nti bakkiriza bannaffe bajja kutuzzaamu amaanyi. (Soma Matayo 6:31-33; Yok. 10:14; 1 Bas. 5:11) Mazima ddala tulina byonna bye twetaaga okusobola okugumira ekizibu kyonna.
22. Kiki ekituleetera essanyu?
22 Omukazi Yesu gwe yawonya yafuna ekiwummulo ku lunaku olwo lwe yawonyezebwa. Naye okusobola okufuna ekiwummulo eky’olubeerera, yalina okufuuka omuyigirizwa wa Kristo omwesigwa. Olowooza kiki kye yakola? Bw’aba nga yasalawo okwetikka ekikoligo kya Yesu, yafuna empeera ey’okuweerereza awamu ne Yesu mu ggulu! Okwefiiriza kwonna kw’ayinza okuba nga yakola okusobola okufuuka omugoberezi wa Kristo tekulina bwe kuli bw’okugeraageranya n’enkizo eyo. Ka tube ng’essuubi lyaffe lya kubeera mu ggulu oba lya kubeera ku nsi emirembe gyonna tuli basanyufu nnyo okuba nti twakkiriza ‘okujja eri Yesu.’
OLUYIMBA 13 Kristo, Ekyokulabirako Kyaffe
^ lup. 5 Yesu atuyita okujja gy’ali. Biki bye tusaanidde okukola okujja gy’ali? Ekitundu kino kijja kuddamu ekibuuzo ekyo, era kijja kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okuwummuzibwa bwe tukolera awamu ne Kristo.