Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Yesu yagamba Abasaddukaayo nti abo abalizuukizibwa “tebaliwasa era tebalifumbirwa.” (Luk. 20:34-36) Yali ayogera ku abo abanaazuukizibwa okubeera ku nsi?
Ekibuuzo ekyo kikulu nnyo, naddala eri abo abaafiirwa bannaabwe mu bufumbo. Abantu ng’abo bayinza okuba nga bandyagadde okuddamu okubeera awamu ne bannaabwe abo mu nsi empya, nga bali mwami na mukyala. Ssemwandu omu yagamba nti: “Nze ne mukyala wange tetwasalawo kukomya bufumbo bwaffe. Twali twagala okubeera mu bufumbo bwaffe nga tuweereza Yakuwa emirembe gyonna. Sinnakyusa kirowoozo kyange.” Kyandiba nti abo abaafa bwe banaazuukizibwa bajja kuddamu okuwasa oba okufumbirwa? Eky’okuddamu kiri nti, tetumanyi.
Okumala emyaka mingi, ebitabo byaffe bibadde bigamba nti ebigambo bya Yesu ebyo ebikwata ku kuzuukira n’okuwasa biyinza okuba nga bikwata ku abo abanaazuukizibwa okubeera mu nsi empya era nti bwe banaazuukizibwa, tebajja kuwasa oba kufumbirwa. * (Mat. 22:29, 30; Mak. 12:24, 25; Luk. 20:34-36) Naye, kyandiba nti ebigambo bya Yesu ebyo bikwata ku kuzuukira kw’abo abagenda mu ggulu? Ka twetegereze ebyo Yesu bye yayogera.
Lowooza ku ebyo ebyaliwo. (Soma Lukka 20:27-33.) Abasaddukaayo, abantu abaali batakkiririza mu kuzuukira, baagezaako okukema Yesu nga bamubuuza ebikwata ku kuzuukira ne ku ky’omusajja okuwasa nnamwandu wa muganda we. * Yesu yabagamba nti: “Abaana b’omu nteekateeka eno ey’ebintu bawasa era bafumbirwa, naye abo abagwanira okufuna obulamu mu nteekateeka eri ey’ebintu awamu n’okuzuukizibwa okuva mu bafu, tebaliwasa era tebalifumbirwa. Mu butuufu, baliba tebakyayinza kufa nate, kubanga baliba nga bamalayika, era baliba baana ba Katonda kubanga baliba bazuukiziddwa.”
Lwaki ebitabo byaffe bibadde bigamba nti Yesu ayinza okuba nga yali ayogera ku abo abanaazuukizibwa okubeera ku nsi? Waliwo ensonga enkulu bbiri. Esooka, Abasaddukaayo bwe baabuuza Yesu ekibuuzo ekyo bayinza okuba nga baali boogera ku abo abanaazuukizibwa okubeera ku nsi era Yesu ayinza okuba nga yabaddamu ng’asinziira ku ekyo kye baali balowooza. Ey’okubiri, Yesu bwe yali abaddamu, yamaliriza ayogera ku Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, abasajja abeesigwa abajja okuzuukizibwa okubeera ku nsi.
Kyokka, kisoboka okuba nti Yesu yali ayogera ku abo abanaazuukizibwa okugenda mu ggulu. Lwaki tugamba bwe tutyo? Ka twetegerezeeyo ensonga bbiri eziri mu bigambo bya Yesu ebyo.
“Abo abagwanira . . . okuzuukizibwa okuva mu bafu.” Abaafukibwako amafuta abeesigwa boogerwako ng’abo ‘abagwanira obwakabaka bwa Katonda.’ (2 Bas. 1:5, 11) Okusinziira ku ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo, Katonda abatwala okuba abatuukirivu era bwe bafa, abatwala ng’abataliiko musango. (Bar. 5:1, 18; 8:1) Abaafukibwako amafuta abo bayitibwa ‘abalina essanyu era abatukuvu’ era batwalibwa okuba nti bagwanira okuzuukira okufuna obulamu mu ggulu. (Kub. 20:5, 6) Ku luuyi olulala, mu abo abanaazuukizibwa okubeera ku nsi mulimu “n’abatali batuukirivu.” (Bik. 24:15) Naye ddala abatali batuukirivu abo basobola okwogerwako ng’abo ‘abagwanira’ okuzuukizibwa?
“Baliba tebakyayinza kufa nate.” Yesu teyagamba nti: “Tebaliddamu kufa nate.” Wabula 1 Kol. 15:53, 54) Abo abazuukizibwa okugenda mu ggulu, okufa kuba tekukyabalinako buyinza. *
yagamba nti: “Baliba tebakyayinza kufa nate.” Enkyusa za Bayibuli endala zigamba nti “okufa kujja kuba tekukyabalinako buyinza.” Abaafukibwako amafuta abafa nga beesigwa bazuukizibwa ne bagenda mu ggulu ne baweebwa obulamu obutasobola kuzikirizibwa. (Ebyo bye tulabye bituyigiriza ki? Kiyinzika okuba nti ebigambo bya Yesu ebikwata ku kuwasa n’okufumbirwa bikwata ku abo abazuukizibwa okugenda mu ggulu. Bwe kiba kityo, ekyo kiba kitegeeza nti abo abazuukizibwa okugenda mu ggulu: (1) Tebawasa era tebafumbirwa, (2) tebasobola kufa, era (3) mu ngeri emu oba endala balinga bamalayika, ebitonde eby’omwoyo ebibeera mu ggulu. Kyokka ekyo kireetawo ebibuuzo ebirala.
Ekisooka, lwaki Yesu yandyogedde ku kuzuukira kw’abo abagenda mu ggulu ng’ayanukula Abasaddukaayo abayinza okuba nga baali boogera ku kuzuukira kw’abo abanaabeera ku nsi? Emirundi mingi Yesu bwe yabanga ayanukula abantu abaabanga bamuziyiza, teyabaddangamu ng’asinziira ku ebyo bye baabanga balowooza. Ng’ekyokulabirako, lumu Abayudaaya bwe baayagala abakolereyo ekyamagero, Yesu yabagamba nti: “Mumenye yeekaalu eno, ndigizimbira mu nnaku ssatu.” Yesu yali akimanyi nti baali balowooza ku yeekaalu eyali mu Yerusaalemi, “naye [ye] yali ayogera ku yeekaalu ya mubiri gwe.” (Yok. 2:18-21) Mu ngeri y’emu, Yesu ayinza okuba nga yakiraba nti kyali tekyetaagisa kuddamu kibuuzo kya Basaddukaayo bannanfuusi abaali batakkiririza mu kuzuukira era abaali batakkiriza nti waliyo bamalayika. (Nge. 23:9; Mat. 7:6; Bik. 23:8) Mu kifo ky’ekyo, ayinza okuba ng’aliko ebintu ebikulu ebikwata ku kuzuukira okw’abo abagenda mu ggulu bye yali ayagala abayigirizwa be abeesigwa, abandibadde n’essuubi eryo, bategeere.
Eky’okubiri, lwaki Yesu yakomekkereza ayogera ku Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, abajja okuzuukizibwa okubeera ku nsi? (Soma Matayo 22:31, 32.) Weetegereze nti bwe yali tannayogera ku basajja abo abeesigwa, Yesu yagamba nti: “Ku bikwata ku kuzuukira kw’abafu.” Mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu ayinza okuba nga yali alaga nti yali avudde ku kwogera ku abo abagenda mu ggulu, era nti kati yali agenda kwogera ku abo abanaazukizibwa okubeera ku nsi. Yesu yali akimanyi nti Abasaddukaayo baali bakkiririza mu ebyo Musa bye yawandiika, bwe kityo yajuliza ebyo Katonda bye yagamba Musa ng’ali kumpi n’ekisaka ekyali kyaka omuliro. Yesu yali ayagala Abasaddukaayo bakakase nti Katonda ajja kuzuukiza abantu babeere ku nsi.
Eky’okusatu, bwe kiba nti ebigambo bya Yesu ebyo bikwata ku abo abazuukizibwa okugenda mu ggulu, ekyo kitegeeza nti abo abanaazuukizibwa okubeera ku nsi bajja kuwasa oba okufumbirwa? Ekigambo kya Katonda tekiddamu kibuuzo ekyo butereevu. Bwe kiba nti ddala Yesu yali ayogera ku abo abazuukizibwa okugenda mu ggulu, olwo nno ebigambo bye ebyo tebiraga obanga abo abanaazuukizibwa okubeera mu nsi empya bajja kuwasa oba bajja kufumbirwa.
Kyokka, Ekigambo kya Katonda kiraga lwatu nti okufa kukomya obufumbo. N’olwekyo, oyo aba afiiriddwako munne mu bufumbo tasaanidde kulowooza nti kikyamu okuddamu okuwasa oba okufumbira. Ekyo buli omu y’alina okukyesalirawo. Tewali n’omu asaanidde kunenya muntu ng’oyo singa aba asazeewo okuddamu okuwasa oba okufumbirwa.
Kya lwatu nti tuyinza okuba nga tulina ebibuuzo bingi bye twebuuza ebikwata ku bulamu mu nsi empya. Naye mu kifo ky’okudda awo okuteebereza ku by’okuddamu, tusaanidde okulindirira tulabe ekinaabaawo. Mu butuufu, tusaanidde okuba abakakafu nti: Abantu abeesigwa bajja kuba basanyufu nnyo mu nsi empya kubanga Yakuwa ajja kwanjuluza engalo ze, awe abantu byonna bye beetaaga.
^ lup. 4 Laba Watchtower eya Jjuuni 1, 1987, olupapula 30-31.
^ lup. 5 Mu biseera by’edda, omusajja Omuisiraeri bwe yafanga nga talese mwana wa bulenzi, muganda we yatwalanga nnamwandu n’amuzaalamu omwana ow’obulenzi, erinnya ly’oyo eyabanga afudde lireme okusaanawo.
^ lup. 9 Abo abanaazukizibwa okubeera ku nsi bajja kufuna obulamu obutaggwaawo, so si obulamu obutasobola kuzikirizibwa. Okusobola okumanya enjawulo eri wakati w’obulamu obutaggwaawo n’obulamu obutasobola kuzikirizibwa, laba Watchtower eya Apuli 1, 1984, olupapula 30-31.