Goberera Obulagirizi Obuva eri Katonda Omulamu
Goberera Obulagirizi Obuva eri Katonda Omulamu
“Mukyukire Katonda omulamu, eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ebintu byonna ebirimu.”—EBIKOLWA 14:15.
1, 2. Lwaki kituufu okumanya nti Yakuwa ye “Katonda omulamu”?
OLUVANNYUMA lw’omutume Pawulo ne Balunabba okuwonya omusajja, Pawulo yagamba bw’ati abantu ab’omu Lusitula: ‘Naffe tuli bantu buntu nga mmwe, era tubabuulira ebigambo ebirungi muleke ebyo ebitaliimu mukyukire Katonda omulamu, eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ebintu byonna ebirimu.’—Ebikolwa 14:15.
2 Mazima ddala, Yakuwa si kifaananyi bufaananyi ekitalina bulamu, wabula ye “Katonda omulamu”! (Yeremiya 10:10; 1 Abasessaloniika 1:9, 10) Ng’oggyeko okuba nti mulamu, Yakuwa ye Nsibuko y’obulamu. ‘Y’awa abantu bonna obulamu n’omukka gwe bassa era n’ebintu byonna.’ (Ebikolwa 17:25) Ayagala tunyumirwe obulamu kaakano era ne gye bujja. Pawulo era yagattako nti, Katonda “teyeemalaayo nga talina mujulirwa, kubanga yakolanga bulungi, ng’abatonnyesezanga enkuba okuva mu ggulu n’ebiro eby’okubalirangamu emmere, ng’ajjuzanga emitima gyammwe emmere n’essanyu.”—Ebikolwa 14:17.
3. Lwaki tuyinza okwesiga obulagirizi Katonda bw’atuwa?
3 Olw’okuba Katonda ayagala tubeere balamu kituleetera okugoberera obulagirizi bwe. (Zabbuli 147:8; Matayo 5:45) Abamu bwe basoma mu Baibuli ekiragiro kye batategeera oba ekirabika ng’ekibakugira bagiggyamu obwesige. Kyokka, kya magezi okwesiga obulagirizi bwa Yakuwa. Okuwaayo ekyokulabirako: Wadde ng’Omuisiraeri yali tategeera bulungi tteeka erimukugira okukwata ku kintu ekifudde, yaganyulwanga bwe yaligonderanga. Okusooka, ekyo kyandimusobozesezza okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda omulamu; eky’okubiri, kyandimuyambye okwewala endwadde.—Eby’Abaleevi 5:2; 11:24.
4, 5. (a) Ng’Obukristaayo tebunnabaawo, bulagirizi ki obukwata ku musaayi Yakuwa bwe yawa? (b) Tumanya tutya nti obulagirizi Katonda bwe yawa obukwata ku musaayi buzingiramu Abakristaayo?
4 Era bwe kityo bwe kiri ne ku bulagirizi bwa Katonda obukwata ku musaayi. Yagamba Nuuwa nti abantu tebalina kulya musaayi. Ate oluvannyuma Katonda yakiraga mu Mateeka nti, omusaayi gukkirizibwa kukozesebwa ku kyoto kwokka—okutangirira ebibi. Mu kuwa ebiragiro ebyo, Katonda yali atema oluwenda okwandisinziddwa okukozesa omusaayi mu ngeri esingirayo ddala obukulu, kwe kugamba, okulokola obulamu okuyitira mu kinunulo kya Yesu. (Abaebbulaniya 9:14) Yee, obulagirizi bwa Katonda bwalaga nti afaayo ku bulamu bwaffe. Ng’ayogera ku Olubereberye 9:4, omwekenneenya wa Baibuli ayitibwa Adam Clarke, eyaliwo mu kyasa ekya 19, awandiika: “Abakristaayo ab’ebuvanjuba bakyagoberera butiribiri ekiragiro kino [ekyaweebwa Nuuwa] . . . Amateeka, gaali tegakkiriza kulya musaayi, kubanga gaali gasonga ku musaayi ogwali gulina okuyiibwa olw’okusonyiyisa ebibi by’abantu; ate era mu nteekateeka y’Ekikristaayo tegulina kuliibwa, kubanga gutwalibwa nga gukiikirira omusaayi ogwayiibwa olw’okusonyiyisa ebibi.”
5 Omwekenneenya oyo ayinza okuba nga yali ayogera ku mawulire amalungi agakwata ku Yesu. Ekyo kizingiramu Katonda okutuma Omwana we okutufiirira, okuyiwa omusaayi gwe tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo. (Matayo 20:28; Yokaana 3:16; Abaruumi 5:8, 9) Omwekenneenya oyo era yakoona ne ku kiragiro ekyaweebwa abagoberezi ba Kristo oluvannyuma ekikwata ku kwewala omusaayi.
6. Abakristaayo baaweebwa biragiro ki ebikwata ku musaayi, era lwaki?
6 Okimanyi nti Katonda yawa Abaisiraeri amateeka mangi nnyo. Oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, abayigirizwa be baali tebakyali wansi w’amateeka ago gonna. (Abaruumi 7:4, 6; Abakkolosaayi 2:13, 14, 17; Abaebbulaniya 8:6, 13) Kyokka, oluvannyumako, waliwo ekibuuzo ekyajjawo nga kikwata ku tteeka erimu ekkulu, kwe kugamba, ery’okukomolebwa. Abantu abataali Bayudaaya naye nga baagala okuganyulwa mu musaayi gwa Kristo, bandibadde bakomolebwa, okusobola okulaga nti bali wansi w’Amateeka? Mu 49 C.E., Akakiiko akafuzi ak’ekibiina Ekikristaayo keekenneenya ensonga eyo. (Ebikolwa by’Abatume essuula 15) Nga bakulemberwa omwoyo gwa Katonda, abatume n’abakadde baakitegeera nti okukomolebwa kwakoma n’Amateeka. Wadde kyali kityo, waaliwo ebiragiro bya Katonda ebyali bikyalina okugobererwa Abakristaayo. Akakiiko akafuzi kaawandiikira bwe kati eri ebibiina: “Omwoyo omutukuvu yasiima naffe tuleme okubatikka omugugu omunene gwonna wabula bino ebigwana, okwewalanga ebiweebwa eri ebifaananyi, n’omusaayi, n’ebitugiddwa, n’obwenzi: bwe muneekuumanga ebyo, munaabanga bulungi.”—Ebikolwa 15:28, 29.
7. Kikulu kwenkana wa Abakristaayo ‘okwewala omusaayi’?
7 Akakiiko akafuzi kaatwala ekiragiro ‘eky’okwewala omusaayi’ okuba nga kikulu nnyo ng’okwewala obwenzi oba okusinza ebifaananyi. Kino kiraga nti ensonga ey’okwewala omusaayi nkulu nnyo. Abakristaayo abasinza ebifaananyi oba abenda ne bateenenya, tebasobola ‘kusikira bwakabaka bwa Katonda,’ ‘omugabo gwabwe kwe kufa okw’okubiri.’ (1 Abakkolinso 6:9, 10; Okubikkulirwa 21:8; 22:15) Weetegereze enjawulo eriwo: Okunyooma obulagirizi bwa Katonda obukwata ku butukuvu bw’omusaayi, kiyinza okuviirako omuntu okuzikirizibwa. Okussa ekitiibwa mu ssaddaaka ya Yesu kisobozesa omuntu okufuna obulamu obutaggwaawo.
8. Kiki ekiraga nti Abakristaayo abaasooka baatwala ekiragiro kya Katonda ekikwata ku musaayi nga kikulu nnyo?
8 Abakristaayo abasooka baagoberera batya obulagirizi bwa Katonda obukwata ku musaayi? Jjukira ebigambo Clarke bye yayogera: “Mu nteekateeka y’Ekikristaayo tegulina kuliibwa, kubanga gukiikirira omusaayi ogwayiibwa olw’okusonyiyisa ebibi.” Ebyafaayo biraga nti ensonga eyo Abakristaayo abaasooka baagitwala nga nkulu nnyo. Tertullian yawandiika: “Lowooza ku abo abalwanira omusaayi gw’abamenyi b’amateeka mu bifo omulagirwa emizannyo . . . era ne bagwetwalira okwejjanjaba ensimbu.” Wadde ng’abakaafiiri baalyanga omusaayi, Tertullian yagamba nti Abakristaayo, bo, “tebalya wadde omusaayi ogw’ensolo . . . Bwe muba muwozesa Abakristaayo, mubawa ennyama ense erimu omusaayi. Kyokka, nga mukimanyi bulungi nti kya muzizo gye bali.” Yee, wadde nga baatiisibwatiisibwanga okuttibwa, Abakristaayo baali tebasobola kukkiriza kulya musaayi. Kyali kikulu nnyo gye bali okugoberera ekiragiro kya Katonda.
9. Okwewala omusaayi kyali kizingiramu ki ng’oggyeko okugulya obutereevu?
9 Abamu bayinza okulowooza nti akakiiko akafuzi kaali kategeeza nti Abakristaayo tebaalina kulya oba kunywa musaayi butereevu era n’okulya nnyama etaggiddwamu musaayi oba emmere etabikiddwamu omusaayi. Kyo kituufu nti ekyo Katonda kye yali ategeeza mu kiragiro kye yawa Nuuwa. Era n’abatume baasalawo okulagira Abakristaayo ‘okwewalanga ebitugiddwa,’ kwe kugamba ennyama etagiddwamu musaayi. (Olubereberye 9:3, 4; Ebikolwa 21:25) Kyokka, Abakristaayo abaasooka baali bakimanyi nti waaliwo ebirala ebyali bizingirwamu. Oluusi abantu baalyanga omusaayi olw’okwejanjaba. Tertullian yagamba nti abakaafiiri abamu baanywanga omusaayi nga bagezaako okuwonya ensimbu. Era wayinza okuba nga waaliwo engeri endala omusaayi gye gwakozesebwangamu okujjanjaba endwadde oba okutangira endwadde. N’olwekyo, Abakristaayo okwewala omusaayi kyali kizingiramu obutagukozesa “ng’eddagala.” Baagwewalanga wadde nga kyali kisobola okuteeka obulamu bwabwe mu kabi.
Okukozesa Omusaayi ng’Eddagala
10. Ngeri ki ezimu omusaayi gye gukozesebwa mu by’enzijanjaba, era ekyo kireetawo kibuuzo ki?
10 Ennaku zino, omusaayi gukozesebwa nnyo mu by’enzijanjaba. Edda abantu baateekebwangamu omusaayi mu bulambirira. Nga guggibwa mu muntu, ne guterekebwa era oluvannyuma ne guweebwa omulwadde, oba oyo eyabanga atuusiddwako ebisago mu lutalo. Oluvannyuma lw’ekiseera, abanoonyereza baayiga engeri y’okwawulamu omusaayi mu bitundu byagwo ebikulu. Nga bakozesa ebitundu ebimu ebikola omusaayi, abasawo baasobolanga okugabanyizaamu abalwadde abawerako omusaayi, oboolyawo ng’omu bamuwa ekitundu ky’omusaayi eky’amazzi (plasma) ate ng’omulala bamuwa obutoffaali obumyufu. Bwe beeyongera okunoonyereza baakizuula nti ekitundu ekimu, gamba nga plasma, kisobola okuggibwamu obutundutundu obulala bungi, obusobola okuweebwa abalwadde abawerako. Era beeyongedde okuggya obutundutundu obulala mu musaayi obusobola okukozesebwa okujjanjaba endwadde endala nnyingi. Kino Omukristaayo yandikitunuulidde atya? Ka tugambe, amaliridde okugaana okuteekebwamu musaayi, naye omusawo we amupikiriza okukkiriza ekimu ku bitundu ebikulu eby’omusaayi, oboolyawo obutoffaali obumyufu. Oba obujjanjabi obwo buyinza okuba nga buzingiramu okuweebwa akatundu akaggiddwa mu kimu ku bitundu ebikulu ebikola omusaayi. Omuweereza wa Katonda yandisazeewo atya mu mbeera ng’ezo, ng’ate akimanyi nti omusaayi mutukuvu era nti omusaayi gwa Kristo gwe gusobola okulokola obulamu?
11. Ndowooza ki ekwata ku musaayi Abajulirwa gye banywereddeko okumala ebbanga ddene?
11 Emyaka mingi egiyise, Abajulirwa ba Yakuwa baalaga bulungi endowooza gye balina. Ng’ekyokulabirako, waliwo ekitundu kye baawandiika mu magazini eyitibwa The Journal of the American Medical Association (Noovemba 27, 1981; era ne kiddamu okukubibwa mu brocuwa eyitibwa How Can Blood Save Your Life? empapula 27-9). * Ekitundu ekyo kyajuliza ebyawandiikibwa mu kitabo ky’Olubereberye, ekya Eby’Abaleevi n’ekya Ebikolwa by’Abatume. Kyagamba: “Newakubadde ng’ebiri mu nnyiriri ezo tebirambikiddwa mu lulimi lwa kisawo, Abajulirwa bakitegeera nti zibakugira okuteekebwamu omusaayi mu bulambirira, oba obutoffaali bwagwo obumyufu n’obweru, plasma, era ne platelets.” Akatabo akaafulumizibwa mu 2001 akayitibwa Emergency Care, wansi w’omutwe “Ebitundu Ebikola Omusaayi,” kaagamba: “Omusaayi gulimu ebitundu ebikulu ebiwerako: plasma, obutoffaali obumyufu n’obweru era ne platelets.” N’olwekyo, Abajulirwa bagaana okuteekebwamu omusaayi mu bulambirira oba ekimu ku bitundu byagwo ebina ebikulu.
12. (a) Ennyimirira yaffe ku kukozesa obutundu obuggiddwa mu bitundu ebikulu ebikola omusaayi yannyonnyolwa etya? (b) Ebirala ebikwata ku nsonga eno biyinza kusangibwa wa?
12 Ekitundu ekyo ekyafulumira mu katabo k’abasawo era kyagamba nti: “Tekiri nti engeri gye bategeeramu ebyawandiikibwa ebyo ebakugira okukozesa [obutundu obutonotono] obuggibwa mu musaayi gamba nga albumin, immune globulins, n’eddagala erikoleddwa mu butundu bw’omusaayi obuguyamba okukwata, naye, kiri eri buli Mujulirwa okwesalirawo obanga anakkiriza okuweebwa obutundutundu obwo.” Okuva mu 1981, obutundutundu bungi (obuggibwa mu kimu ku bitundu ebina ebikulu ebikola omusaayi) bubadde bukozesebwa abasawo. Bwe kityo nno, Omunaala gw’Omukuumi aka Jjulaayi 1, 2000, kaawa obulagirizi obw’omuganyulo obukwata ku nsonga eyo mu kitundu “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi.” Okusobola okuganyula obukadde n’obukadde bw’abantu abasoma magazini zaffe, eky’okuddamu kizzeemu okukubibwa mu Watchtower eya Jjuuni 15, 2004 ku mpapula 29-31. Kinnyonnyola ebintu bingi mu ngeri etegeerekeka, ate era ojja kulaba nti bikwataganira ddala n’ebyo ebyayogerwa mu 1981.
Engeri Omuntu Wo ow’Omunda gy’Ayinza Okukuyambamu
13, 14. (a) Omuntu ow’omunda kye ki, era atuyamba atya mu nsonga ezikwata ku musaayi? (b) Kiragiro ki Katonda kye yawa Abaisiraeri ku nsonga ekwata ku musaayi, naye bibuuzo ki ebyandisobodde okubuuzibwa?
13 Kikulu nnyo okukozesa omuntu ow’omunda ng’osalawo eky’okukola. Lwaki? Abakristaayo bakimanyi bulungi nti balina okugoberera obulagirizi bwa Katonda, kyokka, ng’ate waliwo ensonga ezimu omuntu z’alina okwesalirawo ku lulwe yekka ng’asinziira ku muntu we ow’omunda. Omuntu ow’omunda bwe busobozi obwatutonderwamu obutuyamba okupimapima era n’okusalawo eky’okukola naddala mu nsonga ezikwata ku mpisa. (Abaruumi 2:14, 15) Kyokka, era okimanyi nti ky’osalawo okusinziira ku muntu ow’omunda kiyinza obutafaanana na kya mulala. * Baibuli egamba nti abamu balina ‘omuntu ow’omunda omunafu,’ ng’ekyo kiba kitegeeza nti eriyo abalina omuntu ow’omunda ow’amaanyi. (1 Abakkolinso 8:1) Abakristaayo baawukana mu ngeri gye bakulaakulanyeemu mu kutegeera Katonda by’agamba, mu kufaayo ku ndowooza ye, n’okugigoberera nga balina bye basalawo. Tusobola okuwaayo ekyokulabirako ku nsonga eno nga kikwata ku Bayudaaya n’okulya ennyama.
14 Baibuli ekiraga kaati nti omuntu agondera Katonda talina kulya nnyama etaggiddwamu musaayi. Etteeka eryo lyali kkulu nnyo ne kiba nti amagye ga Isiraeri bwe gaalyanga ennyama etaggiddwamu musaayi mu kiseera ekyali ekizibu ennyo, baavunaanwanga omusango ogw’okukola ekibi eky’amaanyi. (Ekyamateeka 12:15, 16; 1 Samwiri 14:31-35) Naye era, waliwo ebibuuzo ebyandizzeewo. Omuisiraeri bwe yattanga endiga, kiki kye yandikoze okulaba nti omusaayi guggwamu mangu? Yandibadde agisalako bulago? Kyali kyetaagisa okugiwanika ng’agisulise? Kumala bbanga ki? Ate bwe yandibadde nte? Ne bwe yandikoze ebyo byonna, wandibaddewo ogusigalamu. Yandiridde ennyama eyo? Ani yandimusaliddewo?
15. Kiki Abayudaaya abamu kye baakola ku nsonga ekwata ku kulya ennyama, naye kiki Katonda kye yalagira?
15 Kuba ekifaananyi ng’Omuyudaaya omukuukuutivu ayolekaganye n’ebibuuzo ebyo. Oboolyawo yandirowoozezza nti ekisinga kwe kwewalira ddala okulya ennyama etundibwa mu katale, era nga n’Omuyudaaya omulala bw’atandiridde nnyama gy’asuubira nti eweereddwayo eri ebifaananyi. Abayudaaya abalala oboolyawo tebaalyanga nnyama okuggyako ng’emaze kuyita mu mitendera egy’okugiggyamu omusaayi. * (Matayo 23:23, 24) Ggwe olowooza otya ku ebyo ebyogeddwako? Ate era, okuva Katonda bwe yalina ky’ayogedde ku ebyo waggulu, kyandyetaagisizza buli Muyudaaya okuweereza olukunkumuli lw’ebibuuzo eri akakiiko ka balabbi okusobola okufuna eby’okuddamu? Wadde ng’empisa efaanana bw’etyo yagobererwa mu ddiini y’Ekiyudaaya, kizzaamu amaanyi okumanya nti eyo si ye nkola Yakuwa gye yalagira abasinza ab’amazima okweyambisa nga balina bye basalawo ebikwata ku musaayi. Katonda yawa obulagirizi obwali bwetaagisa ku kusala ebisolo ebirongoofu era n’engeri y’okubiggyamu omusaayi, naye talina birala bye yayogera bisinga ku ebyo.—Yokaana 8:32.
16. Lwaki Abakristaayo bayinza okuba n’endowooza ez’enjawulo ezikwata ku kukkiriza eddagala ly’empiso eririmu akatundu akaggiddwa mu musaayi?
16 Nga bwe kyogeddwako mu katundu aka 11 n’aka 12, Abajulirwa ba Yakuwa tebakkiriza kuteekebwamu musaayi oba ebitundu byagwo ebina ebikulu, kwe kugamba, plasma, obutoffaali obumyufu, obutoffaali obweru ne platelets. Kati ate bwo obutundu obutonotono obuba buggiddwa mu bitundu biri ebikulu, gamba nga bu-serum obulimu obuserikale obulwanyisa endwadde oba obusaabulula obusagwa bw’omusota? Abamu bagamba nti obutundu obutonotono ennyo buba tebukyali musaayi era n’olwekyo tebuzingirwa mu kiragiro ekikwata ku ‘kwewala omusaayi.’ (Ebikolwa 15:29; 21:25) Ekyo kiri gye bali. Abalala omuntu waabwe ow’omunda abaleetera okugaana buli ekiba kiggiddwa mu musaayi (gube gwa nsolo oba gwa bantu), ka kabeere akatundu akatono ennyo akaba kaggiddwa mu kimu ku bitundu ebikulu ebikola omusaayi. * Kyokka, ate Abakristaayo abalala bayinza okukkiriza okukubibwa empiso erimu akatundu akaggiddwa mu plasma okusobola okulwanyisa endwadde oba okusaabulula obusagwa bw’omusota kyokka ate bayinza okugaana obutundutundu obulala. Wadde kiri kityo, ebintu ebimu ebiba biggiddwa mu kimu ku bitundu ebina ebikulu ebikola omusaayi biyinza okuba nga bikolera ddala mu ngeri y’emu ng’omusaayi gwennyini ne kiba nti Abakristaayo abasinga obungi bawulira nti tebandibikkirizza.
17. (a) Omuntu waffe ow’omunda asobola atya okutuyamba nga twolekaganye n’ebibuuzo ebikwata ku nsonga ey’okukozesa obutundu obutono ennyo obuggibwa mu musaayi? (b) Lwaki bye tusalawo ku nsonga eno bikulu nnyo?
17 Baibuli ky’egamba ku muntu ow’omunda kituyamba bwe tuba nga tulina bye tusalawo ku nsonga ng’ezo. Ky’olina okusooka okukola kwe kuyiga Ekigambo kya Katonda bye kigamba era obyeyambise okutendeka omuntu wo ow’omunda. Ekyo kijja kukusobozesa okusalawo ng’ogoberera obulagirizi bwa Katonda mu kifo ky’okusaba omuntu omulala okukusalirawo. (Zabbuli 25:4, 5) Ku nsonga y’okuteekebwamu obutundutundu obuggiddwa mu musaayi, abamu bagamba nti, ‘Buli muntu yeesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda, n’olwekyo ky’asalawo tekirina nsonga.’ Eyo teba ndowooza ntuufu. Okuba nti omuntu asobola okusalawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda, tekitegeeza nti ky’asalawo tekiba kikulu. Ebiva mu ebyo bye tuba tusazeewo biyinza obutaba birungi. Ensonga lwaki kiyinza okuba bwe kityo eri nti bye tuba tusazeewo biyinza okubaako kye bikola ku balala abatunuulira ensonga eyo mu ngeri endala okusinziira ku muntu waabwe ow’omunda. Ekyo tusobola okukirabira ku kubuulirira Pawulo kwe yawa okukwata ku nnyama eyinza okuba nga yali eweereddwayo eri ebifaananyi ate oluvannyuma n’etundibwa mu katale. Omukristaayo alina okwegendereza aleme ‘okukosa omuntu ow’omunda omunafu ow’abalala.’ Singa akola bw’atyo, ayinza ‘okwesittaza muganda we Kristo gwe yafiiririra’ era mu ngeri eyo n’aba ng’ayonoonye eri Kristo. N’olwekyo, wadde nga buli muntu alina okwesalirawo ku nsonga ezikwata ku butundu obusirikitu obuggibwa mu musaayi, ky’asalawo tekirina kutwalibwa ng’ekitali kikulu.—1 Abakkolinso 8:8, 11-13; 10:25-31.
18. Omukristaayo anaasobola atya okwewala okufiisa omuntu we ow’omunda ng’asalawo ebikwata ku musaayi?
18 Waliwo ekintu ekirala ekikulu ennyo eky’okulowozaako ekiraga nti bye tusalawo ebikwata ku musaayi bikulu nnyo. Kino kye kiyinza okubaawo. Bwe kiba nti okukkiriza okuteekebwamu obutundutundu obuggiddwa mu musaayi kijja kuleetera omuntu wo ow’omunda okulumizibwa, tosaanidde kukibuusa maaso. Era tosaanidde kulagajjalira ekyo omuntu wo ow’omunda ky’akugamba olw’okuba waliwo akugamba nti “Si kikyamu okukkiriza obutundutundu obwo; bangi babukkirizza.” Kijjukire nti obukadde n’obukadde bw’abantu leero babuusa amaaso omuntu waabwe ow’omunda ky’abagamba, era n’atuuka okuba takyakola, era n’abakkiriza okulimba oba okukola ebintu ebirala ebibi ennyo. Mazima ddala, Abakristaayo bandyewaze okubeera mu mbeera efaanana bw’etyo.—2 Samwiri 24:10; 1 Timoseewo 4:1, 2.
19. Kiki kye tusaanidde okulowoozaako ennyo nga tusalawo ku nsonga ezikwata ku bujjanjabi obuzingiramu omusaayi?
19 Nga kifundikira, ekitundu eky’okuddamu ekizzeemu okukubibwa kigamba: “Olw’okuba endowooza n’ebyo abantu bye basalawo nga basinziira ku muntu ow’omunda biyinza okwawukana, ekyo kitegeeza nti ensonga eno si nkulu? Nedda. Ensonga eyo nkulu nnyo.” Nkulu nnyo kubanga ezingiramu enkolagana yo ne “Katonda omulamu.” Eyo ye nkolagana yokka esobozesa omuntu okufuna obulamu obutaggwaawo, olw’omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa. Omusaayi gutwale nga gwa muwendo nnyo olw’okuba Katonda gw’akozesezza okutuukiriza ekigendererwa kye eky’okulokola obulamu. Pawulo yawandiika: “[Mwali] temulina kusuubira, nga temulina Katonda mu nsi. Naye kaakano mu Kristo Yesu mmwe abaali ewala edda musembezebwa olw’omusaayi gwa Kristo.”—Abaefeso 2:12, 13.
[Obugambo obuli wansi]
^ Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
^ Lumu, Pawulo n’Abakristaayo abalala bana baagenda mu yeekaalu okwetukuza. Mu kiseera ekyo, Amateeka gaali gaavaawo dda, naye Pawulo yakola bw’atyo ng’agoberera amagezi agaamuweebwa abakadde ab’omu Yerusaalemi. (Ebikolwa 21:23-25) Kyokka, Abakristaayo abamu baali basobola okugamba nti bo, tebandigenze mu yeekaalu wadde okwenyigira mu mikolo egyo. Mu kiseera ekyo ng’omuntu ky’asalawo okusinziira ku muntu we ow’omunda kiyinza obutafaanana na kya mulala era nga bwe kiri ne leero.
^ Ekitabo ekiyitibwa Encyclopaedia Judaica kiraga nti waaliwo amateeka “mangi” agakwata ku mitendera “emituufu” ennyama gy’erina okuteekebwateekebwamu okusobola okuliibwa. Kyogera ku ddakiika ennyama z’erina okumala mu mazzi, engeri y’okugikenenulamu omusaayi ng’eri ku kabaawo bw’eba ng’esalibwasalibwa ebifi, omunnyo ogulina okuteekebwako, era n’emirundi gy’erina okwozebwa mu mazzi agannyogoga.
^ Eddagala ly’empiso erisinga obungi teriggibwa mu musaayi. Naye oluusi muyinza okubaamu akatundu akatono ennyo akaggiddwa mu musaayi, gamba nga albumin.—Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu The Watchtower aka Okitobba 1, 1994.
Osobola Okujjukira?
• Kiragiro ki ekikwata ku musaayi Katonda kye yawa Nuuwa, Abaisiraeri, n’Abakristaayo?
• Ku nsonga ekwata ku musaayi, kiki Abajulirwa ba Yakuwa kye batasobola kukkiriza?
• Mu ngeri ki gye kiri nti omuntu y’alina okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda bwe kituuka ku kufuna obutundu obutonotono obuva mu bitundu ebikulu eby’omusaayi, naye ekyo kiki kye kitategeeza?
• Bwe tuba nga tulina bye tusalawo, lwaki kikulu nnyo okulowooza ku nkolagana yaffe ne Katonda?
Ebibuuzo]
[Ekipande ekiri ku lupapula 16]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
EBY’OKUSALAWO EBIKULU EBIKWATA KU MUSAAYI
OMUSAAYI MU BULAMBIRIRA
▾ ▾ ▾ ▾
EBITAKKIRIZIBWA Obutoffaali obumyufu Obutoffaali obweru Platelets Plasma
MUKRISTAAYO BY’ALINA ▾ ▾ ▾ ▾
OKWESALIRAWO Obutundutundu Obutundutundu Obutundutundu Obutundutundu
obuggiddwa mu obuggiddwa mu obuggiddwa mu obuggiddwa mu
butoffaali obumyufu butoffaali obweru platelets plasma
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
Akakiiko akafuzi kaasalawo nti Abakristaayo balina ‘okwewala omusaayi’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Tobuusa maaso omuntu wo ow’omunda ng’oyolekaganye n’okusalawo ebikwata ku butundutundu obuggibwa mu musaayi