Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kyeyolese Nti Obufuzi bwa Yakuwa Bwe Busingayo Obulungi!

Kyeyolese Nti Obufuzi bwa Yakuwa Bwe Busingayo Obulungi!

Kyeyolese Nti Obufuzi bwa Yakuwa Bwe Busingayo Obulungi!

“Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw’abantu.”​—DAN. 4:17.

1, 2. Kiki ekiraga nti obufuzi bw’abantu bulemereddwa okutuuka ku buwanguzi?

 TEWALI kubuusabuusa nti obufuzi bw’abantu bulemereddwa okutuuka ku buwanguzi! Ekyo kiri bwe kityo lwa kuba abantu tebalina magezi gabasobozesa kwefuga bulungi. Ekiragira ddala nti obufuzi bw’omuntu bulemereddwa okutuuka ku buwanguzi kwe kuba nti leero abafuzi bangi ‘beeyagala bokka, baagala nnyo ssente, beepanka, ba malala, si beesigwa, tebakkiriza kukkaanya, bawaayiriza, tebeefuga, bakambwe, tebaagala bulungi, ba nkwe, era beegulumiza.’​—2 Tim. 3:2-4.

2 Edda ennyo, bazadde baffe abaasooka baagaana okufugibwa Katonda. Mu kukola ekyo, bayinza okuba nga baalowooza nti baali bagenda kwefuga bokka. Kyokka ekituufu kiri nti baali bakkiriza kufugibwa Sitaani. Obufuzi bw’abantu obubi obumaze emyaka akakaaga​—‘ng’omufuzi w’ensi’ Sitaani y’ali emabega waabwo​—buleetedde abantu ebizibu bingi nnyo. (Yok. 12:31) Nga kyogera ku mbeera abantu gye balimu, ekitabo ekiyitibwa The Oxford History of the Twentieth Century kigamba nti abantu ne bwe bafuba batya ‘tebasobola kumalawo bizibu mu nsi.’ Kigattako nti: “Mu kugezaako okubimalawo ate baleetawo birala gamba ng’entalo n’obufuzi obwa nnaakyemalira.” Mazima ddala obufuzi bw’abantu bulemereddwa okutuuka ku buwanguzi!

3. Embeera yandibadde etya singa Adamu ne Kaawa tebaayonoona?

3 Nga kya nnaku nti bazadde baffe abaasooka baagaana obufuzi bwa Katonda​—nga buno bwe bufuzi bwokka obutasobola kulemererwa! Kituufu nti tetumanyidde ddala ngeri Yakuwa gye yandifuzeemu nsi singa Adamu ne Kaawa baali basigadde nga beesigwa. Naye tuli bakakafu nti singa abantu bonna bakkiriza okufugibwa Yakuwa, ensi yonna yandibaddemu okwagala n’obwenkanya. (Bik. 10:34; 1 Yok. 4:8) Ate era olw’okuba Katonda alina amagezi agatageraageranyizika, tewali kubuusabuusa nti singa abantu baali basigadde nga bafugibwa Yakuwa, ebizibu byonna ebireeteddwa abo abawagira obufuzi bw’abantu tebyandibaddewo. Obufuzi bwa Katonda bwandisobodde bulungi nnyo ‘okukussa buli kintu ekiramu bye kyagala.’ (Zab. 145:16) Bwe bufuzi obwandisinzeeyo okuba obulungi. (Ma. 32:4) Nga kya nnaku nnyo nti abantu baabugaana!

4. Obuyinza bwa Sitaani bukoma wa?

4 Wadde nga Yakuwa yakkiriza abantu okwefuga, kino tekitegeeza nti yali yeeggyeeko obuyinza okufuga ebitonde bye. Ne kabaka wa Babulooni eyali ow’amaanyi yakikkiriza nti “Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw’abantu.” (Dan. 4:17) Ekiseera kijja kutuuka Obwakabaka bwa Katonda busobozese by’ayagala okukolebwa. (Mat. 6:10) Kituufu nti Yakuwa yakkiriza Sitaani okubeera “katonda ow’enteekateeka y’ebintu eno” okumala ekiseera kisobole okweyoleka nti omulabe oyo bye yayogera byali bya bulimba. (2 Kol. 4:4; 1 Yok. 5:19) Kyokka tewali kintu Sitaani ky’asobola kukola nga Yakuwa takikkiriza. (2 Byom. 20:6; geraageranya Yobu 1:11, 12; 2:3-6.) Ate era bulijjo wabaddewo abantu abasazeewo okuwagira obufuzi bwa Katonda wadde nga bali mu nsi efugibwa Omulabe wa Katonda omukulu.

Katonda bwe Yali Afuga Abaisiraeri

5. Bweyamo ki Abaisiraeri bwe baakola eri Katonda?

5 Okuviira ddala ku kiseera kya Abbeeri okutuuka eggwanga lya Isiraeri lwe lyatandikibwawo, waaliwo abantu abatali bamu abaasinza Yakuwa era ne bakwata ebiragiro bye. (Beb. 11:4-22) Mu kiseera kya Musa, Yakuwa yakola endagaano ne bazzukulu ba Yakobo, era baafuuka eggwanga lya Isiraeri. Mu 1513 E.E.T., Abaisiraeri beeyama nti bo ne bazzukulu baabwe bandigondedde Yakuwa ng’Omufuzi waabwe bwe baagamba nti: ‘Byonna Mukama by’ayogedde tujja kubikola.’​—Kuv. 19:8.

6, 7. Yakuwa yafuga atya eggwanga lya Isiraeri?

6 Yakuwa yalina ensonga lwaki yalonda Abaisiraeri okubeera abantu be. (Soma Ekyamateeka 7:7, 8.) Abaisiraeri okubeera mu bulamu obulungi si y’ensonga yokka eyamuleetera okukikola, wabula erinnya lye n’obufuzi bwe bye byali bisinga obukulu. Isiraeri yalina okuba omujulirwa okulaga nti Yakuwa ye Katonda yekka ow’amazima. (Is. 43:10; 44:6-8) Bwe kityo, Yakuwa yagamba eggwanga eryo nti: “Oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo, era Mukama yakulonda okuba eggwanga ery’envuma gy’ali, okusinga amawanga gonna agali ku maaso g’ensi.”​—Ma. 14:2.

7 Katonda yafuga Abaisiraeri mu ngeri eraga nti yali amanyi nti tebatuukiridde. Kyokka, amateeka ge gaali gatuukiridde era nga gooleka engeri z’Oyo eyali agabawadde. Amateeka Katonda ge yawa Abaisiraeri okuyitira mu Musa gaalaga bulungi nti Katonda mutukuvu, ayagala obwenkanya, mwetegefu okusonyiwa, era nti mugumiikiriza. Mu kiseera kya Yoswa, eggwanga eryo lyagondera amateeka ga Yakuwa era lyafuna emirembe n’emikisa gye. (Yos. 24:21, 22, 31) Ekiseera ekyo kyalaga nti obufuzi bwa Yakuwa bwe busingayo okuba obulungi.

Obufuzi bw’Abantu Bulimu Ebizibu

8, 9. Kintu ki ekitaali kya magezi Abaisiraeri kye baasaba, era biki ebyavaamu?

8 Emirundi mingi Abaisiraeri baajeemera Katonda ng’omufuzi waabwe, era baafuna ebizibu eby’amaanyi olw’obutaba na bukuumi bwe. Oluvannyuma nga bayitira mu nnabbi Samwiri, Abaisiraeri baasaba baweebwe omuntu abafuge nga kabaka. Yakuwa yagamba Samwiri abakolere kye baali basabye. Kyokka, Yakuwa yagattako nti: “Tebakugaanyi ggwe, naye bagaanyi nze, nneme okuba kabaka waabwe.” (1 Sam. 8:7) Wadde nga Yakuwa yakkiriza Abaisiraeri baweebwe kabaka, yabalabula nti okufugibwa omuntu kyandibaviiriddemu ebizibu.​—Soma 1 Samwiri 8:9-18.

9 Ebyafaayo biraze bulungi obutuufu bw’ebyo Yakuwa bye yayogera. Okufugibwa omuntu kyaviirako Isiraeri okufuna ebizibu eby’amanyi naddala kabaka eyabanga afuga bwe yavanga ku Yakuwa. Ekyokulabirako kya Isiraeri kiraga bulungi ensonga lwaki okumala emyaka mingi, gavumenti z’abantu abatamanyi Yakuwa ziremereddwa okufuga abantu obulungi. Kituufu nti bannabyabufuzi abamu basaba Katonda abawe emirembe n’obutebenkevu, naye Katonda tasobola kuwa mikisa abo abatagondera bufuzi bwe.​—Zab. 2:10-12.

Eggwanga Eriggya Erifugibwa Katonda

10. Lwaki Katonda yalonda eggwanga eddala okudda mu kifo kya Isiraeri?

10 Eggwanga lya Isiraeri lyagaana okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Oluvannyuma bwe lyagaana okukkiriza Masiya Katonda gwe yalonda, Yakuwa yasalawo okulonda abantu abalala n’abafuula eggwanga eriggya. Bwe kityo mu 33 E.E., ekibiina Ekikristaayo eky’abasinza ba Yakuwa abaafukibwako amafuta kyatandikibwawo. Ekibiina ekyo lye ggwanga eriggya erifugibwa Yakuwa. Pawulo yakyogerako nga “Isiraeri wa Katonda.”​—Bag. 6:16.

11, 12. Bintu ki ebikwata ku bukulembeze eggwanga lya Isiraeri bye lifaanaganya ne “Isiraeri wa Katonda”?

11 Waliwo enjawulo era n’okufaanagana wakati w’eggwanga lya Isiraeri ey’edda ne “Isiraeri wa Katonda.” Obutafaananako Isiraeri ey’edda, ekibiina Ekikristaayo tekirina kabaka nga muntu buntu era tekyetaaga kuwaayo ssaddaaka za nsolo kutangirira bibi. Engeri emu ekibiina Ekikristaayo gye kifaananamu eggwanga lya Isiraeri kwe kuba nti kirina abasajja abaweereza ng’abakadde. (Kuv. 19:3-8) Abakadde abo tebalinga bafuzi, wabula baweereza ng’abasumba mu kibiina era bakubiriza abalala mu mirimu gy’Ekikristaayo. Bakolagana bulungi na buli omu mu kibiina, era buli omu bamussaamu ekitiibwa.​—2 Kol. 1:24; 1 Peet. 5:2, 3.

12 Bwe balowooza ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Isiraeri, abo abali mu ggwanga lya “Isiraeri wa Katonda” ne bannaabwe ‘ab’endiga endala’ beeyongera okusiima Yakuwa n’engeri gy’afugamu. (Yok. 10:16) Ng’ekyokulabirako, ebyafaayo biraga nti engeri bakabaka ba Isiraeri gye beeyisangamu yaleeteranga abantu okweyisa obulungi oba obubi. Ekyo kiyamba abo abatwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo okukijjukira nti wadde nga si bafuzi nga bakabaka ba Isiraeri bwe baali, basaanidde bulijjo okussaawo ekyokulabirako ekirungi.​—Beb. 13:7.

Engeri Yakuwa gy’Afugamu Leero

13. Kintu ki ekikulu ekyaliwo mu 1914?

13 Abakristaayo leero balangirira mu nsi yonna nti obufuzi bw’abantu bunaatera okukoma. Mu 1914, Yakuwa yassaawo Obwakabaka mu ggulu era n’alonda Yesu Kristo okuba Kabaka waabwo. Mu kiseera ekyo, yawa Yesu obuyinza okugenda “ng’awangula asobole okumaliriza okuwangula kwe.” (Kub. 6:2) Kabaka oyo eyali yaakatuuzibwa ku ntebe yagambibwa ‘okufugira wakati mu balabe be.’ (Zab. 110:2) Eky’ennaku, amawanga gagaanidde ddala okukkiriza obufuzi bwa Yakuwa, era geeyisa nga gy’obeera “siwali Katonda.”​—Zab. 14:1.

14, 15. (a) Obwakabaka bwa Katonda butufuga butya leero, era ekyo kireetawo bibuuzo ki? (b) Kiki ekiraga nti obufuzi bwa Katonda bwe busingayo okuba obulungi?

14 Ab’ekibiina kya “Isiraeri wa Katonda” abaafukibwako amafuta abatonotono abakyasigaddewo, era baganda ba Yesu, baweereza ‘ng’ababaka mu kifo kya Kristo.’ (2 Kol. 5:20) Balondeddwa okukola ng’omuddu omwesigwa era ow’amagezi okulabirira n’okuwa emmere ey’eby’omwoyo Abakristaayo abaafukibwako amafuta n’ab’ekibiina ekinene, abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna, abagenda beeyongera obungi nga kati bali mu bukadde. (Mat. 24:45-47; Kub. 7:9-15) Embeera ennungi ey’eby’omwoyo abaweereza ba Katonda gye balimu leero bukakafu obulaga nti Yakuwa abawa emikisa gye.

15 Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti: ‘Nsiima enkizo zonna eziba zimpeereddwa mu kibiina Ekikristaayo? Nkiraga nti mpagira obufuzi bwa Yakuwa? Nneenyumiririza mu ky’okuba nti ndi omu ku abo abafugibwa Obwakabaka bwa Katonda? Ndi mumalirivu okukola kyonna kye nsobola okubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda?’ Ffenna tusaanidde okukolera ku bulagirizi obutuweebwa Akakiiko Akafuzi n’abakadde mu kibiina. Bwe tukola bwe tutyo tuba tulaga nti tukkiriza obufuzi bwa Katonda. (Soma Abebbulaniya 13:17.) Kino kituyamba okuba obumu mu nsi eno erimu enjawukana, kireetawo emirembe era kiweesa Yakuwa ekitiibwa, ne kiraga nti obufuzi bwe bwe busingayo okuba obulungi.

Obufuzi bwa Yakuwa Buwangula

16. Kiki buli omu ky’alina okusalawo leero?

16 Ekiseera kinaatera okutuuka ensonga ezaaleetebwawo mu lusuku Adeni zigonjoolwe. N’olwekyo, ekiseera kituuse buli omu okulaga obanga awagira bufuzi bwa Yakuwa oba bw’abantu. Tulina obuvunaanyizibwa okuyamba abantu abawombeefu okusalawo obulungi. Ku Kalumagedoni, obufuzi bwa Yakuwa bujja kuzikiriza obufuzi bw’abantu obuli wansi wa Sitaani. (Dan. 2:44; Kub. 16:16) Obufuzi bw’abantu bujja kuggibwawo, era Obwakabaka bwa Katonda bufuge ensi yonna. Kijja kweyoleka bulungi nti obufuzi bwa Yakuwa bwe busingayo obulungi.​—Soma Okubikkulirwa 21:3-5.

17. Bintu ki ebisobola okuyamba abantu abawombeefu okusalawo bufuzi ki bwe basaanidde okuwagira?

17 Abo abatannaba kusalawo kuwagira bufuzi bwa Yakuwa basaanidde okufumiitiriza ku mikisa Obwakabaka bwa Katonda gye bunaaleetera abantu. Obufuzi bw’abantu bulemereddwa okumalawo obumenyi bw’amateeka n’ebikolwa bya bannalukalala. Obufuzi bwa Katonda bujja kumalawo obubi bwonna ku nsi. (Zab. 37:1, 2, 9) Obufuzi bw’abantu buleeseewo entalo, naye obufuzi bwa Katonda bujja ‘kumalawo entalo okutuusa ku nkomerero y’ensi.’ (Zab. 46:9) Obufuzi bwa Katonda bujja kuleetawo emirembe wakati w’abantu n’ensolo. (Is. 11:6-9) Obufuzi bw’abantu tebusobodde kumalawo njala na bwavu, naye obufuzi bwa Katonda bujja kubimalawo. (Is. 65:21) N’abafuzi abalina ebigendererwa ebirungi tebasobodde kumalawo bulwadde na kufa, naye mu Bwakabaka bwa Katonda, abakadde n’abalwadde bajja kuddamu babeere n’amaanyi g’omu buvubuka bwabwe. (Yob. 33:25; Is. 35:5, 6) Mazima ddala, ensi ejja kufuuka olusuku lwa Katonda era n’abafu bajja kuzuukizibwa.​—Luk. 23:43; Bik. 24:15.

18. Tuyinza tutya okukiraga nti tukkiriza nti obufuzi bwa Katonda bwe busingayo okuba obulungi?

18 Yee, obufuzi bwa Katonda bujja kumalawo ebizibu byonna Sitaani bye yaleetaawo bwe yaleetera bazadde baffe abaasooka okujeemera Omutonzi waabwe. Kirowoozeeko, ebizibu byonna Sitaani by’aleeseewo okumala emyaka 6,000, Katonda, ng’ayitira mu Kristo, ajja kubimalawo mu myaka 1,000 gyokka! Nga kino kijja kulaga bulungi nti obufuzi bwa Katonda bwe busingirayo ddala okuba obulungi! Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tukkiriza nti Katonda ye Mufuzi waffe. N’olwekyo, ka tukirage buli lunaku nti tuli baweereza ba Yakuwa, abafugibwa Obwakabaka bwe, era abeenyumiririza mu kuba Abajulirwa be. Era ka tukozese buli kakisa ke tufuna okubuulira buli omu nti obufuzi bwa Yakuwa bwe busingirayo ddala okuba obulungi.

Ku Bikwata ku Bufuzi bwa Katonda, Kiki Kye Tuyize mu Kusoma . . .

Ekyamateeka 7:7, 8?

1 Samwiri 8:9-18?

Abebbulaniya 13:17?

Okubikkulirwa 21:3-5?

[Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 29]

Obufuzi bwa Yakuwa bubaddewo ekiseera kyonna

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Okugondera obufuzi bwa Yakuwa kireetawo obumu