EKITUNDU EKY’OKUSOMA 37
“Towummuza Mukono Gwo”
“Siga ensigo zo ku makya, era towummuza mukono gwo okutuusa akawungeezi.”—MUB. 11:6.
OLUYIMBA 68 Okusiga Ensigo y’Obwakabaka
OMULAMWA *
1-2. Omubuulizi 11:6 walina kakwate ki n’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka?
MU NSI ezimu abantu baba baagala nnyo okumanya ebisingawo nga bawulidde amawulire amalungi. Kye kintu kye baba balindiridde okumala ekiseera! Mu nsi endala, abantu tebaagala nnyo kumanya bikwata ku Katonda oba ku Bayibuli. Abantu b’omu kitundu gy’obeera bali batya? Abantu ka babe nga baagala okuwuliriza oba nedda, Yakuwa atusuubira okweyongera okubuulira okutuusa lw’anaagamba nti omulimu guwedde.
2 Yakuwa yasalawo dda ddi omulimu gw’okubuulira lwe gujja okukoma, era oluvannyuma ‘enkomerero ejja kujja.’ (Mat. 24:14, 36) Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, tuyinza tutya okukolera ku bigambo bino: “Towummuza mukono gwo”? *—Soma Omubuulizi 11:6.
3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Ekitundu ekyayita kyalaga ebintu bina bye twetaaga okukola okusobola okukola obulungi omulimu ‘gw’okuvuba abantu.’ (Mat. 4:19) Ekitundu kino kigenda kulaga ebintu bisatu ebisobola okutuyamba okuba abamalirivu okubuulira ka tube nga twolekagana na mbeera ki. Tugenda kulaba ensonga lwaki kikulu (1) obutawugulibwa, (2) okuba abagumiikiriza, ne (3) okusigala nga tulina okukkiriza okunywevu.
TOWUGULIBWA
4. Lwaki tulina okwemalira ku mulimu Yakuwa gwe yatuwa?
4 Yesu yalaga ebintu ebyandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero Mat. 24:42) Leero twolekagana n’ebintu bye bimu ebyawugula abantu ab’omu kiseera kya Nuuwa ne batassaayo mwoyo ku kulabula Nuuwa kwe yali awa. (Mat. 24:37-39; 2 Peet. 2:5) Eyo ye nsonga lwaki tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna kutuwugula kuva ku mulimu Yakuwa gwe yatuwa.
era ebyandibadde bisobola okuwugula abagoberezi be ne bateemalira ku mulimu gwa kubuulira. Yakubiriza abayigirizwa be ‘okuba obulindaala.’ (5. Ebikolwa 1:6-8 walaga nti omulimu gw’okubuulira gwandikoleddwa ku kigero ki?
5 Tusaanidde okukola n’obunyiikivu omulimu gw’okubuulira Obwakabaka. Yesu yagamba nti omulimu gw’okubuulira gwandikoleddwa ku kigero kinene nnyo era nti gwandyeyongedde okukolebwa okumala ekiseera kiwanvu oluvannyuma lw’okufa kwe. (Yok. 14:12) Yesu bwe yamala okuttibwa, abamu ku bayigirizwa be baddayo mu kuvuba ebyennyanja. Bwe yazuukira, yasobozesa abamu ku bayigirizwa be okukwata ebyennyanja bingi mu ngeri ey’ekyamagero. Yakozesa akakisa ako okubayamba okukiraba nti omulimu ogw’okuvuba abantu gwali mukulu nnyo okusinga ekintu ekirala kyonna. (Yok. 21:15-17) Yesu bwe yali anaatera okuddayo mu ggulu, yagamba abayigirizwa be nti omulimu gw’okubuulira gwandibadde gukolebwa ne mu bitundu ebirala ng’oggyeeko Isirayiri. (Soma Ebikolwa 1:6-8.) Nga wayise emyaka, Yesu yawa omutume Yokaana okwolesebwa n’amulaga ebintu ebyandibaddewo “mu lunaku lwa Mukama waffe.” * Mu bintu Yokaana bye yalaba, mwe mwali n’ekintu kino ekyewuunyisa: Yalaba malayika ng’alina “amawulire amalungi ag’emirembe n’emirembe” agaali galangirirwa eri “buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu.” (Kub. 1:10; 14:6) Kyeyoleka lwatu nti leero Yakuwa ayagala tukole omulimu gw’okubuulira okutuusa lwe gunaggwa.
6. Kiki ekiyinza okutuyamba okweyongera okukulembeza omulimu gw’okubuulira mu bulamu bwaffe?
Mat. 24:45-47) Mu nsi eno erimu enjawukana mu by’obufuzi, mu madiini, ne mu by’enfuna, abaweereza ba Katonda abasukka mu bukadde omunaana bali bumu okwetooloola ensi yonna. Ng’ekyokulabirako, ku Lwokutaano nga Apuli 19, 2019, Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi baalaba vidiyo y’emu eyali ekwata ku kyawandiikibwa ky’olunaku olwo. Ku olwo akawungeezi, abantu 20,919,041 bakuŋŋaana wamu okujjukira okufa kwa Yesu. Bwe tulowooza ku nkizo gye tulina ey’okulaba ebintu ebyo nga bigenda mu maaso n’okubyenyigiramu kituleetera okukola n’obunyiikivu omulimu gw’okubuulira Obwakabaka.
6 Tusobola okwemalira ku mulimu gw’okubuulira singa tufumiitiriza ku bintu byonna Yakuwa by’akola okutuyamba. Ng’ekyokulabirako, atuwa emmere nnyingi nnyo ey’eby’omwoyo, gamba ng’eyo gye tufuna mu bitabo ebikube mu kyapa, bye tufunira ku masimu oba ku kompyuta, ebintu eby’okuwuliriza, vidiyo, ne programu eziba ku ttivi yaffe. Kirowoozeeko: Ebyo ebiri ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti biri mu nnimi ezisukka mu 1,000! (7. Ekyokulabirako Yesu kye yassaawo kituyamba kitya obutawugulibwa?
7 Ekintu ekirala ekisobola okutuyamba okwemalira ku mulimu gw’okubuulira kwe kukoppa Yesu. Yesu teyakkiriza kintu kyonna kumuwugula kuva ku mulimu gwa kuwa bujulirwa ku mazima. (Yok. 18:37) Teyawugulibwa nga Sitaani agezaako okumuwa “obwakabaka bwonna obw’omu nsi n’ekitiibwa kyabwo,” era n’abantu bwe baayagala okumufuula kabaka. (Mat. 4:8, 9; Yok. 6:15) Teyatwalirizibwa mwoyo gwa kwagala bintu, era n’okuyigganyizibwa tekwamulemesa kweyongera kubuulira. (Luk. 9:58; Yok. 8:59) Bwe twolekagana n’ebintu ebigezesa okukkiriza kwaffe tusobola okusigala nga tuli banywevu singa tujjukira okubuulirira omutume Pawulo kwe yawa. Yakubiriza Abakristaayo okukoppa Yesu ‘baleme kukoowa ne balekulira’!—Beb. 12:3.
BA MUGUMIIKIRIZA
8. Obugumiikiriza kye ki, era lwaki bukulu nnyo leero?
8 Obugumiikiriza bwe busobozi bw’okulindirira n’obukkakkamu embeera okukyuka. Ka tube nga tulindirira embeera embi okukoma oba ekintu ekirungi okutuukirira, kitwetaagisa okuba abagumiikiriza. Nnabbi Kaabakuuku yali ayagala nnyo okulaba ng’ebikolwa eby’obukambwe mu Yuda bikoma. (Kaab. 1:2) Abayigirizwa ba Yesu baali basuubira Obwakabaka ‘okulabika amangu’ bubawonye okunyigirizibwa Abaruumi. (Luk. 19:11) Twesunga ekiseera Obwakabaka bwa Katonda lwe bujja okujjawo ebintu ebibi buleete ensi empya ey’obutuukirivu. (2 Peet. 3:13) Naye twetaaga okuba abagumiikiriza okutuusa ekiseera kya Yakuwa ekigereke lwe kinaatuuka. Ka tulabeyo engeri Yakuwa gy’atuyigirizaamu okuba abagumiikiriza.
9. Biki ebiraga nti Yakuwa mugumiikiriza?
9 Yakuwa assaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwoleka obugumiikiriza. Yawa Nuuwa obudde obumala okuzimba eryato n’okubuulira. (2 Peet. 2:5; 1 Peet. 3:20) Yakuwa yawuliriza Ibulayimu nga Ibulayimu amubuuza enfunda n’enfunda ku ekyo kye yali asazeewo eky’okuzikiriza abantu ababi abaali mu bibuga, Sodomu ne Ggomola. (Lub. 18:20-33) Okumala ebyasa bingi Yakuwa yayoleka obugumiikiriza obw’ekitalo ng’akolagana n’eggwanga lya Isirayiri eritaali lyesigwa. (Nek. 9:30, 31) Ne leero Yakuwa ayoleka obugumiikiriza ng’awa ekiseera ekimala abantu b’asembeza gy’ali ‘okwenenya.’ (2 Peet. 3:9; Yok. 6:44; 1 Tim. 2:3, 4) Ekyokulabirako Yakuwa ky’ataddewo kituleetera okuba abagumiikiriza nga tweyongera okukola omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza abantu. Ate era waliwo n’ekyokulabirako ekimu ekiri mu Bayibuli Yakuwa ky’akozesa okutuyigiriza obugumiikiriza.
10. Ekyokulabirako ky’omulimi ayogerwako mu Yakobo 5:7, 8, kituyigiriza ki?
10 Soma Yakobo 5:7, 8. Ekyokulabirako ky’omulimi kitulaga engeri gye tuyinza okuba abagumiikiriza. Kyo kituufu nti ebimera ebimu bikula mangu. Naye ebimera ebisinga obungi, naddala ebyo ebissaako ebibala, bitwala ekiseera okukula. Mu Isirayiri, ebirime byatwalanga emyezi nga mukaaga okukula. Omulimu yasiganga ensigo mu kiseera ky’enkuba esooka era n’akungula oluvannyuma lw’enkuba esembayo. (Mak. 4:28) Kya magezi okukoppa obugumiikiriza bw’omulimi. Naye oluusi kiyinza obutaba kyangu.
11. Obugumiikiriza butuyamba butya mu buweereza bwaffe?
11 Abantu abatatuukiridde batera okwagala okulabirawo ebyo ebiva mu kufuba kwabwe. Bwe tuba twagala ennimiro yaffe okubala, tulina okugifaako obutayosa, nga tugirimamu, nga tusiga, nga tukoola, era nga tufukirira. Mu ngeri y’emu, bwe tuba twagala okufuula abantu abayigirizwa, kitwetaagisa okukola n’obunyiikivu. Kitwala ekiseera okuyamba abo be tuyigiriza okweggyamu obusosoze n’okuyiga okufaayo ku balala. Obugumiikiriza butuyamba obutaggwaamu maanyi ng’abantu be tubuulira tebatuwuliriza. Kyokka ne bwe tusanga abantu abatuwuliriza era kitwetaagisa okuba abagumiikiriza. Tetusobola kukaka kukkiriza kwa muyizi wa Bayibuli kukula. N’abayigirizwa ba Yesu ebiseera ebimu baalwangawo okutegeera amakulu g’ebyo bye yabanga abayigiriza. (Yok. 14:9) Tusaanidde okukijjukira nti tusobola okusimba n’okufukirira naye Yakuwa y’akuza.—1 Kol. 3:6.
12. Tuyinza tutya okwoleka obugumiikiriza nga tubuulira ab’eŋŋanda zaffe abatali Bajulirwa ba Yakuwa?
12 Kiyinza obutatubeerera kyangu kuba Omubuulizi 3:1, 7 gusobola okutuyamba. Gugamba nti: ‘Wabaawo ekiseera eky’okusirika n’ekiseera eky’okwogera.’ Tusobola okuwa ab’eŋŋanda zaffe obujulirwa okuyitira mu mpisa zaffe ennungi, kyokka era tusaanidde okukozesa akakisa konna ke tufuna okubabuulira amazima. (1 Peet. 3:1, 2) Wadde nga tusaanidde okubuulira n’obunyiikivu, tulina okuba abagumiikiriza eri abantu bonna nga mw’otwalidde n’ab’eŋŋanda zaffe.
bagumiikiriza nga tubuulira ab’eŋŋanda zaffe abataweereza Yakuwa. Omusingi oguli mu13-14. Abamu ku abo abaayoleka obugumiikiriza be tusobola okukoppa be baani?
13 Tusobola okuyiga okuba abagumiikiriza nga tufumiitiriza ku byokulabirako by’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli awamu n’ab’omu kiseera kino. Kaabakuuku yali ayagala nnyo okulaba ng’ebintu ebibi bikoma naye yagamba nti: “Nja kuyimirira we nkuumira.” (Kaab. 2:1) Omutume Pawulo yakiraga nti yali ayagala nnyo ‘okumaliriza’ obuweereza bwe. Naye yeeyongera “okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku mawulire amalungi” n’obugumiikiriza.—Bik. 20:24.
14 Lowooza ku w’oluganda omu ne mukyala we abaava mu Ssomero lya Gireyaadi ne basindikibwa mu nsi omuli Abajulirwa ba Yakuwa abatono ennyo era ng’abantu abasinga obungi mu nsi eyo tebakkiririza mu Yesu. Abantu abasinga obungi baali tebaagala kuyiga Bayibuli. Kyokka bo bannaabwe be baali nabo mu Gireyaadi baalinga babategeeza ku bayizi baabwe aba Bayibuli bangi abaali bakulaakulana. Wadde nga tekyali kyangu gye bali kufuna bayizi ba Bayibuli abakulaakulana, ow’oluganda oyo ne mukyala we beeyongera okubuulira n’obugumiikiriza. Oluvannyuma lw’okumala emyaka munaana nga babuulira mu kitundu ekyo, baasobola okufunayo omuyizi wa Bayibuli abatizibwa. Ebyokulabirako ebyo eby’edda n’eby’omu kiseera kino bifaanaganya ki? Abaweereza ba Yakuwa abo abeesigwa tebaafuuka bagayaavu oba tebaawummuza mukono, era Yakuwa yabawa emikisa olw’okwoleka obugumiikiriza. Ka bulijjo tukoppe “abo abafuna ebisuubizo okuyitira mu kukkiriza ne mu kugumiikiriza.”—Beb. 6:10-12.
BA N’OKUKKIRIZA OKUNYWEVU
15. Engeri emu okukkiriza gye kutuleetera okuba abamalirivu okubuulira y’eruwa?
15 Olw’okuba tukkiririza mu bubaka bwe tubuulira, tufuba okububuulira abantu bangi nga bwe kisoboka. Tukkiririza mu bisuubizo ebiri mu Kigambo kya Katonda. (Zab. 119:42; Is. 40:8) Tulabye obunnabbi bwa Bayibuli nga butuukirizibwa mu kiseera kyaffe. Tulabye engeri abantu gye balongoosezzaamu obulamu bwabwe nga batandise okukolera ku ebyo bye bayiga mu Bayibuli. Ekyo kituleetera okwongera okuba abakakafu nti buli muntu yeetaaga okuwulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka.
16. Nga bwe kiragibwa mu Zabbuli 46:1-3, okukkiriza kwe tulina mu Yakuwa ne Yesu kutuyamba kutya okuba abamalirivu okubuulira?
16 Ate era tukkiririza mu Yakuwa ensibuko y’obubaka bwe tubuulira, ne mu Yesu, gwe yalonda okuba Kabaka. (Yok. 14:1) Ka tube nga twolekaganye na mbeera ki, bulijjo Yakuwa aba kiddukiro kyaffe era maanyi gaffe. (Soma Zabbuli 46:1-3.) Okugatta ku ekyo, tuli bakakafu nti Yesu alabirira omulimu gw’okubuulira ng’asinziira mu ggulu ng’akozesa amaanyi n’obuyinza Katonda bye yamuwa.—Mat. 28:18-20.
17. Waayo ekyokulabirako ekiraga ensonga lwaki twandyeyongedde okubuulira.
17 Okukkiriza kutuyamba okuba n’obwesige nti Yakuwa ajja kuwa omukisa okufuba kwaffe oluusi mu ngeri gye tutasuubira. (Mub. 11:6) Ng’ekyokulabirako, buli lunaku abantu bayita awali obugaali oba emmeeza kwe tussa ebitabo. Engeri eno ey’okubuulira evaamu ebirungi? Yee! Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2014 kaayogera ku muyizi omu owa yunivasite eyali alina by’ayagala okuwandiika ku Bajulirwa ba Yakuwa. Teyasobola kuzuula Kizimbe kya Bwakabaka naye yasobola okulaba ab’oluganda nga batadde ebitabo ku mmeeza mu kifo ekimu ku yunivasite era yasobola okufuna bye yali yeetaaga okuwandiika ku Bajulirwa ba Yakuwa. Oluvannyuma lw’ekiseera omuyizi oyo yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa omubatize era kati aweereza nga payoniya owa bulijjo. Ebyokulabirako ng’ebyo bituleetera okweyongera okubuulira kubanga biraga nti wakyaliyo abantu abaagala okuwulira obubaka bw’Obwakabaka.
BA MUMALIRIVU OBUTAWUMMUZA MUKONO GWO
18. Lwaki tuli bakakafu nti omulimu gw’okubuulira gujja kumalirizibwa mu kiseera ekituufu nga Yakuwa bw’ayagala?
18 Tuli bakakafu nti omulimu gw’okubuulira gujja kumalirizibwa mu kiseera ekituufu. Lowooza ku ekyo ekyaliwo mu kiseera kya Nuuwa. Yakuwa yakyoleka nti mukuumi wa biseera. Ng’ebula emyaka nga 120, Yakuwa yasalawo ekiseera kyennyini Amataba lwe ganditandise. Nga wayise emyaka mingi, Yakuwa yalagira Nuuwa okuzimba eryato. Oboolyawo ng’ebula emyaka 40 oba 50 ng’Amataba tegannajja, Nuuwa yeeyongera okukola n’obunyiikivu. Wadde ng’abantu baali tebamuwuliriza yeeyongera okubabuulira ng’abalabula okutuusa Yakuwa lwe yamugamba nti ekiseera kyali kutuuse okuyingiza ensolo mu lyato. Oluvannyuma, mu kiseera kyennyini ekigereke, ‘Yakuwa yaggalawo oluggi.’—Lub. 6:3; 7:1, 2, 16.
19. Kiki kye tujja okulaba singa tetuwummuza mikono gyaffe?
19 Mu kiseera ekitali kya wala Yakuwa ajja kutugamba nti omulimu gw’okubuulira guwedde era ajja kuzikiriza ensi ya Sitaani aleete ensi empya ey’obutuukirivu. Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, ka tukoppa Nuuwa, Kaabakuuku, n’abalala abataawummuza mikono gyabwe. Ka tuleme kukkiriza kintu kyonna kutuwugula, ka tweyongere okuba abagumiikiriza, era ka tweyongere okuba n’okukkiriza okunywevu mu Yakuwa ne mu bisuubizo bye.
OLUYIMBA 75 “Nzuuno! Ntuma!”
^ lup. 5 Ekitundu ekyaggwa kyakubiriza abayizi ba Bayibuli abakulaakulana okufuuka ababuulizi b’amawulire amalungi. Ekitundu kino kiraga ebintu bisatu ebisobola okuyamba ababuulizi bonna, abapya n’abakadde, okweyongera okuba abamalirivu okukola omulimu gw’okubuulira okutuusa Yakuwa lw’anaagamba nti guwedde.
^ lup. 2 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Mu kitundu kino, ebigambo “towummuza mukono gwo” bitegeeza nti tulina okuba abamalirivu okubuulira amawulire amalungi okutuusa Yakuwa lw’anaagamba nti omulimu guwedde.
^ lup. 5 ‘Olunaku lwa Mukama waffe’ lwatandika Yesu bwe yafuulibwa Kabaka mu 1914 era lujja kuggwaako ku nkomerero y’Emyaka Olukumi egy’Obufuzi bwe.