Ekifo ky’Abakazi mu Kigendererwa kya Yakuwa
“Abakazi abalangirira amawulire amalungi ggye ddene.”
1, 2. (a) Birabo ki Katonda bye yawa Adamu? (b) Lwaki Katonda yakolera Adamu omukazi? (Laba ekifaananyi waggulu.)
YAKUWA yatonda ensi ng’alina ekigendererwa. “Yagibumba okutuulwamu.” (Is. 45:18) Omuntu gwe yasooka okutonda yali Adamu. Adamu yali atuukiridde era Katonda yamuwa amaka agalabika obulungi ennyo, olusuku Adeni, omwali emiti egirabika obulungi, emigga egirabika obulungi, n’ebisolo ebya buli ngeri! Naye Adamu yalina ekintu ekyali kimubulako. Yakuwa yali amanyi ekintu ekyo era yagamba nti: “Si kirungi omuntu okubeeranga yekka; [nnaamukolera] omubeezi amusaanira.” Katonda yaleetera Adamu okwebaka otulo otungi, n’amuggyamu olumu ku mbiriizi ze, n’alukolamu omukazi. Adamu bwe yazuukuka, yasanyuka nnyo okulaba mukazi we! Yagamba nti: “Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange: naye anaayitibwanga mukazi, kubanga aggiddwa mu musajja.”
2 Omukazi yali kirabo kya muwendo Katonda kye yawa Adamu kubanga yali wa kubeera muyambi we. Omukazi yandibadde n’enkizo ey’enjawulo ey’okuzaala abaana. Bayibuli egamba nti: “Adamu n’atuuma mukazi we erinnya Kaawa, kubanga ye yali agenda okuba nnyina w’abo bonna abalamu.” (Lub. 3:20, NW) Adamu ne Kaawa baali ba kuzaala abaana, bajjuze ensi abantu abatuukiridde. Adamu ne Kaawa awamu n’abaana baabwe bandigenze bagaziya olusuku lwa Katonda okutuusa bwe lwandibunye ensi yonna, era bandibadde balabirira ebintu ebirala byonna.
3. (a) Kiki Adamu ne Kaawa kye baalina okukola okusobola okufuna emikisa gya Katonda, naye kiki kye baakola? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?
Lub. 2:15-17) Bwe bandikoze bwe batyo, bandisobodde okuyamba mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda. Kyokka eky’ennaku kiri nti Adamu ne Kaawa baawuliriza “omusota ogw’edda,” Sitaani, ne bajeemera Katonda. (Kub. 12:9; Lub. 3:1-6) Obujeemu obwo bukutte butya ku bakazi? Bintu ki abakazi abamu abeesigwa abaaliwo mu biseera by’edda bye baakola? Lwaki abakazi Abakristaayo abaliwo mu kiseera kyaffe bayitibwa “ggye eddene”?
EBIVUDDE MU BUJEEMU
4. Adamu ne Kaawa bwe baayonoona, omusango Yakuwa yagussa ku ani?
4 Katonda bwe yabuuza Adamu ensonga lwaki yali amujeemedde, Adamu yeewolereza ng’agamba nti: “Omukazi, gwe wampa okubeeranga nange, ye ampadde ku muti, ne ndya.” (Lub. 3:12) Mu kifo ky’okukkiriza ensobi ye, Adamu yasalawo okunenya mukazi we ne Katonda eyali amumuwadde! Wadde nga Adamu ne Kaawa bombi baayonoona, Yakuwa omusango yagussa ku Adamu. Eyo ye nsonga lwaki omutume Pawulo yawandiika nti: “Okuyitira mu muntu omu [Adamu] ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi.”
5. Katonda okuleka abantu okwefuga bokka okumala ekiseera kiraze ki?
5 Sitaani yaleetera Adamu ne Kaawa okulowooza nti baali tebeetaaga Yakuwa kuba Mufuzi waabwe. Ekyo kyaleetawo ekibuuzo kino ekikulu ennyo: Ani agwanidde okufuga obutonde bwonna? Okusobola okuddamu ekibuuzo kino, Katonda yasalawo okuleka abantu okwefuga bokka okumala ekiseera. Biki ebivuddemu? Abantu okwefuga bokka kivuddemu ebizibu bingi. Mu kyasa ekyayita mwokka, abantu nga 100,000,000 be baafiira mu ntalo. Ekyo kiraze bulungi nti “tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.” (Yer. 10:23) Eyo ye nsonga lwaki Abakristaayo ab’amazima bakkirizza Yakuwa okuba Omufuzi waabwe.
6. Mu bitundu bingi eby’ensi, abakazi n’abaana ab’obuwala batwalibwa batya?
6 Abasajja n’abakazi bonna bafuna ebizibu bingi mu nsi eno eri mu buyinza bwa Sitaani. (Mub. 8:9; 1 Yok. 5:19) Naye ebikolobero ebisinga okuba eby’amaanyi bikolebwa ku bakazi. Okutwalira awamu abakazi nga 30 ku buli kikumi batulugunyizibwa abaami baabwe oba baganzi baabwe. Mu mawanga agamu, abaana ab’obulenzi bafiibwako nnyo okusinga abaana ab’obuwala. Ekyo kiri kityo kubanga abantu abamu balowooza nti abaana ab’obulenzi bwe bakula basobola okuzaala ne baaza ekika era nti basobola okulabirira bazadde baabwe ne bajjajjaabwe. Ate mu bitundu by’ensi ebirala abawala babatwala ng’ekintu ekitalina mugaso era abamu basalawo n’okuggyamu embuto ez’abaana ab’obuwala.
7. Ntandikwa ki Katonda gye yawa abasajja n’abakazi?
7 Kya lwatu nti Katonda tasanyuka kulaba bakazi nga batulugunyizibwa. Afaayo nnyo ku bakazi era abawa ekitiibwa. Ekyo kyeyolekera mu ky’okuba nti yatonda Kaawa ng’atuukiridde, nga si muddu wa Adamu naye nga muyambi we. Eyo y’emu ku nsonga lwaki ku nkomerero y’olunaku olw’omukaaga olw’okutonda, Katonda ‘yalaba buli kye yali akoze nga kirungi nnyo.’ (Lub. 1:31) Mu butuufu, “buli” kintu Yakuwa kye yakola kyali “kirungi nnyo.” Kya lwatu nti Katonda yawa abasajja n’abakazi entandikwa ennungi!
ABAKAZI YAKUWA BE YAYAMBA ERA N’ABAKUUMA
8. (a) Abantu okutwalira awamu beeyisa batya? (b) Okuva edda n’edda, baani Yakuwa b’abadde ayamba?
8 Oluvannyuma lw’obujeemu obwaliwo mu lusuku Adeni, empisa z’abasajja 2 Tim. 3:1-5) Kyokka okuva edda n’edda, Yakuwa abadde ayamba abasajja n’abakazi abamwesiga, abakwata amateeka ge, era abakkiriza obufuzi bwe.
9. Bantu bameka abaawonawo mu Mataba, era lwaki baawonawo?
9 Yakuwa bwe yaleeta Amataba mu kiseera kya Nuuwa n’azikiriza abantu ababi, batono nnyo abaawonawo. Bwe kiba nti baganda ba Nuuwa ne bannyina baali bakyali balamu mu kiseera ekyo, nabo bateekwa okuba nga baafiira mu Mataba. (Lub. 5:30) Nuuwa, mukyala we, batabani be abasatu, ne bakyala baabwe be bokka abaawonawo mu Mataba. Weetegereze nti omuwendo gw’abasajja abaawonawo gwenkanankana n’ogw’abakazi abaawonawo. Abantu abo baawonawo olw’okuba baali batya Katonda era nga bakola by’ayagala. Abantu bonna abali ku nsi baava mu bantu abo omunaana Yakuwa be yayamba era n’akuuma.
10. Lwaki Yakuwa yakuuma era n’ayamba abakyala abeesigwa ab’abaweereza be ab’edda?
10 Oluvannyuma lw’Amataba, waaliwo abakyala b’abaweereza ba Katonda abaali abeesigwa Yakuwa be yayamba era n’akuuma. Kyokka Yakuwa teyandiwadde bakyala abo mikisa singa baali bantu ab’emulugunya. (Yud. 16) Omu ku bakyala abo yali Saala. Yali mwetegefu okuleka obulamu bwe yalimu mu Uli atandike okubeera mu weema. Saala teyeemulugunyanga. Mu kifo ky’ekyo, “yagonderanga Ibulayimu ng’amuyita mukama we.” (1 Peet. 3:6) Ate lowooza ne ku Lebbeeka eyali mukyala wa Isaaka. Olw’okuba yali mukyala mulungi nnyo, Bayibuli eraga nti Isaaka ‘yamwagala nnyo era n’abudaabudibwa oluvannyuma lw’okufa kwa nnyina.’ (Lub. 24:67, NW) Leero, kitusanyusa nnyo okulaba nti mu kibiina mulimu abakyala bangi abatya Katonda abalinga Saala ne Lebbeeka!
11. Abakazi abazaalisa Abebbulaniya baayoleka batya obuvumu?
11 Abaisiraeri bwe baali mu buddu e Misiri beeyongera obungi, ekyo ne kireetera Falaawo okulagira abaana bonna ab’obulenzi Abebbulaniya okuttibwa nga baakazaalibwa. Naye lowooza ku ekyo abakazi Abebbulaniya Sifira ne Puwa kye baakola. Abakazi abo bayinza okuba nga be baali bakulira abazaalisa bonna. Olw’okuba baali batya Katonda, baayoleka obuvumu ne bagaana okutta abaana abo. Yakuwa yabawa emikisa ne bafuna amaka agaabwe ku bwabwe.
12. Kiki ekyewuunyisa ekikwata ku Debola ne Yayeeri?
12 Mu kiseera ky’Abalamuzi ba Isiraeri, Katonda yalonda omukazi ayitibwa Debola okuba nnabbi. Debola yazzaamu Omulamuzi Baluki amaanyi era yakola kinene nnyo mu kuyamba Abaisiraeri okuva mu mukono gw’abalabe baabwe. Yagamba nti “omukazi,” so si Baluki, ye yali agenda okufuna ekitiibwa olw’okuwangula Abakanani kubanga Yakuwa yali agenda kuwaayo Sisera, omukulu w’eggye ly’Abakanani, mu mukono gw’omukazi. Ekyo kyennyini kye kyaliwo, Yayeeri, omukazi ataali Muisiraeri bwe yatta Sisera.
13. Kiki Bayibuli ky’eyogera ku Abbigayiri?
13 Ate lowooza ku mukazi omwesigwa Abbigayiri eyaliwo mu kyasa ekya 11 E.E.T. Bayibuli eraga nti omukazi oyo yali wa magezi kyokka ng’ate omwami we, Nabbali, yali mukambwe, nga musirusiru, era nga talina mugaso. (1 Sam. 25:2, 3, 25) Dawudi n’abasajja be baakuuma ebintu bya Nabbali okumala ekiseera, naye bwe baamusaba abeeko ebintu by’abawa, yabakaayuukira era n’atabaako kintu kyonna ky’abawa. Ekyo kyanyiiza nnyo Dawudi era n’ateekateeka okutta Nabbali awamu n’abasajja be. Naye ekyo Abbigayiri bwe yakitegeerako, yatwalira Dawudi n’abasajja be eby’okulya n’eby’okunywa, era ekyo kyayamba Dawudi obutayiwa musaayi. (1 Sam. 25:8-18) Oluvannyuma Dawudi yagamba nti: “Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, akutumye leero okusisinkana nange.” (1 Sam. 25:32) Oluvannyuma lw’okufa kwa Nabbali, Dawudi yawasa Abbigayiri.
14. Mulimu ki bawala ba Sallumu gwe beenyigiramu, era abakazi Abakristaayo leero bakoppye batya ekyokulabirako kyabwe?
14 Waliwo abasajja, abakazi, n’abaana bangi abattibwa ng’eggye lya Babulooni lizikiriza Yerusaalemi awamu ne yeekaalu yaakyo mu 607 E.E.T. Ebisenge bya Yerusaalemi byaddamu okuzimbibwa mu mwaka gwa 455 E.E.T. era Nekkemiya ye yakulemberamu mu mulimu ogwo. Mu abo abaayambako mu mulimu gw’okuddaabiriza ebisenge bya Yerusaalemi mwalimu ne bawala ba Sallumu, omukulu w’ekitundu ky’essaza lya Yerusaalemi. (Nek. 3:12) Abawala abo baali beetegefu okukola emirimu egy’amaanyi egy’okuzimba. Nga kitusanyusa nnyo okulaba nga leero waliwo abakazi bangi Abakristaayo abafuba okwenyigira mu mulimu gw’okuzimba ebizimbe ebitali bimu ebikozesebwa mu kusinza okw’amazima!
ABAKAZI ABAALI BATYA KATONDA MU KYASA EKYASOOKA
15. Nkizo ki Katonda gye yawa Maliyamu?
15 Mu kyasa ekyasooka E.E. ne bwe kyali kinaatera okutuuka, waliwo abakazi bangi Yakuwa be yawa enkizo ezitali zimu. Mu bakazi abo mwe mwali n’omukazi embeerera ayitibwa Maliyamu. Bwe baali bakyayogerezeganya ne Yusufu, Maliyamu yafuna olubuto mu ngeri ey’ekyamagero ku bw’omwoyo omutukuvu. Lwaki Katonda yalonda Maliyamu okuba maama wa Yesu? Ensonga eri nti Maliyamu yalina engeri ennungi ezandimusobozesezza okukuza Yesu. Nga Maliyamu yafuna enkizo ey’ekitalo okuba maama w’omusajja asinga bonna abaali babadde ku nsi!
16. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Yesu gye yatwalangamu abakazi.
16 Yesu yalaganga abakazi ekisa. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mukazi eyali amaze emyaka 12 ng’alina ekikulukuto eky’omusaayi. Yesu bwe yali mu kibinja ky’abantu, omukazi oyo yava emabega n’akwata ku kyambalo kye. Mu kifo ky’okumukambuwalira, Yesu yamulaga ekisa n’amugamba nti: “Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza. Genda mirembe era wonera ddala obulwadde obubadde bukubonyaabonya.”
17. Kyamagero ki ekyaliwo ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E.?
17 Abakazi abamu abaali abayigirizwa ba Yesu baaweerezanga Yesu awamu n’abatume be. (Luk. 8:1-3) Ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., waaliwo abasajja n’abakazi nga 120 abaafukibwako omwoyo gwa Katonda. (Soma Ebikolwa 2:1-4.) Ekyo ekyaliwo ku olwo kyatuukiriza ebigambo bya Yakuwa bino: “Ndifuka omwoyo gwange ku bonna abalina omubiri; kale batabani bammwe ne bawala bammwe baliragula . . . era ne ku baddu ne ku bazaana mu nnaku ezo kwe ndifuka omwoyo gwange.” (Yo. 2:28, 29) Ekyamagero ekyo ekyaliwo ku lunaku lwa Pentekooti kyalaga nti Katonda yali alekedde awo okukolagana n’eggwanga lya Isiraeri abaali bafuuse bakyewaggula era nti kati yali akolagana ne “Isiraeri wa Katonda,” omuli abasajja n’abakazi. (Bag. 3:28; 6:15, 16) Mu bakazi Abakristaayo abeenyigira mu mulimu gw’okubuulira mu kyasa ekyasooka mwalimu ne bawala ba Firipo, omubuulizi w’enjiri.
ABAKAZI “GGYE DDENE”
18, 19. (a) Nkizo ki Katonda gy’awadde abasajja n’abakazi? (b) Kiki omuwandiisi wa Zabbuli kye yayogera ku bakazi ababuulira amawulire amalungi?
18 Emyaka gya 1800 bwe gyali ginaatera okuggwaako, waliwo abasajja n’abakazi abaakiraga nti baali baagala nnyo okusinza okw’amazima. Abo be baateekateeka
19 Abayizi ba Bayibuli mu kusooka abaali abatono, beeyongedde obungi era kati waliwo Abajulirwa ba Yakuwa nga 8,000,000 mu nsi yonna. Abantu abasukka mu 11,000,000 bakiraga nti baagala okuyiga ebiri mu Bayibuli era nti basiima omulimu gwaffe ogw’okubuulira nga babaawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu ogubaawo buli mwaka. Mu nsi nnyingi, abo ababaawo ku mukolo ogwo abasinga obungi baba bakazi. Ate era ku babuulizi abasukka mu 1,000,000 abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, abasinga obungi ku bo bakazi. Kya lwatu nti Katonda awadde abakazi enkizo okwenyigira mu kutuukirizibwa kw’ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli bino: “Yakuwa awa ekiragiro; abakazi abalangirira amawulire amalungi ggye ddene.”
EMIKISA ABAKAZI ABATYA KATONDA GYE BAJJA OKUFUNA
20. Bintu ki bye tusaanidde okusomako?
20 Ebiseera tebisobola kutumala kwogera ku bakazi bonna abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli. Naye buli omu ku ffe asobola okubasomako mu Kigambo kya Katonda ne mu bitabo byaffe. Ng’ekyokulabirako, tusobola okufumiitiriza ku kyokulabirako omukazi omwesigwa Luusi kye yateekawo. (Luus. 1:16, 17) Era okusoma ekitabo kya Eseza n’ebitundu ebikwata ku Eseza ebiri mu bitabo byaffe nakyo kisobola okunyweza okukkiriza kwaffe. Okusoma ku bintu ng’ebyo mu kusinza kwaffe okw’amaka kisobola okutuganyula ennyo. Ne bwe kiba nti tubeera ffekka, tusobola okusoma ku bintu ng’ebyo mu kiseera kyaffe eky’okwesomesa.
21. Abakazi abatya Katonda bakiraze batya nti bamaliridde okuwagira obufuzi bwa Yakuwa ne mu biseera ebizibu?
21 Kya lwatu nti Yakuwa awa omukisa abakazi Abakristaayo nga beenyigira mu mulimu gw’okubuulira era abayamba nga boolekagana n’ebizibu. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yayamba abaweereza be bangi abakazi okusigala nga beesigwa gy’ali mu kiseera ky’obufuzi bw’Abanazi ne mu kiseera ky’obufuzi bwa nnaakalyako ani, wadde ng’abamu ku bo baatulugunyizibwa nnyo oba ne battibwa olw’okunywerera ku Yakuwa. (Bik. 5:29) Nga bwe kyali mu biseera by’edda, ne leero, abakazi Abakristaayo awamu ne bakkiriza bannaabwe abalala bakiraze nti bawagira obufuzi bwa Yakuwa. Era nga bwe kyali ku Baisiraeri ab’edda, Yakuwa akutte ku mukono gwabwe ogwa ddyo ng’abagamba nti: ‘Temutya; nze nnaabayambanga.’
22. Nkizo ki gye tusuubira okufuna mu biseera eby’omu maaso?
22 Mu kiseera ekitali kya wala, abasajja n’abakazi abatya Katonda bajja kwenyigira mu mulimu gw’okufuula ensi eno olusuku lwa Katonda era bajja kuyamba obukadde n’obukadde bw’abo abanaaba bazuukiziddwa okuyiga ebikwata ku bigendererwa bya Yakuwa. Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, ka ffenna abasajja n’abakazi tweyongera okugitwala nga nkizo okuweereza Yakuwa ‘nga tuli bumu.’