OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Maaki 2014
Magazini eno eraga engeri gye tuyinza okuba n’omwoyo ogw’okwefiiriza n’engeri gye tuyinza okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu. Tuyinza tutya okulabirira bakkiriza bannaffe oba ab’eŋŋanda zaffe abakaddiye?
Fuba Okutuuka ku Mutima gw’Ab’Eŋŋanda Zo Abatali Bakkiriza
Kiki kye tuyigira ku ngeri Yesu gye yayisaamu ab’eŋŋanda ze? Tuyinza tutya okutuuka ku mutima gw’ab’eŋŋanda zaffe ab’enzikiriza endala oba abatakkiririza mu Katonda?
Engeri Gye Tuyinza Okwoleka Omwoyo ogw’Okwefiiriza
Ffenna tulina omulabe ayinza okutulemesa okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Ekitundu kino kituyamba okutegeera omulabe oyo era n’engeri gye tusobola okukozesaamu Bayibuli okumulwanyisa.
Tuyinza Tutya Okuba n’Endowooza Ennuŋŋamu
Lwaki abantu abamu balina endowooza eteri nnuŋŋamu? Ekitundu kino kiraga engeri Bayibuli gy’esobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu.
Okusinza kw’Amaka —Kusobola Okuba Okunyuvu
Laba ebyo ab’oluganda mu nsi ezitali zimu bye bakoze era olabe engeri gy’oyinza okubakoppa.
Ossangamu Ekitiibwa Abo Abakaddiye
Laba engeri Katonda gy’atwalamu bannamukadde. Buvunaanyizibwa ki Abakristaayo bwe balina eri bazadde baabwe abakaddiye? Ekibiina kiyinza kitya okuyamba Abakristaayo abakaddiye?
Okulabirira Abo Abakaddiye
Abaana basaanidde okwogerako ne bazadde baabwe ku ngeri gye banaabalabiriramu nga batuuse mu ‘nnaku embi.’ Kiki kye bayinza okukola okusobola okubalabirira obulungi?
Ekigambo Kyo Kiba —‘Yee ate Oluvannyuma ne Kiba Nedda’?
Abakristaayo ab’amazima basaanidde okufuba okutuukiriza ebyo bye baba basuubizza. Ekigambo kyabwe tekirina kuba ‘yee ate oluvannyuma ne kiba nedda.’ Watya singa tuba twetaaga okukyusa mu nteekateeka yaffe? Laba ekyo kye tuyigira ku mutume Pawulo.