‘Mubeerenga n’Empisa Ennungi mu b’Amawanga’
‘Mubeerenga n’Empisa Ennungi mu b’Amawanga’
“Mussengamu ekitiibwa abantu bonna. Mwagalenga ab’oluganda.”—1 PEETERO 2:17.
1, 2. (a) Kiki omukuŋŋaanya w’olupapula lw’amawulire kye yayogera ku Bajulirwa ba Yakuwa? (b) Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okubeera n’empisa ennungi?
EMYAKA mingi egiyiseewo, omukuŋŋaanya w’olupapula lw’amawulire mu Amarillo, Texas, Amerika, yakyalira amakanisa ag’enjawulo mu kitundu ekyo era n’awa lipoota kw’ebyo bye yazuula. Ekibiina ky’eddiini ekimu kyamuwuniikiriza nnyo. Yagamba: “Okumala emyaka esatu, mbadde ŋŋenda mu lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa olubeerawo buli mwaka mu Amarillo. Nga ndi wamu nabo, ssaalaba muntu n’omu ng’akoleeza sigala, oba ng’asumulula eccupa ya bbiya, wadde akozesa olulimi olubi. Be bantu be nnali ndabye abasingayo obuyonjo, abeeyisa obulungi, abambala obulungi era ab’eggonjebwa.” Ebigambo ng’ebyo biwandiikiddwa ku Bajulirwa ba Yakuwa enfunda n’enfunda. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa batenderezebwa abantu abatali ba nzikiriza yaabwe?
2 Abantu ba Katonda batera okutenderezebwa olw’empisa zaabwe ennungi. Wadde ng’emitindo gy’empisa gigenda giddirira, Abajulirwa ba Yakuwa bamanyi nti kibagwanidde okubeera ab’empisa ennungi, era ekyo bakitwala okuba ekitundu ky’okusinza kwabwe. Bamanyi nti enneeyisa yaabwe erina ky’etegeeza abantu abalala ku Yakuwa ne ku baganda baabwe Abakristaayo, era nti empisa zaabwe ennungi zisikiriza abalala eri amazima ge babuulira. (Yokaana 15:8; Tito 2:7, 8) Kati nno, ka tulabe engeri gye tuyinza okubeera n’empisa ennungi era bwe kityo tweyongere okuwa ekifaananyi ekirungi ku Yakuwa n’Abajulirwa be. Era tugenda kulaba n’engeri gye tuganyulwa bwe tubeera n’empisa ennungi.
Mu Maka Amakristaayo
3. Amaka Amakristaayo geetaaga okukuumibwa okuva ku ki?
3 Lowooza ku mpisa zaffe mu maka. Ekitabo ekyogera ku ddembe ly’eddiini (Die Neuen Inquisitoren: Religionsfreiheit und Glaubensneid) ekyawandiikibwa Gerhard Besier ne Erwin K. Scheuch, kigamba: “[Abajulirwa ba Yakuwa] baagala nnyo okukuuma amaka.” Ebigambo ebyo bituufu, kubanga leero waliwo ebizibu bingi ebyetaagisa amaka okuba nga gakuumibwa. Waliwo abaana “abatagondera bazadde baabwe” n’abantu abakulu “abatayagala ba luganda” oba “abateegendereza.” (2 Timoseewo 3:2, 3) Mu maka, abafumbo bayisaŋŋana mu ngeri ey’obukambwe, abazadde bayisa bubi abaana baabwe oba tebabafaako; era n’abaana bajeemera bazadde baabwe, beekamirira amalagala, beenyigira mu mpisa ez’obugwenyufu oba badduka mu maka ga bazadde baabwe. Ebyo byonna bye bintu ebibi ebiva mu ‘mwoyo gw’ensi.’ (Abaefeso 2:1, 2) Twetaaga okukuuma amaka gaffe galeme kubeeramu mwoyo ogwo. Mu ngeri ki? Nga tugoberera okubuulirira n’obulagirizi Yakuwa bw’awa ab’omu maka.
4. Buvunaanyizibwa ki abali mu maka Amakristaayo bwe balina eri bannaabwe?
4 Abafumbo Abakristaayo bakimanyi nti buli omu alina okukola ku nneewulira ey’omunda eya munne mu bufumbo, awamu ne kubyetaago bye eby’omwoyo era n’eby’omubiri. (1 Abakkolinso 7:3-5; Abaefeso 5:21-23; 1 Peetero 3:7) Abazadde Abakristaayo balina obuvunaanyizibwa bw’amaanyi nnyo obw’okulabirira abaana baabwe. (Engero 22:6; 2 Abakkolinso 12:14; Abaefeso 6:4) Abaana abali mu maka Amakristaayo bwe bagenda bakula, nabo bamanya nti balina okuwulira bazadde baabwe. (Engero 1:8, 9; 23:22; Abaefeso 6:1; 1 Timoseewo 5:3, 4, 8) Kyetaagisa okufuba, obumalirivu, okwagala n’okwerekereza okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’amaka. N’olwekyo, ab’omu maka gye bakoma okutuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bwe yabawa, gye bakoma n’okubeera ab’omugaso eri bannaabwe n’eri ekibiina. N’ekisinga obukulu, baweesa Yakuwa Katonda ekitiibwa, oyo Eyatandikawo enteekateeka y’amaka.—Olubereberye 1:27, 28; Abaefeso 3:15.
Oluganda olw’Ekikristaayo
5. Tufuna miganyulo ki bwe tukuŋŋaana awamu ne Bakristaayo bannaffe?
5 Ng’Abakristaayo, tulina obuvunaanyizibwa eri bakkiriza bannaffe mu bibiina era n’eri ‘oluganda lwaffe olw’ensi yonna.’ (1 Peetero 5:9) Bwe tubeera ab’okukulaakulana mu by’omwoyo, tulina okukolagana n’ekibiina. Bwe tubeera awamu ne Bakristaayo bannaffe, tuzziŋŋanamu amaanyi era tuliira wamu emmere ey’eby’omwoyo ezimba etuweebwa “‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.”’ (Matayo 24:45-47) Bwe tubeera n’ebizibu, tusobola okugenda eri baganda baffe ne batuwa amagezi ageesigamiziddwa ku misingi egiri mu Byawandiikibwa. (Engero 17:17; Omubuulizi 4:9; Yakobo 5:13-18) Bwe tubeera mu bwetaavu, baganda baffe tebatulekerera. Nga kirungi nnyo okubeera mu kibiina kya Katonda!
6. Pawulo yakiraga atya nti tulina obuvunaanyizibwa eri Bakristaayo bannaffe?
6 Naye, tetuli mu kibiina kuweebwa buweebwa kyokka; wabula naffe tulina okugaba. Mu butuufu Yesu yagamba: ‘Mu kugaba mulimu essanyu lingi nnyo okusinga mu kuweebwa.’ (Ebikolwa 20:35) Omutume Pawulo yaggumiza ensonga y’okugabira abalala bwe yagamba: “Tunyweze okwatulanga essuubi lyaffe obutasagaasagana; kubanga eyasuubiza mwesigwa. Era tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi; obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng’abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira; era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.”—Abaebbulaniya 10:23-25.
7, 8. Tusobola tutya okulaga omwoyo gw’okugaba mu kibiina kyaffe mwennyini, era n’eri Bakristaayo bannaffe abalala?
7 Nga tuli mu kibiina, ‘twatula essuubi lyaffe’ bwe tubaako bye tuddamu nga tuli mu nkuŋŋaana oba bwe tuzeenyigiramu mu ngeri endala. Bwe tukola bwe tutyo, kizzaamu baganda baffe amaanyi. Era tubazzaamu amaanyi bwe tunyumya nabo nga olukuŋŋaana terunnaba kutandika oba nga luwedde. Ekyo kye kiseera eky’okuzzaamu abanafu amaanyi, okubudaabuda abennyamivu awamu n’okugumya abalwadde. (1 Abasessaloniika 5:14) Abakristaayo abeesimbu bagaba mu ngeri eyo, era eyo ye nsonga lwaki bangi abajja mu nkuŋŋaana zaffe omulundi ogusooka, bawuniikirira olw’okwagala kwe batulabamu.—Zabbuli 37:21; Yokaana 15:12; 1 Abakkolinso 14:25.
8 Naye era, okwagala kwaffe tekukoma mu kibiina kyaffe kyokka. Kuzingiramu oluganda lwaffe olw’ensi yonna. Eyo ye nsonga lwaki mu buli Kizimbe ky’Obwakabaka mulimu akasanduuko akasonderwamu ensimbi ez’Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka ebirala. Ekizimbe kyaffe eky’Obwakabaka kiyinza okubeera mu mbeera ennungi, naye tumanyi nti enkumi n’enkumi z’Abakristaayo bannaffe tebalina bifo birungi eby’okukuŋŋaaniramu. Bwe tuwaayo ensimbi mu nsawo ey’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, tulaga baganda baffe abo okwagala newakubadde nga tetubamanyi.
9. Nsonga ki enkulu ereetera Abajulirwa ba Yakuwa okwagalana?
9 Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa baagalana? Yesu yabalagira bakolenga bwe batyo. (Yokaana 15:17) Era okwagala kwe balagaŋŋana bokka na bokka bujulizi obulaga nti balina omwoyo gwa Katonda kinnoomu ate era ng’ekibiina. Okwagala kye kimu ku “bibala by’omwoyo.” (Abaggalatiya 5:22, 23) Abajulirwa ba Yakuwa bwe basoma Baibuli, bwe bagenda mu nkuŋŋaana, era bwe basaba Katonda obutayosa, booleka okwagala wadde nga bali mu nsi ‘okwagala kw’abasinga obungi mwe kuwoze.’—Matayo 24:12.
Okukolagana n’Abantu Abatwetoolodde
10. Buvunaanyizibwa ki bwe tulina eri abantu?
10 Ebigambo ‘okwatula essuubi lyaffe’ Pawulo bye yayogera, bitujjukiza obuvunaanyizibwa obulala bwe tulina. Okwatula kuno essuubi lyaffe kuzingiramu omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi eri abo abatannafuuka baganda baffe Abakristaayo. (Matayo 24:14; 28:19, 20; Abaruumi 10:9, 10, 13-15) Okubuulira ng’okwo nakwo kikolwa eky’okugaba. Kyetaagisa okuwaayo ebiseera, amaanyi, okweteekateeka, okutendekebwa n’okukozesa ebintu byaffe okusobola okwenyigira mu mulimu ogwo. Naye era, Pawulo yawandiika: “Abayonaani era ne bannaggwanga, ab’amagezi era n’abasirusiru, bammanja. Era kyenva njagala okubabuulira enjiri nammwe abali mu Ruumi nga bwe nnyinza.” (Abaruumi 1:14, 15) Okufaananako Pawulo, ka tuleme kubeera bakoddo nga tusasula ‘ebbanja’ lino.
11. Misingi ki ebiri egiri mu Byawandiikibwa egifuga enkolagana yaffe n’abantu abali mu nsi, naye ate kiki kye tuteekwa okumanya?
11 Tulina obuvunaanyizibwa obulala eri abo abatali bakkiriza bannaffe? Awatali kubuusabuusa. Tukimanyi bulungi nti ‘ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.’ (1 Yokaana 5:19) Era tukimanyi nti Yesu yagamba abayigirizwa be: “Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.” Wadde kiri kityo, tuli mu nsi era n’ebituyimirizzaawo tubijja mu nsi. (Yokaana 17:11, 15, 16) N’olwekyo, tulina obuvunaanyizibwa eri abantu abali mu nsi. Buvunaanyizibwa ki obwo? Omutume Peetero yaddamu ekibuuzo ekyo. Ng’ebulayo akaseera katono Yerusaalemi kizikirizibwe, yawandiikira Abakristaayo ab’omu Asiya Omutono ebbaluwa, era ebiri mu bbaluwa eyo bituyamba obutagwa lubege nga tukolagana n’abantu abali mu nsi.
12. Mu ngeri ki Abakristaayo gye bali “abayise era abatambuze,” era biki bye basaanidde okwewala?
12 Peetero yatandika ng’agamba: “Abaagalwa, mbeegayirira ng’abayise n’abatambuze, okwewalanga okwegomba kw’omubiri okulwana n’obulamu.” (1 Peetero 2:11) Mu by’omwoyo, Abakristaayo ab’amazima balinga “abayise era abatambuze” kubanga ekintu kye basinga okussaako essira lye ssuubi ery’obulamu obutaggwaawo. Abo abaafukibwako amafuta bafaayo ku ssuubi ery’okugenda mu ggulu ate bo “ab’endiga endala” bafaayo ku ssuubi ery’okubeera mu nsi. (Yokaana 10:16; Abafiripi 3:20, 21; Abaebbulaniya 11:13; Okubikkulirwa 7:9, 14-17) Naye ate, okwegomba okw’omubiri kye ki? Kuzingiramu ebintu ng’okwegomba okubeera omugagga, okufuna ettuttumu, obwenzi era “n’obuggya.”—Abakkolosaayi 3:5; 1 Timoseewo 6:4, 9; 1 Yokaana 2:15, 16.
13. Okwegomba kw’omubiri ‘kulwana kutya n’obulamu bwaffe’?
13 Okwegomba ng’okwo ddala “kulwana n’obulamu [bwaffe].” Kwonoona enkolagana yaffe ne Katonda, era mu ngeri eyo ne kuteeka essuubi lyaffe ery’Ekikristaayo (“emmeeme,” oba obulamu bwaffe) mu kabi. Ng’ekyokulabirako, singa twegomba ebintu eby’obugwenyufu, tusobola tutya okuwaayo emibiri gyaffe nga “ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda”? Singa tugwa mu kyambika eky’okwagala ennyo ebintu, tunaasobola tutya ‘okusooka okunoonya obwakabaka’? (Abaruumi 12:1, 2; Matayo 6:33; 1 Timoseewo 6:17-19) Ekintu ekisinga obulungi kye twandikoze, kwe kugoberera ekyokulabirako kya Musa nga tubuusa amaaso ebintu ebisikiriza ebiri mu nsi era nga tukulembeza obuweereza bwa Yakuwa mu bulamu bwaffe. (Matayo 6:19, 20; Abaebbulaniya 11:24-26) Eyo nsonga nkulu nnyo etusobozesa obutagwa lubege nga tukolagana n’ensi.
‘Mubeere n’Empisa Ennungi’
14. Lwaki ffe ng’Abakristaayo tufuba nnyo okubeera n’empisa ennungi?
14 Obulagirizi obulala obulungi busangibwa mu bigambo bya Peetero: “Nga mulina empisa zammwe mu b’amawanga ennungi, nga bwe baboogerako ng’abakola obubi, olw’ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku olw’okulabirwamu.” (1 Peetero 2:12) Ng’Abakristaayo, tufuba okuteekawo ekyokulabirako ekirungi. Bwe tubeera ku ssomero, tukola n’amaanyi. Mu bifo gye tukolera emirimu gyaffe, tukola n’amaanyi era tuba beesigwa—newakubadde ng’abo abatukozesa bayinza okuba abazibu okukolagana nabo. Mu maka agatali bumu mu nzikiriza, omwami oba omukyala omukkiriza afuba nnyo okugoberera emisingi gy’Ekikristaayo. Tekitera kuba kyangu, naye tumanyi nti empisa zaffe ennungi zisanyusa Yakuwa era oluusi zirina ekirungi kye zikola ku abo abatali Bajulirwa.—1 Peetero 2:18-20; 3:1.
15. Tumanya tutya nti empisa ennungi ez’Abajulirwa ba Yakuwa zimanyiddwa nnyo?
15 Obuwanguzi Abajulirwa ba Yakuwa abasinga obungi bwe batuuseeko mu kubeera n’empisa ennungi bulabikira mu bigambo ebibawandiikiddwaako okumala emyaka mingi. Ng’ekyokulabirako, olupapula lw’amawulire oluyitibwa Il Tempo olw’omu Italy lwagamba: “Abantu abakola n’Abajulirwa ba Yakuwa baboogerako ng’abakozi abeesigwa, abaagala ennyo enzikiriza yaabwe ne kiba nti balinga gye bamaliddeko ebirowoozo byabwe byonna; naye wadde nga kiri bwe kityo, bagwanidde okussibwamu ekitiibwa olw’empisa zaabwe ennungi.” Olupapula lw’amawulire olw’Olungereza oluyitibwa Herald olw’omu Buenos Aires, Argentina, lwagamba: “Okumala emyaka mingi Abajulirwa ba Yakuwa beeraze okuba abakozi abanyiikivu, abeegendereza, era abatuuze abatya Katonda.” Omwekenneenya Omurasiya ayitibwa Sergei Ivanenko yagamba: “Abajulirwa ba Yakuwa bamanyiddwa mu nsi yonna ng’abantu abagondera amateeka naddala ago agakwata ku kusasula emisolo.” Akulira ekifo ekimu mu Zimbabwe ekyakozesebwa Abajulirwa ba Yakuwa nga balina olukuŋŋaana olunene yagamba: “Ndaba Abajulirwa abamu nga balonda empapula era nga balongoosa kaabuyonjo. Ekifo bakireka nga kiyonjo n’okusinga nga bwe baba bakisanze. Abavubuka bammwe balina empisa ennungi. Kyandibadde kirungi singa ensi yonna yalimu Bajulirwa ba Yakuwa.”
Obuwulize obw’Ekikristaayo
16. Nkolagana ki gye tulina n’ab’obuyinza abafuga, era lwaki?
16 Peetero era ayogera ku nkolagana yaffe n’ab’obuyinza. Agamba: “Mugonderenga buli kiragiro ky’abantu ku bwa Mukama waffe: oba kabaka nga ye asinga bonna; oba abaamasaza, nga ye b’atuma olw’okukangavvulanga abakola obubi, n’olw’okusiimanga abakola obulungi. Kubanga Katonda bw’ayagala bw’atyo, mmwe okusirisanga obutamanya bw’abantu abasirusiru nga mukola obulungi.” (1 Peetero 2:13-15) Tusiima nnyo emiganyulo egiva mu gavumenti ennungi, era nga tugoberera ebigambo bya Peetero, tugondera amateeka gaazo era ne tusasula emisolo gyazo. Wadde nga tukkiriza obuyinza Katonda bwe yaziwa okubonereza abamenyi b’amateeka, ensonga esinga obululu lwaki tugondera ab’obuyinza abafuga eri nti, tukikola ‘ku bwa Mukama waffe.’ Ekyo Katonda ky’ayagala. Era, tetwagala kuvumisa linnya lya Yakuwa nga tubonerezebwa olw’okukola ekikyamu.—Abaruumi 13:1, 4-7; Tito 3:1; 1 Peetero 3:17.
17. Tusobola kuba bakakafu ku ki singa ‘abantu abazibu’ batuziyiza?
17 Eky’ennaku, ‘abantu abamu abazibu’ abali mu buyinza batuyigganya oba batuziyiza mu ngeri endala—gamba nga batwogerako eby’obulimba. Wadde kiri bwe kityo, mu kiseera kya Yakuwa ekigereke, obulimba bwabwe bwanikibwa, era ‘bye boogera mu butamanya’ ne bisirisibwa. Empisa zaffe ez’Ekikristaayo zooleka lwatu ani ayogera amazima. Eyo ye nsonga lwaki abakungu ba gavumenti abeesigwa batera okutusiima olw’okukola obulungi.—Abaruumi 13:3; Tito 2:7, 8.
Baddu ba Katonda
18. Ng’Abakristaayo, tuyinza tutya okwewala okukozesa obubi eddembe lyaffe?
18 Peetero atulabula: ‘Mube ba ddembe, naye eddembe eryo muleme kulyesigamako okweyisa obubi, wabula mulikozese ng’abaweereza ba Katonda.’ (1 Peetero 2:16; Abaggalatiya 5:13) Leero, okumanya kwe tulina okukwata ku Baibuli kutuyamba okwetakkuluza ku njigiriza z’eddiini ez’obulimba. (Yokaana 8:32) Ate era, tulina eddembe ery’okwesalirawo bye twagala. Wadde kiri kityo, tetukozesa bubi ddembe lye tulina. Bwe tuba tusalawo ebikwata ku baani abanaabeera mikwano gyaffe, eby’okwambala, okwekolako, eby’amasanyu—wadde eby’okulya n’okunywa—tujjukira nti Abakristaayo ab’amazima baddu ba Katonda, era tebeesanyusa bokka. Tusalawo okuweereza Yakuwa mu kifo ky’okwemalira ku kwegomba okw’omubiri, ku misono gy’ensi oba ku bintu ebirala ebitusanyusa.—Abaggalatiya 5:24; 2 Timoseewo 2:22; Tito 2:11, 12.
19-21. (a) Tutunuulira tutya abafuzi b’ensi? (b) Abamu balaze batya ‘okwagala eri oluganda olw’ensi yonna’? (c) Buvunaanyizibwa ki obusinga obukulu bwe tulina?
19 Peetero yeeyongera okugamba: “Mussengamu ekitiibwa abantu bonna. Mwagalenga ab’oluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa kabaka.” (1 Peetero 2:17) Okuva Yakuwa Katonda bw’akkirizza abantu okubeera mu bifo eby’obuyinza ebitali bimu, tuwa abantu ng’abo ekitiibwa ekisaanira. Era tuyinza n’okubasabira, kitusobozese okutuukiriza obuweereza bwaffe mu mirembe era n’okwemalira ku Katonda. (1 Timoseewo 2:1-4) Kyokka, mu kiseera kye kimu, ‘twagala oluganda lwaffe olw’ensi yonna.’ Bulijjo tukola ebyo ebiganyula baganda baffe Abakristaayo so si ebibalumya.
20 Ng’ekyokulabirako, mu nsi emu mu Afirika omwali okuttiŋŋana olw’enjawukana mu mawanga, empisa ez’Ekikristaayo ez’Abajulirwa ba Yakuwa zeeyoleka bulungi nnyo. Olupapula lw’amawulire oluyitibwa Reformierte Presse olw’omu Switzerland lwagamba: “Mu 1995, ekibiina ky’Eddembe ly’Obuntu mu Afirika . . . kyakakasa nti amadiini gonna geenyigira mu kuttiŋŋana okuggyako Abajulirwa ba Yakuwa bokka.” Amawulire ago ag’ennaku bwe gaatuuka mu nsi endala, Abajulirwa ba Yakuwa mu Bulaaya baaweereza mangu nnyo obuyambi bw’emmere n’eddagala eri baganda baabwe n’abantu abalala abaali mu nsi eyo. (Abaggalatiya 6:10) Baagoberera ebigambo ebiri mu Engero 3:27: “Tommanga birungi abo abagwanira, bwe kiba kiri mu buyinza bw’omukono gwo okubikola.”
21 Kyokka, waliwo obuvunaanyizibwa obulala obusinga ekitiibwa kye tuwa abakulu abafuga era n’okwagala kwe tulaga baganda baffe. Bwe buluwa obwo? Peetero yagamba: “Tyanga Katonda.” Tuvunaanyizibwa eri Yakuwa okusinga eri abantu. Mu ngeri ki? Era tusobola tutya okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe eri Katonda n’eri abakulu abafuga? Ebibuuzo bino bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
Ojjukira?
• Buvunaanyizibwa ki Abakristaayo bwe balina mu maka?
• Tusobola tutya okulaga omwoyo ogw’okugaba mu kibiina?
• Tulina buvunaanyizibwa ki eri abantu abalala?
• Miganyulo ki gye tufuna bwe tubeera n’empisa ennungi?
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Amaka Amakristaayo gasobola gatya okubeera ensibuko y’okufuna essanyu?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20]
Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa baagalana?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20]
Tusobola okulaga baganda baffe okwagala wadde nga tetubamanyi?