Okutuukiriza Obuvunaanyizibwa Bwo nga Maama
Okutuukiriza Obuvunaanyizibwa Bwo nga Maama
OKWETOOLOOLA ensi leero, abakazi abasinga tebakolera waka. Mu mawanga agaakula edda, omuwendo gw’abakazi abakola kumpi gwenkana n’ogw’abasajja. Mu nsi ezikyakula, abakazi basiiba mu nnimiro basobole okulabirira ab’omu maka gaabwe.
Abakazi bangi balina okukola okufuna ssente ate nga balina n’okukola emirimu gy’awaka. Abakazi bano be bagula emmere, eby’okwambala, n’okusasulira aw’okusula, ng’ate era be balina okufumba, okwoza n’okuyonja awaka.
Ng’oggyeko ekyo, abakazi Abakristaayo bafuba okuyamba abaana baabwe okufuna enkolagana ne Katonda. Cristina alina abaana abawala abato babiri agamba nti: “Si kyangu kukola na kulabirira maka, naddala ng’olina abaana abato. Kizibu okufa ku baana nga bwe kyetaagisa.”
Kiki ekireetera abakazi abazadde okutandika okukola? Bizibu ki bye boolekagana nabyo? Omukazi okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe alina okuba ng’akola?
Lwaki Abakazi Bakola
Abakazi bangi beesanga nga balina okukola. Abamu tebalina mwami abayamba mu bya nfuna. Ate abafumbo abamu bakisanga nti okusobola okulabirira obulungi amaka gaabwe, bombi balina okukola.
Tekiri nti buli mukazi akola aba n’obwetaavu mu by’enfuna. Bangi bakola basobole okuwulira nti nabo ba mugaso. Ate abalala bakola basobole okuba ne ssente ezaabwe ku bwabwe, oba basobole okwetuusaako buli kalungi. Bangi bakola bulungi nnyo emirimu gyabwe era bagyagala.
Okupikirizibwa bannaabwe nakyo kireetera abakazi abamu okwagala okukola. Wadde ng’abantu abasinga obungi bakiraba nti bamaama abakola batawaana nnyo era bakoowa, batera okuyisa amaaso mu abo abasalawo obutakola. Omukazi omu yagamba nti: “Si kyangu kunnyonnyola bantu lwaki tokola.” Agattako
nti: “Engeri abantu abamu gye boogeramu ekulaga nti obulamu bwo tolina kya mugaso ky’obukozeemu.” Rebeca, alina omwana omuwala ow’emyaka ebiri, agamba nti: “Wadde ng’abantu basuubira abakazi okulabirira abaana baabwe, kindabikira nti bayisa amaaso mu abo abatakola.”Ebiriwo Biraga Ki?
Mu nsi ezimu, emikutu gy’empuliziganya giwa ekifaananyi nti “omukazi ow’omulembe” y’oyo alina omulimu ogusasula obulungi, omwambazi, era eyeekakasa obulungi ky’akola. Bw’addayo eka aba asobola bulungi okugonjoola ebizibu by’abaana be, okugolola ensobi za bba, n’okwaŋŋanga ekizibu kyonna ekiba awaka. Ekituufu kiri nti kizibu okusanga omukazi alina obusobozi ng’obwo.
Mu bulamu obwa bulijjo emirimu egisinga abakazi gye bakola gisasula kitono era tegibawa ssanyu. Era bamaama abakola oluusi bakisanga ng’omulimu gwe bakola tegubamatiza. Ekitabo ekiyitibwa Social Psychology kigamba nti: “Wadde nga waliwo omwenkanonkano, abasajja be basinga okufuna emirimu egisasula ennyo era egya waggulu. N’olwekyo abakazi abalowooza nti okukola kye kijja okubayamba okuwulira nti ba mugaso bali ku buzibu.” Olupapula lw’amawulire oluyitibwa El País lugamba nti: “Kyangu nnyo abakazi okwennyamira okusinga abasajja kubanga abakazi balina okukola awaka ate ne ku mulimu.”
Engeri Abaami gye Bayinza Okuyamba
Kya lwatu nti maama Omukristaayo alina okwesalirawo obanga anaakola oba nedda. Naye bw’aba omufumbo, ensonga eno aba alina okujoogerako ne bba bagisalewo nga bamaze okwetegereza byonna ebizingirwamu.—Engero 14:15.
Watya nga basazeewo nti olw’embeera y’eby’enfuna bombi kibeetaagisa okukola? Bwe kiba kityo, omwami ow’amagezi alowooza ku kubuulirira kwa Baibuli kuno: “Bwe mutyo, abasajja, mubeerenga n’abakazi bammwe n’amagezi nga mussangamu ekitiibwa omukazi ng’ekibya ekisinga obunafu, kubanga nabo basika bannammwe ab’ekisa eky’obulamu.” (1 Peetero 3:7) Omwami awa mukazi we ekitiibwa ng’amubalirira olw’okuba mu butonde amaanyi ge matono. Buli lwe kiba kisoboka, ayamba mukazi we mu kukola emirimu gy’awaka. Okufaananako Yesu, omusajja alina okuba omwetegefu okukola omulimu gwonna awaka, awatali kulowooza nti gumuweebuula. (Yokaana 13:12-15) Okukola emirimu egyo kaba kakisa okulaga mukazi we nti amwagala. Mukazi we ajja kusiima nnyo obuyambi ng’obwo.—Abaefeso 5:25, 28, 29.
Awatali kubuusabuusa, omwami n’omukyala bwe baba ab’okukola, kibeetaagisa okukolera awamu emirimu gy’awaka. Kino kikwatagana n’ebyo ebyali mu lupapula lw’amawulire oluyitibwa ABC, mu Spain. Nga lwogera ku kunoonyereza okwakolebwa ekibiina ekimanyiddwa nga Institute of Family Matters, olupapula olwo lwagamba nti okusasika kw’obufumbo mu Spain tekuva ku “kuggwamu ddiini na mpisa” kyokka, wabula kuva ne ku bintu ebirala bibiri—“abakazi okutandika okukola n’abaami obutayamba ku mirimu gy’awaka.”
Omulimu Omukulu Maama Omukristaayo gw’Alina
Wadde ng’obuvunaanyizibwa bw’okutendeka abaana Yakuwa yabukwasa bataata, bamaama Abakristaayo nabo balina omulimu omukulu ogw’okukola, naddala ng’omwana akyali muto. (Engero 1:8; Abaefeso 6:4) Yakuwa yatwaliramu bamaama ne bataata bwe yalagira Abaisiraeri okuyigirizanga abaana baabwe Amateeka ge. Yali akimanyi nti kino kyetaagisa ebiseera bingi n’obugumiikiriza, naddala mu myaka gy’omwana egy’obuto. Eno ye nsonga lwaki Katonda yalagira abazadde okutendeka abaana baabwe nga bali nabo eka, mu kkubo, nga bagolokose, era nga bagalamidde.—Ekyamateeka 6:4-7.
Ekigambo kya Katonda kiraga obukulu bw’omulimu gwa bamaama bwe kigamba abaana nti: ‘Tolekanga tteeka lya nnyoko.’ (Engero 6:20) Kya lwatu, omukazi omufumbo alina okwebuuza ku bba nga tannateerawo baana mateeka. Naye, ng’olunyiriri olwo bwe lulaga, bamaama basobola okuwa abaana amateeka. Era abaana baganyulwa nnyo bwe bagoberera amateeka agabaweereddwa bannyaabwe abatya Katonda. (Engero 6:21, 22) Teresa, nnyina w’abaana abalenzi babiri, yannyonnyola lwaki yasalawo obutakola. Yagamba nti: “Okukuza abaana bange nga baweereza Katonda gwe mulimu ogusingayo obukulu. Njagala ngukole bulungi nga bwe nsobola.”
Bamaama Abaayamba Abaana Baabwe
Awatali kubuusabuusa Kabaka Lemweri Omuisiraeri yaganyulwa nnyo mu ebyo nnyina bye yamubuulirira. ‘Ebigambo’ nnyina bye ‘yamuyigiriza’ ng’amugolola byateekebwa mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. (Engero 31:1; 2 Timoseewo 3:16) Maama ono bye yayogera ku mukyala omulungi na kati biyamba abaana ab’obulenzi okulonda n’amagezi omukazi ow’okuwasa. Era bye yalabula ku bwenzi n’okunywa omwenge omungi bikyali bya mugaso leero nga bwe byali nga byakawandiikibwa.—Engero 31:3-5, 10-31.
Mu kyasa ekyasooka, omutume Pawulo yatendereza maama omu eyali ayitibwa Ewuniike olw’okuyigiriza obulungi mutabani we Timoseewo. Olw’okuba bba teyali mukkiriza era osanga yali asinza bakatonda b’Abayonaani, Ewuniike yalina okuyamba ennyo Timoseewo okukkiriza “ebyawandiikibwa ebitukuvu.” Ewuniike yatandika ddi okuyigiriza Timoseewo? Ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa bigamba nti yatandika “okuva mu buto,” nga Timoseewo akyali muto ddala. (2 Timoseewo 1:5; 3:14, 15) Ekyokulabirako kye n’okukkiriza kwe awamu ne bye yamuyigiriza byayamba Timoseewo okuweereza ng’omuminsani.—Abafiripi 2:19-22.
Baibuli era eyogera ku bamaama abaasembezanga ennyo abaweereza ba Katonda abeesigwa mu maka gaabwe, ne kisobozesa abaana baabwe okufuna ebyokulabirako ebirungi okukoppa. Ng’ekyokulabirako, omukazi omu Omusunemu yateranga okukyaza nnabbi Erisa mu maka ge. Lumu mutabani we yafa era nnabbi Erisa n’amuzuukiza. (2 Bassekabaka 4:8-10, 32-37) Lowooza ne ku Malyamu, nnyina w’omuwandiisi wa Baibuli Makko. Kirabika nti mu maka ge e Yerusaalemi waatuulangawo enkuŋŋaana z’abayigirizwa abasooka. (Ebikolwa 12:12) Makko alina okuba nga yaganyulwa nnyo mu kukolagana n’abatume wamu n‘Abakristaayo abalala abajjanga awaka.
Kyeyoleka bulungi nti Yakuwa ayagala nnyo abakazi abeesigwa abayigiriza abaana baabwe emisingi gye. Abaagala olw’okuba beesigwa era bafuba okutumbula eby’omwoyo mu maka gaabwe.—2 Samwiri 22:26; Engero 14:1.
Omulimu Ogusingayo Okuleeta Essanyu
Ng’ebyokulabirako ebyo ebiri mu Byawandiikibwa bwe biraga, okulabirira obulungi amaka go mu by’omubiri, eby’omwoyo n’ebirala kivaamu emikisa. Naye ekyo okukikola si kyangu. Emirimu maama gy’akola awaka oluusi giba mizibu n’okusinga egyo egya waggulu egikolebwa mu ofiisi.
Kituufu nti oluvannyuma lw’okwebuuza ku bba, maama bw’aleka omulimu oba n’afuna ogutamutwalako biseera bingi, obulamu buyinza obutasigala nga bwa waggulu nga bwe kibadde, era wayinza okubaawo abamusekerera. Naye ebirungi ebivaamu bisingira wala by’aba yeefiirizza. Paqui alina abaana basatu era nga omulimu gw’alina si gwa kiseera kyonna, agamba nti: “Njagala nnyo
abaana bwe bava ku ssomero bansange awaka, basobole okubaako n’omuntu gwe boogera naye.” Abaana be bo baganyulwa batya? Agamba nti: “Mbayamba ku misomo gyabwe, era bwe wabaawo ekizibu kyonna, nkikolako mu bwangu. Ekiseera kye mmala nabo buli lunaku kinnyamba okumanya ebibali ku mutima. Olw’okuba ekiseera kino kikulu nnyo gye ndi, nnagaana omulimu gw’ekiseera kyonna ogwali gumpeereddwa.”Bamaama Abakristaayo bangi bakizudde nti bwe balekera awo okukola, oba ne bakola omulimu ogutali gwa kiseera kyonna, ab’omu maka bonna baganyulwa. Cristina eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Kirabika bwe nnalekera awo okukola, ebizibu ne bikendeera mu maka gaffe. Nnafuna obudde obwogerako n’abaana bange era nnyamba omwami wange mu ngeri nnyingi. Nnatandika okufuna essanyu mu kuyigiriza bawala bange nga ndaba bye bayiga bibaganyula.” Waliwo ekintu Cristina ky’ajjukira ennyo. Agamba nti: “Omwana wange omukulu yayiga okutambula ng’ali eyo gye nnamutwalanga okulabirirwa nga ndi ku mulimu, naye ow’okubiri nze nnamweyigiririza okutambula nga tuli waka. Bwe yasimbula ebigere bye ebyasooka, yagwa mu mikono gyange. Ekyo kyandeetera essanyu lya nsusso!”
Eky’okulowoozaako ekirala kiri nti maama bw’aleka omulimu oba bw’afuna ogutali gwa kiseera kyonna, eby’enfuna oluusi tebiddirira nnyo nga bwe kiba kisuubirwa. Cristina agamba nti: “Ebisale by’entambula n’eby’okulabirira omwana byali bimalawo ekitundu kinene eky’omusaala gwange. Bwe twetegereza ebintu obulungi twakizuula nti omulimu gwange gwali tegulina nnyo kye gwongera ku nfuna ya maka.”
Bwe beetegereza embeera yaabwe, abafumbo abamu bakizuula nti omukyala okulekera awo okukola n’alabirira awaka kiganyula amaka gonna okusinga ssente z’abadde afuna. Paul, bba wa Cristina, agamba nti: “Ndi musanyufu nti mukazi wange asigala awaka n’alabirira abaana baffe ababiri abato. Ffembi twali tukaluubirizibwa nnyo nga mukyala wange akyakola.” Ate bo bawala baabwe ababiri baaganyulwa batya? Paul agamba nti: “Basanyufu era kibayambye obutafuna mpisa mbi nga bato.” Lwaki okufuna ekiseera okubeerako ne bawala baabwe kikulu nnyo eri omwami ono ne mukazi we? Paul agamba nti: “Ndi mukakafu nti singa ffe abazadde tetubuulirira baana baffe kubatuuka ku mutima, abalala bajja kukikola.”
Kya lwatu nti buli bafumbo balina okwetegereza embeera yaabwe, era kye baba basazeewo tewali asaanidde kukivumirira. (Abaruumi 14:4; 1 Abasessaloniika 4:11) Wadde kiri kityo, kirungi okulowooza ku miganyulo ab’omu amaka gye bafuna singa maama aba takola. Teresa eyayogeddwako waggulu, awumbawumbako bw’ati endowooza ye: “Tewali kireeta ssanyu kusinga biseera by’omala ng’olabirira n’okuyigiriza abaana bo.”—Zabbuli 127:3.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Bamaama Abakristaayo balina omulimu omukulu ogw’okutendeka abaana baabwe