Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Wandifuddeyo ku Ani Alaba Emirimu Gyo?

Wandifuddeyo ku Ani Alaba Emirimu Gyo?

BEZALEERI ne Okoliyaabu baali bamanyi ebikwata ku kuzimba. Bwe baali mu buddu mu Misiri, baakuba bbulooka nnyingi. Naye kati ebiseera ebyo byali biyise. Kati baali bagenda kukola emirimu egyetaagisa obukugu obw’ekika ekya waggulu nga bawoma omutwe mu kuzimba weema entukuvu. (Kuv. 31:1-11) Wadde kyali kityo, abantu batono nnyo abandisobodde okulaba ku bintu ebyewuunyisa bye bandikoze. Eky’okuba nti abantu batono abandirabye emirimu gwabwe kyandibamazeemu amaanyi? Bandifuddeyo ku ani eyandirabye emirimu gyabwe? Wandifuddeyo ku ani alaba emirimu gyo?

EMIRIMU EGY’EKITALO, BATONO ABAAGIRABA

Ebimu ku bintu eby’omu weema entukuvu byakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa ennyo. Lowooza ku bakerubi aba zzaabu abaali kungulu ku ssanduuko y’endagaano. Omutume Pawulo yagamba nti bakerubi abo baali ba ‘kitiibwa.’ (Beb. 9:5) Lowooza ku ngeri eyeewuunyisa bakerubi abo abaali bakoleddwa mu zzaabu gye baali balabikamu!Kuv. 37:7-9.

Singa ebintu Bezaleeri ne Okoliyaabu bye baakola bizuulibwa leero, byandibadde biteekebwa mu mmyuziyamu ezisingayo okuba ez’omulembe era abantu bangi bandibadde bagenda okubiraba. Naye mu kiseera we byabeererawo, bantu bameka abaabirabako? Bakerubi baali bateekeddwa mu Awasinga Obutukuvu; bwe kityo, kabona asinga obukulu ye yekka eyabalabanga bwe yayingirangayo ku Lunaku lw’Okutangirirako Ebibi, omulundi gumu buli mwaka. (Beb. 9:6, 7) Bwe kityo, abantu batono nnyo abaalaba bakerubi abo.

SANYUKIRA EMIRIMU GYO WADDE NGA GIRABIBWA BATONO

Singa gwe wali Bezaleeri oba Okoliyaabu era nga wateekamu amaanyi go mangi mu kukola ebintu ebyo ebirabika obulungi, wandiwulidde otya okukimanya nti abantu batono nnyo be balaba ebintu ebyo? Abantu abasinga obungi leero baagala nnyo okutenderezebwa bannaabwe. Emirundi mingi okwo kwe bapimira obanga emirimu gye bakoze gya muwendo oba nedda. Naye ffe abaweereza ba Yakuwa si bwe tutyo bwe tuli. Okufaananako Bezaleeri ne Okoliyaabu, ekituleetera essanyu kwe kukola Yakuwa by’ayagala n’okukimanya nti tusiimibwa mu maaso ge.

Mu kiseera kya Yesu, abakulembeze b’eddiini baateranga okusaba essaala nga baagala okuwuniikiriza abalala. Kyokka Yesu yalaga nti ekyo si kituufu. Yakubiriza abagoberezi be okusaba mu bwesimbu nga tebalina kigendererwa kya kuwuniikiriza balala. Biki ebyandivuddemu? Yagamba nti: “Kitaawo alaba ebikolebwa mu kyama alikuwa empeera.” (Mat. 6:5, 6) N’olwekyo, ekisinga obukulu ye ngeri Yakuwa gy’atwalamu essaala zaffe, so si engeri abantu gye bazitwalamu. Era bwe kityo bwe kiri ne bwe kituuka ku ebyo bye tukola mu buweereza bwaffe obutukuvu. Ekisinga okutuleetera essanyu si kwe kuba nti abantu basiimye emirimu gyaffe, wabula kwe kuba nti Yakuwa, oyo “alaba ebikolebwa mu kyama,” agisiimye.   

Weema entukuvu bwe yamalirizibwa, ‘ekire kyabikka weema ey’okusisinkanirangamu era ekitiibwa kya Yakuwa kyajjula’ weema entukuvu. (Kuv. 40:34) Ekyo kyalaga nti Yakuwa yali asiimye emirimu egyali gikoleddwa! Olowooza Bezaleeri ne Okoliyaabu baawulira batya mu kiseera ekyo? Wadde ng’amannya gaabwe tegaawandiikibwa ku bintu bye baakola, kiteekwa okuba nga kyabasanyusa nnyo okukimanya nti Katonda yawa omukisa emirimu gyonna gye baakola. (Nge. 10:22) Mu butuufu, ebbanga lyonna lye baamala nga balamu, kiteekwa okuba nga kyabasanyusanga nnyo okulaba ng’ebintu bye baakola bikozesebwa mu kusinza okw’amazima. Bezaleeri ne Okoliyaabu bwe banaazuukira mu nsi empya, nga bajja kusanyuka nnyo okukimanya nti weema entukuvu yakozesebwa mu kusinza okw’amazima okumala emyaka nga 500!

Ne bwe kiba nti tewali muntu alaba mirimu gy’okola, Yakuwa ye agiraba!

Leero mu kibiina kya Yakuwa, abo abategeka vidiyo zaffe, abakuba ebifaananyi, abakuba ennyimba zaffe, abavvuunula ebitabo byaffe, n’ababiwandiika tebamanyibwa. Mu ngeri eyo, tuyinza okugamba nti tewali n’omu “alaba” bye bakola. Bwe kityo bwe kiri ne ku mirimu egitali gimu egikolebwa mu bibiina ebisukka mu 110,000 okwetooloola ensi yonna. Ani alaba ow’oluganda akola ku by’embalirira mu kibiina ng’akola ku biwandiiko by’embalirira ku nkomerero y’omwezi? Ani alaba omuwandiisi w’ekibiina ng’ateekateeka alipoota y’ekibiina ey’obuweereza? Ani alaba ow’oluganda oba mwannyinaffe ng’aliko ky’akola okuddaabiriza ekintu ekiba kyonoonese ku Kizimbe ky’Obwakabaka?

Bezaleeri ne Okoliyaabu tebaaweebwa mudaali oba kikopo olw’emirimu egy’ekitalo gye baakola. Kyokka baafuna ekintu eky’omuwendo ennyo, kwe kugamba, baasiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa yalaba emirimu gye baakola. N’olwekyo, ka tufuba okukoppa Bezaleeri ne Okoliyaabu abaali abeetoowaze era abaaweereza Yakuwa n’omwoyo ogutawalirizibwa.