OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Okitobba 2014
Magazini eno erimu ebitundu ebirina okusomebwa mu kibiina wakati wa Ddesemba 1 ne 28, 2014.
Beewaayo Kyeyagalire—Mu Taiwan
Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu 100 be baagenda okuweereza mu Taiwan awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Manya ebibakwatako n’ebyo ebibayambye okweyongera okuweereza mu nsi eyo.
Ba n’Okukkiriza okw’Amaanyi mu Bwakabaka
Yakuwa yakola endagaano mukaaga okukakasa nti Obwakabaka bujja kutuukiriza ekigendererwa kye. Endagaano ezo zituyamba zitya okunyweza okukkiriza kwaffe?
Mujja Kuba ‘Obwakabaka bwa Bakabona’
Endagaano esatu ezisembayo ku ndagaano omukaaga zituleetera okwongera okukkiririza mu Bwakabaka bwa Katonda n’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka obwo.
EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA
Ekiseera Kye Mmaze nga Mpeereza Yakuwa
Mildred Olson amaze emyaka egisukka mu 75 ng’aweereza Yakuwa, nga mw’otwalidde n’emyaka nga 29 gye yamala ng’aweereza ng’omuminsani mu El Salvador. Kiki ekimuyambye okusigala nga wa maanyi?
Enkizo ey’Okukolera Awamu ne Yakuwa Gitwale nga ya Muwendo!
Kiki ekikubiriza abaweereza ba Yakuwa obutakulembeza byabwe ku bwabwe?
“Ebirowoozo Byammwe Mubikuumire ku Bintu eby’Omu Ggulu”
Lwaki abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi balina okukuumira ebirowoozo byabwe ku bintu eby’omu ggulu? Ekyo bayinza kukikola batya?