Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Eky’Ekiro kya Mukama Waffe Kirina Makulu Ki gy’Oli?

Eky’Ekiro kya Mukama Waffe Kirina Makulu Ki gy’Oli?

Eky’Ekiro kya Mukama Waffe Kirina Makulu Ki gy’Oli?

“Kyanaavanga azza omusango ogw’omubiri n’omusaayi gwa Mukama waffe buli anaalyanga ku mugaati oba anaanywanga ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde.”​—1 Abakkolinso 11:27.

1. Mukolo ki ogusingayo obukulu ogujja okubaawo mu mwaka 2003, era gwatandika ddi?

OMUKOLO ogusingayo obukulu mu mwaka 2003, gujja kubaawo nga Apuli 16, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Ku lunaku olwo, Abajulirwa ba Yakuwa bajja kukuŋŋaana okujjukira okufa kwa Yesu Kristo. Nga bwe kiragiddwa mu kitundu ekiwedde, Yesu yatandikawo omukolo guno, era ng’oluusi guyitibwa eky’Ekiro kya Mukama Waffe, bwe yali ng’amaze okukwata embaga ey’Okuyitako awamu n’abatume be nga Nisaani 14, mu mwaka 33 C.E. Obubonero obukozesebwa ku Kijjukizo kwe kugamba, omugaati ogutali muzimbulukuse n’enviinyo emmyufu, bukiikirira omubiri gwa Kristo ogutaliiko kibi n’omusaayi gwe ogwayiibwa​—ssaddaaka yokka esobola okununula abantu okuva mu kibi ekisikire n’okufa.​—Abaruumi 5:12; 6:23.

2. Kulabula ki okuli mu 1 Abakkolinso 11:27?

2 Abo abalyaako ku bubonero bw’Ekijjukizo balina okuba nga basaanidde. Ekyo omutume Pawulo yakiraga bulungi bwe yawandiikira Abakristaayo ab’omu Kkolinso eky’edda, eky’Ekiro kya Mukama Waffe gye kyali kikwatibwa mu ngeri eyali tesaanidde. (1 Abakkolinso 11:20-22) Pawulo yawandiika: “Kyanaavanga azza omusango ogw’omubiri n’omusaayi gwa Mukama waffe buli anaalyanga ku mugaati oba anaanywanga ku kikompe kya Mukama waffe nga taasaanidde.” (1 Abakkolinso 11:27) Makulu ki agali mu bigambo ebyo?

Abamu Baalyanga nga Tebasaanidde

3. Abakristaayo ab’omu Kkolinso bangi beeyisanga batya nga bali ku mukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe?

3 Abakristaayo ab’omu Kkolinso bangi baalyanga ku bubonero bw’Ekijjukizo nga tebasaanidde. Waaliwo enjawukana mu bo, era okumala ekiseera, abamu bajjanga n’emmere yaabwe ne bagiriira awo ng’olukuŋŋaana terunnaba oba nga lugenda mu maaso, era emirundi mingi baalyanga ekisukkiridde. Tebaalinga beetegefu mu birowoozo oba mu by’omwoyo. Ekyo kyabaleetera ‘okubaako omusango ogw’omubiri n’omusaayi gwa Mukama waffe.’ Abo abataalinanga bya kulya, enjala yabalumanga era ne kibaviirako obutassaayo mwoyo. Yee, bangi baalyanga ku bubonero mu ngeri eraga nti tebawa mukolo ogwo kitiibwa era tebategeera na bukulu bwagwo. Tekyewuunyisa nti beereetako bokka omusango!​—1 Abakkolinso 11:27-34.

4, 5. Lwaki kikulu abo abatera okulyako ku bubonero okwekebera?

4 Buli mwaka ng’Ekijjukizo kigenda kisembera, kiba kikulu abo abatera okulyako ku bubonero okwekebera. Okubeera nga basaanidde okulya ku kijjulo kino, bateekwa okuba nga bali mu mbeera nnungi ey’eby’omwoyo. Okufaananako Omuisiraeri eyalyanga ku ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe nga si mulongoofu, omuntu yenna atassa kitiibwa mu ssaddaaka ya Yesu oba aginyooma, aba mu kabi ‘ak’okuzikirizibwa okuva mu bantu ba Katonda.’​—Eby’Abaleevi 7:20; Abaebbulaniya 10:28-31.

5 Pawulo yageraageranya Ekijjukizo ku kijjulo kya ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe mu Isiraeri ey’edda. Yagamba nti abalya ku kijjulo ekyo baba bassa kimu mu mubiri gwa Kristo era n’agamba: “Temuyinza okunywa ku kikompe kya Mukama waffe ne kikompe kya balubaale: temuyinza kugabana ku mmeeza ya Mukama waffe ne ku mmeeza ya balubaale.” (1 Abakkolinso 10:16-21) Singa omuntu atera okulya n’okunywa ku bubonero bw’Ekijjukizo akola ekibi eky’amaanyi, asaanidde okukyatulira Yakuwa era n’okutuukirira abakadde mu kibiina bamuyambe. (Engero 28:13; Yakobo 5:13-16) Singa yeenenyeza ddala era n’ayoleka ebibala ebiraga nti yeenenyezza, awo aba ajja kulya ng’asaanidde.​—Lukka 3:8.

Okubeerawo ng’Abatunuulizi

6. Enkizo ey’okulya ku ky’Ekiro kya Mukama Waffe Katonda agiwadde baani?

6 Abo kati abakolera ebirungi ensigalira ya baganda ba Kristo 144,000, basaanidde okulya ku ky’Ekiro kya Mukama Waffe? (Matayo 25:31-40; Okubikkulirwa 14:1) Nedda. Enkizo eyo Katonda agiwadde abo bokka b’afuseeko omwoyo omutukuvu ‘okubeera abasika awamu ne Kristo.’ (Abaruumi 8:14-18; 1 Yokaana 2:20) Kati olwo, kiri kitya eri abo abalina essuubi ery’okubeera mu lusuku lwa Katonda wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka? (Lukka 23:43; Okubikkulirwa 21:3, 4) Olw’okuba si basika awamu ne Yesu era nga tebalina ssuubi lya kugenda mu ggulu, babeerawo ng’abatunuulizi.​—Abaruumi 6:3-5.

7. Lwaki Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baali bamanyi nti balina okulya ku bubonero bw’Ekijjukizo?

7 Abakristaayo ab’amazima mu kyasa ekyasooka baafukibwako omwoyo omutukuvu. Bangi ku bo baali basobola okukozesa ebimu ku birabo by’omwoyo, gamba ng’okwogera ennimi. N’olwekyo, abantu ng’abo tekyandibabeeredde kizibu kumanya nti baali bafukiddwako amafuta era nti basaanidde okulya ku bubonero. Kyokka mu kiseera kyaffe, omuntu asobola okumanya nti afukiddwako omwoyo, ng’asinziira ku bigambo nga bino ebyaluŋŋamizibwa: “Bonna abakulemberwa [o]mwoyo gwa Katonda, abo be baana ba Katonda. Kubanga temwaweebwa nate mwoyo gwa buddu okutya, naye mwaweebwa [o]mwoyo o[g]w’okufuuka abaana, [ogu]tukaabya nti Aba, Kitaffe.”​—Abaruumi 8:14, 15.

8. “Eŋŋaano ennungi” “n’eŋŋaano ey’omu nsiko” eyogerwako mu Matayo essuula 13 ekiikirira baani?

8 Okumala ebyasa bingi, abaafukibwako amafuta aba nnamaddala baali balinga “eŋŋaano ennungi” mu nnimiro erimu “eŋŋaano ey’omu nsiko,” oba Abakristaayo ab’obulimba. (Matayo 13:24-30, 36-43) Okuva mu myaka gya 1870, “eŋŋaano ennungi” yeeyongera okweyoleka era emyaka egyaddirira, abalabirizi abaafukibwako amafuta baagambibwa: “Abakadde . . . basaanidde okutegeeza abo ababa bakuŋŋaanye ku Kijjukizo ebisaanyizo bino,​—(1) okukkiriza mu musaayi [gwa Kristo]; ne (2) okwewaayo eri Mukama waffe n’eri obuweereza bwe okutuukira ddala ku kufa. Oluvannyuma bayinza okwaniriza bonna abalina endowooza eno, era nga bamaze okwewaayo benyigire mu kujjukira okufa kwa Mukama waffe.”​—Studies in the Scriptures, Series VI, The New Creation, olupapula 473. *

Okunoonya “Endiga Endala”

9. “Ekibiina ekinene” kyategeerekeka kitya mu 1935, era ekyo kyakwata kitya ku bamu ku abo abaali balyako ku bubonero bw’Ekijjukizo?

9 Nga wayiseewo ekiseera, ekibiina kya Yakuwa kyatandika okulowooza ku balala ng’oggyeko abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta. Mu massekati g’emyaka gya 1930, waaliwo okutegeera okuppya. Ekyo nga tekinnabaawo, abantu ba Katonda baalowoozanga nti “ekibiina ekinene” ekyogerwako mu Okubikkulirwa 7:9 nakyo kya kugenda mu ggulu okubeera awamu n’abaafukibwako amafuta 140,000 ng’empekereze oba banne b’omugole wa Kristo. (Zabbuli 45:14, 15; Okubikkulirwa 7:4; 21:2, 9) Naye nga Maayi 31, 1935, mu kwogera okwaweebwa mu lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Washington, D.C., eky’omu Amerika, kyannyonnyolebwa okuva mu Baibuli nti “ekibiina ekinene” be “b’endiga endala” abaliwo mu kiseera ky’enkomerero. (Yokaana 10:16) Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olwo, abamu ku abo abaali balyako ku bubonero bw’Ekijjukizo baalekera awo kubanga baategeera nti essuubi lyabwe lyali lya kubeera ku nsi so si mu ggulu.

10. Wandinnyonnyodde otya essuubi n’obuvunaanyizibwa bwa ‘ab’endiga endala’ ab’omu kiseera kino?

10 Naddala okutandika n’omwaka 1935, wabaddewo okunoonya ‘ab’endiga endala’ abakkiririza mu kinunulo, abeewaayo eri Katonda, era abawagira “ekisibo ekitono” eky’abaafukibwako amafuta mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka. (Lukka 12:32) Abo ab’endiga endala basuubira okubeera ku nsi emirembe gyonna, naye nga mu ngeri endala zonna, bafaanagana n’abo abakyasigaddewo ku basika b’Obwakabaka. Okufaananako bannaggwanga abaasinzanga Yakuwa mu Isiraeri ey’edda era abaagonderanga Amateeka, ab’endiga endala bakkiriza obuvunaanyizibwa obw’Ekikristaayo, gamba ng’okubuulira amawulire amalungi awamu ne Isiraeri ey’eby’omwoyo. (Abaggalatiya 6:16) Kyokka, nga munnaggwanga bwe yali tasobola kufuuka kabaka oba kabona mu Isiraeri, n’ab’endiga endala tebasobola kuba bafuzi mu Bwakabaka obw’omu ggulu oba okuweereza nga bakabona.​—Ekyamateeka 17:15.

11. Lwaki ekiseera omuntu kye yabatizibwako kisobola okuba n’akakwate ku ssuubi ly’alina?

11 N’olwekyo, mu myaka gya 1930, kyali kigenda kitegeerekeka nti, okutwalira awamu abo ab’okugenda mu ggulu baali bamaze okulondebwa. Kati okumala amakumi g’emyaka, ab’endiga endala, abalina essuubi ery’okubeera ku nsi be babadde banoonyezebwa. Singa eyafukibwako amafuta afuuka atali mwesigwa, omu ku b’endiga endala amaze ekiseera ekiwanvu ng’aweereza Katonda n’obwesigwa ayinza okulondebwa okudda mu kifo ky’oyo awanduse mu abo 144,000.

Ekireetera Abamu Okuba n’Endowooza Enkyamu

12. Kiki ekyandireetedde omuntu abadde alya ku bubonero okulekera awo okubulyaako, era lwaki?

12 Abakristaayo abaafukibwako amafuta tebabuusabuusa n’akatono nti balina okuyitibwa okw’omu ggulu. Naye kiba kitya singa abamu ku abo abatalina kuyitibwa okwo babadde balya ku bubonero bw’Ekijjukizo? Bwe bamanya nti tebalina ssuubi ery’okugenda mu ggulu, mazima ddala, omuntu waabwe ow’omunda ajja kubakubiriza okulekera awo okulyako ku bubonero. Katonda tayinza kusiima muntu yenna eyeetwala okuba omu ku abo abayitiddwa okubeera bakabaka era bakabona mu ggulu ng’ate akimanyi bulungi nti tayitibwanga. (Abaruumi 9:16; Okubikkulirwa 20:6) Yakuwa yazikiriza Koola Omuleevi olw’okwetulinkiriza ng’anoonya obwakabona. (Okuva 28:1; Okubala 16:4-11, 31-35) Singa Omukristaayo yenna amanya nti abadde alya ku bubonero bw’Ekijjukizo mu bukyamu, asaanidde okulekera awo era asabe Yakuwa amusonyiwe.​—Zabbuli 19:13.

13, 14. Lwaki abamu bayinza okulowooza mu bukyamu nti balina okuyitibwa okw’omu ggulu?

13 Lwaki abamu bayinza okulowooza mu bukyamu nti balina okuyitibwa okw’omu ggulu? Okufiirwa munnaabwe mu bufumbo oba ekizibu ekirala kyonna kiyinza okubaleetera okwetamwa obulamu obw’oku nsi. Oba nabo bayinza okwagala okubeera n’essuubi ery’okugenda mu ggulu okufaananako mukwano gwabwe ow’oku lusegere agamba nti yafukibwako amafuta. Kya lwatu, Katonda talina muntu yenna gw’awadde obuvunaanyizibwa obw’okulonda ab’okuweebwa enkizo eno ey’okugenda mu ggulu. Era taleetera basika b’Obwakabaka kuwulira maloboozi okusobola okubategeeza nti abalonze.

14 Endowooza z’eddiini ez’obulimba nti abantu abalungi bonna bagenda mu ggulu, ziyinza okuleetera abamu okulowooza nti balina okuyitibwa okw’omu ggulu. N’olwekyo, tulina okwegendereza obutatwalirizibwa ndowooza nkyamu ze twalina edda oba ekintu ekirala kyonna. Ng’ekyokulabirako, abamu bayinza okwebuuza: ‘Nnina eddagala lye nkozesa eririna kye likola ku nneewulira yange ey’omunda? Nkwatibwa mangu ekinyegenyege ne kiba nti nnyinza okusalawo mu bukyamu nti nfukiddwako amafuta?’

15, 16. Lwaki abamu bayinza okulowooza mu bukyamu nti baafukibwako amafuta?

15 Abamu bayinza okwebuuza: ‘Njagala ttutumu? Njagala nnyo okuba n’obuyinza mu kiseera kino oba ekijja ng’omu ku abo ab’okusikira awamu ne Kristo?’ Abasika b’Obwakabaka bwe baayitibwa mu kyasa ekyasooka, si bonna nti baalina ebifo by’obuvunaanyizibwa mu kibiina. Ate era abo abalina okuyitibwa okw’omu ggulu tebagezaako kwegulumizawadde okwewaanawaana olw’okuba nti baafukibwako amafuta. Booleka obuwombeefu obusuubirwa okuba mu abo abalina ‘endowooza ng’eya Kristo.’​—1 Abakkolinso 2:16.

16 Abamu bandiba nga babadde balowooza nti balina okuyitibwa okw’omu ggulu kubanga bamanyi nnyo Baibuli. Naye omuntu okuba nti yafukibwako amafuta tekimufuula amanyi ennyo, kubanga waliwo n’abaafubikwako amafuta Pawulo be yalina okuyigiriza n’okubuulirira. (1 Abakkolinso 3:1-3; Abaebbulaniya 5:11-14.) Katonda alina entegeka mw’ayitira okugabira abantu be bonna emmere ey’eby’omwoyo. (Matayo 24:45-47) N’olwekyo tewali n’omu asaanidde okulowooza nti okubeera Omukristaayo eyafukibwako amafuta, kimufuula ow’amagezi okusinga abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi. Okubeera omukugu mu kubuulira, mu kuddamu ebibuuzo bya Baibuli oba mu kuwa emboozi ezikwata ku Baibuli si kye kiraga nti omuntu yafukibwako amafuta. Abakristaayo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi nabo ebyo basobola okubikola obulungi.

17. Okufukibwako amafuta kwesigama ku ki era ku ani?

17 Singa mukkiriza munnaffe abaako ky’abuuza ku ssuubi ery’okugenda mu ggulu, omukadde oba Omukristaayo omulala akuze mu by’omwoyo, asobola okukubaganya naye ebirowoozo ku nsonga eyo. Kyokka, tewali muntu asobola kusalirawo mulala ku nsonga eno. Omuntu alina essuubi ery’okugenda mu ggulu teyeetaaga kwebuuza ku balala okukakasa obanga alirina. Abaafukibwako amafuta ‘baazaalibwa omulundi ogw’okubiri, si na nsigo eggwaawo, wabula eteggwaawo, n’ekigambo kya Katonda ekiramu eky’olubeerera.’ (1 Peetero 1:23) Ng’akozesa omwoyo gwe n’Ekigambo kye, Katonda asiga “ensigo” efuula omuntu oyo “ekitonde ekiggya,” ekirina essuubi ery’okugenda mu ggulu. (2 Abakkolinso 5:17) Era Yakuwa y’amulonda. Okufukibwako amafuta ‘tekwesigama ku kwagala kwa muntu wabula ku Katonda.’ (Abaruumi 9:16, NW) Kati olwo omuntu asobola atya okukakasa nti alina essuubi ery’okugenda mu ggulu?

Ensonga Lwaki Bakakafu

18. Omwoyo gwa Katonda gukolera gutya awamu n’omwoyo gw’abaafukibwako amafuta?

18 Omwoyo gwa Katonda gukakasa Abakristaayo abaafukibwako amafuta nti balina essuubi ery’okugenda mu ggulu. Pawulo yawandiika nti, ‘Mwaweebwa omwoyo ogw’okufuuka abaana, ogutukaabya nti Aba, Kitaffe. Omwoyo gwennyini wamu n’omwoyo gwaffe gututegeeza nga tuli abaana, era tuli basika: abasika ba Katonda, era abasikira awamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era tulyoke tuweerwe wamu ekitiibwa.’ (Abaruumi 8:15-17) Nga bakulemberwa omwoyo omutukuvu, omwoyo, kwe kugamba endowooza y’abaafukibwako amafuta ebaleetera okumanya nti Ebyawandiikibwa ebyogera ku baana ba Yakuwa ab’eby’omwoyo bikwata ku bo. (1 Yokaana 3:2) Omwoyo gwa Katonda gubaleetera okutegeera nti bafuuse baana be era nti balina essuubi ery’enjawulo. (Abaggalatiya 4:6, 7) Kyo kituufu, obulamu obutaggwaawo ku nsi ng’abantu abatuukiridde nga bali wamu n’ab’omu maka gaabwe era ne mikwano gyabwe, bwandibadde bulungi nnyo, naye eryo si lye ssuubi Katonda ly’abawadde. Ng’akozesa omwoyo gwe, Katonda abataddemu essuubi ekkakafu ne baba nti beetegefu okwerekereza byonna eby’oku nsi ne bye babadde basuubira okufuna.​—2 Abakkolinso 5:1-5, 8; 2 Peetero 1:13, 14.

19. Endagaano empya erina kifo ki mu bulamu bw’Omukristaayo eyafukibwako amafuta?

19 Abakristaayo abaafukibwako amafuta bakakafu ku bikwata ku ssuubi lyabwe era n’okuba nti bali mu ndagaano empya. Yesu yakyogerako bwe yatandikawo Ekijjukizo era n’agamba: “Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange, oguyiika ku lwammwe.” (Lukka 22:20) Katonda n’abaafukibwako amafuta be bali mu ndagaano eyo empya. (Yeremiya 31:31-34; Abaebbulaniya 12:22-24) Yesu ye mutabaganya. Ng’eteekeddwa mu nkola omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa, endagaano empya teyafunira Yakuwa bantu ab’erinnya lye okuva mu Bayudaaya bokka, wabula n’okuva mu mawanga gonna era n’ebafuula abamu ku “zzadde lya Ibulayimu.” (Abaggalatiya 3:26-29; Ebikolwa 15:14) ‘Endagaano eno ey’olubeerera’ esobozesa Abaisiraeri bonna ab’omwoyo okuzuukizibwa mu bulamu obw’omu ggulu obutayinza kuzikirizibwa.​—Abaebbulaniya 13:20.

20. Abaafukibwako amafuta bayingiziddwa mu ndagaano ki ne Kristo?

20 Abaafukibwako amafuta bakakasiza ddala essuubi lye balina. Bayingiziddwa mu ndagaano endala, endagaano y’Obwakabaka. Ku bikwata ku kufugira awamu ne Kristo, Yesu yagamba: “Naye mmwe muumuno abaagumiikirizanga awamu nange mu kukemebwa kwange; nange mbaterekera obwakabaka, nga Kitange bwe yanterekera nze, mulyoke mulye era munywere ku mmeeza yange mu bwakabaka.” (Lukka 22:28-30) Endagaano eno eri wakati wa Kristo n’abo abajja okufugira awamu naye, ejja kubeerawo emirembe gyonna.​—Okubikkulirwa 22:5.

Ekiseera ky’Ekijjukizo Kibaamu Ebirungi

21. Tusobola tutya okuganyulwa ekisingiridde mu kiseera ky’Ekijjukizo?

21 Ekiseera eky’Ekijjukizo kibaamu ebirungi bingi. Tusobola okuganyulwa mu nteekateeka ey’okusoma Baibuli mu kiseera ekyo. Era kiba kiseera kirungi okusaba, okufumiitiriza ku bulamu bwa Yesu ng’ali ku nsi awamu n’okufa kwe, era n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka. (Zabbuli 77:12; Abafiripi 4:6, 7) Omukolo gw’Ekijjukizo gutujjukiza okwagala okwalagibwa Katonda ne Kristo okuyitira mu kinunulo kya Yesu. (Matayo 20:28; Yokaana 3:16) Ekijjukizo kituwa essuubi n’okubudaabudibwa era kyandinywezezza obumalirivu bwaffe okweyongera okugoberera Kristo. (Okuva 34:6; Abaebbulaniya 12:3) Era Ekijjukizo kyanditukubirizza okutuukiriza okwewaayo kwaffe ng’abaweereza ba Katonda era n’okubeera abagoberezi abeesigwa ab’Omwana we gw’ayagala ennyo.

22. Kirabo ki ekisingayo obukulu Katonda kye yawa abantu, era ngeri ki gye tuyinza okulagamu okusiima kwaffe?

22 Nga Yakuwa atuwa ebirabo ebirungi ennyo! (Yakobo 1:17) Ekigambo kye kituwa obulagirizi, omwoyo gwe gutuyamba, era tulina essuubi ery’obulamu obutaggwaawo. Ekirabo kya Katonda ekisingayo obukulu ye ssaddaaka Yesu gye yawaayo olw’ebibi by’abo abaafukibwako amafuta era n’eby’abalala bonna abooleka okukkiriza. (1 Yokaana 2:1, 2) Kati olwo, okufa kwa Yesu kukulu kwenkana wa gy’oli? Onoobeera omu ku abo abanaalaga okusiima kwabwe ng’obeerawo okukuza eky’Ekiro kya Mukama Waffe nga Apuli 16, 2003 oluvannyuma lw’enjuba okugwa?

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 8 Kyali kikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa naye nga kati tekikyafulumizibwa.

Oddamu Otya?

• Baani abasaanidde okulya n’okunywa ku bubonero bw’Ekijjukizo?

• Lwaki ab’endiga endala babeerawo ku ky’Ekiro kya Mukama Waffe ng’abatunuulizi?

• Abakristaayo abaafukibwako amafuta bamanya batya nti basaanidde okulya ku mugaati n’okunywa ku nviinyo ku Kijjukizo ky’okufa kwa Kristo?

• Ekiseera ky’Ekijjukizo kiba kirungi okukoleramu ki?

[Ebibuuzo]

[Ekipande/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)

Abaaliwo ku Kijjukizo

OBUKADDE

15,597,746

15

14

13,147,201

13

12

11

10

 9

 8

 7

 6

 5

4,925,643

 4

 3

 2

 1

878,303

63,146

1935 1955 1975 1995 2002

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

Onoobeerawo ku Ky’Ekiro kya Mukama Waffe?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 17]

Ekiseera ky’Ekijjukizo kiba kiseera kirungi nnyo okwongera ku biseera by’owaayo okusoma Baibuli ne mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka