Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Beera Muvumu era wa Maanyi!’

‘Beera Muvumu era wa Maanyi!’

‘Beera Muvumu era wa Maanyi!’

“Mugume; nze mpangudde ensi.”​—Yokaana 16:33.

1. Olw’okuba abalabe ab’amaanyi baali babeera mu Kanani, Abaisiraeri baafuna kubuulira ki?

ABAISIRAERI bwe baali nga banaatera okusomoka Omugga Yoludaani okuyingira mu Nsi Ensuubize, Musa yabagamba: “Mubeere bavumu era ba maanyi. Temutya so temutekemuka, kubanga Yakuwa Katonda wammwe ye wuuyo agenda nammwe.” Awo Musa n’ayita Yoswa, eyali ow’okukulembera Abaisiraeri okutuuka mu Kanani, n’addamu okumukuutira okubeera omuvumu. (Ekyamateeka 31:6, 7, NW) Oluvannyuma, Yakuwa kennyini yabuulirira Yoswa ng’agamba: “Beera muvumu era wa maanyi . . . Beera muvumu era wa maanyi nnyo.” (Yoswa 1:6, 7, 9, NW) Okubuulirira okwo kwali kusaanira. Abaisiraeri bandyetaaze obuvumu okusobola okwaŋŋanga abalabe ab’amaanyi abaali babeera emitala wa Yoludaani.

2. Mbeera ki gye tulimu leero, era kiki kye twetaaga?

2 Leero, Abakristaayo ab’amazima banaatera okuyingira mu nsi empya, era okufaananako Yoswa, beetaaga okubeera abavumu. (2 Peetero 3:13; Okubikkulirwa 7:14) Kyokka, embeera yaffe eyawukanako ku ya Yoswa. Yoswa yakozesa bitala n’amafumu okulwana. Ffe tulwana lutalo lwa bya mwoyo era tetukozesa bitala na mafumu. (Isaaya 2:2-4; Abaefeso 6:11-17) Ekirala, Yoswa yalina okulwana entalo ez’amaanyi nnyingi n’oluvannyuma lw’okuyingira mu Nsi Ensuubize. Naye ffe twolekaganye nazo kati, nga tetunnaba kuyingira mu nsi empya. Ka tulabe embeera ezimu ezitwetaagisa okubeera abavumu.

Lwaki Twetaaga Okufuba?

3. Kiki Baibuli ky’eyogera ku mulabe waffe lukulwe?

3 Omutume Yokaana yawandiika: ‘Tumanyi nga tuli ba Katonda, naye ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.’ (1 Yokaana 5:19) Ebigambo ebyo biraga ensonga enkulu lwaki Abakristaayo beetaaga okufuba okusobola okusigala nga banywevu mu kukkiriza. Omukristaayo bw’asigala nga mugolokofu, mu ngeri emu aba awangudde Setaani Omulyolyomi. N’olwekyo, Setaani atambulatambula ‘ng’empologoma ewuluguma,’ ng’agezaako okutiisatiisa era n’okulya Abakristaayo abeesigwa. (1 Peetero 5:8) Mu butuufu, alwanyisa Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe. (Okubikkulirwa 12:17) Mu lutalo luno, akozesa abantu okutuukiriza ebigendererwa bye ka babe nga bakimanyi oba nedda. Kyetaagisa okubeera abavumu obutawangulibwa Setaani n’abo bonna baakozesa.

4. Kulabula ki Yesu kwe yawa, naye ngeri ki ennungi Abakristaayo gye balaze?

4 Okuva Yesu bwe yakimanya nti Setaani n’abaweereza be bandifubye okuziyiza amawulire amalungi, yalabula abagoberezi be: “[Abantu] balibawaayo mmwe mubonyebonyezebwe, balibatta: nammwe mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange.” (Matayo 24:9) Ebigambo ebyo byatuukirizibwa mu kyasa ekyasooka, era ne leero bituukirizibwa. Mazima ddala, okuyigganyizibwa abamu ku Bajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kino kwe batuusiddwako kubadde kwa maanyi nnyo nga okw’omu biseera eby’emabega. Wadde kiri kityo, Abakristaayo ab’amazima babeera bavumu nga bayigganyizibwa mu ngeri eyo. Bakimanyi nti “okutya abantu kuleeta ekyambika,” n’olwekyo tebaagala kugwa mu mutego ng’ogwo.​—Engero 29:25.

5, 6. (a) Mbeera ki ezitwetaagisa okubeera abavumu? (b) Abakristaayo abeesigwa beeyisa batya bwe bagezesebwa?

5 Waliwo embeera endala ezisoomooza ng’oggyeko okuyigganyizibwa ezitwetaagisa okubeera abavumu. Eri abamu, okwogera n’abantu be batamanyi ebikwata ku mawulire amalungi kusoomooza kwa maanyi. Obuvumu bw’abaana abamu abasoma buyinza okugezesebwa bwe basabibwa okuyimba oluyimba lw’eggwanga oba okukubira bbendera saluti. Okuva okukola ebintu ng’ebyo bwe kiri ekikolwa eky’okusinza, abaana Abakristaayo basazeewo n’obuvumu okweyisa mu ngeri esanyusa Katonda, era engeri ennungi gye beeyisizzaamu ezzaamu nnyo amaanyi.

6 Era twetaaga obuvumu abaziyiza bwe bakozesa eby’empuliziganya okwogera eby’obulimba ku baweereza ba Katonda, oba bwe bagezaako okuziyiza okusinza okw’amazima ‘okuyitira mu mateeka.’ (Zabbuli 94:20) Ng’ekyokulabirako, twandiwulidde tutya singa lipoota z’omu mpapula z’amawulire, ku rediyo, oba ku ttivi ezikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa ziba teziwa kifaananyi kituufu oba nga bulimba bwereere? Ekyo kyandituggye enviiri ku mutwe? Nedda. Ebintu ng’ebyo tubisuubira. (Zabbuli 109:2) Era tekitwewuunyisa abantu abamu bwe bakkiriza obulimba ng’obwo okuva ‘abatalina bumanyirivu bwe bakkiriza buli kigambo kyonna.’ (Engero 14:15, NW) Wadde kiri kityo, Abakristaayo abeesigwa tebakkiriza buli kigambo ekyogerwa ku baganda baabwe, era tebaganya ppokopoko ow’obulimba okubalemesa okujja mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, okukendeeza ku kiseera kye bamala mu buweereza, oba okuddirira mu kukkiriza kwabwe. Okwawukana ku ekyo, ‘mu byonna beetwala ng’abaweereza ba Katonda, mu kitiibwa ne mu kunyoomebwa, mu birungi n’ebibi ebitwogerwako; tuyitibwa balimba, so nga twogera mazima.’​—2 Abakkolinso 6:4, 8.

7. Bibuuzo ki bye twandyebuuzizza?

7 Pawulo, ng’awandiikira Timoseewo yagamba: “Katonda teyatuwa ffe omwoyo ogw’okutya, wabula ogw’amaanyi . . . Kale, tokwatirwanga nsonyi kutegeeza kwa Mukama waffe.” (2 Timoseewo 1:7, 8; Makko 8:38) Oluvannyuma lw’okusoma ebigambo ebyo, tuyinza okwebuuza: ‘Enzikiriza zange zinkwasa ensonyi, oba ndi muvumu? Ku mulimu gye nkola (oba ku ssomero), ntegeeza abo be nkolagana nabo nti ndi Mujulirwa wa Yakuwa, oba ngezaako okukibakweka? Nkwatibwa ensonyi okubeera omwawufu ku bantu abalala? Oba nneenyumiriza mu kubeera ow’enjawulo olw’enkolagana ennungi gye nnina ne Yakuwa?’ Singa wabaawo atya okubuulira amawulire amalungi oba okubeera omwawufu, ajjukire okubuulira kwa Yakuwa eri Yoswa: ‘Beera muvumu era wa maanyi.’ Tetwerabiranga nti ekikulu si ye ndowooza ya bakozi bannaffe oba abo be tusoma nabo, wabula eya Yakuwa ne Yesu Kristo.​—Abaggalatiya 1:10.

Engeri gye Tuyinza Okweyongera Okubeera Abavumu

8, 9. (a) Olumu, obuvumu bw’Abakristaayo abaasooka bwagezesebwa butya? (b) Peetero ne Yokaana beeyisa batya bwe baatiisibwatiisibwa, era kiki ekyabatuukako bo ne baganda baabwe?

8 Tuyinza tutya okubeera n’obuvumu obunaatusobozesa okubeera abeesigwa mu biseera bino ebizibu? Abakristaayo abaasooka baasobola batya okubeera abavumu? Lowooza ku ekyo ekyaliwo bakabona abakulu n’abakadde b’omu Yerusaalemi bwe baalagira Peetero ne Yokaana okulekera awo okubuulira mu linnya lya Yesu. Abayigirizwa baagaana okulekera awo okubuulira. N’olw’ensonga eyo, baatiisibwatiisibwa kyokka oluvannyuma ne babaleka. Oluvannyuma lw’ekyo, beegatta ku b’oluganda era bonna ne basabira wamu nga bagamba: ‘Mukama, laba okukanga kwabwe, owe abaddu bo boogere n’obuvumu ekigambo kyo.’ (Ebikolwa 4:13-29) Mu kubaddamu, Yakuwa yabanyweza ng’abawa omwoyo omutukuvu, era okusinziira ku bakulembeze bye baayogera oluvannyuma, ‘bajjuzza Yerusaalemi n’okuyigiriza kwabwe.’​—Ebikolwa 5:28.

9 Ka twekenneenye ebyaliwo mu kiseera ekyo. Abayigirizwa tebaalekera awo kubuulira bwe baatiisibwatiisibwa abakulembeze b’Abayudaaya. Wabula, abayigirizwa baasaba obuvumu beeyongere okubuulira. Awo ne bakolera ku kusaba kwabwe, era Yakuwa n’abanyweza n’omwoyo gwe. Ekyokulabirako kyabwe kiraga nti ebyo Pawulo bye yawandiika emyaka mingi oluvannyuma mu mbeera eyawukanako n’eyo, bikwata ku Bakristaayo bwe baba nga bayigganyizibwa. Pawulo yagamba: “Nnyinzizza byonna [ku bw’oyo] ampa amaanyi.”​—Abafiripi 4:13.

10. Ekyokulabirako kya Yeremiya kiyamba kitya abo mu butonde abeetya?

10 Kiba kitya singa mu butonde omuntu abeera nga yeetya? Asobola okuweereza Yakuwa n’obuvumu ng’ayolekaganye n’okuziyizibwa? Asobola! Jjukira Yeremiya bye yayogera Yakuwa bwe yamulonda okubeera nnabbi. Omusajja oyo yagamba: “Ndi mwana muto.” Okusinziira ku bigambo bye, yeewulira nti tasobola. Wadde kyali kityo, Yakuwa yamuzzaamu amaanyi mu bigambo bino: “Toyogera nti Ndi mwana muto: kubanga eri bonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era kyonna kye nnaakulagiranga ky’onooyogeranga. Tobatyanga: kubanga nze ndi wamu naawe okukuwonya.” (Yeremiya 1:6-10) Yeremiya yalina obwesige mu Yakuwa, era n’ekyavaamu, olw’amaanyi ga Yakuwa yavvuunuka okutya n’afuuka omujulirwa omuvumu mu Isiraeri.

11. Kiki ekiyamba Abakristaayo leero okubeera nga Yeremiya?

11 Leero, Abakristaayo abaafukibwako amafuta balina omulimu ogufaananako n’ogwa Yeremiya, era nga bawagirwa ‘ekibiina ekinene’ ‘eky’endiga endala,’ beeyongera okulangirira ebigendererwa bya Yakuwa ka kibeere nti abantu tebeefiirayo, babavuma oba nga babayigganya. (Okubikkulirwa 7:9; Yokaana 10:16) Bazibwamu amaanyi ebigambo bya Yakuwa eri Yeremiya: ‘Totya.’ Tebeerabira nti batumiddwa Katonda era n’obubaka bwe babuulira bubwe.​—2 Abakkolinso 2:17.

Ebyokulabirako Ebiraga Obuvumu Bye Tusaanidde Okukoppa

12. Kyakulabirako ki ekirungi eky’obuvumu Yesu kye yateekawo, era yakubiriza atya abagoberezi be?

12 Tuyinza okuyambibwa mu kufuba kwaffe okubeera abavumu singa tufumiitiriza ku byokulabirako by’abalala, okufaananako Yeremiya, abalaze obuvumu. (Zabbuli 77:12) Ng’ekyokulabirako, bwe twekenneenya obuweereza bwa Yesu, tuwuniikirira olw’obuvumu bwe yayoleka nga agezesebwa Setaani, era ng’ayolekaganye n’okuziyizibwa kw’abakulembeze b’Abayudaaya abaali abamalirivu. (Lukka 4:1-13; 20:19-47) Olw’amaanyi ga Yakuwa, Yesu teyasagaasagana, era ng’ebulayo akaseera katono afe, yagamba abayigirizwa be: “Mu nsi mulina ennaku: naye mugume [“mubeere bavumu,” NW]; nze mpangudde ensi.” (Yokaana 16:33; 17:16) Singa abayigirizwa ba Yesu bandigoberedde ekyokulabirako kye, nabo bandiwangudde ensi. (1 Yokaana 2:6; Okubikkulirwa 2:7, 11, 17, 26) Kyokka, bandyetaaze okubeera ‘abavumu.’

13. Pawulo yakubiriza atya Abafiripi?

13 Nga wayiseewo emyaka oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, Pawulo ne Siira baasibibwa mu kkomera mu Firipi. Oluvannyuma, Pawulo yakubiriza ekibiina ky’omu Firipi okweyongera ‘okunywera mu mwoyo gumu, nga balwaniriranga okukkiriza okw’enjiri n’emmeeme emu; so nga tebakangibwa balabe baabwe mu kigambo kyonna.’ Okusobola okubanyweza okutuukiriza ekyo, Pawulo yagamba: “[Abakristaayo okuyigganyizibwa] ke kabonero ak’okuzikirira [eri ababayigganya], naye eri mmwe ka bulokozi, era obuva eri Katonda; kubanga mwaweebwa ku lwa Kristo si kumukkiriza kwokka era naye n’okubonaabonanga ku lulwe.”​—Abafiripi 1:27-29.

14. Biki ebyava mu buvumu bwa Pawulo mu Rooma?

14 Pawulo we yawandiikira ekibiina ky’omu Firipi, nate yali mu kkomera, ku luno mu Rooma. Wadde kyali kityo, n’obuvumu yeeyongera okubuulira abalala. Biki ebyavaamu? Yawandiika: “Okusibibwa kwange ne kulyoka kulabika mu Kristo eri abaserikale bonna aba kabaka, n’abalala bonna; n’ab’oluganda abasinga obungi mu Mukama waffe ne balyoka baguma olw’okusibwa kwange ne beeyongeranga nnyo okwaŋŋanga okubuuliranga ekigambo kya Katonda nga tebatya.”​—Abafiripi 1:13, 14.

15. Wa gye tuyinza okusanga ebyokulabirako ebirungi eby’okukkiriza ebinaatunyweza mu bumalirivu bwaffe obw’okubeera abavumu?

15 Ekyokulabirako kya Pawulo kituzzaamu amaanyi. Era bwe kiri eri ebyokulabirako ebirala eby’Abakristaayo ab’omu kiseera kyaffe abagumiikirizza okuyigganyizibwa mu nsi ezifugibwa bannaakyemalira oba abakulembeze b’eddiini. Ebikwata ku bulamu bw’abantu ng’abo bifulumidde mu magazini za Watchtower ne Awake!, era ne mu butabo Yearbooks of Jehovah’s Witnesses. Ng’osoma ebikwata ku bulamu bw’abantu bano, jjukira nti abo aboogerwako baali bantu ba bulijjo nga ffe; naye bwe baali mu mbeera enzibu ennyo, Yakuwa yabawa amaanyi agasinga ku ga bulijjo era ne bagumiikiriza. Tuyinza okuba abakakafu nti ajja kutukolera kye kimu singa embeera ziba zikyetaagisa.

Bwe Tubeera Abavumu Kisanyusa Yakuwa era ne Kimugulumiza

16, 17. Tuyinza tutya okubeera abavumu leero?

16 Omuntu bw’anywerera ku mazima n’obutuukirivu, obwo buba buvumu. Era singa akikola wadde nga muli aba awulira ng’atidde, ekyo kiba na kya buvumu nnyo n’okusingawo. Mazima ddala, Omukristaayo yenna asobola okubeera omuvumu singa aba ddala ng’ayagala okukola Yakuwa by’ayagala, nga mumalirivu okusigala nga mwesigwa, nga yeesigama ku Katonda buli kiseera, era nga ajjukira nti Yakuwa alina bangi nnyo baanywezezza abalinga ye. Era, bwe tukitegeera nti bwe tubeera abavumu kisanyusa Yakuwa era ne kimugulumiza, tubeera bamalirivu n’okusingawo obutaddirira. Tubeera beetegefu okugumiikiriza okuvumibwa oba n’okuyisibwa mu ngeri esingawo n’obubi kubanga tumwagala nnyo.​—1 Yokaana 2:5; 4:18.

17 Tetwerabiranga nti bwe tuba tubonaabona olw’okukkiriza kwaffe, ekyo tekitegeeza nti tuba tulina ekibi kye tukoze. (1 Peetero 3:17) Tubonaabona olw’okuba tuwagira obufuzi bwa Yakuwa, olw’okukola ekirungi, era n’obutaba ba nsi. Ku nsonga eno, omutume Peetero yagamba: “Bwe mukola obulungi ne mubonyaabonyezebwa, bwe muligumiikiriza, ekyo kye kisiimibwa eri Katonda.” Era Peetero yagamba: “Kale n’abo ababonyaabonyezebwa nga Katonda bw’ayagala bamuteresenga Omutonzi omwesigwa, obulamu bwabwe olw’okukola obulungi.” (1 Peetero 2:20; 4:19) Yee, okukkiriza kwaffe kusanyusa Katonda waffe omwagazi, Yakuwa, era ne kumuviirako okugulumizibwa. Nga eyo nsonga nnungi nnyo okubeera abavumu!

Okwogera n’Ab’Obuyinza

18, 19. Bwe tubeera abavumu mu maaso g’omulamuzi, bubaka ki bwe tuba tutegeeza?

18 Yesu bwe yagamba abagoberezi be nti bandiyigganyiziddwa, era yagattako: “[Abantu] balibawaayo mu nkiiko, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe balibakubiramu; era mulitwalibwa eri abaamasaza n’eri bakabaka okubalanga nze, okuba obujulirwa eri bo n’ab’amawanga.” (Matayo 10:17, 18) Okulabika mu maaso g’omulamuzi oba omufuzi olw’obulimba obuba butwogeddwako kyetaagisa obuvumu. Wadde kiri kityo, bwe tukozesa embeera ng’ezo enzibu okubuulira abantu abo, tuba tuzeeyambisizza okutuukiriza ekintu ekikulu. Mu butuufu, tuba tutegeeza abo abatufuga obubaka bwa Yakuwa, obuli mu Zabbuli ey’okubiri: “Kale kaakano mubeere n’amagezi, mmwe bakabaka: muyige, mmwe abasala omusango gw’ensi. Muweereze Mukama n’okutya.” (Zabbuli 2:10, 11) Emirundi mingi, Abajulirwa ba Yakuwa bwe bavunaaniddwa emisango egy’obulimba mu kkooti, abalamuzi basazze emisango egyo nga bawagira eddembe ly’okusinza, era ekyo tukisiima nnyo. Kyokka, abalamuzi abamu beekobaanye nabo abatuwakanya. Eri abalinga abo, Ebyawandiikibwa bigamba: “Muyige.”

19 Abalamuzi basaanidde okukitegeera nti amateeka agasingayo obukulu ge ga Yakuwa Katonda. Basaanidde okujjukira nti abantu bonna, nga mw’otwalidde n’abalamuzi, bavunaanyizibwa mu maaso ga Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo. (Abaruumi 14:10) Kyokka, ka kibeere nti abalamuzi batuyisa mu ngeri ey’obwenkanya oba nedda, tulina buli nsonga ennungi okubeera abavumu kubanga Yakuwa atuwagira. Baibuli egamba: “Balina omukisa bonna abamweyuna.”​—Zabbuli 2:12.

20. Lwaki tuyinza okuba abasanyufu bwe tugumiikiriza okuyigganyizibwa n’okwogerwako eby’obulimba?

20 Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yagamba: “Mulina omukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayiranga buli kigambo kibi, okubavunaanya nze. Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaasooka mmwe.” (Matayo 5:11, 12) Kya lwatu, okuyigganyizibwa si kulungi n’akamu, naye okunywera nga tuyigganyizibwa, nga mw’otwalidde n’okwogerwako eby’obulimba okuyitira mu mikutu gy’empuliziganya, kituleetera okusanyuka. Kiba kiraga nti tusanyusa Yakuwa era nti tujja kufuna empeera. Okubeera abavumu kiraga nti tulina okukkiriza okwa nnamaddala era ne kituleetera okubeera abakakafu nti Katonda ajja kutusiima. Mazima ddala, bulaga nti twesigira ddala Yakuwa. Obwesige ng’obwo kikulu nnyo eri Omukristaayo, ng’ekitundu ekiddako bwe kijja okulaga.

Biki by’Oyize?

• Mbeera ki ezitwetaagisa okubeera abavumu?

• Tuyinza tutya okweyongera okubeera abavumu?

• Ebyokulabirako ebimu ebirungi eby’abo abaayoleka obuvumu bye biruwa?

• Lwaki twagala okulaga obuvumu?

[Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 22]

Simone Arnold (kati ayitibwa Liebster) mu Bugirimaani, Widdas Madona mu Malawi, Lydia ne Oleksii Kurdas mu Ukraine baalaga obuvumu ne baziyiza omubi

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]

Amawulire amalungi tegatukwasa nsonyi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Obuvumu bwa Pawulo ng’ali mu kkomera bulina kinene kye bwakola mu kubuulira amawulire amalungi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Bwe tunnyonnyola omulamuzi ennyimirira yaffe eyeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, tuba tutegeeza obubaka obukulu