Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa—Mukwano Gwaffe Asingayo

Yakuwa—Mukwano Gwaffe Asingayo

‘Ibulayimu yayitibwa “mukwano gwa Yakuwa.”’YAK. 2:23.

1. Okuva bwe kiri nti twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, busobozi ki bwe tulina?

ABAANA babaako ebintu bye bafaanaganya ne bazadde baabwe. Ekyo kiri bwe kityo kubanga buli mwana abaako engeri z’afuna okuva ku maama we ne taata we. Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu ye nsibuko y’obulamu. (Zab. 36:9) Olw’okuba tuli baana ba Yakuwa, tulina ebintu bye tufaanaganya naye. Okuva bwe kiri nti twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, tulina obusobozi bw’okulowooza, okusalawo, n’okukola emikwano.Lub. 1:26.

2. Yakuwa asobola atya okuba Mukwano gwaffe?

2 Yakuwa asobola okuba Mukwano gwaffe asingayo. Ekyo kisoboka olw’okuba atwagala, olw’okuba tumukkiririzaamu, era olw’okuba tukkiririza mu Mwana we. Yesu yagamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 3:16) Waliwo abantu bangi ababadde mikwano gya Yakuwa. Kati ka twetegerezeeyo babiri ku bo.

“IBULAYIMU MUKWANO GWANGE”

3, 4. Njawulo ki eri wakati w’enkolagana Ibulayimu gye yalina ne Yakuwa n’Abaisiraeri gye baalina ne Yakuwa?

3 Bwe yali ayogera ku Ibulayimu, jjajja w’Abaisiraeri, Yakuwa yamuyita mukwano gwe. (Is. 41:8) Mu 2 Ebyomumirembe 20:7 nawo walaga nti Ibulayimu yali mukwano gwa Katonda. Lwaki Ibulayimu yali mukwano gwa Katonda? Ibulayimu yalina okukkiriza okw’amaanyi.—Lub.15:6; soma Yakobo 2:21-23.

4 Bazzukulu ba Ibulayimu, abaafuuka eggwanga lya Isiraeri, mu kusooka Yakuwa yali Kitaabwe era nga Mukwano gwabwe. Naye oluvannyuma baafiirwa enkolagana ennungi gye baalina ne Katonda. Lwaki? Kubanga baalekera awo okukkiririza mu bisuubizo bya Yakuwa.

5, 6. (a) Yakuwa yafuuka atya Mukwano gwo? (b) Bibuuzo ki buli omu ku ffe by’asaanidde okwebuuza?

5 Gy’okoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa gy’okoma okumukkiririzaamu era gy’okoma okweyongera okumwagala. Lowooza ku ngeri gye wawuliramu bwe wakitegeera nti Katonda wa ddala era nti asobola okuba mukwano gwo. Wayiga nti ffenna twasikira ekibi okuva ku Adamu. Wakitegeera nti abantu bonna okutwalira awamu beeyawudde ku Katonda. (Bak. 1:21) Ate era wakitegeera nti Kitaffe ow’omu ggulu atufaako nnyo. Bwe wakimanya nti Yakuwa yawaayo Omwana we ku lwaffe era n’okkiririza mu ssaddaaka y’Omwana we, watandika okufuuka mukwano gwe.

6 Kati buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Buli lukya enkolagana yange ne Yakuwa yeeyongera okunywera? Buli lunaku nneeyongera okwesiga Yakuwa n’okumwagala?’ Waliwo n’omuntu omulala eyali mukwano gwa Katonda, era ng’omuntu oyo ye Gidiyoni. Kati ka tulabe ebimukwatako n’engeri gye tuyinza okumukoppa.

“YAKUWA MIREMBE”

7-9. (a) Kintu ki ekyaliwo mu bulamu bwa Gidiyoni, era biki ebyavaamu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 21.) (b) Tuyinza tutya okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa?

7 Gidiyoni yaweereza Yakuwa mu kiseera ekyali ekizibu ennyo ng’Abaisiraeri bamaze okuyingira mu Nsi Ensuubize. Ekyabalamuzi essuula 6 eraga nti malayika wa Yakuwa yalabikira Gidiyoni ng’ali mu Ofula. Mu kiseera ekyo, Abamidiyaani baali balabe b’Abaisiraeri era nga batera okubalumba. Eyo ye nsonga lwaki, Gidiyoni bwe yali awuula eŋŋaano, teyali mu kyererezi, wabula yali mu ssogolero, gye yandisobodde okugikweka amangu ng’Abamidiyaani babalumbye. Malayika bwe yamulabikira n’amuyita omusajja “omuzira,” Gidiyoni yeewuunya nnyo era n’atandika okwebuuza obanga Yakuwa, eyali anunudde Abaisiraeri okuva mu buddu e Misiri, nabo yali agenda kubanunula. Malayika yakakasa Gidiyoni nti Yakuwa yali wamu naye.

8 Gidiyoni yali yeebuuza engeri gye yandisobodde okununula Abaisiraeri okuva mu mukono gw’Abamidiyaani. Yakuwa yamugamba nti: “Mazima ndibeera wamu naawe, era olikuba Abamidiyaani [ng’akuba] omuntu omu.” (Balam. 6:11-16) Okuva bwe kiri nti Gidiyoni yali akyebuuza engeri ekyo gye yandikikozeemu, yasaba Yakuwa amukolere akabonero. Weetegereze nti Gidiyoni bwe yali ayogera ne Yakuwa yali amutwala nga wa ddala gy’ali.

9 Ebyo ebyaddirira byanyweza okukkiriza kwa Gidiyoni era n’enkolagana ye ne Katonda ne yeeyongera okunywera. Gidiyoni yafumba emmere n’agabula malayika. Naye malayika bwe yakoona omuggo gwe ku mmere eyo, omuliro ne gugyokya, Gidiyoni yakitegeera nti malayika oyo yali asindikiddwa Yakuwa. Gidiyoni yatya nnyo era n’agamba nti: “Zinsanze, Ai Mukama Katonda, kubanga ndabaganye n’amaso ne malayika wa Mukama!” (Balam. 6:17-22) Naye ekyo kyaleetera Gidiyoni okwesamba Katonda we? Nedda! Mu kifo ky’ekyo, Gidiyoni yawulira ng’alina emirembe ne Katonda. Ekyo tukirabira ku ky’okuba nti Gidiyoni yazimba ekyoto mu kifo ekyo era ekyoto ekyo n’akiyita erinnya, “Yakuwasalumu,” ekitegeeza nti “Yakuwa Mirembe.” (Soma Ekyabalamuzi 6:23, 24) Bwe tufumiitiriza ku bintu Yakuwa by’atukolera buli lunaku, kituyamba okukiraba nti ye Mukwano gwaffe owa nnamaddala. Bwe tusaba Katonda obutayosa, kituyamba okufuna emirembe era kinyweza enkolagana yaffe naye.

ANI ‘ANAATUULANGA MU WEEMA YA YAKUWA’?

10. Okusinziira ku Zabbuli 15:3, 5, kiki Yakuwa ky’atwetaagisa bwe tuba ab’okuba mikwano gye?

10 Bwe tuba twagala okubeera mikwano gya Yakuwa, waliwo ebisaanyizo bye tulina okutuukiriza. Mu Zabbuli 15, Dawudi yayogera ku bisaanyizo bye tulina okutuukiriza bwe tuba ‘ab’okutuula mu weema ya Yakuwa,’ kwe kugamba, bwe tuba ab’okubeera mikwano gya Katonda. (Zab. 15:1) Kati ka twetegerezeeyo bibiri ku byo: okwewala okuwaayiriza n’okuba abeesigwa mu bintu byonna. Bwe yali ayogera ku muntu Yakuwa gw’akkiriza okuba mukwano gwe, Dawudi yagamba nti: “Takozesa lulimi lwe kuwaayiriza balala . . . Era takkiriza kuweebwa nguzi okulumiriza omuntu atalina musango.”Zab. 15:3, 5, NW.

11. Lwaki tulina okwewala okuwaayiriza abalala?

11 Mu zabbuli endala Dawudi gye yawandiika, yagamba nti: ‘Ziyizanga olulimi lwo luleme okwogera ebibi.’ (Zab. 34:13) Bwe tugaana okukolera ku magezi ago amalungi, enkolagana yaffe ne Kitaffe ow’omu ggulu eyinza okwonooneka. Mu butuufu, okwogera eby’obulimba kye kimu ku bintu Sitaani, omulabe wa Yakuwa omukulu, by’akola. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “Omulyolyomi” kitegeeza “oyo awaayiriza.” Bwe twewala okuwaayiriza abalala, kituyamba okusigala nga tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Ekyo kikulu naddala bwe tuba twogera ku b’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina.Soma Abebbulaniya 13:17; Yuda 8.

12, 13. (a) Lwaki tusaanidde okuba abeesigwa mu bintu byonna? (b) Birungi ki ebiva mu kuba abeesigwa?

12 Ate era abaweereza ba Yakuwa balina okuba abeesigwa mu bintu byonna. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Mutusabirenga kubanga tuli bakakafu nti tulina omuntu ow’omunda omuyonjo, kubanga twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.” (Beb. 13:18) Olw’okuba twagala “okubeera abeesigwa mu bintu byonna,” twewala okulyazaamaanya bakkiriza bannaffe. Ng’ekyokulabirako, bwe tubaako bakkiriza bannaffe be tukozesa, tusaanidde okubasasula nga bwe twalagaana nabo. Ng’Abakristaayo, tufuba okuba abeesigwa eri abakozi baffe n’abantu abalala. Ate bwe tuba tukolera mukkiriza munnaffe, tetusaanidde kumupeeka kutuwa nkizo za njawulo ku bakozi abalala.

13 Emirundi mingi abantu abalala bakirabye nti Abajulirwa ba Yakuwa beesigwa. Ng’ekyokulabirako, dayirekita wa kampuni emu yagamba nti Abajulirwa ba Yakuwa “bafuba okutuukiriza ebyo bye baba basuubizza.” (Zab. 15:4) Okuba abeesigwa kituyamba okusigala nga tuli mikwano gya Katonda. Ate era kiweesa Kitaffe ow’omu ggulu ettendo n’ekitiibwa.

YAMBA ABALALA OKUFUUKA MIKWANO GYA YAKUWA

Tuyamba abalala okufuuka mikwano gya Yakuwa (Laba akatundu 14, 15)

14, 15. Bwe tuba tubuulira, tuyinza tutya okuyamba abantu okufuuka mikwano gya Yakuwa?

14 Wadde ng’abantu bangi be tusanga nga tubuulira bakkiriza nti Katonda gy’ali, bangi ku bo tebamutwala nga Mukwano gwabwe asingayo. Tuyinza tutya okuyamba abantu ng’abo? Lowooza ku bigambo bino Yesu bye yagamba abayigirizwa be 70 bwe yali abatuma okugenda okubuulira: “Buli nnyumba gye muyingirangamu musooke kugamba nti, ‘Emirembe gibe mu nnyumba eno.’ Bwe mubaamu omuntu ayagala emirembe, emirembe gyammwe gijja kuba naye. Naye bw’atabaamu, gijja kubaddira.” (Luk. 10:5, 6) Bwe twogera obulungi n’abantu, kisobola okubasikiriza okwagala okuyiga amazima. Ne bwe kiba nti tebaagala bubaka bwaffe, ekyo kisobola okubaleetera okukyusa endowooza yaabwe ne batuwuliriza ku mulundi omulala.

15 Bwe tusanga abantu abeemalidde ku madiini gaabwe ag’obulimba oba ku njigiriza enkyamu, tufuba okwogera nabo obulungi n’okubalaga ekisa. Era tufuba okwaniriza abantu bonna mu nkuŋŋaana zaffe, naddala abo abatasanyukira bintu bibi ebigenda mu maaso mu nsi, oba abo abaagala okuyiga ebisingawo ebikwata ku Yakuwa. Ebitundu ebirina omutwe “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu” ebifulumira mu magazini yaffe birimu ebyokulabirako by’abantu ng’abo.

OKUKOLERA AWAMU NE MUKWANO GWAFFE ASINGAYO

16. Tuyinza tutya okuba mikwano gya Katonda era ‘n’okukolera awamu naye’?

16 Abantu abakolera awamu, emirundi egisinga obungi omukwano gwabwe gweyongera okunywera. Abo bonna abeewaayo eri Yakuwa balina enkizo ey’okubeera mikwano gye era balina enkizo ‘ey’okukolera awamu naye.’ (Soma 1 Abakkolinso 3:9.) Mu butuufu, okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa, kituyamba okwongera okutegeera obulungi engeri za Kitaffe ow’omu ggulu. Tusobola okulaba engeri Yakuwa gy’akozesaamu omwoyo gwe omutukuvu okutuyamba nga tukola omulimu gw’okubuulira.

17. Ebyo bye tuyiga mu nkuŋŋaana ennene biraga bitya nti Yakuwa Mukwano gwaffe?

17 Gye tukoma okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, n’enkolagana yaffe ne Yakuwa gy’ekoma okweyongera okunywera. Tulaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu ng’abalabe baffe bagezaako okutulemesa okukola omulimu gw’okubuulira. Lowooza ku bintu ebitali bimu Yakuwa by’atukoledde mu myaka egiyise. Olabye engeri gy’atuwaddemu obulagirizi? Yakuwa atuwa emmere ey’eby’omwoyo mu bungi. Ebyo bye tuyiga mu nkuŋŋaana ennene biraga nti Kitaffe ow’omu ggulu amanyi ebizibu byaffe n’ebyetaago byaffe. Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olumu olunene, waliwo ab’omu maka agamu abaawandiika ebbaluwa ne bagamba nti: “Ebyo bye twayize byatukutteko nnyo. Kyatulaze nti ffenna Yakuwa atwagala nnyo era ayagala tutuuke ku buwanguzi.” Ate oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olunene olw’enjawulo olwali mu Ireland, ow’oluganda omu ne mukyala we abaali bavudde mu Bugirimaani baawandiika ebbaluwa nga basiima engeri ab’oluganda gye baabaanirizaamu n’engeri gye baabalabiriramu. Era baagamba nti: ‘Okusingira ddala twebaza Yakuwa ne Kabaka waffe Yesu Kristo abaatuyamba okwegatta ku kibiina kino ekiri obumu. Tetwogera bwogezi ku bumu naye tubwerabirako n’amaaso gaffe buli lunaku. Ebyo bye twalaba ne bye twayiga nga tugenze ku lukuŋŋaana olwali mu Dublin bulijjo bijja kutujjukiza enkizo ey’amaanyi gye tulina ey’okuweereza Yakuwa Katonda waffe nga tukolera wamu nammwe.’

AB’OMUKWANO BAFUBA OKUWULIZIGANYA

18. Bwe kituuka ku kuwuliziganya ne Yakuwa, kiki kye tusaanidde okwebuuza?

18 Ab’omukwano bwe baba n’empuliziganya ennungi, omukwano gwabwe gweyongera okunywera. Leero abantu bakozesa nnyo Intaneeti n’amasimu okuwuliziganya ne bannaabwe. Naffe tukimanyi nti kikulu nnyo okuwuliziganya ne Yakuwa, Mukwano gwaffe asingayo. Bayibuli eraga nti Yakuwa “awulira okusaba.” (Zab. 65:2) Naye ekyebuuzibwa kiri nti, tufuba okufuna ekiseera okwogera naye?

19. Bwe tukisanga nga kizibu okweyabiza Yakuwa nga tusaba, kiki ekisobola okutuyamba?

19 Abaweereza ba Katonda abamu kibazibuwalira okumweyabiza nga basaba. Naye Yakuwa ayagala tumweyabize nga tusaba. (Zab. 119:145; Kung. 3:41) Kyokka oluusi tuyinza okuwulira nga tubuliddwa ebigambo ebituufu eby’okukozesa okusobola okutegeeza Yakuwa ekyo kyennyini ekituli ku mutima. Bwe tuba mu mbeera ng’eyo ebigambo bya Pawulo eri Abakristaayo ab’omu Rooma bituzzaamu nnyo amaanyi. Yagamba nti: “Kye tusaanidde okusaba nga bwe twagala tetukimanyi, naye omwoyo gwennyini gwegayirira ku lwaffe bwe tuba tusinda wadde ng’ebituleetera okusinda tetubyogera. Oyo akebera omutima amanyi ekigendererwa ky’omwoyo, kubanga gwegayirira ku lw’abatukuvu nga Katonda bw’ayagala.” (Bar. 8:26, 27) Bwe tufumiitiriza ku bigambo ebiri mu bitabo bya Bayibuli, gamba nga Yobu, Zabbuli, n’Engero, kisobola okutuyamba okumanya engeri ey’okubuulira Yakuwa ekyo kyennyini ekituli ku mutima.

20, 21. Ebigambo bya Pawulo ebiri mu Abafiripi 4:6, 7 bitubudaabuda bitya?

20 Bwe tuba mu mbeera enzibu, tusaanidde okujjukira ebigambo bino Pawulo bye yawandiikira Abafiripi: “Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga.” Nga Pawulo bwe yalaga, bwe tutegeeza Yakuwa ebyo ebituli ku mutima, tubudaabudibwa. Yagamba nti: “Emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe okuyitira mu Kristo Yesu.” (Baf. 4:6, 7) Bulijjo tusaanidde okwebaza Katonda ‘olw’emirembe’ gy’atuwa egikuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe.

21 Okusaba kutuyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. N’olwekyo, tusaanidde ‘okumusabanga bulijjo.’ (1 Bas. 5:17) Ka ebyo bye tuyize mu kitundu kino bituyambe okwongera okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda n’okuba abamalirivu okukola by’ayagala. Era ka tufube okufumiitiriza ku mikisa gye tufuna olw’okuba Yakuwa ye Kitaffe, Katonda waffe, era Mukwano gwaffe.

Okusaba kutuyamba kutya okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda? (Laba akatundu 21)