Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obwavu Okuzuula Ekinaabugonjoolera Ddala

Obwavu Okuzuula Ekinaabugonjoolera Ddala

Obwavu Okuzuula Ekinaabugonjoolera Ddala

WADDE waliwo lipoota ezimalamu amaanyi okuva mu bitundu ebitali bimu eby’ensi ezikwata ku bwavu, waliwo abo abalina essuubi nti waliwo ekiyinza okukolebwa. Ng’ekyokulabirako, okusinziira ku mutwe gw’olupapula lw’amawulire oluyitibwa Manila Bulletin, banka emu eyitibwa Asian ­Development Bank yagamba nti “Asiya esobola okwegobako obwavu mu myaka 25.” Banka eyo yagamba nti singa wabaawo okukulaakulana mu by’enfuna olwo n’abantu basobola okwennyulula mu ddubi ly’obwavu.

Ebibiina ebirala ne gavumenti biwadde ebirowoozo bingi awamu n’entegeka eziyinza ­okugobererwa mu kugezaako okugonjoola ­ekizibu ky’obwavu. Mu ebyo mwe muli: okussaawo insuwalensi ezikwata ku mbeera z’abantu, okulongoosa mu by’enjigiriza, ensi ­ezikulaakulanye okusonyiwa amabanja ge zibanja ensi ezitannakulaakulana, okuggyawo emisoso gyonna egiremesa okusuubula ebintu okuva mu nsi endala kisobozese ensi ezirimu abaavu abangi okutunda ebintu byazo, era n’okuzimbira abaavu amayumba agagya mu nfuna yaabwe.

Mu mwaka 2000, Olukiiko Olukulu olw’ekibiina ky’Amawanga Amagatte lwassaawo ebiruubirirwa ebirina okutuukibwako mu mwaka 2015. Mu bino mwe mwali okumalawo obwavu n’enjala awamu n’enjawulo ey’amaanyi ennyo eriwo mu by’enfuna by’amawanga. Wadde nga ebiruubirirwa bino birungi nnyo, abamu babuusabuusa oba nga bisobola okutuukirira mu nsi eno erimu abantu abeeyawuddeyawudde.

Ebiyinza Okukolebwa Okusobola Okukendeeza ku Bwavu

Olw’okuba essuubi ery’okumalawo obwavu ttono ddala, omuntu ayinza kufuna wa obuyambi? Nga bwe kyayogeddwako emabega, waliwo ensibuko y’amagezi agasobola okuyamba abantu mu kiseera kino. Y’eruwa eyo? Kye Kigambo kya Katonda, Baibuli.

Kiki ekifuula Baibuli okuba ekitabo eky’enjawulo ku birala byonna? Lwa kuba yava wa Mutonzi waffe asingiridde obuyinza. Mulimu amagezi ag’omuwendo ennyo​—emisingi egy’omuganyulo eri abantu bonna abali mu buli kifo era ebiseera byonna. Emisingi gino, singa gigobererwa, gisobola okuyamba abaavu okufuna essanyu erisingawo mu bulamu kaakano. Ka tulabeyo ebyokulabirako ebitonotono.

Beera n’endowooza ennungi ku ssente. Baibuli egamba: “Amagezi kigo, nga feeza bw’eri ekigo; naye okumanya kyekuva kusinga obulungi, kubanga amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.” (Omubuulizi 7:12) Nsonga ki enkulu eri mu kyawandiikibwa kino? Ssente si ye kamala byonna. Kyo kituufu nti ziwa obukuumi. Zitusobozesa okugula bye twetaaga, naye ate zirina we zikoma. Waliwo ebintu ebikulu ennyo ssente bye zitayinza kugula. Okumanya ekyo kijja kutuyamba obutagwa lubege mu ngeri gye tutunuuliramu eby’obugagga, era tujja kwewala ebizibu ebituuka ku abo abeemalidde ku kwenoonyeza ensimbi. Ssente teziyinza kugula bulamu, naye singa tukola ebintu mu ngeri ey’amagezi, kijja kutukuuma kati era tujja kuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.

Kozesa bulungi ssente. Emirundi egisinga obungi bye tuba twagala okuba nabyo si bintu bye tuba twetaagira ddala. Bye twetaaga bye twandibadde tusooka okukolako. Kyangu okwerimbalimba nti twetaaga ekintu ng’ate amazima gali nti tukyagala bwagazi. Omuntu ow’amagezi ssente z’afuna ajja kusooka kuzikozesa ku bintu bye yeetaagira ddala gamba ng’emmere, eby’okwambala, aw’okusula, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Oluvannyuma, nga tannabaako kintu kirala kyonna ky’agula, ajja kusooka kubalirira obanga ezisigaddewo zimala okukola ku bintu ebirala. Mu kimu ku byokulabirako bye, Yesu yawa amagezi nti omuntu ‘asookenga okutuula wansi abalirire oba ng’alina ezimala.’​—Lukka 14:28.

Mu Philippines, Yufulosina, omuzadde ali obwannamunigina era alina abaana abasatu, abadde n’obuzibu obw’okweyimirizaawo era n’obw’okukekkereza ekitono ky’aba afunyewo okuviira ddala mu kiseera omwami we mwe yamwabulira. Okusobola okwaŋŋanga obuzibu obwo, atendese abaana be okumanya bye balina okusoosa mu mbalirira y’amaka gaabwe. Ng’ekyokulabirako, abaana bayinza okulaba ekintu kye baagala okubagulira. Mu kifo ky’okugaana obugaanyi nti sijja kukigula, Yufulosina akubaganya nabo ebirowoozo ng’abagamba: “Musobola okukifuna bwe muba nga kye mwagala, naye, mulina okusalawo. Kirabika ssente ze tulina zitusobozesa okugula ekintu kimu kyokka. Tusobola okugula ekintu ekyo kye mwagala oba okugulamu akanyama oba enva endiirwa ze tunaaliira ku mmere wiiki eno yonna. Kati kiki kye mwandyagadde? Mulondewo.” Emirundi egisinga obungi abaana balaba mangu ensonga era ne bakikkiriza nti emmere y’eba esinga.

Beera mumativu. Omusingi omulala ogusangibwa mu Baibuli gugamba, “Bwe tuba n’emmere n’eby’okwambala ebyo binaatumalanga.” (1 Timoseewo 6:8) Ssente zo ku bwazo tezireeta ssanyu. Abagagga bangi tebalina ssanyu, kyokka ng’ate abaavu bangi basanyufu ddala. Abaavu abo kati bamativu n’ebyo byokka ebyetaagisa mu bulamu. Yesu yayogera ku kuba ‘n’eriiso eriraba awamu’ eritunuulira ebisinga obukulu byokka. (Matayo 6:22) Kino kiyamba omuntu okuba omumativu. Abaavu bangi bawulira nti bamativu olw’okuba bafunye enkolagana ennungi ne Katonda era balina obulamu bw’amaka obw’essanyu​—ebintu ebitagulwa na ssente.

Bino byakulabirako bitono nnyo ebiraga engeri amagezi Baibuli g’ewa gye gasobola okuyamba abaavu okwolekagana n’embeera yaabwe. Waliwo n’ebirala bingi. Ng’ekyokulabirako, weewale emize emibi ng’okunywa sigala n’okukuba zzaala, ebireetera abantu okwonoona ssente; manya ebintu ebisinga obukulu mu bulamu, n’okusingira ddala ebiruubirirwa eby’omwoyo; emirimu bwe giba mizibu okufuna, yiiyayo omulimu oba eky’okukola abantu kye beetaaga. (Engero 22:29; 23:21; Abafiripi 1:9-11) Baibuli ekubiriza okussa mu nkola “amagezi amatuufu n’okuteesa” kubanga “binaabanga obulamu eri emmeeme yo.”​—Engero 3:21, 22.

Wadde ng’amagezi Baibuli g’ewa gasobola okuyamba abo aboolekaganye n’obwavu, era wasigalawo ebibuuzo ebikwata ku biseera eby’omu maaso. Abaavu ba kusigala nga baavu emirembe gyonna? Enjawulo wakati wa bannagagga n’abawejjere erituuka ekiseera n’evaawo? Ka twetegereze ekinaagonjoola embeera eno abasinga obungi kye batamanyi.

Baibuli Etuwa Ensonga Ezituleetera Okuba n’Essuubi

Abasinga obungi bagamba nti Baibuli kitabo kirungi. Kyokka, tebamanyi nti erina by’eyogera ebikwata ku nkyukakyuka ezinaatera okubaawo.

Katonda ateeseteese okubaako ky’akolawo okugonjoola ebizibu by’abantu nga kw’otadde n’obwavu. Olw’okuba gavumenti z’abantu zeeraze nti tezisobola kukikola, Katonda ateeseteese okuziggyawo. Mu ngeri ki? Mu Danyeri 2:44, Baibuli egamba nti: “Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala; naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.”

Ng’amaze okuggyawo “obwakabaka” oba gavumenti zino, Omufuzi Katonda yennyini gwe yeerondera ajja kubaako ky’akolawo. Omufuzi ono si muntu buntu wabula kitonde eky’amaanyi eky’omu ggulu ekiringa Katonda yennyini, ekirina obusobozi okuleetawo enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okumalawo enjawulo eziriwo wakati wa bannagagga n’abawejjere leero. Katonda alonze Omwana we okukola kino. (Ebikolwa 17:31) Zabbuli 72:12-14 woogera ku ekyo Omufuzi ono ky’anaakola: “Anaawonyanga omunafu bw’anaakaabanga: n’omwavu atalina mubeezi. Anaanunulanga emmeeme zaabwe mu kujoogebwa n’ettima; n’omusaayi gwabwe gunaabanga gwa muwendo mungi mu maaso ge.” Ng’eryo ssuubi ddungi nnyo! Kya ddaaki obuweerero bunaaba butuuse! Omufuzi Katonda gw’ataddewo ajja kubaako by’akolera abaavu.

Ebizibu bingi nnyo ebireetebwa obwavu bijja kuggibwawo mu kiseera ekyo. Olunyiriri 16 mu Zabbuli 72 lugamba: “Wanaabangawo emmere nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi.” Tewaabengawo nate njala, bbula lya nsimbi, oba ffugabbi.

N’ebizibu ebirala nabyo bijja kugonjoolwa. Ng’ekyokulabirako, leero abantu bangi mu nsi tebalina nnyumba yaabwe ku bwabwe. Wadde ng’ebyo biri bityo, Katonda asuubiza: “Balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu ne balya ebibala byamu. Tebalizimba omulala n’asulamu; tebalisimba omulala n’alya: kubanga ng’ennaku z’omuti bwe ziba, bwe zityo bwe ziriba ennaku z’abantu bange, n’abalonde bange balirwawo nga balya omulimu gw’engalo zaabwe.” (Isaaya 65:21, 22) Buli omu ajja kuba n’amaka ge era ajja kunyumirwa omulimu gwe. N’olwekyo Katonda asuubiza okuggirawo ddala obwavu. Wajja kuba tewakyaliwo njawulo wakati w’abagagga ­n’abaavu, era tejja kubaayo bantu abakuluusana.

Omuntu bw’aba yaakawulira ebisuubizo bya Baibuli bino, ayinza okulowooza nti bya mpuna. Naye bwe weekenneenya ennyo Baibuli ojja kulaba nti ebintu byonna Katonda bye yasuubiza mu biseera ebyayita byatuukirizibwa. (Isaaya 55:11) N’olwekyo tewali kubuusabuusa kwonna nti bijja kubaawo. Wabula, ekibuuzo kiri nti, Onookola ki okusobola okuganyulwa ng’ebintu ebyo bituukiridde?

Onoobaayo?

Olw’okuba eyo gavumenti ya Katonda, tulina okuba abantu Katonda b’ajja okukkiriza mu bufuzi bwe. Atubuulidde ebisaanyizo bye tulina okutuukiriza. Ebisaanyizo ebyo biri mu Kigambo kye Baibuli.

Omufuzi eyalondebwa, Omwana wa Katonda, mutuukirivu. (Isaaya 11:3-5) N’olwekyo abo abakkirizibwa okufuna obulamu wansi wa gavumenti eno nabo basuubirwa okuba abatuukirivu. Engero 2:21, 22 wagamba: “Abagolokofu banaabeeranga mu nsi, n’abo abatuukirira balisigala omwo.Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi, n’abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.”

Waliwo engeri yonna omuntu gy’ayinza okuyigamu okutuukiriza ebisaanyizo ebyo? Yee, weeri. Bw’osoma Baibuli n’ogoberera obulagirizi obugirimu, ojja kusobola okunyumirwa ebiseera eby’omu maaso eby’essanyu. (Yokaana 17:3) Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu okubikuyigiriza. Tukukubiriza okutwala omukisa guno osobole okuba mu bantu abataliddamu kwolekagana na bwavu oba obutali bwenkanya.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Yufulosina: “Okukekkereza ekitono kye nnina kiyambye ab’omu maka gange okufuna bye beetaaga”

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 6]

Okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda n’obulamu bw’amaka obw’essanyu tebigulwa na ssente