Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okkiriza Omwoyo gwa Katonda Okukukulembera?

Okkiriza Omwoyo gwa Katonda Okukukulembera?

Okkiriza Omwoyo gwa Katonda Okukukulembera?

“Omwoyo gwo mulungi; onnuŋŋamize mu nsi ey’obutuukirivu.”​—ZAB. 143:10.

1, 2. (a) Ebimu ku byokulabirako ebiraga engeri Yakuwa gye yakozesa omwoyo omutukuvu okuyamba abantu be bye biruwa. (b) Waliwo ebiseera eby’enjawulo Katonda mw’atuweera omwoyo gwe omutukuvu? Nnyonnyola.

 KIKI ekikujjira mu birowoozo bw’olowooza ku ngeri Katonda gy’akozesaamu omwoyo gwe omutukuvu? Kikuleetera okulowooza ku bintu eby’ekitalo Gidiyooni ne Samusooni bye baakola? (Balam. 6:33, 34; 15:14, 15) Oba kikuleetera okulowooza ku buvumu Abakristaayo abaasooka bwe baayoleka oba ku bukkakkamu Suteefano bwe yayoleka ng’ali mu maaso g’Olukiiko Olukulu? (Bik. 4:31; 6:15) Kyandiba nga kikuleetera okulowooza ku ssanyu ab’oluganda lye baba nalyo nga bali mu nkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna, ku buvumu ab’oluganda bwe booleka nga basibiddwa mu makomera olw’obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi, oba ku kukulaakulana okw’amaanyi okubaddewo mu mulimu gw’okubuulira? Ebyokulabirako ebyo byonna bukakafu obulaga nti Katonda akozesa omwoyo gwe omutukuvu.

2 Kyandiba nti waliwo ebiseera eby’enjawulo Katonda mw’atuweera omwoyo gwe omutukuvu oba nti agutuwa tuli mu mbeera nzibu mwokka? Nedda. Ekigambo kya Katonda kiraga nti Abakristaayo ‘batambulira mu mwoyo’ era ‘bakulemberwa omwoyo.’ (Bag. 5:16, 18, 25) Ebigambo ebyo biraga nti omwoyo omutukuvu gusobola okutukulembera ekiseera kyonna. Tusaanidde okusaba Yakuwa buli lunaku atuwe omwoyo gwe, gutuyambe okulowooza, okwogera, n’okweyisa mu ngeri gy’asiima. (Soma Zabbuli 143:10.) Bwe tukkiriza omwoyo okutukulembera, gujja kutusobozesa okwoleka ekibala kyagwo, ekyo kituyambe okuzzaamu abalala amaanyi n’okuweesa Katonda ekitiibwa.

3. (a) Lwaki kikulu nnyo okukulemberwa omwoyo omutukuvu? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?

3 Lwaki kikulu nnyo okukulemberwa omwoyo omutukuvu? Kubanga waliwo amaanyi amalala agaagala okutufuga, ate ng’amaanyi ago gakontana n’omwoyo omutukuvu. Amaanyi ago googerwako mu Byawandiikibwa ‘ng’omubiri,’ obutali butuukirivu bwe twasikira okuva ku Adamu. (Soma Abaggalatiya 5:17.) Kati olwo kiki ekizingirwa mu kukkiriza omwoyo gwa Katonda okutukulembera? Waliwo ebintu bye tusobola okukola okulwanyisa obunafu bw’omubiri gwaffe? Ka tufune eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo nga twekeneenya engeri endala mukaaga eziri mu ‘kibala ky’omwoyo’​—“okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obukkakkamu, okwefuga.”​—Bag. 5:22, 23.

Obukkakkamu n’Okugumiikiriza Biyamba mu Kutumbula Emirembe mu Kibiina

4. Obukkakkamu n’okugumiikiriza biyamba bitya mu kutumbula emirembe mu kibiina?

4 Soma Abakkolosaayi 3:12, 13. Obukkakkamu n’okugumiikiriza biyamba mu kutumbula emirembe mu kibiina. Engeri zino zombi eziri mu kibala ky’omwoyo zituyamba okuyisa abalala obulungi, okusigala nga tuli bakkakkamu wadde nga tuyisiddwa bubi, n’okwewala okuwoolera eggwanga nga waliwo omuntu ayogedde oba akoze ekintu ekituyisizza obubi. Bwe tufuna obutategeeragana ne Bakristaayo bannaffe, okugumiikiriza, oba obugumiikiriza, kujja kutuyamba obutalekulira kufuba kuzzaawo mirembe. Naye ddala obukkakkamu n’obugumiikiriza bwetaagisa mu kibiina? Yee, kubanga ffenna tetutuukiridde.

5. Kiki ekyaliwo wakati wa Pawulo ne Balunabba, era ekyo kiraga ki?

5 Lowooza ku ekyo ekyaliwo wakati wa Pawulo ne Balunabba. Baali bamaze ebbanga ddene nga bakolera wamu mu kubunyisa amawulire amalungi. Buli omu ku bo yalina engeri ennungi. Naye lumu waaliwo “okuwakana okw’amaanyi wakati waabwe, ne baawukana.” (Bik. 15:36-39) Kino kiraga nti n’abaweereza ba Katonda abeesigwa ebiseera ebimu basobola okufuna obutategeeragana. Singa Omukristaayo afuna obutategeeragana ne mukkiriza munne, kiki ky’ayinza okukola okwewala okuyomba, ekintu ekiyinza okwonoona enkolagana yaabwe?

6, 7. (a) Magezi ki ag’omu Byawandiikibwa ge tusaanidde okukolerako okusobola okwewala okuyomba ne bakkiriza bannaffe? (b) Miganyulo ki egiri mu ‘kubeera omwangu okuwuliriza, okulwawo okwogera, n’okulwawo okusunguwala’?

6 Obutategeeregana obwabalukawo wakati wa Pawulo ne Balunabba bwavaamu “okuwakana okw’amaanyi.” Omukristaayo bw’aba alina ensonga gy’ayogerako ne mukkiriza munne, naye n’akiraba nti atandise okusunguwala, kiba kirungi okukolera ku magezi agali mu Yakobo 1:19, 20 awagamba nti: “Buli muntu abe mwangu wa kuwuliriza, alwewo okwogera, alwewo okusunguwala; kubanga obusungu bw’omuntu tebuleeta butuukirivu bwa Katonda.” Ayinza okusalawo okukyusa emboozi, okwogera ku nsonga eyo omulundi omulala, oba okuvaawo ng’emboozi tennaba kuvaamu luyombo.​—Nge. 12:16; 17:14; 29:11.

7 Miganyulo ki egiri mu kukolera ku magezi ago? Singa Omukristaayo asooka n’akkakkana, n’asaba, era n’alowooza ku ngeri gy’ayinza okwanukulamu, aba alaga nti akkiriza okukulemberwa omwoyo gwa Katonda. (Nge. 15:1, 28) Omukristaayo akulemberwa omwoyo omutukuvu, asobola okwoleka obukkakkamu n’obugumiikiriza. Bw’atyo aba asobola okukolera ku magezi agali mu Abeefeso 4:26, 29 awagamba nti: “Musunguwalenga naye temwonoona . . . Ekigambo ekivundu tekivanga mu kamwa kammwe, naye mwogerenga ekirungi ekizimba abalala nga bwe kiba kyetaagisa, kisobole okuganyula abawuliriza.” Mu butuufu, bwe twambala obukkakkamu n’obugumiikiriza, tuyamba mu kukuuma emirembe n’obumu mu kibiina.

Zzaamu ab’Omu Maka Go Amaanyi ng’Oyoleka Ekisa n’Obulungi

8, 9. Ekisa kye ki, obulungi kye ki, era engeri ezo ziganyula zitya amaka?

8 Soma Abeefeso 4:31, 32; 5:8, 9. Ng’akawewo akalungi n’amazzi agannyogoga bwe biweweeza omuntu mu ttuntu, ekisa n’obulungi nabyo biweweeza. Obulungi n’ekisa biyamba amaka okubaamu essanyu. Ekisa ngeri nnungi nnyo omuntu gy’ayoleka ng’afaayo ku balala mu bwesimbu, era akyoleka nti afaayo ku balala mu bigambo ne mu bikolwa. Okufaananako ekisa, obulungi nayo ngeri nnungi nnyo omuntu gy’ayolekera mu bikolwa ebiganyula abalala. Omuntu alina engeri eyo aba n’omwoyo omugabi. (Bik. 9:36, 39; 16:14, 15) Naye obulungi busingawo ku kugaba obugabi.

9 Obulungi kwe kuba n’empisa ennungi. Buzingiramu ebyo bye tukola, naye okusingira ddala buzingiramu ekyo kye tuli munda. Obulungi bulinga ekibala ekirungi kungulu ne munda. Obulungi omwoyo omutukuvu gwe buyamba Omukristaayo okukulaakulanya bweyolekera mu bulamu bwe bwonna.

10. Kiki ekiyinza okuyamba abo abali mu maka Amakristaayo okukulaakulanya ekibala ky’omwoyo?

10 Kiki ekiyinza okuyamba buli omu mu maka Amakristaayo okwoleka ekisa n’obulungi? Okumanya okutuufu okuli mu Kigambo kya Katonda. (Bak. 3:9, 10) Emitwe gy’amaka abamu bakola enteekateeka okusoma ku kibala ky’omwoyo mu Kusinza kwabwe okw’Amaka. Kino si kizibu kukola. Nga mukozesa ebitabo ebitali bimu, musobola okunoonyereza ku ngeri eziri mu kibala ky’omwoyo. Musobola okusoma ku ngeri emu okumala wiiki eziwerako, nga buli wiiki mubaako obutundu obutonotono bwe musoma obukwata ku ngeri eyo. Bwe muba musoma, mufube okusoma ebyawandiikibwa ebiweereddwa era mubikubaganyeeko ebirowoozo. Mufube okufumiitiriza ku ebyo bye musoma era musabe Yakuwa abayambe okubikolerako. (1 Tim. 4:15; 1 Yok. 5:14, 15) Ddala okuyiga ku ngeri ezo kisobola okuyamba abo abali mu maka Amakristaayo okukolagana obulungi?

11, 12. Abafumbo abamu baaganyulwa batya mu kusoma ku kisa?

11 Ow’oluganda omu ne mukyala we abaali baakafumbiriganwa, abaali baagala okuba n’obufumbo obulungi, baasalawo okusoma n’okunoonyereza ku kibala ky’omwoyo. Ekyo kibayambye kitya? Omukyala agamba nti: “Okuyiga nti ekisa kizingiramu okuba omwesigwa eri munno mu bufumbo kituyambye okumanya engeri buli omu gy’asaanidde okuyisaamu munne. Kituyambye okuyiga okusonyiwagana n’obutaba bakakanyavu. Era kituyambye okuyiga okukozesa ebigambo, gamba nga ‘weebale nnyo’ ne ‘nsonyiwa,’ bwe kiba kyetaagisa.”

12 Ow’oluganda omulala ne mukyala we, abaalina ebizibu mu bufumbo bwabwe, baakizuula nti baali beetaaga okuyiga okulagaŋŋana ekisa. Baasalawo okuyiga ku kisa. Biki ebyavaamu? Omwami agamba nti: “Okuyiga ku kisa kyatuyamba okukiraba nti buli omu asaanidde okunoonyanga ebirungi mu munne mu kifo ky’okumunoonyangamu ensobi. Buli omu yayiga okufaayo ennyo ku byetaago bya munne. Okuba ow’ekisa kyannyamba okuyiga okuwuliriza mukyala wange ng’aliko ky’aŋŋamba ne bwe kiba nti by’ayogera tebinsanyusa. Kino kyali kineetaagisa okweggyamu amalala. Bwe twatandika okwoleka ekisa mu bufumbo bwaffe, twagenda tweggyamu mpolampola omuze gw’okwewolereza. Ekyo kyatuyamba okufuna essanyu.” Olowooza n’ab’omu maka go tebaaganyulwe nnyo singa musoma ku kibala ky’omwoyo?

Yoleka Okukkiriza ng’Oli Wekka

13. Bintu ki ebisobola okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa?

13 Abakristaayo beetaaga okukkiriza omwoyo gwa Katonda okubakulembera ne bwe baba nga bali bokka. Ebifaananyi eby’obugwenyufu n’eby’okwesanyusaamu ebitasaana bicaase nnyo mu nsi ya Sitaani leero. Ebintu ebyo bisobola okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Kati olwo Omukristaayo asaanidde kukola ki? Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Mweggyeko obugwagwa bwonna n’obubi ebitalina mugaso, era mukkirize n’obuwombeefu okusigibwamu ekigambo ekiyinza okuwonya obulamu bwammwe.” (Yak. 1:21) Kati ka tulabe engeri okukkiriza, engeri endala eri mu kibala ky’omwoyo, gye kuyinza okutuyamba okusigala nga tuli bayonjo mu maaso ga Yakuwa.

14. Obutaba na kukkiriza kiyinza kitya okutuleetera okukola ebintu ebibi?

14 Bwe tuba n’okukkiriza okwa nnamaddala, Yakuwa Katonda aba wa ddala gye tuli. Naye Katonda bw’ataba wa ddala gye tuli, kitubeerera kyangu okwenyigira mu bikolwa ebibi. Lowooza ku ekyo abantu ba Katonda abaaliwo mu biseera by’edda kye baakola. Yakuwa yalaga nnabbi Ezeekyeri ebintu eby’omuzizo abantu abo bye baali bakola mu kyama, era n’amugamba nti: “Omwana w’omuntu, olabye abakadde ab’omu nnyumba ya Isiraeri kye bakolera mu kizikiza, buli muntu mu bisenge bye ebirimu ebifaananyi? kubanga boogera nti Mukama tatulaba; Mukama yaleka ensi.” (Ez. 8:12) Olabye obuzibu we bwava? Baali tebakkiriza nti Yakuwa yali alaba ebyo bye baali bakola. Yakuwa teyali wa ddala gye bali.

15. Okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa kituyamba kitya?

15 Ku luuyi olulala, lowooza ku kyokulabirako kya Yusufu. Wadde nga yali wala nnyo okuva ku b’omu maka ge awamu n’abantu be, Yusufu yagaana okwenda ku muka Potifaali. Lwaki? Yagamba nti: “Nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n’okusobya [mu maaso ga] Katonda?” (Lub. 39:7-9) Yee, Yakuwa yali wa ddala gy’ali. Mu ngeri y’emu, Katonda bw’aba nga wa ddala gye tuli, tetujja kulaba bintu bya bugwenyufu wadde okukola ekintu kyonna ekitamusanyusa mu nkukutu. Tujja kuba ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Nnaatambuliranga mu nnyumba yange n’omutima ogutuukiridde. Siiteekenga kintu kyonna ekitasaana mu maaso gange.”​—Zab. 101:2, 3.

Kuuma Omutima Gwo nga Weefuga

16, 17. (a) Nga bwe kiragibwa mu kitabo ky’Engero, “omuvubuka atalina kutegeera” atuuka atya okugwa mu kibi? (b) Nga bwe kiragibwa ku lupapula 26, ekyo ekyatuuka ku muvubuka oyo kiyinza kitya okututuukako leero ka tube ba myaka ki?

16 Okwefuga, engeri esembayo eri mu kibala ky’omwoyo, kutuyamba okwewala okukola ebintu Katonda by’akyawa. Kutuyamba okukuuma omutima gwaffe. (Nge. 4:23) Lowooza ku ‘muvubuka atalina kutegeera’ ayogerwako mu Engero 7:6-23, akkiriza okusendebwasendebwa malaaya. Agwa mu katego ka malaaya ono oluvannyuma ‘lw’okuyita mu luguudo okumpi n’omugguukiriro gwe.’ Ayinza okuba nga yasalawo okuyitako mu kifo malaaya oyo we yabeeranga ng’ayagala okumanya ebifaayo. Yalemererwa okukiraba nti yali akutte ekkubo ekyamu eryandimuviiriddemu ‘okufiirwa obulamu bwe.’

17 Omuvubuka oyo yandisobodde atya okwewala ensobi eyo ey’amaanyi? Yandisobodde okugyewala ng’akolera ku magezi gano: “Towabiranga mu mpenda ze.” (Nge. 7:25) Ekyo kituyigiriza nti: Bwe tuba twagala omwoyo gwa Katonda okutukulembera, tuteekwa okwewala embeera eziyinza okututeeka mu bikemo. Engeri emu omuntu gy’ayinza okukwata ekkubo ekyamu, okufaananako “omuvubuka atalina kutegeera,” kwe kumala galaba buli programu ya ttivi n’okugenda ku buli mukutu gwa Intaneeti gw’asanze. K’abe ng’akigenderedde oba nedda, ayinza okwesanga ng’agudde ku bintu ebiyinza okusiikuula okwegomba kwe okw’okwetaba. Ekyo kiyinza okumuleetera okufuna omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu, ekintu ekiyinza okwonoona omuntu we ow’omunda awamu n’enkolagana ye ne Katonda. Kisobola okumuleetera okufiirwa obulamu bwe.​—Soma Abaruumi 8:5-8.

18. Bintu ki Omukristaayo by’ayinza okukola okusobola okukuuma omutima gwe, era lwaki kyetaagisa okwefuga okusobola okubikola?

18 Kya lwatu nti tusaanidde okwefuga nga tubaako kye tukolawo mu bwangu singa mu butanwa tukuba eriiso ku bifaananyi eby’obugwenyufu. Naye nga kiba kya magezi okwewala okweteeka mu mbeera eyinza okutuleetera okubiraba! (Nge. 22:3) Waliwo ebintu bye tuyinza okukola okusobola okwewala okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu era ng’okusobola okubikola kyetaagisa okwefuga. Ng’ekyokulabirako, osobola okuteeka kompyuta mu kifo abalala we basobola okukulabira ng’ogikozesa. Abamu basazeewo obutateekako kompyuta oba ttivi okuggyako nga waliwo abantu abalala. Abalala basazeewo obuteeyunga ku Intaneeti. (Soma Matayo 5:27-30.) Ka tukole kyonna ekisoboka okwekuuma n’okukuuma ab’omu maka gaffe tusobole okusigala nga tusinza Yakuwa “okuva mu mutima omulongoofu, mu muntu ow’omunda omulungi ne mu kukkiriza okutaliimu bukuusa.”​—1 Tim. 1:5.

19. Miganyulo ki egiri mu kukkiriza omwoyo omutukuvu okutukulembera?

19 Ekibala omwoyo omutukuvu gwe kitusobozesa okukulaakulanya kivaamu emiganyulo mingi. Obukkakkamu n’okugumiikiriza bituyamba okuleetawo emirembe mu kibiina. Ekisa n’obulungi biyamba amaka okubaamu essanyu. Okukkiriza n’okwefuga bituyamba okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa n’okuba abayonjo mu maaso ge. Ate era, Abaggalatiya 6:8 watukakasa nti: “Oyo asigira omwoyo alikungula obulamu obutaggwaawo okuva mu mwoyo.” Yee, ng’asinziira ku kinunulo kya Kristo, Yakuwa ajja kukozesa omwoyo gwe omutukuvu okuwa obulamu obutaggwaawo abo abakkiriza okukulemberwa omwoyo ogwo.

Wandizzeemu Otya?

• Obukkakkamu n’okugumiikiriza bisobola bitya okuyamba mu kukuuma emirembe mu kibiina?

• Kiki ekiyinza okuyamba Abakristaayo okwoleka ekisa n’obulungi mu maka?

• Okukkiriza n’okwefuga bisobola bitya okuyamba Omukristaayo okukuuma omutima gwe?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Tuyinza tutya okwewala okuyomba nga tulina ensonga gye twogerako?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Okusoma ku kibala ky’omwoyo kisobola okuganyula amaka go

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Bintu ki bye tusobola okwewala singa tuba n’okukkiriza era nga twefuga?