Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Mmwe Muli Bajulirwa Bange”

“Mmwe Muli Bajulirwa Bange”

“Mmwe muli bajulirwa bange, bw’ayogera Mukama.”IS. 43:10.

1, 2. (a) Kitegeeza ki okuba omujulirwa, era kiki emikutu gy’amawulire kye giremeddwa okukola? (b) Lwaki Yakuwa teyeesigama ku mikutu gy’amawulire okumanyisa ebimukwatako?

KITEGEEZA ki okuba omujulirwa? Enkuluze emu egamba nti: “Omujulirwa ye muntu alaba ekintu era n’abuulira abalala ku kintu ekyo.” Ng’ekyokulabirako, mu kibuga ekimu ekya South Africa, waliyo olupapula lw’amawulire oluyitibwa The Witness (Omujulirwa) olumaze emyaka egisukka mu 160 nga lukubibwa. Erinnya eryo lituukirawo kubanga ekigendererwa ky’olupapula olwo kwe kubuulira abantu ekituufu ku bintu ebibaawo mu nsi. Oyo eyatandikawo olupapula lw’amawulire olwo yagamba nti olupapula olwo lwali lwa kwogeranga “mazima meereere.”

2 Kya nnaku nti emikutu gy’amawulire tegitera kwogera mazima ku bintu ebisinga obungi ebibaawo mu nsi. Ate era ku mikutu egyo, abantu batera okwogererako eby’obulimba ku Katonda. Okuyitira mu nnabbi Ezeekyeri, Katonda yagamba nti: “Amawanga galimanya nga nze Yakuwa.” (Ez. 39:7, NW) Kyokka, Omuyinza w’ebintu byonna teyeesigama ku mikutu gy’amawulire okumanyisa ebimukwatako. Alina Abajulirwa ng’obukadde munaana ababuulira abantu mu nsi yonna ebimukwatako era ababuulira abantu ku ebyo bye yakola mu biseera by’edda, by’akola leero, n’ebyo by’anaakola mu biseera eby’omu maaso. Bwe tukulembeza omulimu gw’okuwa obujulirwa, tuba tutuukana bulungi n’erinnya Katonda lye yatuwa nga bwe kiragibwa mu Isaaya 43:10, awagamba nti: “Mmwe muli bajulirwa bange, bw’ayogera Mukama, n’omuweereza wange gwe nnalonda.”

3, 4. (a) Abayizi ba Bayibuli baatandika ddi okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa, era ekyo kyabaleetera kuwulira batya? (Laba ekifaananyi ku lupapula 23.) (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?

3 Nkizo ya maanyi okuyitibwa erinnya lya Katonda, Yakuwa, kubanga ye “Kabaka ow’emirembe n’emirembe,” eyagamba nti: “Eryo lye linnya lyange ebiro ebitaggwaawo, n’ekyo kye kijjukizo kyange emirembe gyonna”! (1 Tim. 1:17; Kuv. 3:15; geraageranya Omubuulizi 2:16.) Mu 1931 Abayizi ba Bayibuli baatandika okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Oluvannyuma, ab’oluganda baawandiika amabaluwa mangi nga booleka okusiima kwabwe olw’okufuna erinnya eryo eppya era amabaluwa ago gaafulumira mu magazini eno. Ekibiina ekimu eky’omu Canada kyawandiika ebbaluwa ne kigamba nti: “Okuba nti kati tuyitibwa ‘Abajulirwa ba Yakuwa’ kituleetedde essanyu lingi, era kituleetedde okuba abamalirivu okutuukana n’erinnya lyaffe eryo.”

4 Oyinza otya okulaga nti osiima enkizo ey’okuyitibwa erinnya lya Katonda? Era, osobola okunnyonnyola ensonga lwaki Yakuwa atuyita Abajulirwa be, nga bwe kiragibwa mu kitabo kya Isaaya?

ABAJULIRWA BA KATONDA MU BISEERA BY’EDDA

5, 6. (a) Mu ngeri ki abazadde Abaisiraeri gye baali abajulirwa ba Yakuwa? (b) Kintu ki ekirala Abazadde Abaisiraeri kye baalina okukola, era ekyo kikwata kitya ku bazadde leero?

5 Abaisiraeri kinnoomu abaaliwo mu kiseera kya Isaaya baali “bajulirwa” ba Yakuwa, era eggwanga lya Isiraeri lyonna awamu lyali ‘muweereza’ wa Katonda. (Is. 43:10) Engeri emu abazadde Abaisiraeri gye baawangamu obujulirwa ku Yakuwa kwe kubuulira abaana baabwe ku bintu Katonda bye yali akoledde bajjajjaabwe. Ng’ekyokulabirako, Abaisiraeri bwe baali balagirwa okukwata embaga ey’Okuyitako, baagambibwa nti: “Abaana bammwe bwe balibagamba nti Okuweereza kwammwe kuno amakulu ki? Mulyogera nti Ye ssaddaaka ey’okuyitako kwa Mukama eyayita ku nnyumba z’abaana ba Isiraeri mu Misiri bwe yakuba Abamisiri n’awonya ennyumba zaffe.” (Kuv. 12:26, 27) Abazadde abo era bayinza okuba nga baabuuliranga abaana baabwe nti Musa bwe yagenda eri Falaawo ng’asaba akkirize Abaisiraeri okugenda okusinza Yakuwa mu ddungu, Falaawo yamuddamu nti: “Yakuwa y’ani ndyoke mpulirize eddoboozi lye ndeke Abaisiraeri bagende?” (Kuv. 5:2, NW) Kya lwatu nti abazadde Abaisiraeri bateekwa okuba nga baabuuliranga abaana baabwe engeri Yakuwa gye yaddamu ekibuuzo kya Falaawo ekyo bwe yaleeta ebibonyoobonyo ekkumi ku Bamisiri era n’alokola Abaisiraeri okuva mu mukono gw’eggye ly’Abamisiri ku Nnyanja Emmyufu, bw’atyo n’akiraga nti ye Muyinza w’Ebintu Byonna. Abaisiraeri baakiraba nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima era nti atuukiriza ebisuubizo bye byonna.

6 Ng’oggyeko okubuulira abaana baabwe ku bintu ebyo, Abaisiraeri abaali batwala enkizo ey’okuyitibwa erinnya lya Katonda nga ya muwendo, bateekwa okuba ng’ebintu ebyo baabibuulirangako n’abantu ab’amawanga amalala abaabanga bafuuse abaddu baabwe. Ate era Abaisiraeri baalina okukolera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu n’okuyamba abaana baabwe okukola kye kimu. Yakuwa yabagamba nti: “Munaabanga batukuvu: kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu.” (Leev. 19:2; Ma. 6:6, 7) N’abazadde leero balina okukola kye kimu. Balina okuyamba abaana baabwe okutambuza obulamu bwabwe mu ngeri eweesa erinnya lya Katonda ekitiibwa!Soma Engero 1:8; Abeefeso 6:4.

Okuyigiriza abaana baffe ebikwata ku Yakuwa kireetera erinnya lye okuweebwa ekitiibwa (Laba akatundu 5, 6)

7. (a) Abaisiraeri bwe baabeeranga abeesigwa eri Yakuwa, kyakwatanga kitya ku mawanga amalala? (b) Kiki abo bonna abayitibwa erinnya lya Katonda kye balina okukola?

7 Abaisiraeri bwe baabanga abeesigwa eri Katonda, baaweesanga erinnya lye ekitiibwa. Abaisiraeri baagambibwa nti: “Amawanga gonna ag’oku nsi ganaalabanga ng’otuumiddwa erinnya lya Mukama; ne gakutyanga.” (Ma. 28:10) Eky’ennaku kiri nti Abaisiraeri emirundi mingi tebaali beesigwa eri Katonda. Enfunda n’enfunda, baasinzanga bakatonda ab’obulimba ab’omu nsi ya Kanani. Okufaananako bakatonda abo be baali basinza, Abaisiraeri baafuuka bakambwe, baasaddaakanga abaana baabwe, era baanyigirizanga abaavu. Ekyo kituyigiriza ekintu ekikulu ennyo. Tulina okukoppa Yakuwa, nga tufuba okuba abatukuvu, kubanga tukiikirira Katonda waffe Omutukuvu!

‘LABA, NKOLA EKINTU EKIGGYA’

8. Mulimu ki Yakuwa gwe yawa Isaaya, era kiki Isaaya kye yakola?

8 Yakuwa yali yalagula ku ngeri ey’ekitalo gye yandinunuddemu eggwanga lya Isiraeri okuva mu buwambe. (Is. 43:19) Essuula omukaaga ezisooka mu kitabo kya Isaaya okusingira ddala zirimu okulabula okukwata ku kabi akaali koolekedde Yerusaalemi n’ebibuga ebyali biriraanyeewo. Yakuwa, oyo akebera emitima, yagamba Isaaya okweyongera okulabula abantu wadde nga yali akimanyi nti tebandikkirizza bubaka bwe. Isaaya yasaba Yakuwa amubuulire ekiseera kyenkana wa ekyandiyiseewo ng’eggwanga lya Isiraeri lijeemera Katonda. Katonda yamuddamu nti: “Okutuusa ebibuga lwe birizika nga tewali abituulamu, ne mu nnyumba nga temuli muntu, ensi n’ezikira ddala.”Soma Isaaya 6:8-11.

9. (a) Obunnabbi bwa Isaaya obukwata ku Yerusaalemi bwatuukirira ddi? (b) Kulabula ki kwe tulina okussaako ennyo omwoyo leero?

9 Yakuwa yawa Isaaya omulimu ogwo mu mwaka ogusembayo ogw’obufuzi bwa Kabaka Uzziya, awo nga mu 778 E.E.T. Isaaya yeeyongera okuweereza nga nnabbi okumala emyaka nga 46 okutuukira ddala awo nga mu mwaka gwa 732 E.E.T., mu bufuzi bwa Kabaka Keezeekiya. Mu kiseera ekyo, waali wabulayo emyaka nga 125 Yerusaalemi kiryoke kizikirizibwe mu mwaka gwa 607 E.E.T. Bwe kityo, abantu ba Katonda baategeezebwa nga bukyali ebyo ebyali bigenda okutuuka ku ggwanga lyabwe. Ne leero, ng’ayitira mu bantu be, Yakuwa alaze ebyo ebigenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso nga wakyabulayo ekiseera. Okumala emyaka 135, magazini y’Omunaala gw’Omukuumi ebadde erabula abantu nti obufuzi bwa Sitaani bunaatera okuggibwawo waddewo Obufuzi bwa Yesu Kristo obw’Emyaka Olukumi.Kub. 20:1-3, 6.

10, 11. Bunnabbi ki obwa Isaaya Abaisiraeri abaali mu Babulooni bwe baalaba nga butuukirira era bwatuukirira butya?

10 Bangi ku Bayudaaya abaali abawulize abeewaayo mu mikono gy’Abababulooni, baawonawo Yerusaalemi bwe kyazikirizibwa era ne batwalibwa mu buwambe e Babulooni. (Yer. 27:11, 12) Oluvannyuma lw’emyaka 70, abantu ba Katonda baalaba ng’obunnabbi buno butuukirira: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, Omununuzi wo, Omutukuvu wa Isiraeri: ‘Ku lwammwe ndituma e Babulooni ne bamenya ebisiba byonna eby’enzigi.’”Is. 43:14, NW.

11 Yakuwa yatuukiriza obunnabbi obwo mu ngeri ey’ekitalo. Mu Okitobba 539 E.E.T., Kabaka wa Babulooni n’abakungu be bwe baali banywera omwenge mu bintu ebitukuvu bye baali baanyaga mu yeekaalu y’omu Yerusaalemi era nga batendereza bakatonda baabwe ab’obulimba, amagye ga Bumeedi ne Buperusi gaalumba Babulooni ne gagiwamba. Mu 538 oba mu 537 E.E.T., Kabaka Kuulo eyali awambye Babulooni, yalagira Abayudaaya okuddayo ku butaka baddemu okuzimba yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi. Ebyo byonna nnabbi Isaaya yali yabyogerako era yali yalaga nti Yakuwa yandirabiridde abantu be era n’abakuuma nga baddayo e Yerusaalemi. Katonda yagamba nti Abaisiraeri be ‘bantu be yeebumbira yekka basobole okwolesa ettendo lye.’ (Is. 43:21; 44:26-28) Abaisiraeri bwe baddayo e Yerusaalemi ne baddamu okuzimba yeekaalu ya Yakuwa, baakiraba nti ddala Yakuwa ye Katonda ow’amazima atuukiriza ebisuubizo bye byonna.

12, 13. (a) Baani abeegatta ku Baisiraeri ng’okusinza okw’amazima kuzzibwawo? (b) Kiki ekisuubirwa mu ‘b’endiga endala,’ era ssuubi ki lye balina?

12 Abaisiraeri bwe baddayo okuddamu okuzimba yeekaalu, waliwo abantu bangi ab’amawanga amalala abaabeegattako mu kusinza Yakuwa. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, waliwo n’ab’amawanga abalala bangi abaabeggattako. (Ezer. 2:58, 64, 65; Es. 8:17) Leero, waliwo “ekibiina ekinene” aky’abagoberezi ba Yesu ‘ab’endiga endala’ abakolera awamu n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, abayitibwa “Isiraeri wa Katonda.” (Kub. 7:9, 10; Yok. 10:16; Bag. 6:16) Ab’ekibiina ekinene nabo balina enkizo okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

13 Mu Myaka Olukumi egy’Obufuzi bwa Kristo, ab’ekibiina ekinene bajja kufuna enkizo ey’ekitalo okubuulira abo abanaaba bazuukiziddwa ku mikisa gye baafuna n’okusoomoozebwa kwe baayolekagana nakwo nga baweereza Yakuwa mu nnaku ez’enkomerero. Naye okusobola okufuna enkizo eyo, tulina okufuba okutuukana n’erinnya Yakuwa ly’atuwadde n’okusigala nga tuli batukuvu. Kyokka ne bwe tufuba tutya okukola Yakuwa by’ayagala, tukola ensobi. N’olwekyo, tusaanidde okusaba Yakuwa buli lunaku okutusonyiwa. Bwe tufuba okusigala nga tuli batukuvu, tuba tukiraga nti tusiima enkizo ey’ekitalo Yakuwa gy’atuwadde ey’okuyitibwa erinnya lye.Soma 1 Yokaana 1:8, 9.

AMAKULU G’ERINNYA LYA KATONDA

14. Erinnya Yakuwa litegeeza ki?

14 Okusobola okweyongera okusiima enkizo gye tulina ey’okuyitibwa erinnya lya Katonda, kiba kikulu okufumiitiriza ku makulu g’erinnya lye. Erinnya lya Katonda, “Yakuwa,” liva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “okuba,” era ekigambo ekyo kisobola okuba n’amakulu ag’okuleetera ebintu okubaawo. N’olwekyo, erinnya Yakuwa lisobola okutegeeza “Aleetera Ebintu Okubaawo.” Okufumiitiriza ku makulu g’erinnya Yakuwa, kituyamba okwongera okutegeera Katonda. Kituyamba okukiraba nti ye Mutonzi w’ebintu byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi era nti tewali kintu kyonna oba muntu yenna asobola kumulemesa kutuukiriza kigendererwa kye, k’abe Sitaani.

15. Ebyo Yakuwa bye yagamba Musa ebikwata ku linnya lye bituyigiriza ki? (Laba akasanduuko “Erinnya ery’Amakulu Ennyo.”)

15 Bwe yali atuma Musa okuggya abantu be mu Misiri, Yakuwa yamubuulira agamu ku makulu agali mu linnya lye. Bayibuli egamba nti: “Katonda n’agamba Musa nti: ‘Nja Kubeera Ekyo Kye Nnaasalawo Okubeera.’ Yagattako nti: ‘Bw’oti bw’onoogamba Abaisiraeri nti, “Nja Kubeera y’antumye gye muli.”’” (Kuv. 3:14, NW) N’olwekyo, Yakuwa asobola okubeera kyonna ekyetaagisa okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yakola kyonna ekyali kyetaagisa okusobola okununula Abaisiraeri, okubakuuma, okubawa obulagirizi, n’okubawa ebyetaago byabwe eby’omubiri n’eby’omwoyo.

ENGERI GYE TUYINZA OKULAGA NTI TUSIIMA ENKIZO GYE TULINA

16, 17. (a) Tuyinza tutya okulaga nti tusiima enkizo ey’okuyitibwa erinnya lya Katonda? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

16 Yakuwa takyukanga. Erinnya lye litujjukiza nti asobola okubeera ekyo kyonna ekyetaagisa okusobola okulabirira abaweereza be mu by’omwoyo ne mu by’omubiri. Kyokka waliwo n’ekintu ekirala kye tuyigira ku linnya lya Katonda. Yakuwa asobozesa ebitonde bye okukola kyonna ekyetaagisa okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. Ng’ekyokulabirako, akozesa Abajulirwa be okukola omulimu gwe. Okufumiitiriza ku ekyo, kisaanidde okutuleetera okweyisa mu ngeri emuweesa ekitiibwa. Kåre, ow’emyaka 84 abeera mu Norway era ng’amaze emyaka 70 ng’aweereza Yakuwa, yagamba nti: “Ngitwala nga nkizo ya maanyi okuweereza Yakuwa, Kabaka ow’emirembe n’emirembe, n’okuba omu ku bantu abayitibwa erinnya lye ettukuvu. Kindeetera essanyu okuyamba abantu okutegeera amazima n’okulaba engeri gye bakwatibwako nga bagategedde. Kinsanyusa nnyo okuyigiriza abantu ebikwata ku ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo n’engeri gye kisobola okubayambamu okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi empya ey’obutuukirivu.”

17 Kyo kituufu nti mu bitundu ebimu eby’ensi kizibu okusanga abantu abaagala okuyiga ebikwata ku Katonda. Wadde kiri kityo, okufaananako Kåre, kitusanyusa nnyo okusanga omuntu ayagala okuyiga ebikwata ku linnya lya Yakuwa, ne bw’aba omu bw’ati. Naye, tuyinza tutya okubeera Abajulirwa ba Yakuwa ate nga mu kiseera kye kimu tuli bajulirwa ba Yesu? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.