Yakuwa, Katonda ow’Amazima
Yakuwa, Katonda ow’Amazima
“Ggwe wannunula, ai Mukama, ggwe Katonda ow’amazima.”—ZABBULI 31:5.
1. Mbeera ki ezaali mu ggulu ne ku nsi mu kiseera bwe wataaliwo bulimba?
WAALIWO ekiseera ng’obulimba tebuliiwo. Mu ggulu, waaliyo ebitonde ebituukirivu eby’omwoyo, nga biweereza Omutonzi waabyo, “Katonda ow’amazima.” (Zabbuli 31:5) Tewaaliwo bulimba wadde obukumpanya. Yakuwa yategeeza abaana be ab’omwoyo amazima. Yakola bw’atyo olw’okuba yali abaagala nnyo era ng’abaagaliza birungi byereere. Era ekyo kye yali ayagaliza n’abaali ku nsi. Yakuwa yatonda omusajja n’omukazi abaasooka, era ng’ayitira mu mukutu omutuufu, yayogeranga nabo mu ngeri etegeerekeka obulungi era ng’abategeeza eby’amazima. Ng’ekyo kiteekwa okuba nga kyali kirungi nnyo!
2. Ani yatandikawo obulimba, era lwaki?
2 Kyokka, mu nkomerero, mu ngeri ey’obunyoomi, omwana wa Katonda omu ow’omwoyo yagezaako okuvuganya ne Yakuwa, ng’amuziyiza. Ekitonde kino eky’omwoyo, oluvannyuma ekyamanyibwa nga Setaani Omulyolyomi, kyayagala abalala okukisinza. Okusobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo, kyatandikawo obulimba ng’engeri ey’okufugamu abalala. Mu kukola ekyo, yafuuka “mulimba era kitaawe w’obulimba.”—Yokaana 8:44.
3. Adamu ne Kaawa baakola ki Setaani bwe yabalimba, era biki ebyavaamu?
3 Ng’ayitira mu musota, Setaani yagamba Kaawa, omukazi eyasooka nti singa asambajja ekiragiro kya Katonda n’alya ku kibala ekyagaanibwa, teyandifudde. Obwo bwali bulimba. Era yamugamba nti bwe yandiridde ku kibala yandibadde nga Katonda, ng’amanyi ekirungi n’ekibi. Obwo nabwo bwali bulimba. Wadde nga Kaawa yali talimbibwangako, ateekwa okuba nga yakitegeera nti bye yawulira okuva eri omusota, byali tebikwatagana n’ebyo Katonda bye yategeeza bbaawe, Adamu. Wadde kyali kityo, yasalawo okukkiriza Setaani, so si Yakuwa. Ng’alimbiddwa ddala, yanoga ekibala n’akirya. Oluvannyuma, Adamu, naye yakirya. (Olubereberye 3:1-6) Okufaananako Kaawa, Adamu naye yali tawulirangako ku bulimba, kyokka ye teyalimbibwa. (1 Timoseewo 2:14) Olw’ebikolwa bye, yakiraga nti yeesambye Omutonzi we. Ebyavaamu byali bya kabi nnyo eri abantu. Olw’obujeemu bwa Adamu, ekibi n’okufa, awamu n’ennaku etagambika, byasaasaana ku baana be bonna.—Abaruumi 5:12.
4. (a) Bulimba ki obwaliwo mu Adeni? (b) Kiki kye tuteekwa okukola tuleme okulimbibwa Setaani?
4 Era n’obulimba bwasaasaana. Tuteekwa okukitegeera nti eby’obulimba ebyayogerwa mu lusuku Adeni byagendererwa okusiiga Yakuwa enziro. Setaani yagamba nti Katonda alina ekintu ekirungi kye yali akweka abafumbo ababiri abaasooka. Kya lwatu ekyo tekyali kituufu. Adamu ne Kaawa tebaaganyulwa olw’obujeemu bwabwe. Baafa, nga Yakuwa bwe yali abagambye. Wadde kyali kityo, Setaani yeeyongera okwogera eby’obulimba ku Yakuwa, ne kiba nti nga wayiseewo ebyasa by’emyaka omutume Yokaana yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti Setaani ‘alimbalimba ensi yonna.’ (Okubikkulirwa 12:9) Okwewala okulimbibwa Setaani Omulyolyomi, tulina okuba abakakafu nti Yakuwa wa mazima era nti n’Ekigambo kye kya mazima. Oyinza otya okunyweza obwesige bwo mu Yakuwa era ne weekuuma obutalimbibwa Mulabe we?
Yakuwa Amanyi Amazima
5, 6. (a) Yakuwa alina kumanya ki? (b) Ebintu abantu bye bamanyi byenkana wa bw’obigeraageranya n’ebyo Yakuwa by’amanyi?
Ebikolwa 4:24) Okuva Yakuwa bwali Omutonzi, amanyi amazima agakwata ku buli kintu. Okuwaayo ekyokulabirako: Lowooza ku musajja akola pulaani y’ennyumba ye era n’agyezimbira. Ajja kuba amanyi bulungi nnyo ebikwata ku nnyumba ye okusinga omuntu omulala yenna. Mu ngeri y’emu, Omutonzi amanyi bulungi nnyo ebikwata ku bye yatonda.
5 Enfunda n’enfunda Baibuli egamba nti Yakuwa ye ‘yatonda ebintu byonna.’ (Abaefeso 3:9) Ye ‘yakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ebintu byonna ebirimu.’ (6 Nnabbi Isaaya yalaga bulungi nnyo ebyo Yakuwa by’amanyi. Tusoma bwe tuti: “Ani eyali ageze amazzi mu kibatu kye, n’apima eggulu n’oluta, n’agatta enfuufu ey’oku nsi mu kigera, n’apima ensozi mu minzaani n’obusozi mu kipima? Ani eyali aluŋŋamizza omwoyo gwa Mukama oba eyamuweerera ebigambo n’amuyigiriza? Ani gwe yali ateesezza naye ebigambo, era ani eyali amuyigirizza, n’amutegeeza mu kkubo ery’omusango, n’amunnyonnyola okumanya, n’amulaga ekkubo ery’okutegeera?” (Isaaya 40:12-14) Mazima ddala, Yakuwa ye ‘Katonda ow’okumanya’ era ‘eyatuukirira mu kumanya.’ (1 Samwiri 2:3; Yobu 36:4; 37:16) Nga tumanyi bitono nnyo bwe tugeraageranyizibwa naye! Wadde ng’abantu bayize ebintu bingi nnyo, bye tumanyi tebituuka na ku ‘mabbali g’amakubo ga Katonda.’ Bye tumanyi biringa ‘ebigambo ebyogerwa mu ddoboozi ettono’ ng’obigeraageranyizza ‘n’okubwatuka okw’amaanyi.’—Yobu 26:14.
7. Kiki Dawudi kye yategeera ku ebyo Yakuwa by’amanyi, era naffe kiki kye tuteekwa okumanya?
7 Okuva Yakuwa bwe yatutonda, ateekwa okuba nga atumanyi bulungi nnyo. Kabaka Dawudi ekyo yali akimanyi. Yawandiika: “Ai Mukama, wannoonya nze, wammanya. Omanyi bwe ntuula, era bwe ngolokoka, otegeera okulowooza kwange nga kukyali wala. Onoonyereza ddala ekkubo lyange n’okwebaka kwange, era omanyi amagenda gange gonna. Kubanga simuli kigambo mu lulimi lwange, laba, ai Mukama, ggwe ky’otomanyira ddala.” (Zabbuli 139:1-4) Kya lwatu, Dawudi yakitegeera nti abantu balina eddembe ly’okwesalirawo. Basobola okugondera Katonda oba okumujeemera. (Ekyamateeka 30:19, 20; Yoswa 24:15) Wadde kiri kityo, Yakuwa atumanyi nnyo okusinga bwe twemanyi. Atwagaliza ekisingayo obulungi, era asobola okuluŋŋamya amakubo gaffe. (Yeremiya 10:23) Mazima ddala, tewali musomesa, mukugu oba muwi w’amagezi ayinza okutuyigiriza amazima, okutufuula ab’amagezi oba abasanyufu okumusinga.
Yakuwa Wa Mazima
8. Tumanya tutya nti Yakuwa wa mazima?
8 Okumanya amazima tekitegeeza kwogera bwogezi mazima oba okuba omwesigwa. Ng’ekyokulabirako, Omulyolyomi yasalawo ‘obutanywerera mu mazima.’ (Yokaana 8:44) Okwawukana ku ekyo, Yakuwa ‘wa mazima mangi.’ (Okuva 34:6) Enfunda n’enfunda, Ebyawandiikibwa biraga nti Yakuwa wa mazima. Omutume Pawulo yagamba nti ‘tekisoboka Katonda okulimba,’ era nti Katonda ‘tayinza kulimba.’ (Abaebbulaniya 6:18; Tito 1:2) Katonda amazima agatwala ng’ekintu ekikulu ennyo. Tuyinza okwesiga Yakuwa kubanga wa mazima; talimba bantu be abeesigwa.
9. Erinnya lya Yakuwa likwataganyizibwa litya n’amazima?
9 Erinnya lya Yakuwa lyennyini liraga nti wa mazima. Erinnya lye litegeeza nti “Asobozesa Ebintu Okubaawo.” Ekyo kiraga nti Yakuwa agenda Atuukiriza byonna by’asuubiza. Tewaliiwo muntu ayinza kukola ekyo. Olw’okuba Yakuwa y’Ali ku Ntikko, tewaliiwo kiyinza kulemesa kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bye. Yakuwa si wa mazima kyokka, naye era ye yekka alina obuyinza n’amagezi okutuukiriza byonna by’asuubiza.
10. (a) Yoswa yalaba atya okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Yakuwa? (b) Bisuubizo ki ebya Yakuwa by’olabye nga bituukirizibwa?
Yoswa 23:14) Wadde tolabye byamagero nga Yoswa bye yalaba, olabye okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda mu kiseera ky’obulamu bwo?
10 Yoswa yali omu ku bantu abangi abaalaba ebintu eby’ekitalo ebyayoleka nti Yakuwa wa mazima. Yoswa yali mu Misiri Yakuwa bwe yaleeta ebibonyoobonyo ekkumi ku ggwanga eryo, era nga buli kimu yakyogera tekinnabaawo. Mu ebyo ebyalagulwa ne bituukirizibwa Yoswa bye yalaba, mwe mwali okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Yakuwa ebikwata ku kununula Abaisiraeri okuva mu Misiri era n’okubakulembera okutuuka mu Nsi Ensuubize, n’okuwangula amagye g’Abakanani ag’amaanyi ennyo agaali gabaziyiza. Ku nkomerero y’obulamu bwe, Yoswa yagamba abasajja abakadde ab’omu ggwanga lya Isiraeri: “Nammwe mumanyi mu mitima gyammwe gyonna ne mu mmeeme zammwe zonna, nga tewali kigambo kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonna bibatuukidde, tewali na kimu mu ebyo ekitatuuse.” (Yakuwa Abikkula Amazima
11. Kiki ekiraga nti Yakuwa ayagala okutegeeza abantu amazima?
11 Teeberezaamu omuzadde amanyi ebintu ebingi ennyo kyokka nga tatera kubibuulirako baana be. Toli musanyufu nti Yakuwa tali bw’atyo? Mu ngeri ey’okwagala, Yakuwa awuliziganya n’abantu era ababuulira ebintu bingi. Ebyawandiikibwa bimuyita “Omuyigiriza ow’Ekitalo.” (Isaaya 30:20, NW) Olw’ekisa kye, atuuka ne ku abo abataagala kumuwuliriza. Ng’ekyokulabirako, Ezeekyeri yaweebwa omulimu gw’okubuulira abo Yakuwa be yali amanyi nti tebandiwuliriza. Yakuwa yagamba: “Omwana w’omuntu, genda otuuke eri ennyumba ya Isiraeri, oyogere nabo ebigambo byange.” Ate awo n’alabula: “Tebalikuwulira; kubanga tebalimpulira nze: kubanga ennyumba yonna eya Isiraeri ba kyenyi kikalubo era ba mutima mukakanyavu.” Ogwo gwali mulimu muzibu, naye Ezeekyeri yagukola n’obwesigwa, era mu kugukola yayoleka ekisa kya Yakuwa. Singa oba n’omulimu ogw’okubuulira mu kifo abantu gye bateefiirayo kyokka ggwe ne weesiga Katonda, beera mukakafu nti ajja kukunyweza nga bwe yanyweza Ezeekyeri.—Ezeekyeri 3:4, 7-9.
12, 13. Mu ngeri ki Katonda gy’ayogeddemu n’abantu?
12 Yakuwa ayagala ‘abantu aba buli kika okuwonawo era bafune okumanya okutuufu.’ (1 Timoseewo 2:4) Ayogedde okuyitira mu bannabbi be, bamalayika be era n’okuyitira mu Mwana we omwagalwa, Yesu Kristo. (Abaebbulaniya 1:1, 2; 2:2) Yesu yagamba Piraato: “Nze nnazaalirwa ekyo, n’ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Buli ow’amazima awulira eddoboozi lyange.” Piraato yali afunye enkizo ey’ekitalo ey’okuyiga amazima agakwata ku nteekateeka ya Yakuwa ey’obulokozi butereevu okuva eri Omwana wa Katonda. Kyokka, Piraato teyali ku ludda lw’amazima, era teyayagala kuyigirizibwa Yesu. Wabula, mu ngeri ey’okukiina yaddamu: “Amazima kye ki?” (Yokaana 18:37, 38) Nga kye yakola kyali kya nnaku nnyo! Kyokka, bangi baawuliriza amazima Yesu ge yababuulira. Yagamba bw’ati abayigirizwa be: “Amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba; n’amatu gammwe, kubanga gawulira.”—Matayo 13:16.
13 Yakuwa amanyisizza amazima ge okuyitira mu Baibuli era abantu mu buli kifo basobola okugafuna. Baibuli eyogera mazima. Ennyonnyola engeri za Katonda, ebigendererwa bye n’amateeka ge, awamu n’embeera entuufu eri mu bantu. Mu kusaba eri Yakuwa Yesu yagamba: “Ekigambo kyo ge mazima.” (Yokaana 17:17) N’olw’ensonga eyo, Baibuli kitabo kya njawulo. Kye kitabo kyokka ekyawandiikibwa wansi w’obulagirizi bwa Katonda era amanyi ebikwata ku bintu byonna. (2 Timoseewo 3:16) Kirabo kya muwendo nnyo eri abantu era abaweereza ba Katonda balina okukitwala nga kya muwendo. Kiba kya magezi okukisoma buli lunaku.
Nywerera ku Mazima
14. Bintu ki ebimu Yakuwa by’agamba nti ajja kubikola, era lwaki twandimukkiriza?
14 Yakuwa by’atutegeeza mu Kigambo kye tulina okubitwala nga bikulu. Ali ekyo ky’agamba okuba, era ajja kukola ekyo ky’agamba okukola. Tulina ensonga ennungi okwesiga Katonda. Yakuwa bw’agamba nti ‘ajja kubonereza amawanga agatamanyi Katonda n’abatagondera mawulire malungi agakwata ku Mukama waffe Yesu,’ tukikkiriza. (2 Abasessaloniika 1:8) Era tuyinza okukkiriza ebigambo bya Yakuwa nti ayagala abo abanoonya obutuukirivu, nti ajja kuwa abo abalina okukkiriza obulamu obutaggwaawo, era nti ajja kuggyawo obulumi, ennaku n’okufa. Okuyitira mu bigambo by’omutume Yokaana, Yakuwa yalaga nti ekisuubizo eky’okuggyawo okufa kyesigika. Yamugamba: “Wandiika: kubanga ebigambo ebyo bya bwesige era bya maziOkubikkulirwa 21:4, 5; Engero 15:9; Yokaana 3:36.
ma.”—15. Bulimba ki Setaani bw’atumbula?
15 Setaani ayawukanira ddala ku Yakuwa. Mu kifo ky’okwogera amazima, ayogera bya bulimba. Okusobola okutuukiriza ekiruubirirwa kye eky’okuggya abantu ku kusinza okulongoofu, Setaani akozesa obulimba. Ng’ekyokulabirako, Setaani ayagala tukkirize nti Katonda tayagala kuba mukwano gwaffe era nti tafaayo ku kubonaabona okuli mu nsi. Kyokka, Baibuli eraga nti Yakuwa afaayo nnyo ku bitonde bye era nti munakuwavu nnyo olw’okubonaabona n’obubi ebiriwo. (Ebikolwa 17:24-30) Era Setaani ayagala abantu bakkirize nti okuluubirira eby’omwoyo kuba kwonoona biseera. Okwawukana ku ekyo, Ebyawandiikibwa bitukakasa nti “Katonda mutuukirivu [era] tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye.” Era, biraga bulungi nti “ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.”—Abaebbulaniya 6:10; 11:6.
16. Lwaki Abakristaayo bandisigadde nga banyiikivu era ne banywerera ku mazima?
16 Omutume Pawulo yawandiika bw’ati ku Setaani: ‘Ye katonda ow’emirembe gino azibye amaaso n’emitima gy’abatakkiriza, ekitangaala ky’enjiri ey’ekitiibwa eya Kristo, ekifaananyi kya Katonda, kiremenga okubaakira.’ (2 Abakkolinso 4:4) Okufaananako Kaawa, abamu balimbibwa ddala Setaani Omulyolyomi. Abalala bagoberera ekkubo lya Adamu, ataalimbibwa, naye mu bugenderevu eyasalawo okujeema. (Yuda 5, 11) Bwe kityo, kikulu nnyo Abakristaayo okusigala nga banyiikivu era n’okunywerera ku mazima.
Yakuwa Atwetaaza Okuba ‘n’Okukkiriza Okutaliimu Bukuusa’
17. Kiki kye tuteekwa okukola okusaasirwa Yakuwa?
17 Olw’okuba wa mazima mu ngeri zonna, Yakuwa asuubira n’abamusinza okuba ab’amazima. Omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika: “Mukama, anaatuulanga mu weema yo ye ani? Anaabeeranga ku lusozi lwo olutukuvu ye ani? Oyo atamubulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu, era ayogera eby’amazima mu mutima gwe.” (Zabbuli 15:1, 2) Eri Abayudaaya abaayogeranga ebigambo ebyo, okwogera ku lusozi lwa Yakuwa olutukuvu awatali kubuusabuusa kyabajjukiza Olusozi Sayuuni, Kabaka Dawudi gye yaleeta essanduuko ey’endagaano mu weema gye yali azimbye. (2 Samwiri 6:12, 17) Olusozi ne weema, mu ngeri ey’akabonero byabajjukiza ekifo Yakuwa gye yabeeranga. Ku lusozi olwo abantu baali basobola okutuukirira Katonda okumwegayirira abasaasire.
18. (a) Kyetaagisa ki okusobola okubera mukwano gwa Katonda? (b) Kiki ekijja okwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako?
18 Omuntu yenna ayagala okubeera mukwano gwa Yakuwa ateekwa okwogera amazima 1 Timoseewo 1:5; Matayo 12:34, 35) Mukwano gwa Katonda taba mukumpanya oba mulimba, kubanga ‘Yakuwa akyawa omulimba.’ (Zabbuli 5:6) Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna bafuba nnyo okubeera abeesigwa nga bakoppa Katonda waabwe. Ekitundu ekiddako kijja kwekenneenya ensonga eno.
‘mu mutima gwe,’ so si mu bigambo bugambo. Mikwano gya Katonda eggya nnamaddala bateekwa okuba abeesigwa okuviira ddala ku mitima gyabwe era bateekwa okukiraga nti balina ‘okukkiriza okutaliimu bukuusa,’ kubanga ebikolwa eby’amazima biva mu mutima. (Wandizzeemu Otya?
• Lwaki Yakuwa amanyi amazima agakwata ku buli kintu?
• Kiki ekiraga nti Yakuwa wa mazima?
• Yakuwa abikudde atya amazima?
• Kiki kye tulina okukola ku bikwata ku mazima?
[Ebibuuzo]
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]
Katonda ow’amazima amanyi buli kimu ekikwata ku ebyo bye yatonda
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24, 25]
Ebisuubizo bya Yakuwa bijja kutuukirizibwa