Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Osaanidde Okwewaayo eri Yakuwa?

Lwaki Osaanidde Okwewaayo eri Yakuwa?

Lwaki Osaanidde Okwewaayo eri Yakuwa?

‘Ekiro, malayika wa Katonda gwe nsinza yayimiridde kumpi nange.’​—BIK. 27:23.

1. Omuntu okutuuka okubatizibwa ayita mu mitendera ki, era kino kireetawo bibuuzo ki?

 “OKUSINZIIRA ku ssaddaaka ya Yesu Kristo, weenenyezza ebibi byo era ne weewaayo eri Yakuwa okukola by’ayagala?” Kino kye kimu ku bibuuzo ebibiri ebibuuzibwa abo ababa bagenda okubatizibwa ng’emboozi ekwata ku kubatiza ewedde. Lwaki Abakristaayo beetaaga okwewaayo eri Yakuwa? Okwewaayo eri Katonda kutuganyula kutya? Lwaki Katonda tayinza kusiima kusinza kwa muntu ateewaddeeyo gy’ali? Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, tulina okusooka okumanya okwewaayo kye kitegeeza.

2. Okwewaayo eri Yakuwa kitegeeza ki?

2 Okwewaayo eri Katonda kitegeeza ki? Weetegereze ekyo omutume Pawulo kye yayogera ku nkolagana ye ne Katonda. Ng’ayogera eri abantu abaali mu lyato eryali liyuuga olw’omuyaga, yagamba nti Yakuwa ye “Katonda gwe nsinza.” (Soma Ebikolwa 27:22-24.) Abakristaayo bonna ab’amazima basinza Yakuwa era bantu be. Kyokka yo ensi yonna okutwalira awamu ‘eri mu buyinza bwa mubi.’ (1 Yok. 5:19) Abakristaayo bafuuka bantu ba Yakuwa bwe beewaayo gy’ali nga bayitira mu kusaba. Omuntu bwe yeewaayo mu ngeri eyo aba akoze obweyamo, era olwo aba asobola okubatizibwa.

3. Yesu okubatizibwa kyali kiraga ki, era abagoberezi be bayinza batya okumukoppa?

3 Yesu yatuteerawo ekyokulabirako bwe yasalawo okukola Katonda by’ayagala. Olw’okuba eggwanga lya Isiraeri mwe yazaalibwa lyali lyewaayo eri Katonda, Yesu yali yaweebwaayo dda eri Katonda. Kyokka bwe yabatizibwa, yakola ekintu ekyali kisingawo ku ekyo ekyali kyetaagisa mu Mateeka. Yesu yagamba nti: “Laba! Nzize . . . okukola by’oyagala Ai Katonda.” (Beb. 10:7; Luk. 3:21) N’olwekyo, Yesu okubatizibwa kyalaga nti yali mwetegefu okukola Kitaawe by’ayagala. Abagoberezi be baba bamukoppa bwe bakkiriza okubatizibwa. Kyokka bo bwe babatizibwa, baba bakiraga mu lujjudde nti bamaze okwewaayo eri Katonda nga bayitira mu kusaba.

Engeri Okwewaayo gye Kutuganyula

4. Omukwano ogwaliwo wakati wa Dawudi ne Yonasaani gulaga ki ku kukola obweyamo?

4 Okwewaayo kw’Ekikristaayo kintu kikulu nnyo. Kusingawo ku kukola obukozi obweyamo. Naye okwewaayo okwo kutuganyula kutya? Kutuganyula mu ngeri y’emu nga bwe tuganyulwa nga tukoze obweyamo eri omuntu. Ng’ekyokulabirako, okusobola okufuula omuntu mukwano gwo, gwe kennyini olina okukola ekiba kyetaagisa okufuuka mukwano gwe. Kino kizingiramu okukola obweyamo​—olina okulaga nti ofaayo ku mukwano gwo. Abamu ku bantu abaali ab’omukwano ennyo aboogerwako mu Baibuli ye Dawudi ne Yonasaani. Baatuuka n’okugukolera endagaano. (Soma 1 Samwiri 17:57; 18:1, 3.) Wadde ng’abantu abasinga tebatuuka ku ekyo, baba balina okufaayo ku mukwano gwabwe n’okuguzimba gusobole okunywera.​—Nge. 17:17; 18:24.

5. Omuntu yalinanga kukola ki ng’ayagala okusigala ne mukama we obulamu bwe bwonna?

5 Amateeka Katonda ge yawa Isiraeri galaga engeri abantu gye baganyulwa bwe bakola obweyamo. Omuddu bwe yabanga ne mukama we amuyisa obulungi, yabanga asobola okukola endagaano n’asigala naye obulamu bwe bwonna. Amateeka gagamba nti: “Omuddu bw’ayogeranga ddala nti Njagala mukama wange, mukazi wange, n’abaana bange; saagala kugenda n’eddembe: awo mukama we amuleetanga eri Katonda, amuleetanga ku luggi oba ku mufuubeeto; ne mukama we amuwummulanga okutu n’olukato; anaamuweerezanga ennaku zonna.”​—Kuv. 21:5, 6.

6, 7. (a) Abantu baganyulwa batya bwe bakola obweyamo? (b) Ekyo kiraga ki ku nkolagana yaffe ne Yakuwa?

6 Abantu bakola obweyamo nga bafumbiriganwa. Obweyamo obwo omuntu abukola eri munne, so si eri ekiwandiiko. Omusajja n’omukazi ababeera awamu nga si bagatte emitima tegibaba wamu, era n’abaana baabwe bwe batyo. Naye bwe baba abagatte mu bufumbo obw’ekitiibwa, baba balina omusingi mu Byawandiikibwa kwe basinziira okufuba okugonjoola ebizibu byabwe mu ngeri ey’okwagala.​—Mat. 19:5, 6; 1 Kol. 13:7, 8; Beb. 13:4.

7 Mu biseera bya Baibuli, abantu baaganyulawanga mu kukola endagaano nga bakola bizineesi oba nga bapatana emirimu. (Mat. 20:1, 2, 8) Ne leero bwe kityo bwe kiri. Ng’ekyokulabirako, tuganyulwa bwe tukola endagaano nga tugenda okukola bizineesi oba okukolera kampuni. Kati olwo oba nga kya muganyulo okukola endagaano mu bintu ng’omukwano, obufumbo, n’emirimu, tetuganyulwa n’okusingawo mu nkolagana yaffe ne Yakuwa bwe twewaayo gy’ali mu bujjuvu! Ka tulabe engeri abantu b’edda gye baaganyulwa mu kwewaayo kwabwe eri Yakuwa Katonda, n’engeri kino gye kyali kisingawo ku kweyama obweyami.

Isiraeri Yaganyulwa Etya mu Kwewaayo eri Katonda?

8. Isiraeri okwewaayo eri Katonda kyali kitegeeza ki?

8 Abaisiraeri bonna ng’eggwanga beewaayo eri Yakuwa Katonda bwe baakola obweyamo gy’ali. Yakuwa yabalagira okukuŋŋaanira okumpi n’Olusozi Sinaayi, n’abagamba nti: “Bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna.” Abantu bonna baddamu nti: ‘Byonna Mukama by’ayogedde tujja kubikola.’ (Kuv. 19:4-8) Abaisiraeri okwewaayo eri Katonda kyali tekikoma ku kweyama bweyami. Kyali kitegeeza nti bafuuse bantu ba Yakuwa, era nti Yakuwa yali abatwala ‘ng’ekintu kye ekiganzi.’

9. Isiraeri yaganyulwa etya mu kwewaayo eri Katonda?

9 Okuba abantu ba Yakuwa kyaganyula nnyo Abaisiraeri. Yakuwa yali mwesigwa era yabalabirira ng’omuzadde bw’alabirira omwana we. Yagamba Abaisiraeri nti: “Omukazi ayinza okwerabira omwana we ayonka, obutasaasira mwana wa nda ye? Weewaawo, abo bayinza okwerabira, naye siikwerabirenga ggwe.” (Is. 49:15) Yakuwa yabawa obulagirizi okuyitira mu Mateeka, yabawa bannabbi okubakubiriza okugakwata, era yabawa bamalayika okubakuuma. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Alaga Yakobo ekigambo kye, amateeka ge n’emisango gye eri Isiraeri. Takolanga bw’atyo ggwanga lyonna.” (Zab. 147:19, 20; soma Zabbuli 34:7, 19; 48:14.) Nga Yakuwa bwe yalabirira eggwanga lye eryo, bw’atyo bw’alabirira abo abeewaayo gy’ali leero.

Lwaki Tusaanidde Okwewaayo eri Katonda?

10, 11. Tuzaalibwa nga tuli ba mu maka ga Yakuwa? Nnyonnyola.

10 Abamu bwe balowooza ku ky’okwewaayo n’okubatizibwa bayinza okwebuuza, ‘Lwaki sisobola kusinza Katonda nga seewaaddeyo gy’ali?’ Eky’okuddamu kyeyoleka bulungi bwe tulowooza ku nnyimirira gye tulina mu maaso ga Katonda. Jjukira nti olw’ekibi kya Adamu ffenna twazaalibwa nga tuli bweru wa maka ga Katonda. (Bar. 3:23; 5:12) N’olwekyo, tulina okwewaayo eri Katonda tusobole okukkirizibwa mu maka ge. Ka tulabe ensonga lwaki kiri kityo.

11 Tewali n’omu ku ffe ayinza kusikira bulamu butuukiridde kuva ku kitaawe nga Katonda bwe yali ayagala kibe. (1 Tim. 6:19) Tuzaalibwa nga tetuli baana ba Katonda kubanga bazadde baffe ababiri abaasooka bwe baayonoona, abantu bonna baayawulibwa ku Kitaabwe era Omutonzi waabwe. (Geraageranya Ekyamateeka 32:5.) Okuva olwo, abantu bonna okutwalira awamu beeyawula ku Katonda era bali bweru wa maka ga Yakuwa.

12. (a) Abantu aboonoonyi bayinza batya okufuuka ab’omu maka ga Katonda? (b) Mitendera ki gye tulina okuyitamu nga tetunnabatizibwa?

12 Kyokka ng’abantu kinnoomu, tusobola okusaba Katonda okutukkiriza mu maka ge omuli abaweereza be b’asiima. * Kino kisoboka kitya ng’ate tuli boonoonyi? Omutume Pawulo yawandiika nti: “Bwe twali tukyali balabe twatabaganyizibwa ne Katonda okuyitira mu kufa kw’Omwana we.” (Bar. 5:10) Bwe tubatizibwa tuba tusaba Katonda atuwe omuntu ow’omunda omulungi tusobole okukkirizibwa mu maaso ge. (1 Peet. 3:21) Kyokka nga tetunnabatizibwa, waliwo emitendera mwe tulina okuyita. Tuteekwa okumanya Katonda, okuyiga okumwesiga, okwenenya, n’okutereeza amakubo gaffe. (Yok. 17:3; Bik. 3:19; Beb. 11:6) Waliwo n’ekintu ekirala kye tulina okukola nga tetunnakkirizibwa mu maka ga Katonda. Kintu ki ekyo?

13. Lwaki kyetaagisa omuntu okwewaayo eri Katonda okusobola okukkirizibwa mu maka ge?

13 Okusobola okukkirizibwa mu maka ga Katonda, omuntu alina okusooka okukola obweyamo eri Yakuwa. Okutegeera lwaki kino kyetaagisa, lowooza ku musajja ow’ekisa era amanyiddwa ng’omuzadde omulungi ayagala okuyamba omwana enfuuzi amufuule omu ku baana be. Kyokka nga tannakikola, aba ayagala omwana oyo asooke akole obweyamo. Bw’atyo omusajja amugamba nti, “Nga sinnakufuula mutabani wange, njagala weeyame nti ojja kunjagalanga era nti ojja kumpanga ekitiibwa nga kitaawo.” Okusobola okukkirizibwa okufuuka omwana w’awaka, omwana oyo alina okukola obweyamo eri omusajja oyo. Mu ngeri y’emu, abo Yakuwa b’akkiriza mu maka ge beebo bokka abeetegefu okweyama nga beewaayo gy’ali. Baibuli etukubiriza ‘okuwaayo emibiri gyaffe okuba ssaddaaka ennamu, entukuvu, esiimibwa mu maaso ga Katonda.’​—Bar. 12:1.

Ekikolwa Ekiraga Okwagala n’Okukkiriza

14. Okwewaayo kulaga kutya okwagala?

14 Bwe twewaayo eri Yakuwa kiba kiraga nti tumwagala. Kifaananako obweyamo omusajja Omukristaayo bw’akola ng’awasa. Omugole omusajja alaga okwagala kwe nga yeeyama nti ka kibe ki, ajja kuba mwesigwa eri mukyala we. Aba tasuubiza busuubiza kubaako by’akola wabula aba yeeyama eri mukyala we. Aba amanyi nti bwa takola bw’atyo, omukazi oyo tajja kukkiriza kumufumbirwa. Mu ngeri y’emu, naffe tetusobola kuweebwa nkizo ya kuba mu maka ga Yakuwa nga tetwewaddeeyo gy’ali. N’olwekyo, twewaayo eri Katonda wadde nga tetutuukiridde, kubanga twagala okuba abantu be, era nti tuli bamalirivu okumunywererako ka kibe ki.​—Mat. 22:37.

15. Okwewaayo kulaga kutya okukkiriza?

15 Bwe twewaayo eri Katonda kiba kiraga nti tulina okukkiriza. Mu ngeri ki? Okukkiriza kwe tulina mu Yakuwa kutuyamba okukiraba nti kirungi okumusemberera. (Zab. 73:28) Tumanyi nti oluusi kiba kizibu okutambula ne Katonda mu “mulembe guno ogwakyama,” naye tuli bakakafu nti Katonda ajja kutuyamba nga bwe yasuubiza. (Baf. 2:15; 4:13) Tumanyi nti tetutuukiridde, naye tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutukwata na busaasizi nga tukoze ensobi. (Soma Zabbuli 103:13, 14; Abaruumi 7:21-25.) Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa empeera bwe tunaaba abamalirivu okukuuma obugolokofu bwaffe.​—Yob. 27:5.

Okwewaayo eri Katonda Kuvaamu Essanyu

16, 17. Lwaki okwewaayo eri Yakuwa kivaamu essanyu?

16 Okwewaayo eri Yakuwa kireeta essanyu kubanga mulimu okwefiiriza. Yesu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Bik. 20:35) Yesu yafuna essanyu eriva mu kugaba ng’ali mu buweereza bwe ku nsi. Oluusi yalemwanga n’okuwummula oba okulya ng’ayamba abantu okuzuula ekkubo eribatuusa mu bulamu. (Yok. 4:34) Yesu yafuna essanyu mu kukola ebintu ebisanyusa omutima gwa Kitaawe. Yesu yagamba nti: “Bulijjo nkola ebintu ebimusanyusa.”​—Yok. 8:29; Nge. 27:11.

17 Bwe kityo, Yesu yalaga abagoberezi be engeri y’okufunamu essanyu bwe yagamba nti: “Omuntu yenna bw’ayagala okungoberera, alekere awo okwetwala yekka.” (Mat. 16:24) Okukola ekyo kituyamba okusemberera Yakuwa. Waliwo omuntu omulala yenna gwe tuyinza okwesiga okutulabirira obulungi okusinga Yakuwa?

18. Lwaki essanyu eriva mu kutuukiriza obweyamo bwaffe eri Yakuwa lisingira wala eryo lye tufuna nga twewaddeyo eri omuntu oba ekintu ekirala kyonna?

18 Essanyu lye tufuna mu kwewaayo eri Yakuwa ne mu kufuba okutuukiriza obweyamo bwaffe gy’ali lisingira wala nnyo eryo lye tufuna nga twewaddeyo eri omuntu oba ekintu ekirala kyonna. Ng’ekyokulabirako, abantu bangi beemalira mu kunoonya eby’obugagga ne balemwa okufuna essanyu erya nnamaddala n’obumativu. Kyokka abo abeewaayo eri Yakuwa bafuna essanyu ery’olubeerera. (Mat. 6:24) Enkizo ‘ey’okukolera awamu ne Katonda’ ebaleetera essanyu, kyokka tebeewaayo kukola bukozi mulimu wabula beewaayo eri Katonda kennyini. (1 Kol. 3:9) Asiima nnyo omwoyo gw’okwefiiriza gwe balaga. Abaweereza be abeesigwa ajja kubazza buto basole okufuna emikisa gye emirembe gyonna.​—Yob. 33:25; soma Abebbulaniya 6:10.

19. Nkizo ki abo abeewaayo eri Yakuwa gye bafuna?

19 Okwewaayo eri Yakuwa kikuleetera okufuna enkolagana ennungi naye. Baibuli egamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yak. 4:8; Zab. 25:14) Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba ensonga lwaki okubeera omuntu wa Yakuwa kye kintu ekisingayo obulungi kye tuyinza okukola.

[Obugambo obuli wansi]

^ Abagoberezi ba Yesu ‘ab’endiga endala’ tebajja kufuuka baana ba Katonda okutuusa ng’emyaka olukumi giweddeko. Kyokka, olw’okuba baba beewaaddeyo eri Katonda, basobola okumuyita ‘Kitaabwe’ era babalibwa ng’ab’omu maka ga Yakuwa abamusinza.​—Yok. 10:16; Is. 64:8; Mat. 6:9; Kub. 20:5.

[Wandizzeemu Otya?

• Okwewaayo eri Katonda kitegeeza ki?

• Okwewaayo eri Katonda kituganyula kitya?

• Lwaki Abakristaayo balina okwewaayo eri Yakuwa?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Bwe tufuba okutuukiriza obweyamo bwaffe tufuna essanyu ery’olubeerera