Ossangamu Ekitiibwa Abo Abakaddiye
“Akaddiye omussangamu ekitiibwa.”
1. Mbeera ki embi abantu gye balimu?
TEKYALI kigendererwa kya Yakuwa abantu okukaddiwa. Yakuwa yali ayagala abantu babeere mu lusuku lwe era nga balamu bulungi. Naye kati “ebitonde [byonna] bisindira wamu era birumirwa wamu.” (Bar. 8:22) Olowooza Katonda awulira atya bw’alaba ng’abantu babonaabona olw’ebizibu ebyava ku kibi kya Adamu ate nga ne bannamukadde bangi tebafiibwako mu kiseera we beetaagira ennyo okuyambibwa?
2. Lwaki bannamukadde abali mu kibiina tubatwala nga ba muwendo?
2 Bannamukadde abali mu kibiina tubatwala nga ba muwendo nnyo. Tuganyulwa nnyo mu bumanyirivu bwe balina era ne mu kyokulabirako ekirungi kye bateekawo mu kwoleka okukkiriza. Abamu ku ffe bannamukadde abali mu kibiina tubalinako oluganda. Kyokka, ka tube nga tubalinako oluganda oba nedda, tusaanidde okufuba okulaba nti balabirirwa bulungi. (Bag. 6:10; 1 Peet. 1:22) N’olw’ensonga eyo, tugenda kwetegereza endowooza Katonda gy’alina ku bannamukadde. Era tugenda kulaba ekyo ab’eŋŋanda zaabwe n’ab’oluganda mu kibiina kye bayinza okukola okusobola okulaba nti balabirirwa bulungi.
“TONSUULA MU BIRO EBY’OBUKADDE”
3, 4. (a) Kiki omuwandiisi wa Zabbuli 71 kye yasaba Yakuwa? (b) Kiki abo abakaddiye kye basobola okusaba Yakuwa?
3 Omuwandiisi wa Zabbuli 71:9 yasaba Katonda ng’agamba nti: “Tonsuula mu biro eby’obukadde; tondekanga amaanyi gange bwe galimbula.” Kirabika Dawudi ye yawandiika ebigambo ebyo. Yaweereza Yakuwa n’obwesigwa obulamu bwe bwonna, era Yakuwa yamukozesa okukola ebintu bingi. (1 Sam. 17:33-37, 50; 1 Bassek. 2:1-3, 10) Wadde kyali kityo, Dawudi yakiraba nti kyali kimwetaagisa okusaba Yakuwa amuyambe ng’akaddiye.
4 Leero, waliwo bakkiriza bannaffe bangi abalinga Dawudi. Wadde nga bakaddiye era nga bali mu ‘nnaku embi,’ beeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa okusinziira ku busobozi bwabwe. (Mub. 12:1-7) Bangi ku bo ebintu ebimu bye baakolanga edda mu buweereza bwabwe eri Yakuwa tebakyasobola kubikola bulungi. Bakkiriza bannaffe ng’abo nabo basobola okusaba Yakuwa ayongere okubawa emikisa era abalabirire. Tewali kubuusabuusa nti Katonda mwetegefu okuddamu okusaba kwabwe. Ekyo kiri kityo, kubanga Yakuwa yaluŋŋamya Dawudi okuwandiika essaala gye yasaba ng’agamba Katonda okumuyamba ng’akaddiye.
5. Yakuwa atwala atya abaweereza be abakaddiye?
5 Ebyawandiikibwa biraga nti Yakuwa atwala abaweereza be abakaddiye nga ba muwendo era ayagala naffe tubatwale nga ba muwendo. (Zab. 22:24-26; Nge. 16:31; 20:29) Eby’Abaleevi 19:32 wagamba nti: “Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g’omukadde, era otyanga Katonda wo: nze Mukama.” Yakuwa yali yeetaagisa abaweereza be ab’edda okussa ekitiibwa mu bannamukadde era bwe kityo bwe kiri ne leero. Ate bwe kituuka ku kulabirira bannamukadde, ani asaanidde okwetikka obuvunaanyizibwa obwo?
OBUVUNAANYIZIBWA AB’EŊŊANDA BWE BALINA
6. Bwe kituuka ku kulabirira bazadde baffe, kyakulabirako ki ekirungi Yesu kye yatuteerawo?
6 Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.” (Kuv. 20:12; Bef. 6:2) Yesu yalaga obukulu bw’okukolera ku kiragiro ekyo ng’anenya Abafalisaayo n’abawandiisi olw’okulagajjalira bazadde baabwe. (Mak. 7:5, 10-13) Yesu yateekawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Bwe yali awanikiddwa ku muti, Yesu yagamba Yokaana, omuyigirizwa gwe yali ayagala ennyo, okulabirira maama we. Mu kiseera ekyo maama wa Yesu ayinza okuba nga yali nnamwandu.
7. (a) Musingi ki Pawulo gwe yayogerako ogusobola okutuyamba bwe kituuka ku kulabirira bazadde baffe? (b) Mu kwogera ku musingi ogwo, kiki Pawulo kye yali ayogerako?
7 Mu bbaluwa gye yawandiikira Timoseewo, omutume Pawulo yagamba nti Omukristaayo asaanidde okulabirira ab’omu nnyumba ye. (Soma 1 Timoseewo 5:4, 8, 16.) Pawulo yayogera ku musingi ogwo bwe yali ayogera ku abo ekibiina be kisaanidde okuwa obuyambi. Yalaga nti abaana Abakristaayo, abazzukulu, n’ab’eŋŋanda abalala be basaanidde okuwoma omutwe mu kulabirira ab’eŋŋanda zaabwe abakaddiye. Ekyo kiyamba mu kwewala okutikka ekibiina omugugu. Mu ngeri y’emu leero, Abakristaayo basobola okukiraga nti ‘beemalidde ku Katonda’ nga balabirira ab’eŋŋanda zaabwe abali mu bwetaavu.
8. Lwaki Bayibuli tetubuulira buli kimu kye tulina kukola okusobola okulabirira bazadde baffe abakaddiye?
8 Abakristaayo basaanidde okukakasa nti ebyetaago bya bazadde baabwe eby’omubiri bikolebwako. Wadde nga Pawulo yali ayogera ku kulabirira ab’eŋŋanda abakkiriza, abazadde abatali bakkiriza nabo tebasaanidde kulagajjalirwa. Okuva bwe kiri nti embeera z’abantu zaawukana, n’engeri gye balabiriramu bazadde baabwe abakaddiye eyawukana. Abantu balina engeri za njawulo, ebyetaago byabwe bya njawulo, n’obulamu bwabwe bwa njawulo. Abantu abamu abakaddiye bayinza okuba nga balina abaana bangi, ate ng’abalala balina omwana omu yekka. Abamu basobola okufuna obuyambi okuva mu
9-11. (a) Kusoomooza ki abamu kwe bayinza okwolekagana nakwo? (Laba ekifaananyi ku lupapula 20.) (b) Lwaki si kya magezi kwanguyiriza kuva mu buweereza obw’ekiseera kyonna? Waayo ekyokulabirako.
9 Abaana bwe baba tebabeera kumpi ne bazadde baabwe, kiyinza obutabanguyira kuwa bazadde baabwe buyambi bwe baba beetaaga. Singa omuzadde agwa n’amenyeka oba singa afuna ekizibu ekirala eky’amaanyi, abaana baba beetaaga okugenda okumulaba. Omuzadde ayinza okuba nga yeetaaga obuyambi okumala ekiseera kitono oba okumala ekiseera ekiwerako. *
10 Abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna kyokka nga babeera wala nnyo okuva bazadde baabwe we babeera boolekagana n’okusoomoozebwa okw’amaanyi. Abo abaweereza ku Beseri, abaminsani, n’abalabirizi abakyalira ebibiina obuweereza bwabwe babutwala nga bwa muwendo nnyo era ng’omukisa okuva eri Yakuwa. Kyokka singa bazadde baabwe balwala, ekintu ekisooka ekiyinza okubajjira mu birowoozo kwe kulowooza ku ky’okuva mu buweereza obw’ekiseera kyonna baddeyo balabirire bazadde baabwe. Naye kiba kya magezi okusaba Yakuwa abayambe okusalawo obulungi n’okumanyira ddala ekyo bazadde baabwe kye beetaaga. Tekiba kya magezi kwanguyiriza kuva mu buweereza obw’ekiseera kyonna, ate oluusi kiyinza n’okuba nga tekyetaagisa. Oluusi obulwadde omuzadde bw’aba afunye buyinza obutamala kiseera kiwanvu nga bumuluma ne kiba nti ab’oluganda mu kibiina ky’alimu basobola okumuyamba.
11 Lowooza ku kyokulabirako ky’ab’oluganda babiri abaali baweerereza mu bitundu ebyesudde okuva bazadde baabwe we baali babeera. Omu ku bo yali aweereza ng’omuminsani mu Amerika ow’ebukiikaddyo, ate ng’omulala aweereza ku kitebe kyaffe ekikulu mu Brooklyn, New York. Bazadde baabwe abakaddiye bwe baali beetaaga obuyambi, ab’oluganda abo ne bakyala baabwe baagenda okubalaba basobole okusalawo eky’okukola okubayamba. Bwe waayitawo ekiseera, ow’oluganda eyali aweereza ng’omuminsani yatandika okulowooza ku ky’okuleka obuweereza bwe obwo asobole okuddayo ewaabwe okulabirira bazadde be. Naye mu kiseera ekyo ow’oluganda akwanaganya akakiiko k’abakadde mu kibiina kya bazadde be yamukubira essimu n’amutegeeza nti akakiiko k’abakadde kaali kasazeewo okulabirira bazadde be, ye awamu ne mukyala we basobole okweyongera okuweereza ng’abaminsani. Ow’oluganda oyo n’ab’eŋŋanda ze baasanyuka nnyo olw’ekyo abakadde abo kye baabakolera.
12. Kiki Abakristaayo kye basaanidde okujjukira bwe baba basalawo ku nsonga y’okulabirira bazadde baabwe abakaddiye?
12 Ka kibe ki ab’omu maka Amakristaayo kye basalawo okukola okusobola okulabirira bazadde baabwe abakaddiye, balina okufuba okulaba nti buli kimu kye basalawo kiweesa erinnya lya Katonda ekitiibwa. Tetwagala kubeera ng’abakulembeze b’eddiini abaaliwo mu kiseera kya Yesu. (Mat. 15:3-6) Mu kifo ky’ekyo, twagala okuweesa Yakuwa ekitiibwa awamu n’ekibiina kye.
OBUVUNAANYIZIBWA EKIBIINA BWE KIRINA
13, 14. Ebyawandiikibwa biraga bitya nti ekibiina kisaanidde okubaako kye kikolawo okulabirira Abakristaayo abakaddiye?
13 Kyokka tekiri nti buli omu asobola okuyamba abo abali mu buweereza obw’ekiseera Bik. 4:34, 35) Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera, wajjawo ekizibu mu kibiina ekyo. ‘Bannamwandu abamu baali tebaweebwa mmere eyagabibwanga buli lunaku.’ Bwe kityo, abatume baalonda abasajja abaalina ebisaanyizo okukakasa nti ebyetaago bya buli nnamwandu bikolebwako. (Bik. 6:1-5) Ku Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. waliwo abantu bangi abaali bazze mu Yerusaalemi abaafuuka Abakristaayo era ne basalawo okusigala mu kibuga ekyo okumala ekiseera basobole okuyiga ebisingawo. Abatume baakola enteekateeka okulaba nti ebyetaago by’abantu abo eby’omubiri bikolebwako. Ekyo abatume kye baasalawo okukola kiraga nti ekibiina kisobola okubaako kye kikolawo okuyamba ab’oluganda abali mu bwetaavu.
kyonna mu ngeri ng’eyo gye tulabye waggulu. Naye Bayibuli eraga nti ekibiina kirina okukola kyonna ekisoboka okuyamba Abakristaayo abeesigwa abakaddiye. Mu kibiina ky’omu Yerusaalemi “tewali n’omu ku bo eyali mu bwetaavu.” Ekyo kitegeeza nti ab’oluganda bonna baali bagagga? Nedda. Abamu tebaali bulungi mu by’enfuna, naye ssente entono ze baabanga bafunye baazigabiranga “buli omu ng’obwetaavu bwe bwe bwabanga.” (14 Pawulo yabuulira Timoseewo ebisaanyizo bannamwandu Abakristaayo bye basaanidde okutuukiriza ekibiina bwe kiba eky’okubawa obuyambi. (1 Tim. 5:3-16) Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti Abakristaayo basaanidde okulabirira bamulekwa, bannamwandu, n’abantu abalala abali mu buzibu era abeetaaga obuyambi. (Yak. 1:27; 2:15-17) Omutume Yokaana naye yagamba nti: “Omuntu yenna aba n’eby’obugagga eby’omu nsi eno, n’alaba muganda we ng’ali mu bwetaavu, kyokka n’atamusaasira, ayinza atya okugamba nti ayagala Katonda?” (1 Yok. 3:17) Bwe kiba nti Abakristaayo kinnoomu bavunaanyizibwa okulabirira bakkiriza bannaabwe abali mu bwetaavu, kati olwo ekibiina tekyandikoze kye kimu?
15. Engeri bannamukadde Abakristaayo gye balabirirwamu esinziira ku ki?
15 Mu nsi ezimu gavumenti zirina enteekateeka ez’okuyamba bannamukadde. (Bar. 13:6) Kyokka mu nsi endala enteekateeka ng’ezo teziriiyo. N’olwekyo, obuyambi ab’eŋŋanda n’ekibiina bwe bayinza okuwa baganda baffe ne bannyinaffe abakaddiye businziira ku mbeera eba eriwo. Bwe kiba nti ab’oluganda babeera wala okuva bazadde baabwe abakaddiye we babeera, bayinza obutasobola kubalabirira mu ngeri y’emu nga bwe bandikoze nga babeera kumpi nabo. Bwe kityo, kiba kirungi ab’oluganda ng’abo okwogerako n’abakadde b’omu kibiina kya bazadde baabwe basalire wamu amagezi ku ngeri y’okulabiriramu bazadde baabwe. Ng’ekyokulabirako, abakadde basobola okuyamba Omukristaayo akaddiye okumanya ku nteekateeka za gavumenti oba ez’omu kitundu ez’okuyamba bannamukadde. Abakadde bayinza okubaako ebintu ebikulu bye bategeeza abaana ba bannamukadde, gamba ng’ebisale ebyetaaga okusasulwa oba obujjanjabi bannamukadde bwe beetaaga. Abaana ba bannamukadde n’abakadde mu kibiina bwe bawuliziganya obulungi kisobola okubayamba okusala amagezi ku ngeri y’okulabiriramu bannamukadde. Ekyo kisobola okuyamba bannamukadde okulabirirwa obulungi era kiyamba n’abaana baabwe abatali kumpi nabo obuteeraliikirira nnyo.
16. Kiki Abakristaayo abamu kye bakoze okuyamba bakkiriza bannaabwe abakaddiye?
16 Olw’okuba bafaayo nnyo ku bakkiriza bannaabwe abakaddiye, ab’oluganda abamu bakola kyonna ekisoboka okubalabirira. Ab’oluganda abamu mu kibiina basalawo okugendanga mu maka ga bakkiriza bannaabwe abakaddiye ne babaako emirimu gye babakolerako. Wadde nga bo embeera zaabwe ziyinza okuba nga tezibasobozesa kuba mu buweereza obw’ekiseera kyonna, ab’oluganda abamu basalawo okulabirira Abakristaayo abakaddiye ekyo kisobozese abaana ba bannamukadde abo okusigala mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Ab’oluganda ng’abo booleka omwoyo gw’okwefiiriza! Kyokka eky’okuba nti Bakristaayo bannaabwe babayambako, tekitegeeza nti abaana ba bannamukadde tebalina kubaako kye bakolawo kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe obw’okulabirira bazadde baabwe.
FUBA OKUZZAAMU BANNAMUKADDE AMAANYI
17, 18. Lwaki bannamukadde n’abo ababalabirira basaanidde okuba n’endowooza ennuŋŋamu?
17 Bakkiriza bannaffe abakaddiye awamu n’abo ababalabirira basobola okugumira embeera enzibu singa bonna basigala nga balina endowooza ennuŋŋamu. Bw’oba olina nnamukadde gw’olabirira, kikulu nnyo okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Kijjukire nti bannamukadde abamu baggwaamu amaanyi era ne bennyamira. N’olwekyo okusobola okubayamba, kikulu nnyo okwogera nabo mu ngeri ebazzaamu amaanyi. Bakkiriza bannaffe abasigadde nga beesigwa okutuukira ddala mu bukadde basaanidde okusiimibwa ennyo. Yakuwa tasobola kwerabira ebyo byonna bye bakoze nga bamuweereza era naffe tetusaanidde kubyerabira.
18 Omulimu gw’okulabirira bannamukadde guba mwanguko singa bannamukadde n’abo ababalabirira tebaba mu kwekubagiza buli kiseera. (Mub. 3:1, 4) Bannamukadde bangi basiima ekyo kyonna ab’oluganda kye baba basobodde okubakolera. Ate era bakimanyi nti singa tebaba na ndowooza nnuŋŋamu kiyinza okumalamu amaanyi abo ababalabirira. Eyo ye nsonga lwaki abo abakyalira bannamukadde emirundi mingi batera okugamba nti: “Nnagenze kumuzzaamu maanyi naye ate ye ye yanzizizzaamu amaanyi.”
19. Kiki ekisobola okutuyamba ffenna abakulu n’abato okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu mu biseera ebizibu?
19 Twesunga nnyo ekiseera okubonaabona n’ebizibu byonna ebyajjawo olw’obutali butuukirivu lwe biriggwaawo. Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, tusaanidde okussa ebirowoozo byaffe ku ssuubi ery’obulamu obutaggwaawo Katonda ly’atuwadde. Okukkiriza kwe tulina mu bisuubizo bya Katonda kutuyamba okusigala nga tuli banywevu mu biseera ebizibu. Olw’okuba tulina okukkiriza, tetulekulira. “Wadde ng’ekyo kye tuli kungulu kigenda kiggwaawo, ekyo kye tuli munda kizzibwa buggya buli lunaku.” (2 Kol. 4:16-18; Beb. 6:18, 19) Kiki ekirala ekiyinza okuyamba abo abalina bannamukadde be balabirira? Ekitundu ekiddako kijja kutuyamba okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo.
^ lup. 9 Ekitundu ekiddako kijja kulaga ebimu ku bintu bye tusobola okukola okuyamba abo abakaddiye.