“Funa Enkolagana Ennungi ne Katonda”
“Funa Enkolagana Ennungi ne Katonda”
“Funa enkolagana ennungi ne Katonda, naye anaabeera mukwano gwo.”—Yakobo 4:8, NW.
1, 2. (a) Abantu batera kwogera ki? (b) Kubuulirira ki Yakobo kwe yawa, era lwaki kwali kwetaagisa?
“KATONDA ali naffe.” Ebigambo ebyo biwandiikiddwa ku bbendera z’eggwanga nnyingi n’ebyambalo by’abaserikale. Era ebigambo, “Mu Katonda mwe tutadde obwesige bwaffe” biwandiikiddwa ku ssente ezitali zimu. Kya bulijjo abantu okugamba nti balina enkolagana ennungi ne Katonda. Kyokka, tokkiriza nti okubeera n’enkolagana ng’eyo kyetaagisa ekisingawo ku kugyogerako obwogezi oba okuwandiika obuwandiisi ebigambo ng’ebyo ebyogeddwako waggulu?
2 Baibuli eraga nti kisoboka okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda. Kyokka, ekyo kyetaagisa okufuba. N’Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu kyasa ekyasooka baali beetaaga okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa Katonda. Yakobo, omulabirizi Omukristaayo, yalabula abamu ku bo ku bikwata ku kwegomba okw’omubiri n’obutaba bayonjo mu by’omwoyo. Okulabula okwo, kwalimu n’okubuulirira kuno: “Funa enkolagana ennungi ne Katonda, naye anaabeera mukwano gwo.” (Yakobo 4:1-12, NW) Yakobo yali ategeeza ki bwe yakozesa ebigambo “funa enkolagana ennungi”?
3, 4. (a) Ebigambo “funa enkolagana ennungi” biyinza okuba by’ajjukiza ki abaasoma ebbaluwa ya Yakobo mu kyasa ekyasooka? (b) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti kisoboka okutuukirira Katonda?
3 Yakobo yakozesa ebigambo ebirina okuba nga byali bimanyiddwa abaasoma ebbaluwa ye. Amateeka ga Musa gaawa bakabona ebiragiro ebikakafu ku ngeri ‘y’okutuukiriramu’ Yakuwa ku lw’abantu be. (Okuva 19:22) Bwe kityo, abaasoma ebbaluwa ya Yakobo bayinza okuba bajukizibwa nti okutuukirira Yakuwa si kintu ekyali eky’olusaago. Yakuwa y’asingayo ekitiibwa mu butonde bwonna.
4 Ku luuyi olulala, ng’omwekkenneenya wa Baibuli omu bw’agamba, ‘okubuulirira okwo okuli mu Yakobo 4:8 kusikiriza.’ Yakobo yali akimanyi nti Yakuwa akubiriza abantu okufuna enkolagana ennungi naye. (2 Ebyomumirembe 15:2) Ssaddaaka ya Yesu yatemera abantu oluwenda okutuukirira Yakuwa mu ngeri esingawo. (Abaefeso 3:11, 12) Leero, obukadde n’obukadde bw’abantu basobola okutuukirira Katonda! Kati olwo, tuyinza tutya okweyambisa enkizo eno ey’ekitalo? Mu bufunze, tujja kwetegereza engeri satu mwe tuyinza okuyitira okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda.
Munyiikire “Okufunanga Okumanya Okukwata” ku Katonda
5, 6. Ekyokulabirako kya Samwiri kyoleka kitya ekizingirwa mu ‘kufunanga okumanya’ okukwata ku Katonda?
5 Okusinziira ku Yokaana 17:3, Yesu yagamba: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” New World Translation eyawukanamu ku nzivuunula eno era n’endala nnyingi. Mu kifo ky’okugamba “okutegeera” Katonda, egamba “okufunanga okumanya” okukwata ku Katonda. Era, n’abekenneenya bangi bagamba nti amakulu g’ekigambo ekyakozesebwa mu Luyonaani gategeeza ekisingawo ku kutegeera omuntu. Gategeeza okweyongera okufuna okumanya okumukwatako, ekiyinza okuviirako okufuna enkolagana ennungi naye.
6 Okumanya Katonda tekyali kirowoozo kippya mu kiseera kya Yesu. Ng’ekyokulabirako, mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, tusoma nti Samwiri bwe yali omwana, “yali tannamanya Mukama.” (1 Samwiri 3:7) Ekyo kyali kitegeeza nti Samwiri yali amanyi kitono nnyo ku Katonda? Si bwe kiri, kubanga bazadde be ne bakabona bateekwa okuba nga baamuyigiriza ebintu bingi. Era, okusinziira ku mwekenneenya omu, ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyakozesebwa mu lunyiriri luno kiyinza “okukozesebwa ku mukwano ogw’oku lusegere.” Samwiri yali tannamanya Yakuwa nga mukwano gwe ow’oku lusegere, nga bwe kyandibadde oluvannyuma ng’aweereza ng’omwogezi wa Yakuwa. Samwiri bwe yagenda akula, yeeyongera okumanya Yakuwa, n’afuna enkolagana ey’oku lusegere naye.—1 Samwiri 3:19, 20.
7, 8. (a) Lwaki tetwandirowoozezza ku njigiriza za Baibuli ez’omunda ng’enzibu ennyo? (b) Agamu ku mazima ag’omunda agali mu Kigambo kya Katonda ge tusaanidde okuyiga ge galuwa?
7 Onyiikira okufuna okumanya okukwata ku Yakuwa osobole okubeera mukwano gwe ow’oku lusegere? Okusobola okukola ekyo, weetaaga ‘okwegomba’ emmere ey’eby’omwoyo Katonda gy’agaba. (1 Peetero 2:2) Tobeera mumativu n’ebisookerwako. Fuba okuyiga ezimu ku njigiriza za Baibuli ez’omunda. (Abaebbulaniya 5:12-14) Enjigiriza ng’ezo zikutiisa ng’olowooza nti nzibu nnyo? Bwe kiba bwe kityo, jjukira nti Yakuwa ye “Muyigiriza Omukulu.” (Isaaya 30:20, NW) Amanyi engeri y’okuyigirizaamu abantu abatatuukiridde amazima ag’omunda. Era ayinza okukuyamba okutegeera by’akuyigiriza.—Zabbuli 25:4.
8 Lwaki tonoonyereza ebimu ku ‘bintu bya Katonda eby’omunda’? (1 Abakkolinso 2:10) Tebiringa bintu ebitasikiriza abatendekebwa mu by’eddiini n’abakadde b’amakanisa bye bakubaganyako ebirowoozo, wabula njigiriza ez’omugaso ezituyamba okutegeera endowooza ya Kitaffe omwagalwa. Ng’ekyokulabirako, ekinunulo, ‘ekyama ekitukuvu,’ n’endagaano ez’enjawulo Yakuwa z’akozesezza okuganyula abantu be n’okutuukiriza ebigendererwa bye, n’ebirala bingi ebibifaananako, bisanyusa era birungi okunoonyerezaako n’okuyiga.—1 Abakkolinso 2:7.
9, 10. (a) Lwaki amalala ga kabi, era kiki ekinaatuyamba okugeewala? (b) Bwe kituuka ku kumanya okukwata ku Yakuwa, lwaki twandibadde beetoowaze?
9 Bwe weeyongera okutegeera amazima ag’omunda, weekuume akabi akayinza okujja n’okumanya—amalala. (1 Abakkolinso 8:1) Amalala ga kabi, kubanga gaawula abantu ku Katonda. (Engero 16:5; Yakobo 4:6) Jjukira, tewali muntu asaanidde kwewaanawaana olw’okumanya kw’alina. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo bino ebiva mu nnyanjula y’ekitabo ekyekenneenya okukulaakulana kw’abantu mu bya sayansi: “Gye tukoma okufuna okumanya, gye tukoma okutegeera nti tumanyi kitono nnyo. . . . Byonna bye tuyize, temuli n’akamu bw’obigeraageranya ne bye tulina okuyiga.” Obwetoowaze ng’obwo bulungi. Bwe kituuka ku kumanya okukwata ku Yakuwa Katonda, twandibadde beetoowaze n’okusingawo. Lwaki?
10 Weetegereze ebimu ku ebyo Baibuli by’eyogera ku Yakuwa. “Ebirowoozo byo bya buziba nnyo.” (Zabbuli 92:5) “Okutegeera [kwa Yakuwa] tekulowoozekeka.” (Zabbuli 147:5) “Amagezi [ga Yakuwa] teganoonyezeka.” (Isaaya 40:28) ‘Amagezi n’okumanya kwa Katonda tebikoma.’ (Abaruumi 11:33, NW) Kya lwatu, tetuyinza kumanya byonna ebiyinza okumanyika ku Yakuwa. (Omubuulizi 3:11) Atuyigirizza ebintu bingi nnyo eby’ekitalo, kyokka buli kiseera tujja kuba n’eby’okuyiga ebitakoma. Ekyo tekitusanyusa era ne kitutoowaza? N’olwekyo, nga tugenda tuyiga, tukozese okumanya kwe tulina okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa era n’okuyamba abalala so si okubakajjalako.—Matayo 23:12; Lukka 9:48.
Yoleka Okwagala Kwo eri Yakuwa
11, 12. (a) Okumanya kwe tufuna okukwata ku Yakuwa kwanditukozeeko ki? (b) Kiki ekiraga obanga okwagala kwaffe eri Katonda kwa nnamaddala?
11 Nga kituukirawo, omutume Pawulo yakwataganya okumanya n’okwagala. Yagamba: “Kino kye nsaba, okwagala kwammwe kweyongereyongerenga kusukkirirenga mu kutegeera [“mu kumanya okutuufu,” NW] n’okwawula kwonna.” (Abafiripi 1:9) Mu kifo ky’okutuleetera amalala, bye tuyiga ku Yakuwa n’ebigendererwa bye byandituleetedde okweyongera okwagala Kitaffe oyo ow’omu ggulu.
12 Kya lwatu, bangi abagamba nti baagala Katonda, ddala baba tebamwagala. Bayinza okuba abeesimbu mu nneewulira ze balina eri Katonda. Enneewulira ng’ezo nnungi, era zisiimibwa bwe ziba nga zituukana n’okumanya okutuufu. Naye ku bwazo, tezitegeeza nti omuntu ddala ayagala Katonda. Lwaki? Weetegereze engeri Ekigambo kya Katonda gye kinnyonnyolamu okwagala: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye.” (1 Yokaana 5:3) N’olwekyo, okwagala Yakuwa kuba kwa nnamaddala bwe kulagibwa mu bikolwa.
13. Okutya Katonda kunaatuyamba kutya okumulaga okwagala?
13 Okutya Yakuwa kujja kutuyamba okumugondera. Okutya okwo n’okumussaamu ekitiibwa biva mu kumumanya, okuyiga ku butukuvu bwe, ekitiibwa kye, amaanyi ge, obwenkanya bwe, amagezi ge n’okwagala. Okutya okwo kukulu nnyo bwe tuba ab’okufuna enkolagana ennungi naye. Mu butuufu, weetegereze ekyo Zabbuli 25:14 ky’egamba: ‘Enkolagana ennungi ne Yakuwa y’abo abamutya.’ N’olwekyo, bwe tutya okunyiiza Kitaffe ow’omu ggulu, tuyinza okufuna enkolagana ennungi naye. Okutya Katonda kujja kutuyamba okugoberera okubuulirira okw’amagezi okuli mu Engero 3:6: “Mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.” Ekyo kitegeeza ki?
14, 15. (a) Ebimu ku ebyo bye tulina okusalawo mu bulamu bye biruwa? (b) Tuyinza tutya okusalawo mu ngeri eraga nti tutya Katonda?
14 Buli lunaku olina okusalawo ebintu ebikulu n’ebitono. Ng’ekyokulabirako, biki by’onoonyumya ne b’okola nabo, b’osoma nabo, ne baliraanwa bo? (Lukka 6:45) Onookola na maanyi emirimu gyo oba oneegayaaza bwegayaaza? (Abakkolosaayi 3:23) Onookola omukwano n’abo abataagala Yakuwa, oba onoonyweza enkolagana yo n’abantu abettanira eby’omwoyo? (Engero 13:20) Kiki ky’onookola, wadde mu ngeri entono, okutumbula ebiruubirirwa by’Obwakabaka bwa Katonda? (Matayo 6:33) Bwe kiba nti okolera ku misingi ng’egyo egy’omu Byawandiikibwa egimenyeddwa waggulu ng’osalawo, olwo nno, oba ojjukira Yakuwa ‘mu makubo go gonna.’
15 N’olwekyo, buli kye tusalawo, tuteekwa okukulemberwa ekirowoozo kino: ‘Yakuwa ayagala nkole ki? Kkubo ki erinaasinga okumusanyusa?’ (Engero 27:11) Okutya Yakuwa mu ngeri eno, ngeri nnungi ey’okumulagamu okwagala kwaffe. Okutya Katonda era kujja kutukubiriza okubeera abayonjo mu by’omwoyo, mu mpisa ne mu mubiri. Jjukira nti mu lunyiriri lwe lumu Yakobo mw’akubiririza Abakristaayo ‘okufuna enkolagana ennungi ne Katonda,’ era agamba: “Muyonje emikono gyammwe mmwe aboonoonyi, era mutukuze emitima gyammwe mmwe abatasalawo.”—Yakobo 4:8, NW.
16. Bwe tuwa Yakuwa, kiki kye tuba tutakola, kyokka kiki kye tusobola okumulaga?
16 Kya lwatu nti okulaga okwagala eri Yakuwa kizingiramu ekisingawo ku kwewala obwewazi ebibi. Okwagala era kutukubiriza okukola ekituufu. Ng’ekyokulabirako, kiki kye tukolawo okusiima ebintu ebingi ennyo Yakuwa by’atukoledde? Yakobo yawandiika: “Buli kirabo kirungi, na buli kitone kituukirivu kiva waggulu, nga kikka okuva eri Kitaffe ow’ebyaka.” (Yakobo 1:17) Kya lwatu, bwe tuwa Yakuwa ku bintu byaffe, tuba tetumugaggawaza. Ebintu byonna bibye. (Zabbuli 50:12) Era, bwe tuwa Yakuwa ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe tuba tetukola ekyo ye ky’atayinza kukola. Ne bwe twandigaanye okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwe, yandikozesezza amayinja okugabuulira! Kati olwo, lwaki tuwa Yakuwa eby’obugagga byaffe, ebiseera byaffe n’amaanyi? Okusingira ddala, mu kukola ekyo tuba tulaga nti tumwagala n’omutima gwaffe gwonna, emmeeme n’amaanyi.—Makko 12:29, 30.
17. Kiki ekiyinza okutukubiriza okuwaayo n’essanyu eri Yakuwa?
17 Bwe tuwaayo eri Yakuwa, twandikikoze n’essanyu, kubanga “Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” (2 Abakkolinso 9:7) Omusingi oguli mu Ekyamateeka 16:17 guyinza okutuyamba okugaba n’essanyu: “Buli muntu anaawanga nga bw’anaayinzanga, ng’omukisa bwe gunaabanga ogwa Mukama Katonda wo gw’akuwadde.” Bwe tufumiitiriza ku bintu ebingi Yakuwa by’atuwadde, tuba twagala okumuwa n’essanyu. Okuwaayo ng’okwo kusanyusa omutima gwe, ng’omuzadde bw’asanyuka ng’omwana we amuwadde ekirabo. Okwoleka okwagala kwaffe mu ngeri eno, kujja kutuyamba okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa.
Kola Omukwano ne Katonda Okuyitira mu Kusaba
18. Lwaki kikulu okulongoosa engeri gye tusabamu?
18 Bwe tuba tusaba, tusobola okweyabiza Kitaffe ow’omu ggulu. (Abafiripi 4:6) Okuva bwe tusobola okufuna enkolagana ennungi ne Katonda okuyitira mu kusaba, kiba kirungi okulongoosa mu kusaba kwaffe. Tekyetaagisa kukozesa bigambo biwuniikiriza, wabula twandisabye mu bwesimbu, okuviira ddala mu mutima gwaffe. Tuyinza tutya okulongoosa mu kusaba kwaffe?
19, 20. Lwaki twandifumiitiriza nga tetunnasaba, era biki bye tuyinza okufumiitirizaako?
19 Tuyinza okugezaako okufumiitiriza nga tetunnasaba. Singa tufumiitiriza ku bye tunnaasaba nga bukyali, okusaba kwaffe kuyinza okubeera okw’amakulu, bwe kityo ne twewala okudiŋŋana ebigambo bye tutera okukozesa. (Engero 15:28, 29) Oboolyawo okufumiitiriza ku ebyo Yesu bye yayogera mu ssaala ya Kitaffe ali mu ggulu era ne twetegereza engeri gye bikwata ku mbeera yaffe kiyinza okutuyamba. (Matayo 6:9-13) Ng’ekyokulabirako, tuyinza okwebuuza ekyo kye tuyinza okukola, ka kibe kitono kitya, mu kutuukiriza ekigendererwa kya Yakuwa ku nsi. Tuyinza okutegeeza Yakuwa nti twagala okuba ab’omugaso gy’ali era ne tumusaba okutuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna bw’atukwasizza? Tweraliikirira ebikwata ku byetaago byaffe? Twetaaga kusonyiyibwa bibi ki, era baani be twetaaga okusonyiwa? Bikemo ki bye twolekagana nabyo, era tulaba obwetaavu bw’obukuumi bwa Yakuwa mu nsonga eyo?
20 Ate era, tuyinza okulowooza ku bantu abeetaaga ennyo obuyambi bwa Yakuwa. (2 Abakkolinso 1:11) Kyokka, tetulina kwerabira kwebaza. Singa tulowooza ku bintu Yakuwa by’atukoledde, mazima ddala tumanya lwaki twandimwebazizza era ne tumutendereza buli lunaku olw’obulungi bwe. (Ekyamateeka 8:10; Lukka 10:21) Okukola ekyo kituganyula mu ngeri endala—kituyamba okubeera n’endowooza ennuŋŋamu ku bulamu.
21. Byakulabirako ki eby’omu Byawandiikibwa ebiyinza okutuyamba nga tusaba Yakuwa?
21 Okwesomesa nakwo kuyinza okutuyamba okulongoosa mu kusaba kwaffe. Ekigambo kya Katonda kirimu okusaba okulungi okw’abasajja n’abakazi abeesigwa. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba n’ekizibu ekitweraliikiriza oba ekyeraliikiriza abaagalwa baffe, tuyinza okusoma ku ngeri Yakobo gye yasabamu, bwe yali agenda okusisinkana muganda we Esawu, eyali ayagala okumutta. (Olubereberye 32:9-12) Oba tuyinza okwekenneenya okusaba kwa Kabaka Asa, Abaesiyopya akakadde nga kamu bwe baatiisatiisa okulumba abantu ba Katonda. (2 Ebyomumirembe 14:11, 12) Bwe tuba twolekaganye n’ekizibu ekiyinza okuleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa, tuyinza okufumiitiriza ku kusaba kwa Eriya bwe yali mu maaso g’abasinza ba Baali ku Lusozi Kalumeeri, oba okusaba kwa Nekkemiya okukwata ku mbeera embi eya Yerusaalemi. (1 Bassekabaka 18:36, 37; Nekkemiya 1:4-11) Okusoma n’okufumiitiriza ku kusaba ng’okwo kiyinza okunyweza okukkiriza kwaffe era ne kituwa n’ebirowoozo ku ngeri gye tuyinza okutuukiriramu Yakuwa okumutegeeza ebitweraliikiriza.
22. Ekyawandiikibwa ky’omwaka ekya 2003 kye kiruwa, era kiki kye tuyinza okwebuuza oluusi n’oluusi mu mwaka gwonna?
22 Kya lwatu, tewali nkizo, kiruubirirwa oba kitiibwa kisinga okugoberera okubuulirira kwa Yakobo 4:8, NW) Ka tukole ekyo nga tweyongera okumanya Katonda, nga tufuba okumulaga okwagala, era nga tufuna enkolagana ennungi naye okuyitira mu kusaba. Mu mwaka 2003, nga tujjukira Yakobo 4:8, ekyawandiikibwa eky’omwaka, ka tweyongere okwekebera tulabe obanga ddala tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Kati ate, kiri kitya eri ebigambo ebisembayo mu kyawandiikibwa? Yakuwa ‘anaabeera mukwano gwo’ mu ngeri ki, era kinaakuviiramu miganyulo ki? Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku nsonga eno.
Yakobo, okugamba “funa enkolagana ennungi ne Katonda.” (Okyajjukira?
• Lwaki okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa si kintu kya lusaago?
• Biruubirirwa ki ebimu bye tuyinza okuteekawo ku bikwata ku kweyongera okumanya Yakuwa?
• Tuyinza tutya okulaga nti twagalira ddala Yakuwa?
• Tuyinza tutya okweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa okuyitira mu kusaba?
[Ebibuuzo]
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 12]
Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2003 kijja kuba: “Funa enkolagana ennungi ne Katonda, naye anaabeera mukwano gwo.”—Yakobo 4:8, NW.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Samwiri bwe yagenda akula, yafuna enkolagana ennungi ne Yakuwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Okusaba kwa Eriya ku Lusozi Kalumeeri kyakulabirako kirungi gye tuli