Ekiseera Ebisuubizo lwe Binaatuukirira
Ekiseera Ebisuubizo lwe Binaatuukirira
MU BYAFAAYO waliwo ebisuubizo bingi ebitatuukiriziddwa. Emirundi mingi amawanga galemererwa okussa mu nkola endagaano ze gataddeko emikono ezikwata ku kwewala okuwakula entalo, era ekyo kiviirako abantu baabwe okuba mu ntalo ez’amaanyi. Napoleon yagamba: “Gavumenti zituukiriza ebisuubizo byazo nga zimaze kukakibwa, oba nga zirina kye zinaaganyulwamu.”
Naye ate, kiri kitya eri ebisuubizo by’abantu kinnoomu? Nga kimalamu nnyo amaanyi omuntu bw’atatuukiriza ky’asuubizza! Bwe kityo bwe kiba naddala ng’omuntu oyo omumanyi era ng’omwesiga. Kyo kituufu, abantu bayinza okuba nga tebasobola kutuukiriza bisuubizo byabwe oba nga si beetegefu kubituukiriza.
Nga waliwo enjawulo ya maanyi nnyo wakati w’ebisuubizo bya Katonda n’eby’abantu! Ebisuubizo bya Katonda byesigika. Buli kisuubizo kya Yakuwa Katonda kijja kutuukirizibwa. Ekyo kikakafu. Nga kyogera ku Kigambo kya Katonda ekyesigika, Isaaya 55:11 lugamba: “Bwe kityo bwe kinaabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange. Tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.”
Kati olwo twanditutte tutya ebisuubizo bya Katonda ebiri mu Baibuli? Tusobola okubyesiga. Ng’ekyokulabirako, omutume Yokaana yawandiika: “Laba! Eweema ya Katonda awamu n’abantu, era anaatuulanga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be. Naye Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe. Naye alisangula buli zziga mu maaso gaabwe, era okufa tekulibaawo nate, so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa. Eby’olubereberye biweddewo.” (Okubikkulirwa 21:3, 4) Osobola okufuna emikisa egyo singa okolera ku bigambo bya Yesu ebigamba: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera gwe, Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.”—Yokaana 17:3.