EKITUNDU EKY’OKUSOMA 40
“Kuuma Kye Wateresebwa”
“Timoseewo, kuuma kye wateresebwa.”—1 TIM. 6:20.
OLUYIMBA 29 Okutuukana n’Erinnya Lyaffe
OMULAMWA *
1-2. Okusinziira ku 1 Timoseewo 6:20, kiki Timoseewo kye yali atereseddwa?
EMIRUNDI mingi tuteresa abalala ebintu bye tutwala nti bya muwendo. Ng’ekyokulabirako, tusobola okutereka ssente zaffe mu bbanka. Bwe tuziterekayo tuba tusuubira nti zijja kukuumibwa zireme kubula oba kubbibwa. N’olwekyo tumanyi kye kitegeeza okuteresa omuntu omulala ekintu kye tutwala okuba eky’omuwendo.
2 Soma 1 Timoseewo 6:20. Omutume Pawulo yajjukiza Timoseewo nti yalina ekintu eky’omuwendo kye yali aweereddwa, nga kuno kwe kumanya okukwata ku kigendererwa Katonda ky’alina eri abantu. Timoseewo era yaweebwa enkizo ‘eky’okubuulira ekigambo’ n’okukola “omulimu gw’omubuulizi w’enjiri.” (2 Tim. 4:2, 5) Pawulo yakubiriza Timoseewo okukuuma kye yali atereseddwa. Okufaananako Timoseewo, naffe tulina ebintu eby’omuwendo bye twateresebwa. Bintu ki ebyo? Era lwaki tusaanidde okukuuma eby’obugagga Yakuwa bye yatuwa?
TWAWEEBWA AMAZIMA AG’OMUWENDO
3-4. Ezimu ku nsonga lwaki amazima agali mu Bayibuli ga muwendo ze ziruwa?
3 Yakuwa yatuwa okumanya okutuufu okukwata ku mazima ag’omuwendo agali mu Kigambo kye Bayibuli. Amazima ago ga muwendo nnyo kubanga gatuyamba okumanya engeri gye tusobola okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa era gatuyamba okumanya ekireeta essanyu erya nnamaddala mu bulamu. Bwe tukkiriza amazima ago era ne tugakolerako, tusumululwa mu buddu bw’enjigiriza ez’obulimba n’ebikolwa eby’obugwenyufu.—1 Kol. 6:9-11.
4 Ensonga endala lwaki amazima agali mu Bayibuli ga muwendo eri nti Yakuwa agabikkulira abantu abeetoowaze bokka, Bik. 13:48) Abantu abo bakkiriza omukutu gw’akozesa okututuusaako amazima ago leero. (Mat. 11:25; 24:45) Ku bwaffe tetusobola kutegeera mazima ago era amazima ago ga muwendo okusinga ekintu ekirala kyonna.—Nge. 3:13, 15.
abalina “endowooza ennuŋŋamu.” (5. Kiki ekirala Yakuwa kye yatuwa?
5 Yakuwa era yatuwa enkizo ey’okuyigiriza abalala amazima agamukwatako era agakwata ne ku bigendererwa bye. (Mat. 24:14) Obubaka bwe tubuulira bwa muwendo nnyo kubanga busobozesa abantu okufuuka ab’omu maka ga Yakuwa era ne bafuna essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (1 Tim. 4:16) Ka tube nga tusobola okumala ebiseera bingi oba bitono mu kubuulira, tuba twenyigira mu mulimu ogusingayo obukulu ogukolebwa mu kiseera kino. (1 Tim. 2:3, 4) Nga nkizo ya kitalo nnyo okukolera awamu ne Katonda!—1 Kol. 3:9.
NYWEZA KYE WAWEEBWA!
6. Kiki ekyatuuka ku bamu abataasigala nga bali bulindaala?
6 Abamu ku abo abaaliwo mu kiseera kya Timoseewo tebaasiima nkizo gye baalina ey’okukolera awamu ne Katonda. Olw’okuba Dema yayagala ebintu by’ensi yalekayo enkizo ey’okuweerereza awamu ne Pawulo. (2 Tim. 4:10) Kirabika Fugero ne Kerumogene baalekayo obuweereza bwabwe olw’okutya okwolekagana n’okuyigganyizibwa ng’okwo Pawulo kwe yali ayolekagana nakwo. (2 Tim. 1:15) Kumenaayo, Alekizanda, ne Fireeto baafuuka bakyewaggula era ne bava mu mazima. (1 Tim. 1:19, 20; 2 Tim. 2:16-18) Kirabika abantu abo bonna baaliko abanywevu mu by’omwoyo, naye baalekera awo okusiima ebintu eby’omuwendo bye baali baweereddwa.
7. Bukodyo ki Sitaani bw’akozesa okugezaako okutukwasa?
7 Sitaani agezaako atya okutuleetera okuleka eby’obugagga Yakuwa bye yatuwa? Lowooza ku bumu ku bukodyo Sitaani bw’akozesa. Akozesa eby’okwesanyusaamu n’emikutu gy’empuliziganya okubunyisa endowooza n’enneeyisa by’asuubira nti bijja kutuleetera okulekera awo okunyweza amazima. Agezaako okututiisatiisa ng’akozesa okupikirizibwa oba okuyigganyizibwa tulekere awo okubuulira. Ate era agezaako okutusendasenda okuwuliriza ebintu eby’obulimba bakyewaggula bye boogera tusobole okuva mu mazima.—1 Tim. 6:20, 21.
8. Kiki ky’oyigira ku w’oluganda ayitibwa Daniel?
8 Bwe tutaba beegendereza, tuyinza okugenda nga tuva mu mazima mpolampola. Lowooza ku Daniel, * eyali ayagala ennyo okuzannya emizannyo gya kompyuta. Agamba nti: “Nnatandika okuzannya emizannyo gya kompyuta nga nnina emyaka nga kkumi. Mu kusooka emizannyo gye nnali nzannya, okutwaliza awamu tegyali mibi. Naye mpolampola nnatandika okuzannya emizannyo egyalimu ebikolwa eby’obukambwe n’eby’obusamize.” Ekiseera kyatuuka Daniel n’aba ng’azannya emizannyo gya kompyuta okumala essaawa nga 15 olunaku. Agamba nti: “Muli nnali nkimanyi nti emizannyo gye nnali nzannya n’ebiseera bye nnali ngimalirako byali bigenda binzigya ku Yakuwa. Naye kati omutima gwange gwali gugubye era nga ndowooza nti emisingi gya Bayibuli gyali teginkwatako.” Ekyo kituyigiriza ki? Bwe tutaba beegendereza, eby’okwesanyusaamu biyinza okutuleetera okuleka amazima. Ekyo bwe kibaawo, tufiirwa ebintu eby’omuwendo Yakuwa bye yatuwa.
TUYINZA TUTYA OKUNYWEZA AMAZIMA
9. Okusinziira ku 1 Timoseewo 1:18, 19, Pawulo yageraageranya Timoseewo ku ani?
9 Soma 1 Timoseewo 1:18, 19. Pawulo yageraageranya Timoseewo ku musirikale era n’amukubiriza ‘okulwana olutalo olulungi.’ Olutalo olwo lwa bya mwoyo. Mu ngeri ki Abakristaayo gye bali ng’abasirikale abali mu lutalo? Ngeri ki ffe abasirikale ba Kristo ze tusaanidde okukulaakulanya? Ka tulabe ebintu bitaano bye tuyinza okuyigira ku kyokulabirako Pawulo kye yakozesa. Ebintu ebyo bijja kutuyamba okunyweza amazima.
10. Okwemalira ku Katonda kye ki, era lwaki tukyetaaga?
10 Weemalire ku Katonda. Omusirikale omulungi aba mwesigwa. Akola kyonna ekisoboka okukuuma omuntu oba ekintu ky’atwala nti kya muwendo. Pawulo yakubiriza Timoseewo okwemalira ku Katonda, kwe kugamba, okunywerera ku Katonda. (1 Tim. 4:7) Gye tukoma okwagala Katonda n’okumwemalirako gye tukoma okwagala okunyweza amazima.—1 Tim. 4:8-10; 6:6.
11. Lwaki twetaaga okwefuga?
11 Yiga okwefuga. Omusirikale alina okuba nga yeefuga okusobola okuba nga buli kiseera yeetegekedde olutalo. Timoseewo yasigala nga munywevu mu by’omwoyo olw’okuba yakolera ku kubuulirira Pawulo kwe yamuwa bwe yamukubiriza okudduka okwegomba okubi, okukulaakulanya engeri ennungi, n’okubeerangako awamu ne bakkiriza banne. (2 Tim. 2:22) Ekyo kyali kyetaagisa okwefuga. Kitwetaagisa okwefuga okusobola okulwanyisa okwegomba okubi. (Bar. 7:21-25) Era kitwetaagisa okwefuga okusobola okweyongera okweyambulako omuntu omukadde twambale omuntu omuggya. (Bef. 4:22, 24) Ate era bwe tuba nga tukoonye oluvannyuma lw’okumala olunaku nga tukola, kiyinza okutwetaagisa okwewaliriza okugenda mu nkuŋŋaana.—Beb. 10:24, 25.
12. Tuyinza tutya okulongoosa mu ngeri gye tukozesaamu Bayibuli?
12 Omusirikale alina okwegezaamu engeri y’okukozesaamu eby’okulwanyisa bye. Okusobola okukuguka, ekyo alina okukikola obutayosa. Mu ngeri y’emu, naffe twetaaga okukuguka mu ngeri gye tukozesaamu Ekigambo kya Katonda. (2 Tim. 2:15) Enkuŋŋaana zaffe zisobola okutuyamba okukuguka. Naye bwe tuba ab’okukakasa abalala nti amazima agali mu Bayibuli ga muwendo, tulina okunywerera ku nteekateeka ey’okwesomesa Bayibuli obutayosa. Tulina okukozesa Ekigambo kya Katonda okunyweza okukkiriza kwaffe. Ekyo kiba kitegeeza nti tetukoma ku kusoma busomi Bayibuli. Kitwetaagisa okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma n’okubinoonyerezaako mu bitabo byaffe tusobole okutegeera obulungi Ebyawandiikibwa n’okubikozesa obulungi. (1 Tim. 4:13-15) Mu ngeri eyo tujja kusobola okukozesa Ekigambo kya Katonda okuyigiriza abalala. Ekyo era kitegeeza nti tetusomera busomezi muntu kyawandiikibwa. Tusaanidde okumuyamba okutegeera ekyawandiikibwa n’engeri gye kimukwatako. Bwe tunywerera ku nteekateeka yaffe ey’okwesomesa, tusobola okulongoosa mu ngeri gye tukozesaamu Ekigambo kya Katonda okuyigiriza abalala.—2 Tim. 3:16, 17.
13. Nga bwe kiragibwa mu Abebbulaniya 5:14, lwaki tulina okukulaakulanya obusobozi bw’okutegeera?
13 Kulaakulanya obusobozi bw’okutegeera. Omusirikale alina okuba ng’asobola okulengera akabi n’akeewala. Naffe tulina okuyiga okulaba nga bukyali embeera eziyinza okutusuula mu buzibu ne tuzeewala. (Nge. 22:3; soma Abebbulaniya 5:14.) Ng’ekyokulabirako, tulina okwegendereza nga tulonda eby’okwesanyusaamu. Programu za ttivi ne firimu emirundi mingi zibaamu ebintu eby’obugwenyufu. Ebintu ng’ebyo binyiiza Yakuwa era bwe tutabyewala bitukosa. Tusaanidde okwewala eby’okwesanyusaamu ng’ebyo kubanga biyinza okugenda nga mpolampola bikendeeza okwagala kwe tulina eri Katonda.—Bef. 5:5, 6.
14. Obusobozi bw’okutegeera bwayamba butya Daniel?
14 Daniel, ayogeddwako waggulu yatandika okukiraba nti okuzannya emizannyo egirimu ebikolwa eby’obukambwe n’eby’obusamize kye kizibu kye yalina. Yanoonyereza ng’akozesa Watchtower Library ebintu ebyandimuyambye okuvvuunuka ekizibu ekyo. Kiki ekyavaamu? Yalekera awo okuzannya emizannyo gya kompyuta egitasaana era ne yeekutula ne ku bantu be yali azannya nabo emizannyo egyo. Daniel agamba nti, “Mu kifo ky’okuzannya emizannyo gya kompyuta nnatandika okwemalira ennyo ku bintu ebitanneetaagisa kubeera mu nju era nnatandika okumala ebiseera bingi ne bakkiriza bannange.” Kati Daniel aweereza nga payoniya era mukadde mu kibiina.
15. Lwaki eby’obulimba ebisaasaanyizibwa bya bulabe?
15 Okufaananako Timoseewo, tusaanidde okutegeera akabi akali mu bintu eby’obulimba bakyewaggula bye basaasaanya. (1 Tim. 4:1, 7; 2 Tim. 2:16) Ng’ekyokulabirako, bayinza okutandika okusaasaanya ebintu eby’obulimba ku baganda baffe oba okugezaako okutuleetera okubuusabuusa ekibiina kya Yakuwa. Ebintu ng’ebyo biyinza okunafuya okukkiriza kwaffe. Tetulina kukkiriza bulimba obwo. Lwaki? Kubanga obulimba obwo busaasaanyizibwa abantu “aboonoonefu mu birowoozo era abatakyategeera mazima.” Ekigendererwa kyabwe kwe kutandikawo “empaka n’okuwakana.” (1 Tim. 6:4, 5) Baagala tukkirize obulimba bwabwe era tutandike okwekengera baganda baffe.
16. Bintu ki ebiwugula bye tulina okwewala?
2 Tim. 2:3, 4) Okufaananako Timoseewo, naffe tusaanidde okwewala okuwugulibwa omwoyo gw’okwagala ebintu. “Obulimba bw’obugagga” busobola okuzisa okwagala kwe tulina eri Yakuwa n’eri Ekigambo kya Katonda, era buyinza okutuleetera okulekera awo okwagala okubuulira. (Mat. 13:22) Tulina okwewala okwetuumako ebintu, tukozese ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe ‘okusooka okunoonyanga Obwakabaka.’—Mat. 6:22-25, 33.
16 Weewale ebiwugula. “Ng’omusirikale omulungi owa Kristo Yesu,” Timoseewo yalina okwemalira ku buweereza bwe mu kifo ky’okuwugulibwa omwoyo ogw’okunoonya ebintu. (17-18. Kiki kye tulina okukola okwewala okutuusibwako akabi mu by’omwoyo?
17 Beera mwetegefu okubaako ky’okolawo mu bwangu. Omusirikale alina okumanya nga bukyali ekyo ky’anaakolawo okwekuuma. Bwe tuba ab’okukuuma ebintu Yakuwa bye yatuwa tulina okubaako kye tukolawo mu bwangu nga tulabye akabi. Kiki ekiyinza okutuyamba okukolerawo mu bwangu? Tulina okumanya nga bukyali kiki kye tunaakola nga wazzeewo akabi.
18 Ng’ekyokulabirako, oluusi abantu bwe bakuŋŋaanira awamu mu kizimbe batera okubagamba okwetegereza wa we bayinza okufulumira mu bwangu. Lwaki? Ekyo kibayamba okufuluma mu bwangu nga wazzeewo akabi. Mu ngeri y’emu, tulina okulowooza nga bukyali kye tunaakola singa tuba tukozesa Intaneeti oba nga tulaba ttivi oba firimu ne kujjako ebintu eby’obugwenyufu, ebikolwa eby’obukambwe, oba ebintu bya bakyewaggula. Bwe tulowooza ku ky’okukola nga bukyali, tusobola okubaako kye tukolawo mu bwangu ne tutatuusibwako kabi mu by’omwoyo, ne tusigala nga tuli bayonjo mu maaso ga Yakuwa.—Zab. 101:3; 1 Tim. 4:12.
19. Mikisa ki gye tunaafuna singa tukuuma ebintu eby’omuwendo Yakuwa bye yatuwa?
19 Tulina okukuuma ebintu eby’omuwendo Yakuwa bye yatuwa, omuli amazima agali mu Bayibuli n’enkizo ey’okugayigiriza abalala. Bwe tukola bwe tutyo, tujja kuba n’omuntu ow’omunda omulungi, tujja kuba n’obulamu obulina ekigendererwa, era tujja kufuna essanyu eriva mu kuyamba abalala okumanya Yakuwa. Bwe twesiga Yakuwa, ajja kutuyamba okukuuma ebintu bye yatukwasa.—1 Tim. 6:12, 19.
OLUYIMBA 127 Oyagala Mbeere Muntu wa Ngeri Ki