Okutegeera Ensolo n’Akabonero Kaayo
Okutegeera Ensolo n’Akabonero Kaayo
ONYUMIRWA okunoonyereza ku bintu ebikusike? Okusobola okukikola, oba olina okusooka okwetegereza ebintu ebinaakuyamba okuvumbula ekyo ky’onoonyereza. Mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa, Katonda atuwadde ebintu ebiwerako ebisobola okutuyamba okutegeera ennamba 666, erinnya, oba akabonero k’ensolo eyogerwako mu Okubikkulirwa essuula 13.
Mu kitundu kino tujja kwekenneenya ebintu ebikulu bina ebisobola okutuyamba okutegeera akabonero k’ensolo. Tujja kwekenneenya (1) engeri amannya ag’omu Baibuli agamu gye gaalondebwangamu, (2) ensolo ky’etegeeza (3) kye kitegeeza okuba nti 666 ‘nnamba ya muntu,’ ne (4) amakulu g’ennamba 6 era n’ensonga lwaki ewandiikiddwa emirundi esatu, kwe kugamba 666.—Okubikkulirwa 13:18.
Amannya ag’Omu Baibuli—Galina Amakulu
Amannya mangi ag’omu Baibuli galina amakulu ag’enjawulo, naddala Katonda bw’aba nga ye yagatuuma. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba Ibulaamu yali wa kubeera kitaawe w’amawanga, Katonda yakyusa erinnya lye ne liba Ibulayimu, ekitegeeza “Kitaawe w’amawanga amangi.” (Olubereberye 17:5) Katonda yagamba Yusufu ne Malyamu okutuuma omwana Malyamu gwe yali agenda okuzaala erinnya Yesu, eritegeeza “Yakuwa ye Mulokozi.” (Matayo 1:21; Lukka 1:31) Nga kituukagana n’erinnya eryo ery’amakulu Yakuwa yatusobozesa okufuna obulokozi okuyitira mu buweereza bwa Yesu n’okufa kwe.—Yokaana 3:16.
N’olw’ensonga eyo, erinnya eryo ery’ennamba 666 Katonda lye yawa ensolo, liteekwa okuba nga lituukana bulungi n’engeri Katonda z’alaba mu nsolo eyo. N’olwekyo, okusobola okutegeera engeri ezo, tulina okutegeera ensolo yennyini era n’okumanya by’ekola.
Ensolo Etegeerwa
Ekitabo kya Danyeri mu Baibuli kyogera bingi ebikwata ku makulu g’ensolo ez’akabonero. Essuula 7 eyogera ku “nsolo nnya ennene”—kwe kugamba, empologoma, eddubu, engo, n’ensolo endala ey’entiisa erina amannyo amanene ag’ekyuma. (Danyeri 7:2-7) Danyeri atutegeeza nti ensolo ezo zikiikirira “bakabaka,” oba obwakabaka, obufuga nga buddiriŋŋana.—Danyeri 7:17, 23.
Ekitabo ekimu ekiyitibwa The Interpreter’s Dictionary of the Bible kigamba bwe kiti ku nsolo eyogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa 13:1, 2: “Erina engeri zonna ez’ensolo ezoogerwako mu kwolesebwa kwa Danyeri okw’ensolo ennya . . . N’olwekyo, ensolo eyo esooka [ey’omu Okubikkulirwa] ekiikirira obufuzi bwonna obuli mu nsi obuwakanya Katonda.” Ennyinnyola eno ewagirwa Okubikkulirwa 13:7, awoogera bwe wati ku nsolo eyo: “N’eweebwa obuyinza ku buli kika n’abantu n’olulimi n’eggwanga.” *
Lwaki Baibuli ekozesa ensolo okukiikirira obufuzi bw’abantu? Lwa nsonga nga bbiri. Esooka, olw’okuba okumala ebyasa bingi, gavumenti ziyiye omusaayi gw’abantu ng’ensolo. Bannabyafaayo Will ne Ariel Durant, bagamba “Entalo Omubuulizi 8:9) Ensonga ey’okubiri eri nti “ogusota [Setaani] gwe gwagiwa amaanyi gaayo, n’entebe yaayo ey’obwakabaka n’obuyinza obungi.” (Okubikkulirwa 12:9; 13:2) N’olwekyo, obufuzi bw’abantu bwatandikibwawo Omulyolyomi, era kyebuva bwoleka engeri ze eziringa ez’ensolo.—Yokaana 8:44; Abaefeso 6:12.
zibaddewo mu byafaayo byonna, era obugunjufu n’obufuzi bwa demokulase tebisobodde kuzikendeeza.” Nga kituufu nnyo nti ‘omuntu abadde n’obuyinza ku muntu munne olw’okumukola obubi’! (Kyokka, kino tekitegeeza nti buli mufuzi akozesebwa Setaani butereevu. Mu butuufu, mu ngeri emu, gavumenti z’abantu zikola nga “omuweereza wa Katonda,” nga ziwa abantu obulagirizi, era singa tekyali bwe kityo, embeera yandibadde mbi nnyo ddala n’okusinga bw’eri kaakano. Era abafuzi abamu bagezezzaako okulwanirira eddembe ly’obuntu, nga mw’otwalidde n’eddembe ly’okusinza okw’amazima—ekintu Setaani ky’atayagala. (Abaruumi 13:3, 4; Ezera 7:11-27; Ebikolwa 13:7) Kyokka, wadde nga kiri kityo, tewali muntu oba nteekateeka y’abantu eyali esobodde okuleetera abantu emirembe n’obutebenkevu ebya nnamaddala. *—Yokaana 12:31.
‘Nnamba ya Muntu’
Ekintu eky’okusatu ekiyinza okutuyamba okutegeera amakulu g’ennamba 666, kwe kuba nti ‘nnamba ya muntu.’ Ebigambo ebyo tebiyinza kuba nga bitegeeza muntu, kubanga Setaani, so si muntu, y’alina obuyinza ku nsolo eyo. (Lukka 4:5, 6; 1 Yokaana 5:19; Okubikkulirwa 13:2, 18) Wabula, okuba nti ensolo erina ‘nnamba ya muntu,’ oba akabonero, kiraga nti nteekateeka erimu bantu, so si myoyo oba badayimooni, era nga n’olw’ensonga eyo eyoleka engeri z’obuntu. Ngeri ki ezo? Baibuli eddamu ng’egamba: “[Abantu] bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.” (Abaruumi 3:23) N’olwekyo, olw’okuba ensolo erina ‘ennamba y’omuntu,’ kiraga nti gavumenti zooleka obutali butuukirivu bw’abantu, akabonero ak’ekibi.
Ebibaddewo mu byafaayo bikakasa ekyo. Eyaliko omukungu owa waggulu mu gavumenti ya Amerika, Henry Kissinger, yagamba: “Buli nteekateeka abantu gye bakola, etuuka ekiseera n’eggwaawo. Ebyafaayo biraga okufuba kw’abantu okwagwa obutaka n’ebiruubirirwa ebitaatuukirizibwa . . . N’olwekyo, nga munnabyafaayo, oba olina okukikkiriza nti ebizibu tebyewalika.” Ebyo Kissinger bye yayogera bituukagana bulungi n’ebigambo bino eby’amazima ebiri mu Baibuli: “Tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.”—Yeremiya 10:23.
Kati nga bwe tumaze okutegeera ensolo era ne
tumanya engeri Katonda gy’agitunuuliramu, tusobola okwekenneenya ekitundu ekisembayo eky’ekyama kino, kwe kugamba, nnamba mukaaga n’ensonga lwaki ewandiikibwa emirundi esatu, kwe kugamba, 666.Lwaki Mukaaga Ewandiikibwa Emirundi Esatu?
Mu Byawandiikibwa, nnamba ezimu zirina amakulu ag’akabonero. Ng’ekyokulabirako, nnamba musanvu etera okukiikirira ekintu ekijjuvu oba ekituukiridde mu maaso ga Katonda. Ng’ekyokulabirako, wiiki Katonda gye yamala ng’atonda, erimu ‘ennaku’ oba ebiseera ebiwanvu musanvu Katonda mw’atuukiririza ddala ekigendererwa kye eky’okutonda byonna ebiri ku nsi. (Olubereberye 1:3–2:3) “Ebigambo” bya Katonda biringa ffeeza “erongoosebwa emirundi omusanvu,” n’eba ng’eweereddemu ddala ebiteetaagisa byonna. (Zabbuli 12:6; Engero 30:5, 6) Naamani omugenge yagambibwa okunaaba emirundi musanvu mu Mugga Yoludaani era n’awonyezebwa ddala.—2 Bassekabaka 5:10, 14.
Ku mukaaga kuba kubulako emu okuwera omusanvu. Ako tekandibadde kabonero kalungi akakiikirira ekintu ekitatuukiridde oba ekiriko ekikyamu mu maaso ga Katonda? Mazima ddala bwe kyandibadde! (1 Ebyomumirembe 20:6, 7) Ate, okuwandiika mukaaga emirundi esatu, kwe kugamba 666, kiba kiggumiza ddala obutali butuukirivu obwo. Okulaga nti endowooza eyo ntuufu, kwe kuba nti 666 ‘nnamba ya muntu,’ nga bwe tumaze okulaba. N’olwekyo, ebyafaayo ebikwata ku nsolo, ‘ennamba y’omuntu’ gy’erina, era n’ennamba 666, byonna bisonga ku kintu kimu, obutali butuukirivu bwayo obw’ensusso era n’okulemererwa ddala mu maaso ga Yakuwa.
Ensolo okwogerwako bw’etyo, kitujjukiza ebyayogerwa ku Kabaka Berusazza owa Babulooni ey’edda. Okuyitira mu Danyeri, Yakuwa yagamba omufuzi oyo nti: “Ogereddwa mu kigera, era olabise nga obulako.” Ekiro ekyo kyennyini Berusazza yattibwa, era Obwakabaka bwa Babulooni ne buwambibwa. (Danyeri 5:27, 30) Mu ngeri y’emu, Katonda okusalira omusango ensolo ekiikirira eby’obufuzi n’abo abalina akabonero kaayo kitegeeza nti enkomerero y’ensolo eyo n’abagiwagira eri kumpi kutuuka. Kyokka ku luno, Katonda tajja kuzikiriza bufuzi bwa ngeri emu bwokka, naye obufuzi bw’abantu bwonna. (Danyeri 2:44; Okubikkulirwa 19:19, 20) N’olwekyo nga kikulu nnyo ffe okwewala okufuna akabonero k’ensolo eyo!
Akabonero Kannyonnyolebwa
Oluvannyuma lw’okwogera ku nnamba 666, ekitabo ky’Okubikkulirwa kyogera ku 144,000 abagoberezi b’Omwana gw’Endiga, Yesu Kristo, abalina erinnya lye n’erinnya lya Kitaawe, Yakuwa, nga liwandiikiddwa ku byenyi byabwe. Amannya ago galaga nti abo abagalina bantu ba Yakuwa n’Omwana we, era nga bawa obujulirwa obubakwatako. Mu ngeri y’emu, abo abalina Lukka 20:25; Okubikkulirwa 13:4, 8; 14:1) Mu ngeri ki? Nga basinza gavumenti, obubonero bwazo, n’amagye gaazo, bye basuubira nti bijja okubaleetera obulokozi. Okusinza kwonna kwe bagamba nti bakwolekeza Katonda ow’amazima, kuba kwa mu bigambo bugambo.
akabonero k’ensolo bakyoleka kaati nti bagiweereza. N’olwekyo, akabonero ka kabeere nga kali ku mukono ogwa ddyo oba ku kyenyi, mu ngeri ey’okugereesa, kaba kalaga nti oyo akalina awagira enteekateeka ez’eby’obufuzi eziri mu nsi yonna ezirina engeri ng’ez’ensolo. Abo abalina akabonero kaayo bawa “Kayisaali” ebyandibadde biweebwa Katonda. (Okwawukana ku ekyo, Baibuli etukubiriza: “Temwesiganga balangira, newakubadde omwana w’omuntu, omutali buyambi bwonna. Omukka gwe gumuvaamu, n’adda mu ttaka lye; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.” (Zabbuli 146:3, 4) Abo abagoberera okubuulirira okwo okw’amagezi tebaterebuka singa gavumenti ziremererwa okutuukiriza ebisuubizo byazo oba singa abafuzi abatwalibwa okubeera ab’ekitalo bafiirwa ebifo byabwe.—Engero 1:33.
Ekyo tekitegeeza nti Abakristaayo ab’amazima tebalina kye bakolawo ku kubonaabona kw’abantu. Okwawukana ku ekyo, balangirira gavumenti emu yokka ejja okumalawo ebizibu by’abantu, kwe kugamba, Obwakabaka bwa Katonda.—Matayo 24:14.
Obwakabaka bwa Katonda—Essuubi ly’Abantu Lyokka Erya Nnamaddala
Yesu bwe yali ku nsi, Obwakabaka bwa Katonda gwe gwali omutwe omukulu ogw’okubuulira kwe. (Lukka 4:43) Mu ssaala ye ey’okulabirako, oluusi eyitibwa, Essaala ya Mukama Waffe, Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba Obwakabaka obwo bujje era ne Katonda by’ayagala bikolebwe wano ku nsi. (Matayo 6:9, 10) Obwakabaka obwo ye gavumenti ejja okufuga ensi yonna, ng’esinziira mu ggulu so si mu kibuga kyonna wano ku nsi. N’olw’ensonga eyo, Yesu yabuyita “Obwakabaka obw’omu ggulu.”—Matayo 11:12.
Ani alina ebisaanyizo eby’okubeera Kabaka w’Obwakabaka okusinga Yesu Kristo, eyafiirira abantu b’ajja okufuga? (Isaaya 9:6, 7; Yokaana 3:16) Mu kiseera ekitali kya wala, Omufuzi ono atuukiridde, era ow’amaanyi, ajja kusuula ensolo, bakabaka baayo, n’eggye lyayo lyonna mu “nnyanja ey’omuliro eyaka n’ekibiriiti,” ekitegeeza okuzikirizibwa okw’emirembe gyonna. Naye tajja kukoma ku ebyo. Yesu era ajja kuzikiriza Setaani, ekikolwa omuntu obuntu ky’atayinza kukola.—Okubikkulirwa 11:15; 19:16, 19-21; 20:2, 10.
Obwakabaka bwa Katonda bujja kuleetera bonna be bugenda okufuga emirembe. (Zabbuli 37:11, 29; 46:8, 9) Ennaku, okulumwa, oba okufa bijja kuggweerawo ddala. Ng’eryo ssuubi lya kitalo nnyo eri abo bonna abatakkiriza kabonero k’ensolo!—Okubikkulirwa 21:3, 4.
[Obugambo obuli wansi]
^ Okusobola okumanya ebisingawo ebikwata ku nnyiriri ezo, laba essuula 28 ey’ekitabo Revelation—Its Grand Climax At Hand! ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
^ Wadde nga bamanyi nti obufuzi bw’abantu butera okweyisa ng’ensolo, Abakristaayo ab’amazima ‘bawulira abafuzi abafuga’ nga Baibuli bw’eragira. (Abaruumi 13:1) Kyokka, abafuzi abo bwe babalagira okweyisa mu ngeri emenya amateeka ga Katonda, ‘bawulira Katonda okusinga abantu.’—Ebikolwa 5:29.
[Akasanduuko akali ku lupapula 5]
Ebisobola Okutuyamba Okutegeera Ennamba 666
1. Amannya mangi mu Baibuli galina kye galaga ku ngeri oba obulamu bw’omuntu aba yatuumibwa erinnya eryo, gamba ng’erinnya Ibulayimu, Yesu, n’amalala mangi. Mu ngeri y’emu, n’erinnya ly’ensolo lyoleka engeri zaayo.
2. Ensolo ez’enjawulo ezoogerwako mu kitabo kya Danyeri, zikiikirira obufuzi bw’abantu obuddiriŋŋana. Ensolo eyogerwako mu Okubikkulirwa 13:1, 2 ekiikirira enteekateeka y’eby’obufuzi mu nsi yonna Setaani gye yassaawo era nga y’agirinako obuyinza.
3. Okuba nti ensolo erina ‘ennamba y’omuntu,’ kiraga nti nteekateeka erimu abantu, so si badayimooni. N’olwekyo eyoleka okulemererwa kw’abantu okuliwo olw’ekibi n’obutali butuukirivu.
4. Okuba nti nnamba mukaaga ebulako emu okuweza musanvu, ennamba mu Baibuli eyoleka obujjuvu oba okutuukirira, kiraga obutali butuukirivu mu maaso ga Katonda. Nnamba mukaaga eddibwamu emirundi esatu okuggumiza obutali butuukirivu obwo.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 6]
Obufuzi bw’abantu bulemereddwa, era bukiikirirwa bulungi nnyo ennamba 666
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Starving child: UNITED NATIONS/Photo by F. GRIFFING
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Yesu Kristo ajja kuleeta obufuzi obutuukiridde ku nsi