Temunakuwazanga Mwoyo gwa Yakuwa Omutukuvu
Temunakuwazanga Mwoyo gwa Yakuwa Omutukuvu
“Temunakuwazanga mwoyo gwa Katonda omutukuvu, ogwakozesebwa okubassaako akabonero.”—BEF. 4:30.
1. Yakuwa akoledde ki obukadde n’obukadde bw’abantu, era nabo balina kukola ki?
YAKUWA alina ekintu eky’enjawulo ky’akoledde obukadde n’obukadde bw’abantu abali mu nsi eno erimu emitawaana. Abasobozesezza okumusemberera okuyitira mu Mwana we, Yesu Kristo. (Yok. 6:44) Bw’oba nga wamala okwewaayo eri Katonda era ng’ofuba okutuukiriza okwewaayo kwo, oli omu ku bantu abo. Olw’okuba wabatizibwa mu linnya ly’omwoyo omutukuvu, olina okufuba okugoberera obulagirizi bw’omwoyo ogwo.—Mat. 28:19.
2. Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?
2 Ffe ‘abasigira omwoyo’ twambala omuntu omuggya. (Bag. 6:8; Bef. 4:17-24) Naye omutume Pawulo atulabula okwewala okunakuwaza omwoyo gwa Katonda omutukuvu. (Soma Abeefeso 4:25-32.) Kati ka twetegereze ebigambo bya Pawulo ebyo. Pawulo yali ategeeza ki bwe yayogera ku kunakuwaza omwoyo gwa Katonda? Omuntu eyamala okwewaayo eri Yakuwa ayinza atya okunakuwaza omwoyo omutukuvu? Era tuyinza tutya okwewala okunakuwaza omwoyo gwa Yakuwa?
Pawulo Kye Yali Ategeeza
3. Ebigambo ebiri mu Abeefeso 4:30 bitegeeza ki?
3 Okusookera ddala, weetegereze ebigambo bya Pawulo ebiri mu Abeefeso 4:30. Yawandiika nti: “Temunakuwazanga mwoyo gwa Katonda omutukuvu, ogwakozesebwa okubassaako akabonero okutuusa ku lunaku lwe mujja okusumululwa ekinunulo.” Pawulo yali tayagala bakkiriza banne kwonoona nkolagana yaabwe ne Katonda. Omwoyo gwa Yakuwa gwe gwakozesebwa “okubassaako akabonero okutuusa ku lunaku lwe [ba]jja okusumululwa ekinunulo.” Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gwali era gukyali kabonero, oba “obukakafu ku ekyo ekigenda okujja” eri abaafukibwako amafuta abeesigwa. (2 Kol. 1:22) Akabonero ako kalaga nti Katonda y’abalinako obwannannyini era nti essuubi lyabwe lya kubeera mu ggulu. Abo abateekebwako akabonero bonna awamu bali 144,000.—Kub. 7:2-4.
4. Lwaki tulina okwewala okunakuwaza omwoyo gwa Katonda?
4 Okunakuwaza omwoyo kiyinza okuviirako Omukristaayo okuggibwako omwoyo gwa Katonda omutukuvu. Kino kyeyolekera mu bigambo Dawudi bye yayogera oluvannyuma lw’okwenda ne Basuseba. Dawudi yeenenyeza Yakuwa ng’agamba nti: “Tongoba w’oli; so tonzi[g]yaako omwoyo gwo omutukuvu.” (Zab. 51:11) Abaafukibwako amafuta abasigala nga ‘beesigwa okutuukira ddala ku kufa’ be bokka abajja kufuna “engule” ey’obulamu obw’omu ggulu obutasobola kuzikirizibwa. (Kub. 2:10; 1 Kol. 15:53) Abakristaayo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi nabo beetaaga omwoyo omutukuvu okusobola okusigala nga beesigwa eri Katonda era n’okufuna ekirabo kye eky’obulamu okuyitira mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo. (Yok. 3:36; Bar. 5:8; 6:23) N’olwekyo, ffenna tulina okwewala okunakuwaza omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu.
Omukristaayo Ayinza Atya Okunakuwaza Omwoyo?
5, 6. Omukristaayo ayinza atya okunakuwaza omwoyo gwa Yakuwa?
5 Ng’Abakristaayo abeewaddeyo eri Katonda, tusobola okwewala okunakuwaza omwoyo. Kino kisoboka singa tufuba ‘okutambulira mu mwoyo n’okukkiriza gutukulembere.’ Okukola ekyo kijja kutuyamba okwewala okwegomba kw’omubiri n’ebikolwa ebibi. (Bag. 5:16, 25, 26) Kyokka ebintu biyinza okukyuka. Tuyinza okutandika okutwalirizibwa ebikolwa ebivumirirwa mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa omwoyo, oluusi nga tetukigenderedde, ekyo ne kituleetera okunakuwaza omwoyo gwa Katonda.
6 Singa tugaana okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, tujja kugunakuwaza era tunakuwaze ne Yakuwa, Ensibuko y’omwoyo ogwo. N’olwekyo, okwekenneenya ebiri mu Abeefeso 4:25-32 kijja kutuyamba okulaba engeri gye tusaanidde okweyisaamu era n’engeri gye tuyinza okwewala okunakuwaza omwoyo gwa Katonda.
Engeri y’Okwewalamu Okunakuwaza Omwoyo
7, 8. Lwaki tuteekwa okuba ab’amazima?
7 Tuteekwa okuba ab’amazima. Mu Abeefeso 4:25, Pawulo yawandiika nti: “Kaakano nga bwe mweyambudde obulimba, mwogere amazima buli muntu eri munne, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu.” Okuva bwe kiri nti “tuli bitundu bya mubiri gumu,” tusaanidde okwewala okubuzaabuza bakkiriza bannaffe, kubanga kuno nakwo kuba kulimba. Abantu abalina omuze ogwo basobola okufiirwa enkolagana yaabwe ne Katonda.—Soma Engero 3:32.
8 Ebigambo eby’obulimba n’ebikolwa eby’obutali bwesigwa bisobola okumalawo obumu mu kibiina. N’olwekyo, tusaanidde okuba nga nnabbi Danyeri, eyali omwesigwa mu buli kimu. (Dan. 6:4) Era tulina okujjukiranga ebigambo bya Pawulo eri Abakristaayo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu nti buli omu ku abo abali mu ‘mubiri gwa Kristo’ wa mubiri gumu ne banne era alina okusigala ng’ali bumu n’abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta abeesigwa. (Bef. 4:11, 12) Ka tube nga tulina ssuubi lya kubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi, naffe tulina okwogera amazima, tusobole okukuuma obumu obuli mu kibiina Ekikristaayo mu nsi yonna.
9. Lwaki kikulu nnyo okukolera ku bigambo ebiri mu Abeefeso 4:26, 27?
9 Tuteekwa okuziyiza Omulyolyomi tuleme kumuwa mwagaanya kwonoona nkolagana yaffe ne Katonda. (Yak. 4:7) Omwoyo omutukuvu gutuyamba okuziyiza Sitaani. Ng’ekyokulabirako, gusobola okutuyamba okwewala okusiba ekiruyi. Pawulo yawandiika nti: “Musunguwalenga naye temwonoona; enjuba eremenga okugwa nga mukyali basunguwavu, era temuwanga Mulyolyomi mwagaanya.” (Bef. 4:26, 27) Bwe wabaawo ensonga entuufu etuleetedde okunyiiga, okusaba amangu ago mu kasirise kiyinza okutuyamba okufuna “omwoyo ogw’emmizi,” ne tusobola okwefuga mu kifo ky’okukola ekintu ekiyinza okunakuwaza omwoyo gwa Katonda. (Nge. 17:27) N’olwekyo, ka twewale okusigala nga tusunguwadde ekiyinza okuwa Sitaani akakisa okutuleetera okukola ekintu ekibi. (Zab. 37:8, 9) Engeri emu kino gye tuyinza okukyewala kwe kugonjoola obutategeeragana mu bwangu nga tugoberera obulagizi Yesu bwe yawa.—Mat. 5:23, 24; 18:15-17.
10, 11. Lwaki tulina okwewala okubba oba okukola ekintu kyonna ekitali kya bwesigwa?
10 Tetulina kukkiriza kintu kyonna kutuleetera kubba oba obutaba beesigwa. Ng’ayogera ku bubbi, Pawulo yagamba nti: “Omubbi alemenga okubba nate, wabula afube okukola, ng’akola n’emikono gye omulimu omulungi asobole okubaako ne ky’awa omuntu ali mu bwetaavu.” (Bef. 4:28) Singa Omukristaayo abba, ‘ayogera bubi ku linnya lya Katonda’ ng’alireetako ekivume. (Nge. 30:7-9) Omuntu talina kwekwasa bwavu ng’ensonga eyandimuleetedde okubba. Abo abaagala Katonda ne bantu bannaabwe bakimanyi nti tewali nsonga muntu gy’ayinza kwekwasa kubba.—Mak. 12:28-31.
11 Pawulo takoma ku kwogera bwogezi ku bintu bye tutasaanidde kukola naye era ayogera ne ku ebyo bye tusaanidde okukola. Bwe tuba tutambulira mu mwoyo era ne tukkiriza gutukulembere, tujja kukola kyoona ekisoboka okulabirira ab’omu maka gaffe era tufune ne kye ‘tusobola okuwa omuntu ali mu bwetaavu.’ (1 Tim. 5:8) Yesu n’abatume be baaterekanga ssente okusobola okuyamba abaavu, kyokka Yuda Isukalyoti yatwalanga ku ssente ezo. (Yok. 12:4-6) Tewali kubuusabuusa nti yali takulemberwa mwoyo mutukuvu. Ffe abakulemberwa omwoyo gwa Katonda “twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna,” nga Pawulo bwe yali. (Beb. 13:18) Bwe kityo twewala okunakuwaza omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu.
Engeri Endala gye Tuyinza Okwewalamu Okunakuwaza Omwoyo
12, 13. (a) Nga bwe kiragibwa mu Abeefeso 4:29, bigambo bya ngeri ki bye tulina okwewala? (b) Bigambo bya ngeri ki bye tusaanidde okwogera?
12 Tulina okwegendereza bye twogera. Pawulo yagamba nti: “Ekigambo ekivundu tekivanga mu kamwa kammwe, naye mwogerenga ekirungi ekizimba abalala nga bwe kiba kyetaagisa, kisobole okuganyula abawuliriza.” (Bef. 4:29) Ne wano, omutume oyo takoma ku kutubuulira kye tutasaanidde kukola naye era atubuulira kye tusaanidde okukola. Okugoberera obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda kijja kutuyamba ‘okwogera ekirungi ekizimba abalala nga bwe kiba kyetaagisa, kisobole okuganyula abawuliriza.’ Ate era tetulina kuleka ‘kigambo kivundu’ kuva mu kamwa kaffe. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “ekivundu” kisobola okukozesebwa ku bintu gamba ng’ebibala, ennyama, oba ebyennyanja ebiba byonoonese era nga biwunya. Nga bwe tutayagala bintu ng’ebyo ebiba byonoonese, bwe tutyo bwe tukyawa enjogera Yakuwa gy’atwala nga mbi.
13 Ebigambo bye twogera bisaanidde okuba nga birungi, nga bya kisa, era nga “binoze omunnyo.” (Bak. 3:8-10; 4:6) Abantu balina okukiraba nti tuli ba njawulo bwe bawulira bye twogera. N’olwekyo, ka tuyambe abalala nga twogera ebigambo ‘ebirungi era ebizimba.’ Era ka tube ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Ebigambo by’omu kamwa kange n’okulowooza okw’omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go, Ai Mukama, olwazi lwange, era omununuzi wange.”—Zab. 19:14.
14. Okusinziira ku Abeefeso 4:30, 31, tulina kwewala ki?
14 Tulina okwewala okusiba ekiruyi, okusunguwala, okuyomba, okuvuma, n’obubi bwonna. Oluvannyuma lw’okulabula ku kunakuwaza omwoyo gwa Katonda, Pawulo yawandiika nti: “Okusiba ekiruyi, okunyiiga, okusunguwala, okuyomba, okuvuma, awamu n’obubi bwonna biggyibwe mu mmwe.” (Bef. 4:30, 31) Ng’abantu abatatuukiridde, ffenna tulina okwegendereza bye tulowooza ne bye tukola. Singa tetwewala ‘kusiba kiruyi, kunyiiga, na kusunguwala,’ tusobola okunakuwaza omwoyo gwa Katonda. Era bwe kityo bwe kiba singa tukuumira ebikyamu ebiba bitukoleddwa ku mitima gyaffe era ne tugaana okusonyiwa abo ababa batunyiizizza. Ate era singa tugaana obulagirizi obutuweebwa okuva mu Baibuli, tusobola okufuna emize egiyinza okutuleetera okwonoona eri omwoyo bwe kityo ne kituviiramu emitawaana egy’amaanyi.
15. Bwe wabaawo atukoze ekibi, tusaanidde kukola ki?
15 Tulina okuba ab’ekisa, abasaasizi, era abasonyiwa. Pawulo yawandiika nti: “Mubeerenga ba kisa buli muntu eri munne, nga musaasiragana, nga musonyiwagana nga Katonda bwe yabasonyiwa okuyitira mu Kristo.” (Bef. 4:32) Ne bwe tuba nga tuyisiddwa bubi nnyo olw’ekibi ekiba kitukoleddwa, ka tube beetegefu okusonyiwa, nga Katonda bw’akola. (Luk. 11:4) Ate kiri kitya singa mukkiriza munnaffe atwogerako ebigambo ebitali birungi? Tusaanidde okumutuukirira nga tulina ekigendererwa eky’okuzzaawo enkolagana ennungi naye. Singa akiraga nti anakuwalidde ekyo ky’aba akoze era n’asaba okusonyiyibwa, tulina okumusonyiyira ddala. Eby’Abaleevi 19:18 wagamba nti: “Towalananga ggwanga, so tobanga na nge yonna eri abaana b’abantu bo, naye onooyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka: nze Mukama.”
Tulina Okuba Obulindaala
16. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti tulina okukola enkyukakyuka okusobola okwewala okunakuwaza omwoyo gwa Yakuwa.
16 Ne bwe tuba nga tuli ffekka, tusobola okukemebwa okukola ekintu ekitasanyusa Katonda. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda ayinza okuba ng’abadde awuliriza ennyimba ezitasaana. Oluvannyuma omuntu we ow’omunda atandika okumulumiriza olw’obutagoberera kulabulwa okuweebwa okuyitira mu bitabo ebikubibwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” (Mat. 24:45) Ekizibu kino akissa mu kusaba kwe era n’ajjukira ebigambo bya Pawulo ebiri mu Abeefeso 4:30. Amalirira obutaddamu kukola kintu kyonna kiyinza kunakuwaza mwoyo gwa Katonda era n’obutaddamu kuwuliriza nnyimba zitasaana. Awatali kubuusabuusa, Yakuwa asobola kumuyamba okuvvuunuka ekizibu ekyo. N’olwekyo, ka twegendereze obutakola kintu kyonna kiyinza kunakuwaza mwoyo gwa Katonda.
17. Kiki ekiyinza okubaawo singa tetuba bulindaala era ne tunyiikirira okusaba?
17 Singa tetuba bulindaala era ne tunyiikirira okusaba, tusobola okutwalirizibwa ebikolwa ebibi ebiyinza okunakuwaza omwoyo. Olw’okuba omwoyo omutukuvu ge maanyi Kitaffe ow’omu ggulu g’akozesa okutuukiriza by’ayagala, okunakuwaza oba okunyiiza omwoyo ogwo kitegeeza kunakuwaza Yakuwa—ekintu kye tutayagalira ddala kukola. (Bef. 4:30) Abawandiisi Abayudaaya mu kyasa ekyasooka baagamba nti ebyamagero Yesu bye yakola, yabikola mu maanyi ga Sitaani. (Soma Makko 3:22-30.) Abalabe ba Kristo abo ‘bavvoola omwoyo omutukuvu’ bwe batyo baakola ekibi ekitasonyiyibwa. Ka tufube okwewala ekyo okututuukako!
18. Tuyinza tutya okumanya obanga tetukoze kibi ekitasonyiyibwa?
18 Olw’okuba tetwagala na kugezaako kukola kibi ekitasonyiyibwa, tusaanidde okujjukira ebyo Pawulo bye yayogera ku kwewala okunakuwaza omwoyo. Ate kiri kitya singa tuba tukoze ekibi eky’amaanyi? Bwe tuba nga twenenyezza era nga tuyambiddwa abakadde, tusobola okugamba nti Katonda atusonyiye era nti tetwonoonye eri omwoyo omutukuvu. Era Katonda asobola okutuyamba okwewala okuddamu okukola ekintu kyonna ekiyinza okunakuwaza omwoyo gwe.
19, 20. (a) Ebimu ku bintu bye tulina okwewala bye biruwa? (b) Tulina kuba bamalirivu kukola ki?
19 Ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, Katonda ayamba abantu be okwagalana, okuba abasanyufu, n’okuba obumu. (Zab. 133:1-3) N’olwekyo, ka twewale eŋŋambo n’okwogera obubi ku basumba abalondeddwa omwoyo, ekintu ekiyinza okunakuwaza omwoyo. (Bik. 20:28; Yud. 8) Mu kifo ky’ekyo, ka tufube okutumbula obumu mu kibiina n’okussa ekitiibwa mu b’oluganda. Era ka twewalire ddala okukola obukuukuulu mu kibiina. Pawulo yawandiika nti: “Ab’oluganda, mbakubiriza mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo okubeeranga obumu mu bye mwogera, era waleme kubangawo njawukana mu mmwe, naye mubeerenga bumu mu ndowooza ne mu kigendererwa.”—1 Kol. 1:10.
20 Yakuwa mwetegefu okutuyamba okwewala okunakuwaza omwoyo gwe. N’olwekyo, ka tweyongere okumusaba atuwe omwoyo omutukuvu era tube bamalirivu obutagunakuwaza. Era ka tweyongere ‘okusigira omwoyo,’ nga tugoberera obulagirizi bwagwo kati n’emirembe n’emirembe.
Wandizzeemu Otya?
• Kitegeeza ki okunakuwaza omwoyo gwa Katonda?
• Omuntu eyeewaayo eri Yakuwa ayinza atya okunakuwaza omwoyo omutukuvu?
• Tuyinza tutya okwewala okunakuwaza omwoyo omutukuvu?
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Mugonjoole obutategeeragana mu bwangu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Ebigambo by’oyogera biyinza kugeraageranyizibwa ku bibala ki?