Bye Tuyigira ku Yowaana
ABANTU bangi bakimanyi nti Yesu yalina abatume 12. Kyokka bangi tebamanyi nti Yesu yalina n’abayigirizwa be abakazi abaatambulanga naye. Omu ku bakazi abo yali Yowaana.—Mat. 27:55; Luk. 8:3.
Yowaana yayamba atya Yesu mu buweereza bwe, era kiki kye tumuyigirako?
YOWAANA Y’ANI?
Yowaana yali “mukyala wa Kuza eyali alabirira ennyumba ya Kerode.” Kuza ayinza okuba nga yali muwanika eyali avunaanyizibwa ku by’omu nnyumba ya Kerode Antipa. Yowaana y’omu ku bakazi abatali bamu, Yesu be yawonya endwadde. Yowaana n’abakazi abalala baatambulanga ne Yesu n’abatume be.—Luk. 8:1-3.
Balabbi Abayudaaya baayigirizanga nti abasajja tebasaanidde kukolagana na bakazi abatali ba ŋŋanda zaabwe, wadde okutambula nabo. Mu butuufu, abasajja Abayudaaya beewalanga okwogera n’abakazi. Naye Yesu teyagoberera bulombolombo ng’obwo, bwe kityo yakkiriza Yowaana n’abakazi abalala abeesigwa okutambulanga naye awamu n’abatume be.
Yowaana yakolagana ne Yesu awamu n’abatume be wadde nga yali akimanyi nti ekyo kyandimuviiriddeko okukyayibwa. Abo bonna abaatambulanga ne Yesu baalinanga okuba abeetegefu okubaako enkyukakyuka ze bakola buli lunaku. Ng’ayogera ku bagoberezi be ng’abo, Yesu yagamba nti: “Maama wange ne baganda bange [beebo] abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako.” (Luk. 8:19-21; 18:28-30) Tekikuzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yesu ayagala nnyo abo bonna ababaako bye beefiiriza okusobola okumugoberera?
YAWEEREZA NG’AKOZESA KU BINTU BYE
Yowaana n’abakazi abalala bangi baakozesanga ku bintu byabwe okuweereza Yesu n’Ekkumi n’Ababiri. (Luk. 8:3) Omuwandiisi omu yagamba nti: “Lukka tagamba nti abakazi abo baakolanga gwa kubafumbira, kubooleza bintu, oba kubatungira ngoye. Oboolyawo ebintu ebyo baabikolanga . . . , naye ekyo Lukka takyogera.” Kiyinzika okuba nti abakazi abo baakozesanga ssente zaabwe n’ebintu byabwe okukola ku byetaago bya Yesu n’abatume be.
Yesu n’abatume be bwe baabanga bakola omulimu gw’okubuulira tebaakolanga mirimu gya kufunamu ssente. Bwe kityo, kiyinzika okuba nti ku lwabwe baali tebasobola kufuna ssente zimala kugula mmere n’ebintu ebirala ekibinja kyabwe eky’abantu nga 20 bye baabanga beetaaga mu bulamu. Wadde ng’abantu abalala baabasembezanga, okuba nti Kristo n’abatume be baalina ‘akasanduuko mwe baaterekanga ssente’ kiraga nti oluusi baalinanga okwegulira ebintu bye baabanga beetaaga. (Yok. 12:6; 13:28, 29) Yowaana n’abakazi abalala bayinza okuba nga baawangayo ssente okuyamba mu kugula ebintu ebyo.
Abantu abamu bagamba nti omukazi Omuyudaaya teyabanga na bya bugagga. Kyokka, ebiwandiiko eby’edda biraga nti omukazi Omuyudaaya yali asobola okufuna eby’obugagga mu ngeri ez’enjawulo: (1) ng’abisikira okuva ku kitaawe eyabanga afudde nga talina mwana wa bulenzi, (2) nga babimuwadde buwi, (3) ng’aweereddwa omutemwa gwa ssente ogwabanga gusaliddwaawo okumuweebwa oluvannyuma lw’okugattululwa ne bba, (4) ng’aweebwa ssente eziva mu bintu omwami we bye yabanga alese ng’afudde, oba (5) ng’eby’obugagga ebyo y’abyekoledde.
Kya lwatu nti abagoberezi ba Yesu baawangayo kyonna kye baasobolanga okuwaayo okukola ku byetaago bya Yesu n’abo be yatambulanga nabo. Mu bagoberezi be mwalimu n’abakazi abaali abagagga. Olw’okuba Yowaana yali (oba yaliko) mukyala w’omuwanika wa Kerode, abantu abamu bagamba nti yali mugagga. Omu ku bagoberezi ba Yesu abaali abagagga nga Yowaana ayinza okuba nga ye yawa Yesu ekyambalo eky’ebbeeyi, ekyali kirukiddwa okuva wansi okutuuka waggulu. Omuwandiisi omu yagamba nti ekyambalo ng’ekyo “mukyala w’omuvubi yali tasobola kufuna ssente zikigula.”—Yok. 19:23, 24.
Ebyawandiikibwa tebyogera butereevu nti Yowaana yawaayo ssente okukola ku byetaago bya Yesu n’abatume be. Kyokka, Yowaana yakola kyonna ky’asobola era ekyo kirina kye kituyigiriza. Kiri eri ffe okusalawo kiki kye tunaawaayo okuwagira emirimu gy’Obwakabaka. Ekisinga obukulu mu maaso ga Katonda kwe kuba nti tukola kyonna kye tusobola.—Mat. 6:33; Mak. 14:8; 2 Kol. 9:7.
YESU NG’ATTIBWA N’OLUVANNYUMA
Yesu bwe yali attibwa, abakazi “abaatambulanga naye era abaamuweerezanga ng’ali e Ggaliraaya, n’abakazi abalala bangi abajja naye e Yerusaalemi” baaliwo, era kirabika Yowaana yali omu ku bakazi abo. (Mak. 15:41) Omulambo gwa Yesu bwe gwagibwa ku muti gusobole okuziikibwa, “abakazi abaali bavudde naye e Ggaliraaya nabo baagenda ne balaba entaana n’engeri omulambo gye gwagalamizibwamu; ne baddayo ne bateekateeka eby’akaloosa n’amafuta agawunya obulungi.” Lukka agamba nti abakazi abo, omwali “Maliyamu Magudaleena, Yowaana, ne Maliyamu maama wa Yakobo,” baddayo ku ntaana oluvannyuma lwa ssabbiiti ne balaba bamalayika abaababuulira ebikwata ku kuzuukira kwa Yesu.—Luk. 23:55–24:10.
Kisoboka okuba nti Yowaana y’omu ku bayigirizwa, omwali ne maama wa Yesu, abaakuŋŋaanira mu Yerusaalemi ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. (Bik. 1:12-14) Olw’okuba omwami we ayinza okuba nga yali akola mu lubiri lwa Kerode Antipa, Yowaana ayinza okuba nga ye yabuulira Lukka ebintu eby’omunda ebikwata ku Kerode Antipa, naddala okuva bwe kiri nti Lukka ye muwandiisi w’Enjiri yekka ayogera ku linnya lya Yowaana.—Luk. 8:3; 9:7-9; 23:8-12; 24:10.
Ebyo ebikwata ku Yowaana birina kinene kye bituyigiriza. Yowaana yakola kyonna ky’asobola okuweereza Yesu. Kiteekwa okuba nga kyamusanyusanga nnyo okulaba nga ssente ze yawangayo ziyamba Yesu, Ekkumi n’Ababiri, n’abayigirizwa abalala nga bakola omulimu ogw’okubuulira. Yowaana yaweereza Yesu era yamunywererako ne mu mbeera enzibu. Abakazi Abakristaayo basaanidde okufuba okumukoppa.