“Nnazuula Buli Kimu Kye Nnali Nneetaaga”
“Nnazuula Buli Kimu Kye Nnali Nneetaaga”
OKUSINZIIRA ku alipoota y’ekitongole ky’Eby’Obulamu eky’ensi yonna, kiteeberezebwa nti abantu nga obukadde 120 bennyamivu. Buli mwaka, abantu akakadde 1 betta era abalala abali wakati w’obukadde 10 ne 20 bagezaako okwetta. Buyambi ki abennyamivu bwe bayinza okufuna? Obujjanjabi obuweebwa mu malwaliro buyinza okuweweezaako ku bulumi bwe balina era n’okubudaabudibwa kwetaagisa nnyo. Kyokka era abamu bafunye obuyambi okuva mu bitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli ebikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa, nga ebbaluwa eno okuva mu Bufalansa bw’eraga.
“Ebbanga si ddene emabega nnali siraba nsonga lwaki nneeyongera okuba omulamu. Nnasaba Katonda nfe. Muli nnali nga omufu. Nga nnoonya obulagirizi, nnasaba nnyo Yakuwa. Era nnasalawo okusoma akatabo 2002 Yearbook of Jehovah’s Witnesses ne nkamalako mu nnaku ssatu. Akatabo ako kanzizaamu nnyo amaanyi era ne kanyweza okukkiriza kwange.
“Nnanoonyereza mu magazini za Watchtower ne Awake! era nneewuunya nnyo olw’ekyo kye nnazuula! Nsomye magazini zino obutayosa okumala emyaka 15 naye nnali sikitegeeranga nti zikubiriza nnyo era zizzaamu amaanyi. Zooleka okwagala kungi—engeri etasangikasangika nnaku zino. Nnazuula buli kimu kye nnali nneetaaga.”
Baibuli egamba “Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.” (Zabbuli 34:18) Awatali kubuusabuusa abo bonna abalina “omutima ogumenyese” oba “abalina omwoyo oguboneredde” basobola okuzzibwamu amaanyi n’okufuna essuubi ery’omu biseera eby’omu maaso okuva mu Baibuli. Abajulirwa ba Yakuwa basaasaanya ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli okuyamba abo ababyetaaga okufuna okubudaabudibwa okuva eri Katonda.