Obwesige Bwetaagisa Okusobola Okuba n’Obulamu obw’Essanyu
Obwesige Bwetaagisa Okusobola Okuba n’Obulamu obw’Essanyu
OMUNTU bw’alwala oluvannyuma lw’okulya emmere etali nnungi tekiba kirungi n’akamu. Omuntu gwe kyali kituuseeko kimwetaagisa okwegendereza ennyo ebintu by’alya. Kyokka, okulekerayo ddala okulya emmere olw’okutya okulwala tekiba kya magezi. Okukola ekyo kiyinza okukuleetera ebizibu bingi n’okusingawo. Omuntu okusobola okuba omulamu kimwetaagisa okulya emmere.
Mu ngeri y’emu, be tukolagana nabo bwe bataba beesigwa kiruma nnyo. Bwe tuba tutera okuliibwamu olukwe kiyinza okutuleetera okulowooza n’obwegendereza ku bantu ba ngeri ki be tukolagana nabo. Kyokka, okwewalira ddala abantu olw’okutya okuliibwamu olukwe si kya magezi. Lwaki? Kubanga okwekengera abalala kitumalako essanyu lyaffe. Okusobola okuba n’obulamu obw’essanyu, twetaaga okukolagana n’abalala nga twesigaŋŋana.
“Obwesige kye kimu ku bintu bye twetaaga okusobola okukolaganira awamu n’abalala,” bwe kityo ekitabo ekiyitibwa Jugend 2002 bwe kyagamba. “Buli omu ayagala nnyo okwesiga abalala,” bwe lutyo olupapula lw’amawulire oluyitibwa Neue Zürcher Zeitung bwe lwagamba. “Obwesige bulongoosa obulamu” ne kiba nti “bwetaagisa nnyo mu bulamu.” Mu butuufu, olupapula lw’amawulire lweyongera ne lugamba nti awatali bwesige, “obulamu bukaluba.”
Olw’okuba kya mu butonde okwagala okuba n’omuntu gwe weesiga, ani ddala gwe tuyinza okwesiga atayinza kutwabulira?
Weesigenga Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna
Baibuli etugamba: ‘Weesige Yakuwa n’omutima gwo gwonna.’ (Engero 3:5) Mu butuufu, Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okwesiganga Omutonzi waffe, Yakuwa Katonda.
Lwaki tusobola okwesiga Katonda? Ensonga esooka eri nti lwa kuba Yakuwa Katonda mutukuvu. Nnabbi Isaaya yawandiika bw’ati: “Mutukuvu, mutukuvu mutukuvu, Mukama ow’eggye.” (Isaaya 6:3) Olw’okuba Yakuwa mutukuvu ekyo kyandikulemesezza okumwesiga? Mu butuufu, ekyo kyandibadde kikusikiriza busikiriza okumwesiga kubanga obutukuvu bwa Yakuwa butegeeza nti muyonjo, takola kibi kyonna, era awatali kubuusabuusa yeesigika. Tasobola kutulyamu lukwe oba okutukola obubi, era tayinza kutwabulira.
Ate era, tusobola okussa obwesige mu Katonda kubanga alina obusobozi era ayagala nnyo okuyamba abo abamuweereza. Ng’ekyokulabirako, amaanyi ge ag’ensusso gamusobozesa okubaako ky’akola. Obwenkanya n’amagezi bimuluŋŋamya mu buli ky’akola. Era okwagala kwe okungi ennyo kumuleetera okubaako ky’akola. “Katonda kwagala,” bw’atyo omutume Yokaana bwe yawandiika. (1 Yokaana 4:8) Okwagala kwa Katonda kwe kusinziirwako buli ky’akola. Obutuukirivu bwa Yakuwa n’engeri ze endala zonna bimufuula okuba Kitaffe omulungi ennyo era gwe tusobola okwesigira ddala. Tewali kintu kyonna oba omuntu yenna ayinza okwesigika okusinga Yakuwa.
Weesige Yakuwa Obeere Musanyufu
Ensonga endala etuleetera okwesiga Yakuwa eri nti atumanyi bulungi nnyo okusinga omuntu omulala yenna. Akimanyi nti buli muntu yeetaaga okuba n’enkolagana ennungi, eyeesigika era ey’olubeerera n’Omutonzi we. Abo abalina enkolagana ng’eno bawulira nga balina obukuumi. “Aweereddwa omukisa omuntu eyeesiga Mukama,” bw’atyo Kabaka Dawudi bwe yagamba. (Zabbuli 40:4) Leero, abantu bukadde na bukadde boogera ebigambo bye bimu nga Dawudi.
Lowooza ku byokulabirako bino. Doris abaddeko mu nsi nga Dominican Republic, Bugirimaani, Buyonaani, ne mu Amereka. Agamba bw’ati: “Ndi musanyufu olw’okuba nneesiga Yakuwa. Anfaako mu by’omwoyo, mu by’omubiri, era ne mu nneewulira. Ye w’omukwano asingiridde omuntu gw’ayinza okufuna.” Wolfgang, akola ng’omuwi w’amagezi mu by’amateeka, agamba: “Kirungi nnyo okwesiga omuntu afaayo ku by’oyagala, omuntu asobola okukukolera ekyo ekisingayo obulungi!” Ham, enzaalwa ey’omu Asiya naye nga kati abeera mu Bulaaya, agamba: “Ndi mukakafu nti Yakuwa alina obuyinza ku buli kintu era takola nsobi, n’olw’ensonga eyo ndi musanyufu okumwesiga.”
Kya lwatu, buli muntu yeetaaga okubaako n’abantu be yeesiga ng’oggyeko Omutonzi. N’olwekyo, Yakuwa mukwano gwaffe ow’amagezi era alina n’obumanyirivu, atuwa obulagirizi ku bantu ba ngeri ki be twandyesize. Bwe tusoma Baibuli n’obwegendereza, tusobola okulaba amagezi g’atuwa ku nsonga eyo.
Abantu Be Tuyinza Okwesiga
“Temwesiganga balangira, newakubadde omwana w’omuntu, omutali buyambi bwonna,” bw’atyo omuwandiisi wa Zabbuli bwe yawandiika. (Zabbuli 146:3) Ebigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa bituyamba okumanya nti si buli muntu nti agwana okussibwamu obwesige. N’abantu abassibwamu ekitiibwa, ‘abalangira’ ab’omu nsi, gamba nga bakagezi mmunyo mu bintu ebitali bimu nabo tetumala gabateekamu bwesige. Emirundi egisinga obulagirizi bwe batuwa buyinza okutuwabya, era okwesiga ‘abalangira’ ng’abo kiyinza obutavaamu kalungi.
Kino ku bwakyo tekyandituleetedde kwekengera buli muntu. Kyokka, twetaaga okwegendereza nga tulonda abantu be tussaamu obwesige. Biki bye twandisinziddeko? Ekyokulabirako mu Isiraeri ey’edda kiyinza okutuyamba. Obwetaavu bwe bwajjawo obw’okulonda abantu ab’okuwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu Isiraeri, Musa yaweebwa amagezi ‘okulonda mu bantu bonna abasajja abasaana, era abatya Katonda, ab’amazima, abakyawa amagoba agatali ga butuukirivu.’ (Okuva 18:21) Kiki kye tuyinza okuyigira mu kino?
Bano baali basajja abaali balaga engeri ez’okutya Katonda nga tebannalondebwa mu bifo eby’obuvunaanyizibwa. Baali bamaze okulaga nti batya Katonda; baali bawa Omutonzi ekitiibwa era nga batya okumunyiiza. Kyali kyeyoleka lwatu eri buli muntu nti abasajja bano baakola kyonna kye basobola okukwata amateeka ga Katonda. Baali bakyawa amagoba agatali ga butuukirivu, ekintu ekyalaga nti baali tebasobola kutyoboola bwesige obubateekeddwamu. Tebandyeyisizza mu ngeri etali ya bwesigwa olw’okwagala okukola ebibasanyusa oba okusanyusa ab’eŋŋanda zaabwe oba mikwano gyabwe.
Tekyandibadde kya magezi naffe okusinziira ku bintu ng’ebyo nga tulonda abantu be tussaamu obwesige? Waliyo abantu be tumanyi abalina empisa ezooleka okutya Katonda? Bamalirivu okukuuma emitindo gya Katonda egikwata ku mpisa? Bamanyiddwa ng’abantu abeewala okukola ekikyamu? Beesimbu ne kiba nti tebakozesa mbeera ebaawo okwenoonyeza ebyabwe ku bwabwe? Mazima ddala, abasajja n’abakazi abooleka engeri ng’ezo tugwana okubassaamu obwesige.
Toggwaamu Maanyi bw’Oliibwamu Olukwe
Nga tunoonya oyo ow’okussaamu obwesige, tuteekwa okuba abagumiikiriza, kubanga okwesiga omuntu kitwala ebbanga. Eky’amagezi okukola bwe butayanguyiriza kwesiga muntu. Tutya? Tuyinza okwetegereza empisa z’omuntu okumala ekiseera, nga tulaba engeri gye yeeyisaamu mu mbeera ezitali zimu. Omuntu oyo mwesigwa ne mu buntu obutono? Gamba, azzaayo ebintu bye yeeyazise era akola ekyo ky’aba asuubiza? Bw’aba ng’akola bw’atyo, tujja kweyongera okumwesiga ne mu bintu ebinene. Kino kituukagana bulungi n’omusingi ogugamba: “Aba omwesigwa ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mwesigwa.” (Lukka 16:10) Okulondobamu abo be twesiga n’okuba abagumiikiriza kiyinza okutuyamba okwewala ebizibu eby’amaanyi.
Kiba kitya singa omuntu takola ekyo ky’obadde omusuubiramu? Abasomi ba Baibuli bajjukira nti mu kiro kye yakwatirwamu, Yesu Kristo yayabulirwa abatume be. Yuda Isukalyoti yamulyamu olukwe, era n’abalala ne badduka olw’okutya. Peetero naye yamwegaana emirundi esatu mirambirira. Naye Yesu yamanya nti Yuda yekka ye yakikola mu bugenderevu. Olw’okwabulirwa mu kiseera ekyo ekyakazigizigi tekyalobera Yesu kukakasa batume be 11 abali basigaddewo nti yali abeesiga. (Matayo 26:45-47, 56, 69-75; 28:16-20) Mu ngeri y’emu, singa tuwulira nti omuntu gwe tubadde twesiga atuliddemu olukwe, kyandibadde kirungi okwebuuza obanga akikoze mu bugenderevu oba kivudde ku bunafu bwa mubiri.
Nneesigika?
Omuntu alondobamu bassaamu obwesige ateekwa okwebuuza: ‘Nange nneesigika? Nnandibadde mwesigwa kwenkana wa era abalala nnandibasuubidde kubeera beesigwa kwenkana wa?
Kya lwatu, omuntu omwesigwa ayogera mazima meereere. (Abaefeso 4:25) Tagezaako kufuulafuula bigambo asobole okusikiriza abawuliriza abeeko kye yeefunira. Ate era singa yeeyama, omuntu omwesigwa afuba okulaba nti akolera ku kigambo kye. (Matayo 5:37) Singa omuntu yenna amweyabiza, akuuma ebigambo ebyo n’atabibuulirako balala. Omuntu eyeesigika aba mwesigwa eri munne mu bufumbo. Tatunuulira bifaananyi eby’obugwenyufu, oba taleka birowoozo bye kutwalirizibwa ndowooza ez’obugwenyufu, era tazannyirirazzannyirira n’abo baatafaananya nabo kikula. (Matayo 5:) Omuntu okussibwamu obwesige akola n’amaanyi okusobola okweyimirizaawo ye n’ab’omu maka ge era tanoonya kufunira ku kakeeka. ( 27, 281 Timoseewo 5:8) Okussaayo omwoyo ku misingi gino egyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa kijja kutuyamba okutegeera abantu be tulina okussaamu obwesige. Ate era, okukolera ku misingi gye gimu kijja kuyamba buli omu ku ffe okubeera eyeesigika.
Nga kiriba kya ssanyu okubeera mu nsi ng’abantu bonna beesigika era omutaliba kuliibwamu lukwe! Ekyo kirooto bulooto? Si bwe kiri eri abo abeesiga ebisuubizo bya Baibuli, kubanga Ekigambo kya Katonda kyogera ku ssuubi ‘ery’ensi empya’ omutali bulimba, nnaku, bulwadde n’okufa! (2 Peetero 3:13; Zabbuli 37:11, 29; Okubikkulirwa 21:3-5) Tekyandibadde kya magezi okumanya ebisingawo ku bisuubizo bino? Abajulirwa ba Yakuwa bajja kusanyuka nnyo okukuyamba okumanya ebisingawo ku nsonga eno era n’ebintu ebirala ebikulu ennyo.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Obuteesiga muntu yenna kitumalako essanyu lyaffe
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Yakuwa gwe tusaanidde okussaamu obwesige
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Ffenna twetaaga omukwano ogwesigamiziddwa ku kwesigaŋŋana